OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

350

Transcript of OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

Page 2: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

3

www.nlmafghanistan.comwww.nlmafrikaans.comwww.nlmalbania.comwww.nlmamharic.comwww.nlmangola.comwww.nlmarabemirates.comwww.nlmarabic.comwww.nlmargentina.comwww.nlmarmenia.comwww.nlmaruba.comwww.nlmaustralia.comwww.nlmaustria.comwww.nlmbahamas.comwww.nlmbahrain.comwww.nlmbangladesh.comwww.nlmbelarus.comwww.nlmbelgium.comwww.nlmbengali.comwww.nlmbenin.comwww.nlmbhutan.comwww.nlmbolivia.com

www.nlmbotswana.comwww.nlmbrasil.comwww.nlmbriton.comwww.nlmbrunei.comwww.nlmbulgalia.comwww.nlmburkinafaso.comwww.nlmburundi.comwww.nlmcameroon.comwww.nlmcanada.comwww.nlmcebuano.comwww.nlmchichewa.comwww.nlmchile.comwww.nlmchin.comwww.nlmchina.comwww.nlmcolombia.comwww.nlmcongo.comwww.nlmcostarica.comwww.nlmcotedivoire.comwww.nlmcroatia.comwww.nlmczech.comwww.nlmdenmark.com

www.nlmdioula.comwww.nlmdominica.comwww.nlmdutch.comwww.nlmecuador.comwww.nlmegypt.comwww.nlmelsalvador.comwww.nlmequatorialguinea.comwww.nlmethiopia.comwww.nlmfinland.comwww.nlmfrance.comwww.nlmfrench.comwww.nlmgabon.comwww.nlmgeorgian.comwww.nlmgerman.comwww.nlmgermany.comwww.nlmghana.comwww.nlmgreek.comwww.nlmgrenada.comwww.nlmguatemala.com

A

B

C

D

E

F

G

Please find your vernacular websites below.

You can download Christian e-books and request Christian books for free.

Feel free to visit our websites below right now!

Please find your vernacular websites below.

You can download Christian e-books and request Christian books for free.

Feel free to visit our websites below right now!

Please find your vernacular websites below.

You can download Christian e-books and request Christian books for free.

Feel free to visit our websites below right now!

The Official Website of The New Life Mission

www.nlmission.comwww.nlmission.comor

www.bjnewlife.orgwww.bjnewlife.orgW

The New Life Mission

orldwide websites of

� Some of these websites may not work because they are still under construction.

Page 3: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

3

www.nlmgujarati.comwww.nlmhaiti.comwww.nlmhindi.comwww.nlmholland.comwww.nlmhonduras.comwww.nlmhungary.comwww.nlm-india.comwww.nlmindonesia.comwww.nlmiran.comwww.nlmiraq.comwww.nlmisrael.comwww.nlmitaly.comwww.nlmjamaica.comwww.nlmjapan.comwww.nlmjavanese.comwww.nlmkannada.comwww.nlmkazakhstan.comwww.nlmkenya.comwww.nlmkhmer.comwww.nlmkirghiz.comwww.nlmkirundi.comwww.nlmkorea.comwww.nlmlatvia.comwww.nlmluganda.comwww.nlmluo.comwww.nlmmadi.comwww.nlmmalagasy.comwww.nlmmalayalam.comwww.nlmmalaysia.comwww.nlmmarathi.com

www.nlmmauritius.comwww.nlmmexico.comwww.nlmmindat.comwww.nlmmizo.comwww.nlmmoldova.comwww.nlmmongolia.comwww.nlmmyanmar.comwww.nlmnepal.comwww.nlmnewzealand.comwww.nlmnigeria.comwww.nlmnorthkorea.comwww.nlmnorway.comwww.nlmpakistan.comwww.nlmpanama.comwww.nlmperu.comwww.nlmphilippines.comwww.nlmpoland.comwww.nlmportugal.comwww.nlmportuguese.comwww.nlmprcongo.comwww.nlmqatar.comwww.nlmromania.comwww.nlmrussia.comwww.nlmsaudiarabia.comwww.nlmserbian.comwww.nlmshona.comwww.nlmsingapore.comwww.nlmslovakia.comwww.nlmslovene.comwww.nlmsolomon.com

www.nlmsouthafrica.comwww.nlmspain.comwww.nlmspanish.comwww.nlmsrilanka.comwww.nlmsuriname.comwww.nlmswahili.comwww.nlmswaziland.comwww.nlmsweden.comwww.nlmswiss.comwww.nlmtagalog.comwww.nlmtaiwan.comwww.nlmtamil.comwww.nlmtelugu.comwww.nlmthailand.comwww.nlmtogo.comwww.nlmtonga.comwww.nlmturkey.comwww.nlmuganda.comwww.nlmukraine.comwww.nlmurdu.comwww.nlmusa.comwww.nlmvenezuela.comwww.nlmvietnam.comwww.nlmzambia.comwww.nlmzimbabwe.comwww.nlmzou.com

H

J

K

L

M

N

P

Q

R

S

T

U

V

Z

I

W The New Life Missionorldwide websites of

Page 4: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

4

Kino ky’ekitabo eky’olubereberye, mu biseera byaffe bino, eky’ogera ku mawulire amalungi ag’amazzi n’omwoyo ng’essira lijjibwa mu byawandiikibwa.

Bangi mu mwe abasomi b’ekitabo kino temumanyi njiri eno ey’okuzaalibwa

nate (ey’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri) mu mazzi ne mu mwoyo. Kale nno mu kitabo kino, ngezezzaako nga bw’ensobola okuteeka essira ku kubatiza kwa Yesu n’omusalaba kwe yafiira.

Singa Yesu Kristo teyabatizibwa, okufa kwe ku musalaba tekwandibadde na

mugaso gwonna gye tuli. Eno y’emu ku nsonga lwaki essira nditadde ku kubatiza kwa Yesu.

Ensonga endala empandiisiza ekitabo kino y’eno; Njagala abasomi mwenna

wuweebwe omukisa n’enjiri eno ey’amazzi (okubatiza kwa Yesu) n’omwoyo. Esaala yange y’eno, nti mwenna mukkiriza mu njiri y’okubatiza kwa Yesu

Kristo n’omusalaba gwe, musobole okulokoka. Era nsuubira nti ebiwandiikidwa mu kitabo kino binakuluŋŋamya okufuna obulokozi.

Page 5: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OZAALIDDWA OMULUNDI

OGW’OKUBIRI MU MAZZI N’OMWOYO?

PAUL C. JONG

Hephzibah Publishing House Obuweereza bwa THE NEW LIFE MISSION

SEOUL, KOREA

Ozaaliddwa omulundi ogw’okubiri mu mazzi n’omwoyo? Copyright © 2006 by The New Life Mission Tewali muntu yenna akkirizibwa okufuna (okukubisaamu n’ebyuma by’amasanyalaze (fotocopi, kompyuta, n’engeri endala yonna)) ekitundu kye’kitabo kino oba ekitabo kino kyonna nga tasoose kufuna lukusa eri abawandiisi bakyo n’abo aba kifulumya.eyetaaga olukusa kimugwanira okusaba olukusa mu buwandiike. Eby’awandiikibwa ebikozeseddwa mu kirabo kino biggiddwa mu EKITABO EKITUKUVU (Baibuli y’Oluganda). ISBN 89-8314-088-7

Page 6: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

6

Okwebaza Twagala okuwaayo okwebaza kwaffe eri

Katonda olw’okutuwa obulokozi n’atuwa omukisa n’eno enjiri y’okuzaalibwa nate amazzi n’omwoyo.

Nebaza abaweereza ba Katonda bonna nga mwotadde Rev. Samuel J. Kim ne Rev. John K. Shin, abatuyambye ennyo okukuba akatabo kano. Mukyala Jugpil sul naye mwebaza nnyo olw’okukyusa ekitabo kino mu lungereza. Ab’oluganda abo mu Hephzibah Publishing house; n’omukyala Elaine Dawe owa National University awa mu n’omukyala Ross Wallace owa KOREA TIMES. Bakoze omulimu munene nnyo mu kuwandiisa ekitabo kino.

Nsuubira era nsaba nti kino ekitabo (ne Kasseti zaakwo) zinaakuyamba ggwe n’abantu

abalala bangi okulokokera ddala; era njagala okwebaliza ennyo nnyini aba abakoze ennyo naffe.

Kwe kusaba kwange nti Katonda atuyamba okubunya enjiri y’okuzaalibwa nate amazzi n’omwoyo mu nsi yonna okuyita mw’abo abakkiriza mu Yesu Kristo.

Nate mbalamusa n’okukkiriza kwa Katonda okutaggwawo era nebaza Katonda.

PAUL C. JONG

Page 7: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

7 Enyanjula

Enyanjula

Tulina okuzaalibwa nate mu mazzi n’omwoyo.

Katonda bwe yatonda ensi n’eggulu mu

lubereberye, yatonda eggulu n’eggeyena. Yatonda omuntu mu kifaananyi kye ye, naye oluvanyuma lwa Adamu okwonoona mu maaso ga Katonda, buli muntu eyatondebwa alina okuffa omulundi gumu. “Era ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu, oluvanyuma lw’okwo musango” (Abaebbulaniya 9:27).

Okuffa kw’emibiri gyaffe ly’ekkubo eritutuusa mu bulamu obutagwaawo. Abo abatalina kibi bagya kuyingira ensi etegwaawo gye tuyita eggulu; bgya kufuuka baana ba Katonda. Abo abonoonyi banaasuulibwa “mu

Page 8: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

8 Enyanjula

nyanja y’omuliro n’ekibiriiti” (Okubikulirwa 20:10) era babonebone emirembe egitagwaawo.

N’olwekyo buli muntu alina okuzaalibwa nate (okulokoka). Tulina okulokoka, tuvve ku kubyonoono bye tubadde tukola tufuuka abatuukirivu; olwo naffe lwe tujja okusobola okuyingira mu bwakabaka obwomuggulu. Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi agwokubiri tasobola kuyingiria mu bwakabaka bw’omuggulu. Bayibuli egamba nti,”Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw’atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:5). “Okuzaalibwa mu mazzi n’omwoyo” y’engeri yokka gye tuyinza okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

‘Amazzi’ agoogerwaako ‘n’Omwoyo’ ayogeerwako mu Baibuli by’ebitusobozesa okulokoka? Yee. Amazzi mu baibuli ‘kwe kubatiza kwa Yesu.’

Lwaki Yesu Katonda mweene, yabatizibwa Yokaana omubatiza? Olowooza yali ayagala kulaga bugoonvu bwe? Olowooza yali ayagala kulangirira nti y’oyo affukkiddwaako amafuta? Nedda.

Yesu bwe yabatizibwa Yokaana omubatiza, bwe ‘yamuteekako emikono’ (eby’abaleevi 16:21), kino kyali ‘kikolwa kya muntu omu eky’obutuukirivu’ (Abaruumi 5:18), ekya ggyawo ebibi by’abantu bonna.

Mu ndagaano enkadde, Katonda yawa Isiraeri eteeka ery’obununuzi ery’ekisa. Eteeka lino lyalabisibwanga ku lunaku olw’okutangirira. Ku lunaku luno, ebibi by’abaana ba Isiraeri byonna eby’omwaka byatangirirwa. Alooni, kabona omukulu, yateekanga emikono gye ku mutwe gwe mbuzi ennume. Ebibi by’abaana ba Isiraeri byonna byateekebwanga ku mbuzi eyo.

Ebigambo by’okutangirira mundagaano enkadde byalagulanga (byali bitulaga)

Page 9: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

9 Enyanjula

okutangirira okw’olubeerera okugenda okugya. Bitulaga amazima gano: nti ebibi by’abantu fenna biriteekebwa ku Yesu omulundi gumu. Yesu yaggya kuno ku nsi ng’omuntu, kubanga kuno kwali kwagala kwa Katonda. Yabatizibwa Yokaana omubatiza (yokaana yali asibuka mu lulyo lwa Alooni, kabona omukulu eyasooka mu ndagaano enkadde), era Yokaana yakiikirira abantu fenna.

Yesu bwe yali abatizibwa, yagamba Yokaana nti, “kkiriza kaakano; kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna” (Matayo 3:15).

Wano amakulu ‘g’okuteekako emikono g’ogerwako.’ Yokaana yali alina okuteeka emikono gye ku Yesu. Mu kikolwa kino (eky’okumuteekako emikono ng’abatizibwa) Yesu yeetikka ekibi ky’ensi yonna asobole okutuukiriza obutuukirivu bwonna kulwaffe abantu. Ekigabo ‘obutuukirivu’ mu luyonaani

kye kigambo ‘dikaiosune’ amakulu gakyo ge gano; “okubeera omwenkanya mu mbala oba mu bikolwa. Okubeera mu mbeera (okubeera n’embala) esibuka mu kusanyizibwa.”

Yesu yatuukiriza obutuukirivu bwonna kulw’abantu bonna okuyita mu kubatiza kwe era kino yakikola mu ngeri (enkola) entuufu, esaanidde. Yesu ng’amaze okwetikka ebibi by’abantu bonna okuyita mu kubatiza kwe, Yokaana omubatiza yamusisinkana enkeera era bwati bwe yajulira ku bulamu bwe, “Laba! Omwana gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi!” (Yokaana 1:29).

Yesu yetikka ebibi by’abantu bonna nayolekera omusalaba. Kumusalaba yatwala omusango gw’ebibi byaffe bye yali yeetisse ng’amaze okubatizibwa. Yaffa kumusalaba nagamba nti “kiwedde” (Yokaana 19:30). Yeyikka ebibi byonna n’atwala omusango omujjuvu ku lwaffe.

Page 10: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

10 Enyanjula

Amazzi (oba Okubatiza kwa Yesu) kye kifaananyi ky’obulokozi.

N’olwekyo, ‘awatali kukkiriza mu kubatiza

kwa Yesu’ tetuyinza kulokoka. Eyo y’ensonga lwaki omutume Peteero yagamba nti amazzi (okubatiza kwa Yesu) “kye kifaananyi eky’amazima” (1 Peetero 3:21) ekitulokola.

Ennaku zino, abantu abasinga abakkiriza mu Yesu Kristo tebakkiriza mu kubatiza kwe ‘okw’amazzi’ wabula bakkiriza mu kufa kwe kumusalaba. Owoluganda osuubira okukkiriza kuno kuyinza okulokola abonoonyi? Olowooza nti obununuzi bwaffe okuva mu kibitubufuna, kubanga tukkiriza mu musaayi gwa Yesu gwokka? Nedda, obununuzi bwaffe tebuva mukukkiriza mu kuffa kwa Yesu (kumusalaba) kwokka.

Mu ndagaano enkadde, abaana ba Isiraeri bwe bawangayo ssaddaakka ey’okutangirira, bali

balina okugiteekako emikono ne baatulirako ebibi. Kyali kyamuzizo okutta omutango nga ebibi tebinayatulibwako (ku mutwe gw’omutango). Mu ngeri y’emu mu ndagaano empya, si kituufu era kyamuzizo okukkiriza mu kufa (musalaba) kwa Yesu Kristo nga tokkiriza mu kubatiza kwe.

N’olwekyo, omutume Peetero kyava agamba nti, “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwa Yesu kristo” (1 Peetero 3:21).

Nga abantu bo mundaagano enkadde abatakkiriza mu bubaka bwa Nuuwa (obw’okwewala amataba) bwe baali, n’abo bwe bali abagaana okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu, bajja kusaynizibwawo.

Okukkiriza okutuukiridde okutuluŋŋamya eri

Page 11: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

11 Enyanjula

obulokozi kwe kukkiriza mu Yesu Kristo, “eyajja n’amazzi n’omusaayi…” (1 Yokaana 5:6). Kitugwanira fenna okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’okuffa kwe kumusalaba.

Omutume Yokaana yawandiika n’agamba nti okukkiriza okutuufu kwe kukkiriza mu “bujjulizi obw’omwoyo, amazzi, n’omusaayi.” (1 Yokaana 5:8).

Okukkiriza okutuufu kwe kuno; Yesu y’ennyini ye Katonda eyajja mu mubiri kubbw’omwoyo omutukuvu okuyita mu muwala atamanyi musajja Maliyamu. Yesu yaggyawo ebibi byonna eby’ensi bwe yabatizibwa (Yokaana omubatiza, eyakiikirira abantu fenna) mu mugga Yoludaani. Yesu yaffa kumusalaba nga yeetisse ebibi by’ensi yonna era yeetikka omusango gw’ebibi byaffe fenna.

Kulwensonga eyo, awatali kubatiza kwa Yesu, enjiri entuufu teyinza kutuukirira era ne bwe tukkiriza mu Yesu, tetuyinza kusikira bulokozi

bwe tugaana okukkiriza mu njiri eno.

Eby’afaayo by’ekkanisa ya Kristo n’engeri enjiri gye yawaba.

Lwaki enjiri y’amazzi n’omwoyo

tekyabuulirwa? Lwaki enjiri enkyamu yebuulirwa mu nsi yonna ennaku zino?

Yesu bwe yazuukira mu baffu n’agenda mu ggulu, abatume baabuuliranga enjiri eno ey’amazzi n’omwoyo. Bwe tusoma mu mu byawandiikibwa tumanya nti abatume (nga Paulo, Peetero, Yokaana) si be bantu bokka abaali babuulira enjiri y’amazzi n’omwoyo. Abo ab’ekkanisa eyasooka nabo baali babuulira enjiri eno.

Naye omulabe setaani yateekateeka enkola enkyamu, asobole okuggyawo obulamu mu Kkanisa. Mu mwaka gwa 313 AD (oluvanyuma

Page 12: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

12 Enyanjula

lw’okuggya kwa Kristo) enteekateeka eno yazuulibwa mu teeka eryayisibwa ekkanisa enkatolika e’Milan (eteeka lino lyayitibwa eteeka lya Milan). Mu teeka lino, omuntu yenna eyayiingiranga mu (eyegattanga ku) Kkanisa yalina okubatizibwa. Etteeka lino lya yisibwa abaruumi, kubanga baali b’agala okukuuma amatwaale gaabwe. Eno y’emu ku ngeri amatwale (g’abaruumi) gye gaali gasobola okufugibwa mu bumu n’eddembe. Kale no obufuzzi bwayiingirira eddembe ly’obukristaayo.

Mu mbeera eno ekkanisa ekkanisa mwe yali, mwe twafunira enzikkiriza Y’eniike era ye yasomesebwanga. N’olwekyo, enjiri eri kumulamwa (nga bwe wandiikidwa mu baibuli) – enjiri ey’amazzi n’omwoyo - etuwa ‘amaanyi omwoyo omutukuvu n’obuvvumu obungi’ (1 Abesesalonika 1:5) yakyusibwa ffe netufuna enkyamu. Kino omulabe setaani kye yali ateeseteese, kubanga tewali yali ayinza

kuzaalibwa mulundi gwa kubiri nakulakulana. Okumala emyaka lukumi n’omusobyo

ng’etteeka lino elye’Milan liyisibwa, ekkanisa mubulaaya yayita mu biseera ebizibu. Newankubadde enzikkiriza empya zali zitandikidwawo mu nsi z’ebulaaya (nga abantu babagamba okukomawo ku Kigambo eky’ekisa n’okukkiriza), tewaaliyo kukkiriza kwonna okwali kusomesa ku njiri y’okubatiza n’omusaayi gwa Yesu.

Enjiri eno ey’amazima yakuumibwa nga nnamu okuva kumulemba gw’abatume. Ng’omwala gw’amazzi agakulukuta bwe gubula ate oluvanyuma lw’ekiseera neguzuulibwa nate kukaserengeto, n’enjiri eno ey’amazzi n’omusaayi bweri. Ezuuliddwa nate era kitugwanira okugilangirira mu nsi yonna.

Page 13: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

13 Enyanjula

Kino ky’ekitabo ekisooka, mumulembe guno, okubuulira kunjiri y’okubatiza kwa Yesu nga bwe kwawandiikibwa mu Baibuli.

Kino ky’ekitabo kyolubereberye mu mulembe

guno ekiwandiikiddwa okubuulira enjiri y’okubatiza kwa Yesu nga bwe wandiikiddwa mu baibuli. Enjiri entuufu etugamba nti Yesu Kristo yaggyawo ebibi byaffe byonna okuyita mu kubatiza kwe neyeetikka omusango gw’ebibi byaffe byonna kumusalaba. Nzikkiriza nti teriyo kitabo kirala kyonna kibuulira ku njiri eno ey’amazzi n’omusaayi mubulambulukufu n’obwesigwa nga kino.

Mu nsi yaffe eya leero ejjudde okumanya okwabuli kika ne tekinologiya w’ebyumma bikalimagezi, ngezezaako okunoonya abantu abazudde ekyama ky’okubatiza kwa Yesu naye

nemeddwa. N’olwekyo nsazeewo okukusa ekitabo kino lulungereza (omuwandiisi w’ekitabo kino musumba we’Koleya).

Amataba bwe gajjula negabikka ensi yonna, amazzi gayinza okukulukuta mubuli kifo, naye tegeetaaga kunyweebwa. Mu ngeri y’emu bangi abayitibwa ‘abaweereza ba Katonda’ ababuulira enjiri egezaako okufaanana enjiri entuufu; wabula mu bo temuli ayinza kutuwa bulamu.

Omukazi omusamaliya eyanyweeranga amazzi ku luzzi lwa Yakobo teyasobola kuggyawo ennyonta y’omwoyo ge yali alina. Bwe yannwa amazzi ag’obulamu okuva eri Yesu yafuna obulokozi era ennyonta ye yamuggwako era teyadda nate. Amazzi ag’obulamu bwa Yesu Kristo gakulukutira mu bigambo ebiwandiikidwa mu kitabo kino. Buli anannywa ku mazzi agavaamu analokolebwa emirembe gyonna. Omuntu oyo tabeere muddu wa kibi nate, wabula amazzi amalamu ganaakulukutanga

Page 14: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

14 Enyanjula

okumuvaamu gamuwonye ennyonta awamu n’abo abamulinanye.

Kitugwanira okukyuuka tufuuke abakozi abakolagana ne Katonda; abaddabiriza olutindo.

Tutambula mu nsi eno era tuli mu biseera

eby’enkomerero. Mu biseera ngabino, ekibi mu nsi kiyinze obungi era n’omusango gwa Katonda gunatera okututuukako. Abakuggu mu bya sayansi baasobola okutonda embuzzi (emanyiddwa nga “Dolly”) mu magezi gabwe (nga baziyiza enkola katonda gye yateekawo ku lubereberye ey’okuzaala n’okwaala)! Oluvanyuma lw’obuwanguzi buno abantu nabo basuubibira okukkiriza amagazi gano (nabo bafunenga abanu banabwe abatazaalidwa).

Mu nsi yaffe eyaleero twezimbidde ekiggo (ekifaananako ng;ekya Baberi). Mu ndagaano enkadde abantu bwe bagezako okuzimba ekigo babere bumu ne Katonda, basasanyizibwa mu nsi zonna era Katonda yabawa ennimi ez’enjawulo. Tutuuse mu kiseera eky;okubonabona. Obusungu bwa mukama bunatera okugyga kw’abo bonna abawabye; abatanaba kuzaalibwa mulundi gwakubiri.

N’olwekyo nkusaba owoluganda osome ekitabo kino nga weegendereza. Era nkusabira gwe ozaalibwe omulundi ogw’okubiri mu mazzi n’omwoyo. Kino ekitabo kibuulira enjiri nga bwe yawandiikibwa mu baibuli. Nkakasa nti buli muntu aluubirira okusoma ekitabo kino nakitegeera taleme kuzaalibwa mulundi gwakubiri. Yesu mukama waffe atugamba nti, “…Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe”

Page 15: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

15 Enyanjula

(Yokaana 8:31-32). Owoluganda, nkusabira osobole okumanya n’okutegeera ebigambo by’amazima ebiri mu kitabo kino era osumululwe okuva mu kibi ne mukufa! Nsaba katonda akununula akuwe obulamu obutaggwawo okuyita mu Yesu Kristo!

Kitugwanira okukola omulimu gwa Katonda kitaffe anunule abawabye kubanga tebamanyi njiri y’amazzi n’omusaayi. Nsuubira nti enjiri eno eneeyaka nate mu nsi yonna era nkakasa nti eno enjiri ey’amazima eneddabiriza entindo z’okukkiriza kwaffe abakristayo mu mazima.

“N’abo abaliuvaamu balizimba ebifo eby’edda ebyazika: olizza emisingi egy’emirembe emingi: era oliyitibwa nti muzimbi kituli, muzza wa makubo ga kutuulamu” (Isaaya 58:12).

Ddala nkakasa nti bangi mu mwe abasoma ekitabo kino temumanyinjiri eno ey’ozaalibwa omulundi ogw’okubiri mu mazzi n’omwoyo. Eno y’ensonga lwaki mubuli kubuulira, essira

nditadde nnyo ku kubatiza kwa Yesu n’okuffa kwe kumusalaba.

Okufa kwa Yesu kumusalaba tekwandibadde na makulu gonna gye tuli, singa okubatiza kwe tekwabaawo. Y’ensonga lwaki essira litereddwa kukubatiza kwe (Yesu) emirundi mingi. Njagala buli musomi ategeera ensonga eno okutuusa nga muwereddwa omukisa n’enjiri y’amazzi (okubatiza kwa Yesu) n’omwoyo.

Nsuubira nti mwenna munakkiriza mu njiri y’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi musobile okulokolebwa okuva mu kibi. Nkakasa nti kino ekitabo kinakuluŋŋamya mu kkubo ery’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri mu mazzi n’omwoyo.

Page 16: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ COVER PAGE ►

Ebirimu Ekituundu Ekisooka—Okubuulira 1. Tulina okusooka okumanya ekibi

mu ffe tulyoke tununulibwe (Makko 7:8-9, 20-23) -------------------------- 17

2. Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

(Makko 7:20-23) -------------------------------- 34 3. Ebintu byetukola bwe’tubikola ku

lw’amateeka tununulibwa? (Lukka 10:25-30) ------------------------------- 46

4.Obununuzi obw’olubeerera

(Yokaana 8:1-12) ------------------------------- 69 5. Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango

gw’ebibi (Matayo 3:13-17) ------------------ 100

6. Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi,

Omusaayi n’Omwoyo. (1 Yokaana 5:1-12) --------------------------- 150

7. Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi

(ky’ekyokulabirako) Eri abononyi. (1 Peetero 3:20-22) --------------------------- 182

8. Enjiri y’okutangirira okungi

(Yokaana 13:1-17) ---------------------------- 200 Ekituundu eky’okubiri—Eby’enkomerero 1. Obujulizi bw’Obulokozi ---------------------- 256 2. Eby’okunnyonyola ebirala ------------------- 275 3. Ebibuuzo n’Ebyokuddamu ------------------- 308

Page 17: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 1

Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe

tulyoke tununulibwe

Page 18: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

18 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

< Makko 7:8-9 > “‘Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata

obulombolombo bw’abantu. N’abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe.’”

< Makko 7:20-23 >

“N’agamba nti Ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. Kubanga munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvoozi, amalala, obusirusiru: ebibi

ebyo byonna biva munda ne byonoona omuntu.’”

Okusookera ddala, njagala okunyonyola

amakulu emabega we kigambo “ekibi”. Ekibi kye ki? Waliwo ebibi ebinyonyolebwa Katonda, ate n’ebyo ebinyonyolebwa abantu. Ekigamo “ekibi”, kiva mu eky’oluyonaani “hamartia.” kitegeeza okusobya. Bwetugana okukola ebiragiro bya Katonda tuba, tusobezza era kiba kibi. Katusooke twekkenenye engeri ffe abantu gye tulabamu ekibi.

Ekibi kye ki?

Kwe kugana okugondera ebiragiro bya Katonda.

Wabula endaba eyobuntu (endaba

yaffegyetulabamu ekibi ekibi) yanjawulo. Endaba yange ey’ekibi teyawukana n’endaba y’omuntu

Page 19: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

19 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

omulala. Enjawulo eno ebaawo, kubanga Ensibuko zaffe abantu zanjawulo, embera ezitwetolode teziffanagana, ate n’entegeera y’abantu yanjawulo.

N’olwekyo, enyinyonyola y’ekibi eyawukana mu Bantu. Ekikowa ekimu kiyinza obutalabika (obutatwalibwa) nga kibi okusinziira ku mutindo oba ku nnono omuntu zalina mu bulamu bwe. Eno y’ensonga lwaki Katonda atuwade ennono 613 ezamateeka okukozesebwa ng’omutindo gwekumanyirako ekibi.

Ekyokulabirako kino wammanga kitulaga ebibi byaffe abantu.

Amateeka ga Katonda

Entegeera y’omuntu, N’empisa.

Amateeka g’eggwanga, n’obuwangwa.

Ffe nga abantu tetulina kugera mutindo gwa kibi nga tusinziira ku kutegeera kwaffe ne mu n’eyisa yaffe oba mu mpisa.

Ebibi byaffe abantu ebisibuka mu ntegeera yaffe tebikwatagana n’ekyo Katonda kyayita ekibi. Kulwensonga eno, tetuteekwa kuwuliriza “ntegera” zzaffe, wabula emitindo gy’ekibi tulina okugyimanya n’o kujiraba nga Katonda bwagiraba. (Mu mateeka gge).

Buli omu kuffe alina endowooza ye gyalaba era gyamanyi ekibi. Abamu ekibi bakiraba nga okuwaba kwabwe ng’abantu, ate abalala ekibi bakitwala okuba empisa z’abantu enkyamu.

Ekyokulabirako: mu Korea abantu babikka entaana z’abazzadde babwe n’essubi (wadde nga tebanaffa); ate n’ebavunaanyizibwa okubalabirira. N’era ekika ekimu mu Papua New Guinea kirina ennono ey’okussa ekitibwa mu bazaddee babwe abaffa; balya omubiri gwabwe awamu n’abeŋanda zzabwe (si kakasiza ddala oba

Page 20: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

20 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

ennyama eno bagifumba nga tebanaba kugirya). Nzikiriza tebayagala bazzadde babwe kuliibwa nvunuju. Eby’obuwangwa bino biragira ddala endowooza n’entegeera ez’enjawulo abantu zetulina eri ekibi.

Ekikolwa ekyomuwendo mu kika, ekimu kirabibwa nga ekikolwa eky’ekivve mu kika ekirala. Wabula, Bayibuli etulabula nti kitugwanira okugondara amateeka ga Katonda.

“‘Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw’abantu. N’abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe’” (Maako 7:8-9).

Endabika yaffe wabweeru (kungulu) si ya muwendo mu maaso ga Katonda, kubanga Katonda atunuulira ddala wansi kuntobo y’emitima gyaffe.

Omuntu kyatalina kubuusa maaso ky’ekibi mu maaso ga Katonda

Kibi ki ekisinga obunene?

Kwe kunyoma n’obutagondera Kigambo kya Katonda.

Kibeera kibi mu maaso ga Katonda bwetugana

okukkiriza okwagala kwe. Kyenkana n’okugana okukkiriza mu kigambo kye. Katonda yagamba nti kyali kibi (era kikyali kibi) okubeera nga abafalisaayo (n’okweyisa nga bbo), kubanga tebagondera mateeka ge. Mukifo ky’okugonda, essira balissa ku kusomesa kwabwe kwe beevvumbulira so si mu Katonda kyayagala. Yesu bano abafalisaayo yabayita bananfuusi.

“Katonda ki gwo’kkiriza? Mazima ddala Katonda omuwa ekitibwa era omusuuta?

Page 21: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

21 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

Wewaawo wenyumiriza mu linnya lye: naye ddala Katonda omusaamu ekitibwa?” Abantu batunula kungulu nebatassaayo mwoyo eri ekigambo kya’Katonda. Ekibi ekisingira ddala obunune kwe kunyoma, n’obutagondera kigambo kyakatonda. Kino obade okimanyi?

Ebikolwa ebikyamu mu ffe by’ebyo ebyasibuka mu Adamu, ku lunaku luli lwe yayonoona n’agwa. Ebibi bye tukola n’obukyamu bwe tukola, kubanga tetutuukiridde kubeera kuwaba. Abo abagana ekigambo kya Katonda nabo bonoonyi: newankubadde nga tebalina kibi kyonna, abatakkiriza kigambo kya Katonda babeera bonoonyi mu maaso ge. Eno y’ensonga lwaki Yesu yanenyanga abafalisaayo.

Mu Pentateuch (Ebitabo ebitaano ebya’bayibuli ebisooka), mu wandiikiddwamu amateeka agatulaga eky’okukola n’ekyokuleka. Ago ge mateeka ge. Wewaawo tuyinza obutaba nabusobozi obugakuumira ddala gonna; naye ate

tulina okugalaba nga amateeka ga Katonda. Okuva kuntandikwa Katonda agatuwade era tulina okugakkiriza ng’ekigambo kye.

“Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda.” Katonda n’agamba, “Wabeewo ekitangaala, era ne wabaawo ekitangala.” Yatonda ebintu byonna. Oluvanyuma n’assawo amateeka.

“Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera muffe” (Yokaana 1:1, 14). Kakono Katonda atulabikidde. Naye akulabikidde atya? Atulabikidde okuyita mu mateeka ge, kubanga Katonda ye Kigambo era ye Mwoyo. N’olwekyo Bayibuli kye tuva tujituuma ekigambo kya’Katonda.

It Muno mu Bayibuli muwandikidwa nti, ‘Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw’abantu. N’abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe.’

Mulimu ennono 613 ez’Amateeka mu Bayibuli.

Page 22: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

22 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

Kola kino, naye tokola kiri…, ossangamu Bakadde bo ekitiibwa… nebirala. Mu bya’Baleevi, tusoma kungeri abasajja n’abakazi gyebalina okweyisamu ng’ensolo egudde mu kkinya… Amateeka amalala nga 613 gawandiikiddwa mu ndagaano enkadde.

Ebigambo ebiwandiikidwa mu Bayibuli si bya’ bantu n’olwekyo tulina okubirowozaako buli kiseera. Newankubadde ffe mu buntu tetuyinza kukuuma mateeka gonna, tulina wakiri okugakkiriza ate n’okugondera Katonda.

Waliwo ekitundu kyonna ekyawandikibwa mu kigambo kya Katonda ekikyamu? Abafalisaayo banyoma amateeka ga Katonda nebatwala ennono z’abantu okulabika nga ez’omuwendo ogusukkuluma ku mateeka ga’Katonda. Yesu bwe yali ku nsi, kino kye yajulira, era ekyasinga okumukosa (okumulima) kwe kunyoma abantu kwe baali balina eri ekigambo kya’Katonda.

Katonda atuwadde ennono zino ez’amateeka 613 tusobole okulaba obubi bwaffe, era atulage nti ye ge

Mazima. Fenna tuli bonoonyi mu maaso ge. Tulina okutambulira mu bulamu bunno lwa kukkiriza ate ngatukiriza mu Yesu eyatuweebwa Katonda Kitaffe kulw’okwagala okungi kwalina gyetuli.

Abantu abanyooma ekigambo kya Katonda n’ebagaana okukikkiriza bonoonyi. Abo abatasobola kukikuuma n’okukissa munkola nabo bonoonyi. Wabula abanyoomi b’ekigambo bo balina ekibi ekinene. Abantu bwebatyo enkomerero yabwe eri mu geyena. Obutakiriza mukugambo kya Katonda ky’ekibi ekisinga obunene mu maaso ge (Katonda).

Lwaki Katonda yatuwa amateeka

Lwaki Katonda yatuwa Amateeka?

Tusobole okulaba ebibi byaffe N’ekibonerezo

ekitegekeddwa kulwaffe.

Page 23: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

23 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

Lwaki Katonda yatuwa amateeka? Yatuwa amateeka tusobole okulaba ebibi byaffe tutere tumudire. Yatuwa amateeka 613 tusobole okulaba ebibi byaffe era tununulibwe okuyita mu yesu kristo. Eyo yemu kunsonga lwaki katonda yatuwa amateeka.

Mu bbaluwa eri Abaruumi 3:20 tusoma nti, “Kubanga olw’ebikolwa by’amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.” N’olwekyo tumanyi nti katonda teyatuwa mateeka kutukaka tugatambulilemu (teyagatuwa ffe tubeere nga abalagidwa okugakuuma n’okugatambulilamu).

N’olwekyo tumanyi nti katonda teyatuwa mateeka kutukaka tugatambulilemu (teyagatuwa ffe tubeere nga abalagidwa okugakuuma n’okugatambulilamu).

Kakano bwetumanya amateeka tuganyulwamu ki? Ensonga y’eno: ffe abantu tuli banafu nyo

okutuukiriza ateeka gonna mubulambulukufu bwaago ate tuli nabonoonyi mumaaso ge. Kiki kyetuyigamu mumateeka gano 613? Tulaba okukyama kwaffe n’obunafu bwaffe nti tetusobola kubeerawo, n’okatambulira mu mateeka ge. Tuyiga nti ffe abatondebwa mukifananyi kya Katonda, tuli bonoonyi ddala mu maaso ge; era enkomerero yaffe, okusinzira kumateeka ge, geyena.

Bwetumanya ebibi byaffe n’obunafu bwaffe nti tetuyinza kutambulira mu mateeka ge; kiki kyetulina okukola? Tugezaako mu maanyi gaffe okufuuka abatuukilivu? Nedda, tulina okukkiriza nti tuli bonoonyi, tukkirize Yesu tununulibwe mubulokozi obuli mu mmazzi n’omwoyo era tumwebaze.

Ensonga lwaki twawebwa amateeka yali kutusobozesa okukkiriza ebibi byaffe n’okumanya ebibonerezo ebitutegekedwa. Tulaba era tumanyi nti obulokozi tebusoboka awatali

Page 24: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

24 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

Yesu Kristo. Bwe tukkiriza mu Yesu Kristo ng’omulokozi waffe, tununulibwa. Katonda yatuwa amateeka galyoke gatulunŋŋamye eri omulokozi Yesu.

Katonda yaleeta amateeka tusobole okulaba obubi bwaffe, era asobole okulokola ememe zaffe okuva mu kiibi. Yatuwa amateeka era natuwa omwana we Yesu okutulokola. Yesu y’agyawo ebibi byaffe byonna okuyita mukubatizibwa kwe; bwetumukkiriza tulokolebwa.

Tuli bonoonyi abatalina suubi era tulina okukkiriza Yesu tufuuke abaana be ne Katonda tumuwe ekitiibwa kye. Ffe abantu tulina okutegera, okumanya n’okufumitirizanga mukigambo kya Katonda, kubanga buli kintu kisibuka mu ye era tulina n’okutegeera amazima agali mu kununulibwa okuli mu kigambo kye. Kuno kwe kukkiriza okutuufu era okwamazima.

Kiki ekiri mu mutima gw’omuntu?

Kiki kyetulina okukola Mu maaso ga Katonda?

Tulina okukkiriza ebibi byaffe

Tusabe Katonda atulokole. Okukkiriza kulina okuva mu kigugambo kya

Katonda. Naffe kitugwanira okukkiriza Katonda nga tuyita mu kigambo kye. Bwe tugana okukkiriza tutyo, tuwaba era tukyaama. Okwo kwekukkiriza okukyamu era okutali kwa mazima.

Abafalisaayo n’abasadukaayo, bwe balaba abayigirizwa ba Yesu nga balya emigaati n’engalo ezidugala babanenya. Kino tekyandibadde bwe kityo singa ekikolwa kyabayigirizwa, kyalabibwa nga Katonda bwa kyagala (nga bwakiraba mu kigambo kye). Bayibuli etugamba nti buli kintu omuntu

Page 25: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

25 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

kyayingiza okuva ebweru (ekiyita mukamwa) si kyekimwonona, kubanga kiyita mu lubuto n’ekifuluma omubiri nga omutima tegukosedwa. Nga bwe kyawandiikibwa mu Makko 7:20-23, “N’agamba nti ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. Kubanga munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusirusiru: ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.”

Yesu yagamba nti abantu bonoonyi kubanga bazaalibwa n’ekibi. Kino omanyi kye kitegeeza? Kitegeeza nti twazaalibwa tuli bonoonyi kubanga tuva mululyo lwa Adamu. Naye ate naffe tetusobola kulaba mazima, kubanga tetukkiriza kigambo kye mubujjuvu. Kiki kaakano ekiri mu mutima gw’omuntu?

Ekitundu kyetusomye mu makko kigamba nti, “mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo

ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusirusiru.” Buli kika ky’ekibi n’ekyobugwenyufu kyonna kiva mu mitima gy’abantu ne kibonoona.

Kiwandiikiddwa mu zabbuli nti, “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, Omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, oba omwana w’omuntu ggwe okumujjira?” (zabbuli 8:3-4)

Lwaki ye katonda mwene atukyalira? Katonda atukyalira, kubanga atwagala.Ye yeyatutonda natusasira ffe abonoonyi. Yajjawo ebibi byaffe byonna n’atufuula abantu be. “Ayi Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!”

Zabbuli eno mu ndagaano enkade yayimbibwa kabaka Daudi bwe yazuula nti Katonda y’alilokola abonoonyi. Omutume Pawulo mu ndagaano empya yaddamu okwogera ku Zabbuli eno. Mazima ddala kya kyewuunyo nti ffe,

Page 26: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

26 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

abatondebwa Katonda, tusobolera ddala okufuuka abaana be. Kino tukifuna kubanga Katonda yatusaasira. Kuno kwe kwagala kwa Katonda.

Tulina okumanya nti kubeera kusomooza kwamanyi nnyo eri Katonda, bwe tugezaako nga abantu okutambulira mu mateeka ge. Era bwe tweyongera okutambula bwetutyo, tubeera tutambulira mu butamanya n’amalala. Tubeera bakyaamu kubanga tuba tusazeewo okutambulira wabweeru w’okwagala (omukwano) Katonda kwalina gye tuli kyawandikibwa mu Makko nti 7:20-23, “ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. Kubanga munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusirusiru: ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.”

Yesu yagamba nti ebiva mu muntu bye

bimwonoona. Emere etali nnongoofu Katonda gyatuwa tesobola kutwonoona. Buli kitonde kirongoofu naye ebyo byokka ebisubuka mumuntu, ebibi bye bitwonoona netubeera abatali balongoofu. Fenna tuva mu lulyo lwa Adamu. N’olwekyo, twazaalibwa naki? Twazalibwa n’ebika kuminabibbiri eby’ekibi. Kino si kituufu?

Kakano, tusobola okubeerawo nga tetwonoonye n’akamu? Nedda, tujja kweyongera okwonoona, kubanga twazaalibwa n’ekibi. Tusobola okulekeraawo (okukoma) okwonoona, kubanga tumanyi amateeka? Tusobola okutambulira mu mateeka ago? Nedda.

Gyetukoma okugezaako okutambulira mu mateeka, gye tweyongera okufuna obuzibu mu kugatuukiriza. Tulina okumanya obunafu bwaffe era n’okwewals twewale endowooza enkadde ezitukuumira mu mateeka. N’emitima emikkakkamu, tusobola okukkiriza mu kubatiza

Page 27: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

27 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

kwa Yesu n’omusaayi gwe. Ebyo bye bisobola okutanaazako ebibi n’okutulokola.

Ennono z’amateeka 613 nnungi era z’abwenkanya. Wabula abantu bakyali bonoonyi okuva kulunaku lwebazaalibwa. Bwe tumanya nti amateeka ga Katonda matuufu, naye ate nti naffe nti tuli bonoonyi abatayinza kufuuka batuukirivu ku lwaffe, tumanya obwetaavu bw’okusasira n’ekisa kya Katonda awamu n’obununuzi bwa Yesu okuyita mu njiri eya mazzi, omusaayi n’omwoyo. Bwe tumanya obunafu bwaffe (nti tetuyinza kufuuka batukirivu ku lwaffe, era nti twolekede gyeyeena) tulina okukkiriza mu kununulibwa kwa Yesu.

Ffe tusobola okununulibwa. Tulina okumanya nti kulwaffe tetusobola kubeera batuufu oba balungi mu maaso ga Katonda. N’olwekyo, tulina okukkiriza nti tuli bonoonyi abolekede omuliro gwa geyena, ate tusabe Katonda ow’okusasira nga tugamba nti, “ayi Katonda nkwegayiride

ndokola onzijjeko ebibi byange era onsasire”. Olwo, Katonda anatusisinkana nga byange mu Kigambo kye. Eno y’engeri gye tuyinza okununulibwaamu. Tusome essala ya Dawudi mu Zabbuli. “Onsasire, ai Katonda mu kisa kyo; mu bungi bw’okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.” (Zabbuli 51:4).

Dawudi yamanya obwonoonefu bwe yalimu, yali naye ayolekede geyena, wabula yakkiriza ensobi ze bwe yali mu maaso ga Katonda. Essala ye yafananako ng’eno; “Mukama, bw’oba ompita mwonoonyi, wewaawo oli mutuufu ddala ndi mwonoonyi, bw’oba ompita mutukirivu, wewaawo ndi mutuukirivu. Bw’ondokola, mazima nalokolebwa; era bw’onontwala mu geyena, enkomerero yange eneeba geyena”. Kuno kwe kukkiriza okutuufu era en’endowooza gyetutasanide okubeera nayo bwetuba twagala okulokolebwa. Bwetutyo bwe tulina okulowooza bwe tuba tusuubira okukkiriza mu kununulibwa kwa Yesu.

Page 28: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

28 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

TULINA OKUMANYIRA DDALA EkIBI MU FFE BWEKIRI

Kubanga fenna tuva mu lulyo lwa Adamu,

tulina okwegomba okubi mu mitima gyaffe. Wabula Katonda atugamba ki? Atugamba nti toyeendanga; wadde tweenda mu mitima gyaffe. Tutta mu mitima gyaffe, naye Katonda atugamba ki? Atugamba nti totanga. Bakadde baffe tetubasaamu kitiibwa mu mitima gyaffe, naye atulagira tubassemu ekitiibwa. Ekigambo kya Katonda kituufu era kirungi, wabula ffe fenna tulina ekibi mu mitima gyaffe.

Kino kituufu oba kikyamu? Kino kituufu ddala. N’olwekyo, kiki kye tulina okukola mu maaso ga Katonda? Tulina okukkiriza nti fenna tuli babi abatalina suubi. Kibeera kikyaamu nnyo okulowooza nti tuli batukirivu, kubanga tetwayononye jjo. Era kibeera kikyamu okulowooza nti tuli bonoonyi leero, kubanga

twonoonye leero. Tuzaalibwa tuli bonoonyi. Ffe buli kye tukola mu buntu, tekisobola kujjawo bwonoonefu bwaffe. Eno y’ensonga lwaki tulina okununulibwa nga tuyita mu kukkiriza mu kubatizibwa kwa Yesu.

Tetuli bonoonyi olw’ebibi byetukola ng’okutta, okwenda, okubba n’ebirala. Tuli bonoonyi, kubanga twazaalibwa ng’abonoonyi. Twazaalibwa n’ebika by’ebibi kumi nabibbiri ate engeri gye twazaalibwa nga’bonoonyi mu maaso ga Katonda, tetuyinza kufuuka balungi mu maanyi gaffe. Bwetufuba bwetutyo tubeera bananfuusi.

Twazaalibwa n’endowooza enyononefu, n’olwekyo tusobola tutya okubeera abatuukirivu ng’ate tetukola bikolwa bibi? Tetulibeera batuukirivu mu maaso ga Katonda mu maanyi gaffe. Bwetugamba nti ffe nga Bantu kulwaffe, tuli batuukirivu obwo bunanfuusi. Yesu abafalisaayo, n’abasadukaayo yabayita

Page 29: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

29 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

“abananfuusi abafalisaayo n’abasadukaayo”. Abantu twazaalibwa ng’abonoonyi era twonoona obulamu bwaffe bwonna.

Buli agamba nti talwanangako, oba tabbangako mu bulamu bwe alimba, kubanga ffe abantu mubutonde, tuli bonoonyi. Omuntu bwatyo munanfuusi. Newankubadde omuntu agezezaako okukuma amatteka asigala ng’akyali mwonoonyi era ayolekedde geyena.

Buli agamba nti talwanangako, oba tabbangako mu bulamu bwe alimba, kubanga ffe abantu mubutonde, tuli bonoonyi. Omuntu bwatyo munanfuusi. Newankubadde omuntu agezezaako okukuma amatteka asigala ng’akyali mwonoonyi era ayolekedde geyena.

Kakano tukole tutya? Tulina okusaba ekisa kya Katonda era tumwesige tulyooke tulokolebwe. Bwetutalokolebwa awo tunaba twolekedde geyena. Abo bokka abakkiriza ekigambo kya Katonda bebamanya nti ddala bbo

bonoonyi. Era bebamu abamanya nti bafuuka batuukirivu lwa kukkiriza; kale bamanyi nti okunyooma n’obutamanya kigambo kya Katonda kibi kinene. Abo abakkiriza ekigambo kye batuukirivu, wadde edda baali bonoonyi. Bazaalibwa natte mu kigambo kya Katonda ne mu kisa kye era baweredwa omukisa.

ABO ABA’GEZAAKO OKUNUNULIBWA NGA B’ESIGA EBIKOLWA BYABWE BAKYALI BONOONYI

Abonoonyi be b’ani, wadde nga bamazze okukiriza Yesu?

Abo abagezaako okununulibwa nga besiga ebikolwa byabwe.

Mu Baggalatiya 3:10 ne 11 kyawandiikibwa

Page 30: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

30 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

nti, “kubanga bonna abayima mu bikolwa by’amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka, okubikolanga. Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza;”

Kywawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka, okubikolanga.” Abo abalowooza nti bakkiriza mu Yesu Kristo naye ne bagezako okwetukuza nga bayita mu bikolwa ebirungi, bakolimiddwa. Bani abo abagezako okufuna obutuukirivu nga bayita mu kikolwa byabwe? Abo bali wansi w’ekikolimo kya Katonda.

Lwaki Katonda yatuwa amateeka? Yatuwa amateeka tusobole okumanya obubi bwaffe (Abaruumi 3:20). Era yayagala tumanye nti enkomerero y’abonoonyi geyena. Kkiriza mu

kubatiza kwa Yesu, omwana wa Katonda. Kkiriza ozaalibwe omulundi ogw’okubiri mu mazzi n’omwoyo. Olwo onolokolebwa okuva mu bibi byo. Onofuuka omutuukirivu era onofuna obulamu obutagwawo ogende mu gulu. Beera n’okukkiriza mu mutima gwo.

Ekibi ekisiinga okulabisibwa (okumanyibwa) n’amalala

Kibi ki ekisiinga okumanyibwa Ng’ekileetebwa amalala?

Kwe kugezaako okutambulira mu mateeka.

Bwe tubeera n’okukkiriza mu mukisa gwa

Katonda, ffe tuba tuweereddwa omukisa. Katonda alokola abo abakkiriza mu kigambo kye. Enaku zino,

Page 31: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

31 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

mu ffe abakkiriza, mulimu abakristaayo abagezaako okutambulira mu mateeka, naye kino kisoboka kitya?

Tulina okumanya nti tekigasa nakamu okugezaako okutambulira mu mateeka. Gye tweyongera okufuba kulwaffe nga tugatambuliramu, naffe kibeera kituzibuwalira okugatuukiriza. Kyawandikibwa nti, okukkiriza kujja nga tuwulirizza ekigambo kya Katonda. N’olwekyo, twetaga okuleka, n’okweyambulako amalala tulyoke tulokoke.

Tulina okuleka emitiindo gyaffe egy’obuntu tulokolebwe

Kiki kyetulina okuleka naffe tulokolebwe?

Emitiindo, n’ebipimo byaffe Eby’obuntu.

Omuntu alokolebwa atya? Okuggyako ng’omuntu akimanyi nti mwononyi era yeetaga omulokozi, tasobola kulokolebwa. Waliwo bangi abatanaba kununulibwa, kubanga tebasobola kweyambulako ndowooza, n’enzikkiriza zzabwe enkyamu awamu n’okufuba kwabwe okukyamu.

Katonda atugamba nti abo abanyweeza amateeka bakolimiddwa. N’abo abasuubira okuyita mu mitendera egy’okukola ebikolwa ebirungi, balyoke bafune obutukirivu bakolimidwa. Wewaawo bakkiriza mu Katonda naye balowooza nti balina okutambulira mu mateeka balyoke balokolebwe.

Ab’emikwano tusobola okufuna obutuikirivu nga tukoze ebikolwa ebirungi? Nedda, tufuuka abatuukirivu nga tukkiriza ekigambo kya Yesu, olwo naffe tunanunulibwa. Bwe tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe, era ne tukkiriza mu bujjuvu bwa Katonda (Katonda kitaffe, omwana, n’omwoyo omutukuvu)

Page 32: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

32 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

tununulibwa. Eno yensonga lwaki Katonda atutegekeddewo

eteeka lyo’kukkiriza nga ekkubo lye tuyinza okuyitamu okufuuka abatuukirivu. Okununulibwa amazzi n’omwoyo tekulina musiinji n’akamu mu bikolwa by’abantu, wabula omusiinji guli mu kukkiriza kigambo kya Katonda. Katonda yatununula lwa kukkiriza. Bwatyo bwe yamaliriza enteekateeka ye ey’okutununula.

Lwaki abo abakkiriza mu Yesu Kristo tebaanunulibwa?

Kubanga tebakkiriza mu kigambo ekinunuzi eky’amazzi n’omwoyo. Naye ffe abatatuukiridde nga bwe tuli, tununuliddwa okuyita mu kukkiriza kwe tulina mu kigambo kya Katonda.

Eky’okulabirako: Bwe wabaawo abantu babiri abakola ku lubengo omu n’agenda omulala asigala akola, newankubandde munne amuleseewo. Oyo alekedwa ku lubengo atulaga

ekifananyi ky’oyo omuntu atanaba kununulibwa. Lwaki omu yatwalibwa omulala n’alekebwa emabega?

Eyatwalibwa yagenda, kubanga yawuliriza era n’akiriza ekigambo kya Katonda; wabula ow’okubiri yakola nyo okukuuma amateeka naye enkomerero ye yali mu geyena. Omuntu oyo yali agezako okwenunula ng’adda eri Katonda, naye Katonda yamunnyenya namuvaako (teebereza omuntu nga yeewalula nagezaako mu manyi ge okudda eri Katonda) enkomerero ye yali geyena. Eno yensonga lwaki tulina okununulibwa nga tukkiriza mu mazzi n’omwoyo.

“Kubanga bonna abayima mu bikolwa by’amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka, okubikolanga. Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu

Page 33: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

33 Tulina okusooka okumanya ekibi mu ffe tulyoke tununulibwe

banaabeeranga balamu lwa kukkiriza;” “Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza:nga bwe kyawandiikibwa nti naye omutuukirivu anabaanga mulamu lwa kukkiriza” (Abagalatiya 3:10 -11 n’Abaruumi 1:17).

Bwe tugana okukkiriza ekigambo kya Katonda tubeera bonoonyi. Ate era kibeera kibi bwe tunnyoma ekigambo kya Katonda. Mukifo ky’okukisukkulumya, twenyumiriza mu mitiindo gyaffe ng’abantu. Ffe abantu tetuyinza kutambulira mu mateeka, kubanga fenna twazaalibwa tuli bonoonyi era twonoona. Tuyinza okwonoona akatono wano, wali na buli wetugenda. Tukimanye nti ffe abantu tuli mu mubiri era tetuyinza kweyamba mu manyi gaffe okwewala kibi.

Eky’okulabirako: Omuntu afanana nga baketi ennene ejudde ebijimusa. Bwe tugezaako okujitwala wonna wetwagala, ejja kwonona

ekkubo n’ekifo kyonna ky’eyisibwamu. Naffe bwetutyo bwetubeera. Tugenda tusuula ebibi buli gye tuba tugenze. Ekyo osobola okukiteebereza owoluganda?

Osobola okukkiriza kakati nti oli mutukuvu? Siinga wali wemanyidde ddala, wandirese okugezaako okufuba okubeera omutukuvu era wandikkiriza mu njiri y’amazzi n’omusaayi gwa Yesu? Abo abatanaba kuzaalibwa natte, balina okweyambulako obujjeemu bakkirize nti bonoonyi ddala mu maaso ga Katonda. Era balina okukkiriza ekigambo kya Katonda bazule era bamanye nti Katonda yabalokola n’amazzi n’omwoyo.

Page 34: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 2

Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

Page 35: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

35 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

< Makko 7:20-23 > “N’agamba nti ekiva mu muntu, kye

kyonoona omuntu. Kubanga munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusirusiru: ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.”

Abantu babuzabuziddwa era batambulira mu kufumitiriza kwabwe okukyamu.

Ani ayinza okulokolebwa?

Oyo eyeraba ng’omubi asinga. Okusokera ddala nandiyagadde okutandika

nga nkubuuza ekibuuzo kino. Weraba otya? Olowooza oli mubi oba oli mulungi? Kiki kyolowooza?

Abantu bonna batambulira mu ndowooza zabwe eziwabya. Oyinza okuba nga toli mubi nga bw’obade olowooza, oba nga toli mulungi nga bwobade olowooza. Ani, kakano, gw’osubira okuba ng’atambulira mu bulamu obulungi obw’okukiriza? Y’oyo eyeraba era eyerowoozaako ng’omulungi? Oba oyo eyeraba neyerowoozako ng’omubi? Y’oyo eyeraba

Page 36: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

36 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

neyerowoozaako ng’omubi. Kankubuzeeyo ekibuuzo ekirala. Ani, ku bano

ababiri, ayinza okununulibwa? oyo azziza emisango emingi era alina ebibi ebingi, oba oyo azziza obusango obutono ng’alina obubi butono? Ddala y’oyo azziza emisango emingi era alina ebibi ebitabalika. Oyo asobola okununulibwa, kubanga akkiriza nti ye mwonoonyi asingirayo ddala. Omuntu bwatyo asobola okukkiriza ekigambo ky’okunnunulibwa Yesu kyamutegekedde.

Mazima ddala bwe twetunulira munda muffe, tumanya nti tujjudde ekibi. Ffe abantu tuli ki? Omuntu tuli “nsigo y’ababi.” Mu Isaaya 59, kiwandikidwa nti buli kika ky’ekibi kiri mu mutima gy’abantu. N’olwekyo, kikakasibbwa nti abantu bajjudde ekibi; abasinga bakiwankanya. Naye okunyonyola kw’omuntu mu bayibuli nga bwali “ensigo yabakozi b’ekibi” kwe kunyonyola okutuufu. Amazima gali nti bwe twetunuulira ffe, kya lwatu nti tuli bonoonyi. Abo abetunuulira

n’ebezuula era ne bamanya amazima nti bonoonyi baba b’amazima.

Naye oluusi abantu bagaana okukkiriza nti bajjude ekibi. Abalala batambulira mu bulamu obwokumuseetwe, era teberaba ng’abonoonyi, kubanga fenna tuli bonoonyi: tutonzewo omulembe omwononefu. Singa kino tekyali kituufu, okwonoona kwandibadde kutuswaza. Wabula bangi mu ffe tetuswaala wadde nga twonoona.

Entegeera yaffe emanyi (omuntu owo’munda amanyi). Buli muntu alina entegeera. Eno ye’mugamba nti ‘kiswaza.” Adamu ne Kaawa bekweeka mu miti oluvanyuma lw’okwonona. Mu naku zino, abonoonyi bangi bekweka emabega w’ennono - ennono yaffe ey’ekibi. Bekweka mu bonoonyi banaabwe balyoke bewale okulamula kwa Katonda.

Abantu balimbibwa n’endowooza enkyamu. Berowoozako nnyo okubeera ab’omwoyo enyo

Page 37: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

37 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

okusinga abalala. Bwe bawulira amawulire amabi ku muntu munabwe bakaabira wagulu mu busungu nti; “omuntu ono asobola atya okukola ebintu bwebityo?” Bbo benyini bakkiriza nti tebandikoze bintu ng’ebyo.

Ab’emikwano abagalwa, kizibu nnyo omuntu okwemanya. Okusobola okwemanya ffe ng’abantu (sekinoomu) tulina okujibwaako ekibi. Ffe abantu kitutwalira ekiseera kiwanvu okumanya engeri omuntu gye yeyisaamu. Kino abamu kitutwalira ekiseera kiwanvu nnyo. Wemanye

Abantu abatemanyi baberawo batya?

Obulamu bwabwe bwa kinanfuusi babeera bagezaako okwekweka

obubi bwabwe.

Oluusi tusisinkana abantu abatemanyiddeko ddala. Omufilisoofu Socrates yagamba nti, “wemanye”. Abasinga muffe tetumanyi kiri mu mitima gyaffe: Okkutta, okubba, okwegomba okubi, obukaba, obulimba, obwononefu, nebirala.

Oyo atemanyi alina obusagwa bw’omusota, naye akamwa ke kogera birungi byerere. Omuntu ono ajjudde obusaggwa, kubanga tamanyi nti yazaalibwa nga mwonoonyi; era tasobola kukyebeera.

Abantu bangi mu nsi muno tebemanyi ddala nga bwe baazalibwa. (tebamanyi kiri mu mitima gyabwe.) Basazewo okwerimba era enkomerero ya byonna obulamu bwabwe buzingidwa mu bulimba bwerere. Tebamanyi nti enkomerero y’okwerimba kwebalimu eri mu geyena.

Page 38: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

38 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

Abantu b’ongerera ddala okusasaanya ekibi mu bulamu bwabwe

Lwaki abantu bagenda mu geyena?

Kubanga abantu tebamanyi.

Katusome Makko 7:20-23. “N’agamba nti

ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. Kubanga munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusirusiru: ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.” Emitima gy’abantu gijjudde ebirowoozo ebibi. Bwekityo bwe kiri okuva kukuzaalibwa kw’omuntu.

Katutebereze nti omuntima gw’omuntu gulinga endabirwamu okuva ku ntobo okutuuka

wagulu (gilasi). Tutebereze nti gilasi eno ejjuzibbwa amazzi agaddugala. (ekifananyi ekiraga ekibi muffe). Kale kiki ekyandibadewo singa omuntu ono anyenyezebwa mu maaso n’emabega? Amazzi gano amabi (ekibi) gandiyiise n’egasasaana buliwamu. Omuntu ono ng’atambula, ekibi, kyandibadde kiyiika mu buli kifo ky’ayitamu .

Naffe, abajjude ekibi, bwe tutyo bwe tutambula mubulamu bwaffe. Tusasanya ekibi buli we tugenda. Era tuja kweyongera okwonoona, kubanga tujjudde ekibi. Ekizibu kyaffe kiri mu butamanya nti tujjudde ekibi, nti tulina ensigo z’ekibi. Okuva lwe twazalibwa, tulina ekibi mu mitima gyaffe.

Ekibi muffe kirinze kusasaanizibwa. Wabula, abantu tebakkiriza nti ddala ekibi mu bbo kya nsikirano. Balowooza nti abantu abalala be babawaliriza okwonoona, n’olwekyo bbo si be babi. Era wakati mu kikolwa eky’ekibi abantu

Page 39: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

39 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

balowooza nti ekyetagisibwa kirikimu kwenaaza n’okwetukuza, olwo ekibi kiryoke kigibwewo. Balowooza nti omusango sigwabwe, era nti tegubasiinze. Bwe twetukuza ne twerongoosa, olowooza nti tetewyongeerenga kusasaanya kibi ekiri muffe? Nedda, era tujja kuba tulina okuddamu okwetukuza naffe.

Emitima gyaffe, nga gilasi ejjudde amazzi amakyafu, jijja kweyongera okusasaanya ekibi buli wetugenda.

N’olwekyo, tekigasa bwe tweyongeranga okulongosa ebweeru wa gilasi. Emirundi egisinga tulongoosa ebweru wa gilasi y’emitima gyaffe n’ebikolwa ebirungi, naye tekigasa kulongoosa ebweru nga munda amazzi agaddugala ag’ekibi galimunda mu mitima gyaffe.

Emitima gyaffe, nga gilasi ejjudde amazzi amakyafu, jijja kweyongera okusasaanya ekibi buli wetugenda.

N’olwekyo, tekigasa bwe tweyongeranga

okulongosa ebweeru wa gilasi. Emirundi egisinga tulongoosa ebweru wa gilasi y’emitima gyaffe n’ebikolwa ebirungi, naye tekigasa kulongoosa ebweru nga munda amazzi agaddugala ag’ekibi galimunda mu mitima gyaffe.

Ebibi ebiri muffe binji era tusasaanya ebibi bingi. Obubi tebuyinza kutugwamu, kubanga twazaalibwa n’ekibi munda muffe. N’olwekyo, twonoona mubulamu bwaffe bwonna. Omuntu bwagaana okukkiriza nti ajjudde ekibi, y’eyongera okutambulira mu kibi era n’okikweka ng’akikweka. Ekibi kiri mu Bantu bonna ate tekitujjibwaako, kubanga twelongoosa kungulu. Ekibi tukisasaanya n’etukisimula n’ekiwero, n’era netuddamu ne tukisasaanya n’etusiimula…. Tusuubira nti gye tweyongera okusiimula ekibi buli kiseera nakyo gye kineyongera okutuggwamu, naye era kidamu n’ekiyiika.

Olowooza kino kineyongera okubaawo okutuusa ddi? Kino bwe kityo bwe kiri okutuusa

Page 40: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

40 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

omuntu bw’affa. Abantu batambulira mu kibi okutuusa lwe baffa. Y’esonga lwaki tulina okukikiriza Yesu tununulibwe. Nga tetunaba kununulibwa, tulina okusooka okwemanya.

Ani asobola okufuna okwagala kwa Yesu n’essanyu?

Abonoonyi abakkiriza nti

balina ebibi.

Tutwaale eky’okulabirako eky’abasajja babiri abaalina emitima egifanana gilaasi ejjudde amazzi amabi. Omu y’etunuulira n’agamba nti, “zinsaanze nze, ndi mwonoonyi?” Oluvanyuma, n’anonya omuntu asobola okumuyamba. Naye omulala n’alowooza nti simwonoonyi era talina kabi konna. Tasobola kulaba kibi kimulimu, kubanga alowooza simwoonyi. Asiiba asasanya kibi nga bwakisiimula n’era nakisasaanya nasiimula…

Abantu abamu bagezaako okutambulira mu bulamu nga begendereza; bagezako okusasanya ekibi kitono. Naye amazima gasigala nti, babeera bakyalina ekibi mu mitima gyabwe. Okwegendereza muntambula yabwe, tekubagasa, kubanga tebasobola kutuuka mu ggulu. Okwegendereza kubateekera ddala ku kubo lya geyenna.

Kiki ekiri mu mutima gw’omuntu? Kibi? Bukaba? Yee! Birowooza bibi? Yee! Mulimu obubbi? Yee! Amalala? Wewaawo! Tetuyinza kukyebeera, wabula okukkiriza nti tujjude ekibi, nadala mu ngeri embi gye’tweyisamu gye tutasomesebwa. Obubi bwaffe buyinza obutalabisibwa nnyo, naddala nga mu biseera bwe twali tukyali bato? Olowooza kibeera kitya nga tukuze? Nga tutandise okusoma tumanya nti buli ekiri munda muffe kibi. Kino kituufu? Mazima ddala, abantu tetusobola kukweeka bubi bwaffe. Kituufu? Tetusobola kweyamba, wabula

Page 41: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

41 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

okusasanya ekibi. Oluvanyuma netwejjusa nti, “sandi kozze kintu kino”. Atte kituzibuwalira, ffe abantu, okukyuka? Lwaki kiri bwekityo? Kubanga buli omu mu ffe yazaalibwa n’ekibi.

Tetufuuka balongoofu, kubanga twegendereza. Kye twetaaga okumanya kye kino; Twazaalibwa n’ekibi. N’olwekyo twetaaga okutwala obununuzi Yesu bwa tutegekedde, olwo tunaalokolebwa.

Abo abalowooza, oba abagamba nti “sirina bibi bingi” tebakkiriza nti Yesu yatwala ebibi byabwe byonna. Abo bolekedde geyena. Tulina okumanya nti buli omu muffe alina ekibi munda mu ye, kubanga ffenna twazaalibwa nakyo.

Omuntu bwalowooza nti “sirina bibi bingi, naye singa nsobola okununulibwa mu kabi kano akatono, …”. Naye omuntu n’endowooza effanana ng’eno talibeera wadembe. Kino tekisoboka.

Omuntu ayiinza okununulibwa y’oyo amanyi

nti ajjudde ekibi. Akkiriza nti Yesu, oluvanyuma lw’okubatizibwa kwe mu Yoludani, yatwala ebibi byaffe byonna; era natufirira. Bwe tununulibwa, oba bwe tutanunulibwa, ekikemo eky’okubera nga bananfuusi fenna tukirina. Tulina ekibi muffe era ekyo kye tuli (kibi). Okujjako nga tununulibwa, okuyita mu kukkiriza nti Yesu yagyawo ebibi byaffe byonna, tunalokolebwa.

Katonda teyanunula abo abalina ‘akabi akatono’

Ani oyo alimba Mukama?

Oyo asaba Katonda okumusonyiwa ebibi bya bulijjo.

Katonda tanunula abo abalina “akabi

akatono.” Katonda n’okutemya tatemya ku bantu

Page 42: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

42 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

abagamba nti, “Katonda, nina obubi butono.” Abantu Katonda b’asaasira be bagamba nti, “ayi Katonda nsasira, kubanga nzijjudde ekibi”. Abonoonyi ddala abagamba nti, “Katonda, nandirokose, singa ondokola. Nkooye okwenenyanga buli kiseera, kubanga neyongera bweyongezi okwonoona, nkwegayiridde nsasira.’

Katonda alokola abo abamwesigira ddala. Nze mwene nange nagezaako okusaba esaala ez’okwenenya, wabula esaala ezo tezanzijja mu kibi. Nafukamira mu maaso ga Katonda n’ensaba nti, “Katonda Nkwegayiridde nsasira ondokole okuva mu bibi byange”. Abasaba esaala ng’eno balilokolebwa. Bakkiriza mu bununuzi bwa Katonda n’okubatizibwa kwa Yesu (lwe yabatizibwa Yokaana omubatiza).

Katonda anunula abo bokka abemanyi nti bajjudde ekibi, misota gya busaggwa. Abo abagamba nti, “akabi k’enkoze katono, nkwegayiridde nsonyiwa”, bakyaali bonoonyi era

Katonda tasobola kubalokola. Katonda alokola abo bokka abakkiriza nti bajjudde ekibi mu bbo.

Mu Isaaya 59:1-2 kyawandikibwa nti, “Laba, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola; so n’okutu kwe tekumuggadde n’okuyinza ne kutayinza kuwulira: naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n’ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n’atayagala kuwulira.”

Kubanga twazaalibwa mu kibi, Katonda tatulaba bulungi; atugamba nti, “naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n’ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n’atayagala kuwulira.” Tetusobola kuyingira ggulu, kubanga tulina ekibi mu mitima gyaffe.

Ffe, Abajjudde ekibi, bwe tusaba ekisonyiwo buli lwe twonona, Katonda naye yandibadde awaayo omwana we Yesu, emirundi ejjisukka mu

Page 43: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

43 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

gumu, akke atufiirire. Naye Katonda kino tayagala ku kikola. Katonda agamba nti, “tojja mu maaso gange bulijo n’ebibi byo. Ky’olina okukola kwe kutegera n’okumanya nti Katonda bwe yajjawo ebibi byo. Osanye okkirize nti gano ge’mazima. Oluvanyuma, kkiriza enjiri ey’amazzi n’omwoyo olyoke olokolebwe. Kuno kwe kwagala okusiinga kwe mbawadde, mwe ebitonde byange”.

Era Katonda ayongera okututegeeza nti, “kkiriza mu mwana wange era otwale, oba offune okusonyiyibwa ebibi. Nze, Katonda, natuma omwana wange okubeera omutango olw’ebibi byammwe n’ebyonono byammwe. Kkiriza mu mutabani wange olokoke”.

Abo abatemanyi nti bajjudde ekibi basaba okusonyiyibwa buli kabi akatono. Bagenda mu maaso ga Katonda nga tebamanyi buzito buli mu kibi kyabwe nga basaba busabi nti “ayi Katonda nsasira akabi akatono kano. Sijja kudamu

kwonoona natte”. Bagezaako okulimba Katonda n’esaala ezo.

Ffe abantu tetwonoona mulundi gumu, wabula twonoona emirundi egy’omudiriŋanwa okutuusa lwe tuffa. Tuba tulina okweyongeranga okusaba ekisonyiwo okutuusa kulunaku olusembayo olw’obulamu bwaffe. Tetusobola kulekerawo kwonoona; era omubiri muddu eri etteeka ly’ekibi okutuusa lwe tuffa. Okusonyiyibwa akabi akamu akatono tekitugasa, Kubanga twonoona bulijjo. N’olwekyo, ekubbo ffe mwe tuyinza okununulibwa liri mu kuwaayo bibi byaffe eri Yesu.

Omuntu alimu ki?

Ajudde kibi.

Bayibuli elambulula bulungi ebibi byaffe

abantu; “Kubanga emikono gyammwe

Page 44: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

44 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

gyonoonese n’omusaayi, engalo zammwe n’obutali butuukirivu; emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba, olulimi lwammwe luvulungutana eby’ekyejo. Tewali awaaba eby’ensonga so tewali awoza eby’amazima: beesiga obutaliimu ne boogera eby’obulimba; baba mbuto za bubi ne bazaala amagi ag’essalambwa ne baluka engoye eza nnabubi: alya ku magi gaabwe afa, n’ekyo ekibetentebwa ne kiwamatukamu embalasaasa. Engoye zaabwe tezirifuuka byambalo, so tebalyebikka mirimu gyabwe: emirimu gyabwe mirimu gya butali butuukirivu, n’ekikolwa eky’ekyejo kiri mu ngalo zaabwe. Ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, era banguya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango: ebirowoozo byabwe bya butali butuukirivu; n’okuzika n’okukzikirizibwa kuba mu makubo gaabwe. Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi; so mu magenda gaabwe temuli musango: ebirowoozo

byabwe bya butali butuukirivu; okuzika n’okuzikirizibwa kuba mu makubi gaabwe. Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi; so ne mu magenda gaabwe temuli musaango: beekubidde amakubo amakyamu; buli atambulira omwo tamanyi mirembe.” (Isaaya 59:3-8).

Emikono gy’abantu gijjude ekibi. Mu bulamu bwabwe bonna abantu bonoona era obulamu bwa bwonoonefu. Emimwa gyaffe, “gyogera ebibi”. Buli ekiva mu kamwa kaabwe bulimba bwerere.

“Mmwe muli ba ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva kulubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.” (Yokaana 8:44).

Abo abatanaba kulokoka batera okwogera nti “njogera mazima…ddala njogera mazima. Kye’njogera ge mazima.” Wabula, buli kye

Page 45: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

45 Abantu tuzaalibwa tuli bonoonyi

bogera kijjudde bulimba. Nga bwe tusomye mu Yokaana 8:44.

Abantu b’esiga nnyo ebigambo byabwe ebitaliimu, era bogera bulimba. Okufumiitiriza kw’abantu nakwo kuzaala obubi, Y’ensonga lwaki tulina okununulibwa, n’okukkiriza enjiri ey’okubatizibwa mu mazzi ne mu musaayi.

Buli lwe ntandika okwogera ku Katonda, waliyo abanŋŋamba nti, ‘Bambi tombulira ku Katonda. Ebyo byantama sisobola ku kyebera, kubanga buli kyenkola nsasanya kibi buliwamu. Ekibi kijjudde mu nze ate sirina suubi n’olwekyo tombulira kintu kyonna kikwata ku Katonda.’

Omuntu bwatyo amanyi nti ajjude ekibi, wabula tamayi nti Katonda ya mulokola namununula okuyita mu njiri y’okwagala kwe. Abo abemanyi nti bajjudde ekibi basobola okulokoka.

Abo abasasanya ekibi nga banyiize, nga basanyuse oba nga bali bulungi bebasobola

okulokoka bwe baba nga bakkiriza mu Yesu Kristo.Yesu yaggyawo ebibi bwaffe byonna.

Kkiriza nti ojjudde ekibi olyoke olokoke.

Page 46: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 3

Ebintu byetukola bwe’tubikola ku

lw’amateeka tununulibwa?

Page 47: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

47 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

Ebintu byetukola bwe’tubikola ku

lw’amateeka tununulibwa?

< Lukka 10:25-30 > “Kale, laba, omuyigiriza w’amateeka

n’ayimirira ng’amukema ng’amugamba nti Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo? N’amugamba nti Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya? N’addamu n’agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna; ne muliraana wo nga bwe weeyagala wekka. N’amugamba nti Ozzeemu bulungi; kola bwotyo, onoobanga n’obulamu. Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n’agamba Yesu nti

Muliraanwa wange ye ani? Yesu n’addamu n’amugambe nti Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta eYeriko; n’agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng’abulako katono okufa.’”

Kizibu ki ekisinga obunene

abantu kye balina?

Batambulira mu bulimba bunji.

Lukka 10:28, “kola bw’otyo, onoobanga mulamu.”

Abantu batambulira mu buliimba obungi era kirabika nti emirundi egisinga balimbibwa nnyo. Balabika ng’abagezigezi naye balimbiddwa, era tebamanyi kibi kiri mu bbo. Ffe abantu tuzaalibwa tetwemanyi naye bulijjo tutambulira mu bulamu buno ng’abemanyi. Bayibuli

Page 48: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

48 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

etugamba kaati nti tuli bonoonyi . Abantu bogera ku bibi byabwe. Kirabika nti

ffe abantu tetusobola kukola birungi, newankubadde twetwaala okubeera abantu abajjudde ebikolwa ebirungi. Abantu benyumiriza mu bi. Benyumiriza mu bikolwa byabwe ebirungi newankubadde bye bogera bubi bwereere.

Abantu tebalina kirungi kyonna, newankubadde obusobozi obw’okukola ebirungi. N’olwekyo bagezaako okulimba abalala, ate n’abo abalimba ne beelimba. Waliwo abayinza okugamba nti, “Vvawo nawe tetuyinza kuba bonoonyi ddala. Mulimu obulungi munda muffe.” Bwe batunuulira abantu abalala, bagamba nti, “haa singa takoze kintu ekyo kyandibade kirungi, singa ayogedde bwati ndowooza kyandibade kirungi, singa enjiri agibuulira bwati. Kale ye yansooka okulokoka, ndowooza yandyeyisizza ng’omulokole. Nze

nalokoka jjo jjuuzi naye ssinga neeyongera okuyiga, nja kuba musinga.”

Abantu bwe batyo bamalirira ddala mu mitima gyabwe okwesasuza na ddala nga waliwo ekibakosezza. Batera okwogera nti, “hee lindako ggwe bulinzi. Ojja ku kiraba nti nze siri nga ggwe. Oyinza okulowooza nti oli mumaaso gange kakati naye linda ko ggwe. Kyawandiikibwa nti abo ab’oluberyeberye balibeera ab’oluvanyuma, era n’ab’oluvanyuma balibeera ab’oluberyeberye. Era mmanyi nte ekigambo ekyo kyogera ku mbeera yange. Linda bulinzi, nja ku kulaga.” Abantu twerimba, bwe twogera tutyo.

Newankubadde omuntu asala omusango naye asobola okweyisa mu ngeri eyo munne (gwasalira omusango) gye yeyisamu, agenda mu maaso n’okumusalira omusango. Bw’ayimirira ku katuuti okwogera yesanga atandise okunanagira, kubanga afaayo nnyo ku bintu

Page 49: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

49 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

ebitagasa, ng’ebyo by’ayambadde. Abantu abasinga bwe babuuzibwa oba balina obusobozi obw’okukola ebirungi, bakkikiriza ddala nti bbo ku lwaabwe obusobozi tebabulina. Naye oluusi mu mitima gyabwe balimbibwa nti babulina, olwo ne bagerezaako ddala okubeera abalungi mu maanyi gabwe okutuusa lwe bafa.

Abantu balowooza nti balina “obulungi” mu mitima gyabwe era nti n’obusobozi obukola obulungi babulina. Abo abaludde mu diini yabwe na ddala abo abafubye ennyo mu buwereza balowooza nti basobola okukola buli kimu mu maaso ga Katonda.

Naye Katonda bwe tumujja mu bulamu bwaffe tuyinza okukola ebilungi? Waliwo ebilungi muffe abantu? Ffe abantu tusobola okubeerawo nga ebikolwa bye tukola bilungi? Nedda, abantu tetulina busobozi butukozesa bikolwa bilungi. Buli lwe tugezaako okukola ebikolwa ebilungi ku lwaffe twonoona.

Abantu abalala, Yesu bamwesambajja, nga bakkiriza nti tebakyamwetaaga; babeera basuubira nti basobola okubeera abalungi ku lwaabwe awatali Yesu gwe basooka okukkiriza. Muffe ffena abantu mulimu ekibi. Kibi kye tusobola okukola ffe abantu kulwaffe (awamu n’abo abalokoka) twonoona bwonoonyi. Ago ge mazima agakwata ku kibi ekiri mu mubiri gwaffe.

Kiki kye tukola buli kiseera, ekilungi oba ekibi?

ekibi.

Mu kitabo kyaffe eky’enyiimba, “tendereza

erinya lya Yesu,” mulimu oluyimba olulina ebigambo bino “♪Yesu watali, tuseerera netuggwa. Tubeeranga ekyombo ku nyanja ekitalina ndagiriro, ekibulidwa endagiriro (ekkubo)♪”. Yesu bwaba taliiwo twonoona

Page 50: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

50 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

bwonoonyi, kubanga tujjude ekibi. Obusobozi bw’okukola eby’obutuukirivu tubufuna tumaze okulokoka. Omutume Paulo yagamba nti, “kubanga kye njagala ekilungi sikikola; naye kye sagala ekibi kye nkola.” (Abaruumi 7:19).

Omuntu bwa beera ne Yesu naye n’atamweyabiza, n’atamweewa kiba tekigasa. Omuntu bwatyo abeera agezaako nga bwasobola okukola ebikolwa ebilungi mu maaso ga Katonda, wabula gye yeyongera okugezaako, gye yeyongera okukola ekibi.

Ne Kabaka Daudi, owa Isiraeri, yalina empisa y’emu. Ensi yo mu nnaku ezo yali etutumuse nga ne’ddembe weeliri. Olwegulo lumu ng’atambula mu lubiri lwe, yalaba ekifaananyi ekya mukema. Yayima ku lubiri kungulu n’alaba omukazi omulungi eyali anaaba. Kabaka Daudi yafanana atya nga yerabidde Katonda? Yli ajudde ekibi.

Yayenda ne Basuseba n’okutta n’atta Uliya omwami wa Basuseba, naye teyalaba kibi

ekyamulimu. Awo olunaku lumu nnabbi Nasani najja gyali

n’amugamba nti, “waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu omu nga mugagga ne mune nga mwaavu. Omugagga yalina endiga n’ente nnyiinji nyo nnyini. Naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k’endiga akaluusi ke yagula n’akalera; ne kakulira wamu naye n’abaana be; kalyanga ku kamere ke ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye, ne kaba gyali nga muwala we. Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo n’alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gyali, naye n’atwala omwana gw’endiga ogw’omwavu, n’agufumbira omusajja azze gyali.” (2 Samwriri 12:1-4).

Dawudi bwe yabiwulira byonna yagamba nti; “…omusajja eyakola ekyo asanidde okufa”. Dawudi yasunguwala nnyo, yagamba nti, “omugaga alina endiga ezize nnyinji, yanditute

Page 51: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

51 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

yo emu kuzzo naye yatwala akaliga k’omwavu ddala ddala. Awo Nasani n’amugamba nti, “omusajja oyo ye ggwe;” Bwe tugaana okugoberera Yesu, naffe abalokole twonoona nga Dawudi bwe yayonoona, oba oly’awo n’okusingawo. Kino kiri mu buli muntu. N’abo abesigwa; tugwa buli kiseera era tukola ebibi bwe tugaana okugoberera Yesu. N’olwekyo tulina okubeera n’okwebaza mu mutima gyaffe eri Yesu eyatulokola newankubadde ng’ekibi kiri muffe. “♪Njagala okuwumulira wansi w’ekisikirize ky’omusalaba♪.” Emitima gyaffe tugireke giwumulire mu bununuzi bwa Yesu Kristo. Naye bwe tunava ku kisikirize, ne tweetunulira ffe, tetujja kusobola kuwumula.

Katonda yasoka kutuwa butuukirivu obw’okukiriza, n’alyoka atuwa amateeka

Kiki ku bino ekitwanguyira okugoberera, okukiriza oba amateeka?

Okukkiriza.

Omutume Paulo atuyigiriza nti ku lubereberye, Katonda yatuwa obutuukirivu obw’okukkiriza. Obutukirivu buno, yabuwa Adamu ne Kaawa, Kayini ne Aberi, Seezi ne Enoka, Nuwa, Ibulayimu, Isaaka, Yakobo ne batabani be ekumi n’ababiri. Awataali mateeka, abantu bano, baafuuka batuukirivu mu maaso ga Katonda. Obutuukirivu bwabwe bwava mu kukkiriza kigambo kya Katonda. Baweebwa omukisa era baweebwa n’ekiwumulo okuyita mu kukkiriza ekigambo kya Katonda.

Page 52: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

52 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

Oluvanyuma, wayita ekiseera kya myaka (400) bina, abantu ba Isirayiri (ab’olulyo lwa Yakobo) baali baddu mu nsi y’emisiri ey’obuwaŋŋanguse. Katonda mwene yabajjayo, n’abaluŋamya ngayita mu Musa n’abatwala mu nsi Ye Kanani. Wabula, mu myaka egyo ebina (400) gye bamala mu buwaŋŋanguse, bali berabidde buli ekikwata ku butuukirivu obw’okukiriza (obufunibwa olw’okukkiriza).

Olwo nno Katonda, okuyita mu byamagero, yasobola okusomosa abaisirairi ku nyanja emyufu, n’abakulembera mu ddungu. Bwe batuuka mu ddungu ly’ekibi, Katonda n’abawa amateeka ekumi n’enono endala 613 ez’amateeka agenjawulo. Katonda yabagamba nti, “nze mukama Katonda wo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, Katonda wa Yakobo. Musa anayambuka waggulu w’olusozi Sinayi era naabawa amateeka.

Katonda yabawa amateka “gabamanyise

ekibi” (Abaruumi 3:20). Amateeka gabaweebwa okulaga Katonda kye yagala n’ekyo kya’tyagala;era gaweebwa okulaga obutuukirivu n’obutukuvu bwa Katonda.

Abaisirairi bonna abaali mu buddu e’Mmisiri okumala emyaka 400 basomoka enyanja emyufu. “bali tebalabanga ku Katonda wa Ibulayimu; n’owa Isaaka, n’owa Yakobo. Bali tebamumanyi. Baali baddu okumala emyaka 400 era baali beerabidde obutuukirivu bwa Katonda mu biseera ebyo; Tebaalina mukulembeze. Yakobo ne Yozefu be baali abakulembeze baabwe, naye baali baffadda. Kirabika Yosefu yalemelerwa okuyigiriza batabani be, Manaase ne Efulaimu, obutuukirivu obw’okukkiriza bwe yali amanyi.

N’olwekyo Abaisirairi balina okumanya Katonda natte, kubanga bali berabidde obutuukirivu bwe. Tulina okumanya nti Katonda yabawa obutuukirivu olw’okukkiriza, n’alyoka abawa amateeka. Amateeka yagabawa nga

Page 53: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

53 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

bamaze okwerabira okukkiriza (n’obutuukirivu obuvaamu) Yabawa amateeka balyoke bakyuke bamuddire.

Katonda yagamba Abaisirairi nti balina okukomolebwa olwo lwe banaafuuka abaana be. Katonda yalina ensonga bbiri zeyali ayagala abaisirairi bamanye. Esooka; yali ayagala bamanye nti Katonda gyali. Eky’okubiri; yali ayagala abantu bamanye nti bonoonyi mu maasoge (Katonda) mukumanya ezo ensonga ebiri, Katonda yayagala abantu badde gyali banunulibwe okuyita mu ssadaaka gye yabawa. Nabafuula abantu be.

Abaisirairi banunulibwa okuyita mu nkola ya ssadaaka ey’amateeka nga bakkiriza mu oyo eyali agenda okugya. Naye enkola eno eya ssadaaka (okwewaayo) yagenda evaawo. Katumanye ddi kino lwe kyabaawo.

Mu Lukka 10:25, mulimu munamateeka eyali akema Yesu. Munamateeka ono yali Mufalisaayo.

Abafalisaayo bali Bantu bamaanyi; naye ate nga bagezaako okutambulira mu kigambo kya Katonda. Bagezangako okusooka okukuuma ensi yabwe Isirairi olwo ne balyoka batambulira mu mateeka ga Katoonda. Natte waaliyo Abazeloti abaali abantu ab’obusungu obungi ennyo era nga beewaddeyo okulwaana balyoke bafune ekirubirirwa kyabwe: Eddembe lya Isirayiri okuva ku Baruumi.

Bantu ki Yesu be yali ayagala okusisinkana?

Bonoonyi abatalina musumba.

Ennaku zino tulina abakulembeze ab’eddiini

abakulembera ebitongole ebifaayo ku Bantu b’ensi ababonabona. Bakkiriza nti Yesu yajja okulokola abo abanaku n’abo abanyigirizibwa. N’olwekyo, oluvanyuma lw’okuyiga eby’eddiini

Page 54: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

54 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

mu masomero, beetaba mu by’obufuzi balyoke bagezeeko okununula abo abeetaga obuyambi. Abantu bwe bati bwe bogera “leka tubeerawo olw’amateeka amatukuvu era n’agekisa … katutambulire mu mateeka ge nga tukkiriza mu bigambo bye”. Naye abantu ablowooza bati tebamanyidde ddala mateeka kyegategeeza. Bagezaako okutambulira mu bbaluwa y’amateeka naye nga tebamanyi kubikkulirwa kwa bwa Katonda okuli mu mateeka.

N’olwekyo tuyinza okugamba nti tewaali bannabbi, n’abaweereza ba Katonda mu Isirairi okumala emyaka 400 nga Yesu Kristo tanaba kujja. Olw’embeera eno, abaisirairi bali nga endiga ezitalina musumba.

Bali tebalina na mateeka newankubadde omukulembeze. Katonda teyeebukulira (teyalabika) eri abafalisaayo bannanfuusi ab’omukiseera ekyo. Eggwanga lya Isirairi lyali ttwale lye’Ruumi.

N’olwekyo Yesu yagamba Abaisirairi abamugoberera mu ddungu nti, talibagoba nga balumwa enjala n’enyonta. Abantu bamukwasa ekisa mu kiseera ekyo, kubanga bali nga endiga ezitalina musumba.

Banamateeka wamu n’abantu abali mu bifo eby’obukulembeze bali balina emikisa egy’enjawulo. Abafalisaayo bali Bantu bamalala. Omunamateeka ono mu Lukka 10:25 yabuuza Yesu nti, “nkole ntya okusikira obulamu obutagwaawo?” Yali alowooza nti tewaali muntu amusinga bulungi mu Bantu ba Isirairi. Kale nno munamateeka ono (yali tananunulibwa) yasomooza Yesu n’amubuuza nti, “nkole ntya okusikira obulamu obutagwaawo?”

Munamateeka ono atulaga ffe abantu kyetuli. Yabuuza Yesu nti, “nkole ntya okusikira obulamu obutagwaawo?” Yesu n’amuddamu nti, “kyawandikibwa kitya mu mateeka? osoma otya?”

Munamateeka naddamu nti, “oyagalanga

Page 55: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

55 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emeeme yo yonna, n’amanyiggo gonna, n’endowooza yo yonna” era “oyagalanga muliranwa wo nga bwe weyagala wekka.”

Awo Yesu namugamba nti, “ozzeemu bulungi; kola bwotyo.”

Munamateeka ono yasomoozanga Yesu nga tamanyi nti ye ajjudde ekibi ng’era tasobola kukola birungi. Yesu yamubuza “kiki ekiwandikidwa mu mateeka? Osoma nga otya?”

Amateeka ogasoma otya?

Tuli bonoonyi abatasobola kukuuma mateeka.

Yesu akubuuza ggwe nange nti amateeka gge tugamanya era tugategeera tutya?

Ng’abantu abasinga bwe bakola, ennaku zino, munamateeka yalowooza nti Katonda yamuwa amateeka asobole okugakuuma. Naye Yesu

yamuddamu nti, “oyagalanga Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’endowooza yo yonna, ne muliranwa wo nga bwe weyagala wekka.”

Amateeka tegaalina kikyaamu. Katonda yatuwa amateeka agatuukiridde. Yatugamba twagale Katonda n’emitima gyaffe gyonna, n’emeeme zaffe zonna, n’amanyi gaffe gonna, n’endowooza zaffe zonna, era twagale n’ebaliranwa baffe nga bwetweyagala ffe. Kino kituufu era kitugwanira okwagala Katonda waffe n’emitima gyaffe, n’amanyi gaffe, naye lino eteeka tteeka tukuvu eritayinza kukumibwa mu manyi g’obuntu.

“Osoma otya?” mu bigambo bino, Yesu atugamba nti amateeka matuufu, naye ogateegera otya? Munamateeka ono yalowooza nti Katonda yagatuwa tusobole okugagondera; wabula amateeka gatuweebwa tusobole okumanyira ddala obunafu bwaffe; nga gassa ebibi byaffe mu kitangaala. Omussi bwatta, amanya nti ayonoonye,

Page 56: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

56 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

kubanga amateeka gatulagira nti tottanga. Amateeka gaweebwa, gasobole okutulaga ffe

abantu ekibi ekiri mu mitima gyaffe. Kandeete ekyokulabilako kino: siinga mbadde ntambula, n’endaba emiyembe emyengevu mu kisaawe. Katonda n’andabula, okuyita mu mateeka nti, “egy’emiyembe togilonda era togirya: kijja kuba kya buswaavu bwonookikola?” Nange n’enziramu nti, “ye Taata sijja kukikola.” Katonda n’aŋŋamba nti, “ekisaawe ekyo kya mwami gundi n’olwekyo tomala galonda bibala bitali bibyo,” nange n’enziramu nti, “ye Taata sijja kukikola.”

Bwe tuwulira ebigambo ebyo nti, “tolondanga miyembe egyo” munda muffe tusikirizibwa okujironda. Omuntu bwasindika Sepulinji wansi namala nagitta emala n’edayo wagulu, omuntu gye yagikwatidde ng’agisindika. N’ebibi by’abantu bw’ebityo; bw’oyongera okubinyigiriza mu maanyi go, nabyo gye

byeyongera okweyongera mu bulamu bwo. Katonda tatugambanga kukola bikolwa

bikyamu. Yatugamba tukole ebikolwa ebirungi. Yatugamba bwatyo, kubanga Katonda mutukuvu era atuukiridde: n’olwekyo asinzira kw’ekyo okutugana okukola ebibi. Wabula ffe abantu tetusobola kwewala kwonona ku lwaffe ate tetuyinza kubeera balungi oba abatuukiridde ffe ku lwaffe. Temuli kirungi n’akamu mu ffe. Amateeka gatuweredwa n’ebigambo “To,” Lwaki? Kubanga abantu tulina okwegomba okubi mu mitima gyaffe. Twenda kubanga mu mitima gyaffe mujjudde obwenzi.

Tulina okusoma Baibuli n’obwegendereza. Omulundi ogwasooka lwenagezaako okusoma baibuli n’engyekkennenya, n’amanya nti Yesu yafa ku musalaba kulwange. Bwenafumiitiriza ku bigambo ebyo, nakaaba. Nze omubi era omwonoonyi naye Yesu nanfirira! Omutima gwange gwakwatibwako era n’emukkiriza.

Page 57: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

57 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

N’endowooza nti, “bwemba ŋŋenda okukkiriza Katonda, ŋŋenda kumukkiriza okusinziira ku kyayogera mu Kigambo kye.

N’era nasoma mu kitabo ky’okuva nti “tobeeranga nabakatonda balala wendi.” Nasaba era nennenenya ekibi eky’okusinza bakatonda abalala. Namanya nti Katonda nali munyoma bwe nali nina bakatonda abalala benali nsiinza nga ntuukiriza obulombolombo bw’abakadde abaafa edda. Kino kyali kibi mu maaso ga Katonda.

N’enenya nga ŋŋamba nti, “Mukama nsinzizza bakatonda abalala. Olw’ekibi ng’ekyo nina okulamulilwa. Naye nyamba ai Mukama, sijja kuddamu kukikola”. Oluvanyuma ekibi kino kyali kinzijiddwako nga tekikyanfuga.

Najjukira emirundi gyenanyomanga erinnya lya Katonda. Bwe nali nzikkiriza Katonda, nga ndokose, nafuuweetanga taaba. Mikwano gyange gyaŋŋamba, “olowooza Katonda tomuswaaze

bw’ofuuweeta taaba? Ggwe omulokole, osobola otya okunywa taaba?”

Ekyo kifananako n’okunyoma erinnya lya Katonda. N’olwekyo nasaba nate nti, “Mukama nyomye erinnya lyo nyamba onsasire; njagala kuva ku taaba.” Nagezaako okuva ku taaba naye namala nemuddako, nemuvaako nemuddako. Kino kyatwaala omwaka nga gumu, kyanzibuwalira nnyo, naye namalirira okuva ku taaba olwa nawulira ekibi ekinzijiddwaako.

Olunaku olwaddako nasoma mu baibuli nti, “okujjukira olunaku lwa sabbiiti era okulutuukirizanga.” Kino kitegeza nti nali sirina kukola kintu kyonna ku ssande. Nange okukola ku sande nenkukomya. N’etteeka eddala nti “kitaawo ne nyoko obassangamu ekitiibwa.” Kino nakyo kyali kinkwatako. Bwe nali ssiri kumpi ne bazadde bange, nali sibassamu kitiibwa; naye omwooyo yannumirizanga bwenali okumpi nabo. Era nenenenya nga

Page 58: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

58 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

ŋŋamba nti “Mukama wange nyonoonye, nsaba kisonyiwo.” Wabula bazadde bange baaffa nga ssinaba kubasaba kisonyiwo. Nasaba Katonda nti “Mukama nkwegayiride sonyiwa omwonoonyi ono atalimu; wanfiirira ku muti” najjula essanyu!

Bwe nakolanga bwentyo, nalowooza nti ibibi byange naasobola okubyewala kimu ku kimu. Waaliyo amateeka amalala agankwatangako nga okutta, okwenda, okwegoomba, naye amaaso gaange gabikuka ne ndaba nti wadde nenenya, nali situukirizangako tteeka lyonna. Nasaba ekiro kyonna nga nnenenya era naawe nga bwomanyi essaala y’okwenenya, sinungi era tenyuma.

Bwe nalowooza ku kukomererwa kwa Yesu namanya obulumi bwe yayitamu. Yatufirira ffe abantu abatasobola kutambulira mu kigambo kye. Nakaaba ekiro kyonna bwe nalowooza ku kwagala kwa Yesu era namwebaza olw’okumpa essanyu erya ddala.

Okukuŋana n’aboluganda mukanisa kwali

kunyanguyira, naye oluvanyuma, nga wayisewo emyaka mitono okukuŋaana ne kutandika okunzibuwalira. Okwenenya nakwo kwanzibuwaliranga, nga sikyenenyeza ddala mu maziga n’okunakuwala nga edda.

Bwe nakizuula nti okwenenya mu nakku ne mu maziga nali sikulina mu nze, era nga sikyakussa munkola, nagenda ku lusozi ne nsaba, nensiiba okumala enaku satu. Olwo okwenenya n’okunakuwala okusibuka mu mutima nekukomawo, era nakomawo nate mu Kkanisa nensaba essala ey’okwenenya nga yamazima.

Abantu abali baneetolodde ne bagamba nti, “ofuuse mutukuvu oluvanyuma lw’okusaba essala ze wasaba ku lusozi”. Wabula oluvanyuma lw’akaseera akatono, amaziga (age nnaku) negakala nate. Olwo nekinzibuwalira mu mwaka ogw’okusatu okusaba ng’edda. N’atandika okulowooza ku bikyamu bye nakola mikwano gyange, n’enziramu okukaaba. Awo nga wayise

Page 59: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

59 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

emyaka enna, amaziga negakala era. Amaaso gange gaali tegasobola kutiirisa zziga.

Oluvanyuma lwe myaka etaano, nali sisobola kukaaba. Nebwenagezaangako nga bwensobola, amaziga tegaavangayo. Wayitawo emyaka nga etaano, nga neetamiddwa obulamu bwange, kubanga nali sirina maziga. Awo Katonda yekka, ye yempa amanyi nanyamba okuddayo mu Baibuli ngisom buto.

Amateeka gatuweebwa tumanye ekibi

Kiki kye tulina okumanya ku mateeka?

Ffe tetuyinza kukuuma

mateeka.

Mu Baruumi 3:20, tusoma nti, “… kubanga

amateeka ge gamanyisa ekibi.” Okusooka, nalowooza nti olunyiriri luno bwali bubaka bw’omutume Paulo yekka. Naye amaziga gange nga gamaze okukala, nali sisobola kwe yongerayo kutambulira mu bulamu bwange bwnalimu obw’ewdiini. Kale nno nayononanga olutatadde era n’okumanya namanya nti ekibi kyali mu mutima gwange era n’obuyinza obutambulira mu mteeka nange nali sibulina. Nali sisobola ku kyebeera; wabula era nali sisobola kusambajja mateeka, kubanga nakkiriza nti amateeka gatuweebwa gasobole okukuumibwa. Nali nga banamateeka abogerwaako mu Baibuli. Kyanzibuwalira nnyo okweyongerayo mu bulamu bwange (okukulakulana mu Mwoyo).

Nalina ebibi bingi. Bwe nasomanga amateeka, natandika okumanya ebibi ebyo. Buli lwe namenyanga amateeka ekumi mu mutima gwange. Okwonoona mu mutima nakyo kibi ate

Page 60: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

60 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

nali nfuuse omuntu akkiriza mu mateeka. Bwe nakumanga amateeka nasanyukanga. Naye bwe nalemererwanga, nanakuwalanga era nenyiikaala mu mutima. Singa amazima nali ngamanyi, obulamu bwange tebwandifunye buzibu bwonna. Singa namanya nti omugaso gw’amateeka kwe kundaga ekibi ekiri munze! oyagala sente, olina okwaaka mu mutima, olina ebintu by’oyagala okusinga Katonda, oyagala okugoberera ebintu by’ensi? Bino byonna birabisibwa mu ffe okuyita mu mateeka. Amateeka gatuweebwa tusobole okwelaba nga abonoonyi abalina ekibi mu mutima; so sikugakuuma. Singa nnamanya amazima, singa sabonabona, okumala emyaka kumi nga ntambulira mu mateeka, nga ngezaako, okugakuuma. N’olwekyo okumala emyaka kumi, nali ntambulira mu mateeka nga ngezaako okugakuuma, wabula oluvanyuma nnamaya amazima.

Etteeka ery’okuna ligamba nti, “jjukira olunnaku lwa sabiti era olukuumenga.” Kitegeeza

nti tetulina kukola mulimu gwonna. Tusomesebwa nti tulina okutambula so sikuvuga ggali oba motoka bwe tuba tutambula enŋŋendo empanvu ku Sande. Nalowooza nti kyali kisana era kya kitiibwa okutambula nga nŋŋenda mu kifo kyenali ŋŋenda okubuuliramu. Era nali ŋŋenda kubuulira ku mateeka. Kale nno nali nfuba okulaba nti kyembuulira nange nkissa mu nkola. Kyanzibuwalira nnyo nti nali ntandise okulekulira.

Nga bwe kyawandiikibwa nti, “osoma otya?” ekibuuzo kino sakitegeera era nabonabona okumala emyaka kumi. Munamateeka naye teyategeera kibuuzo kino. Yalowooza nti singa yagondera amateeka gonna n’obwegendereza, yandibadde wa mukisa mu maaso ga Katonda. Naye Yesu yamubuza nti, “osoma otya?” Munamateeka ono yamuddamu ng’asinziira ku nnono z’eddiini z’eyali amanyi. Namudamu n’amugamba omusajja nti, “’wewaawo ozeemu

Page 61: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

61 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

bulungi’, okitwala era okimanyi nga bwe kyawandiikibwa. Kale nno, gezaako okukikuma, onobera mulamu bw’onogezaako okukikuuma nga bwe kyawandikibwa. Naye ojja kufa bw’onoba nga tosobola ku kikuuma nga bwe kiri.”

Naye munamateeka ono teyategeera. Munamateeka ono alinga buli omu ku ffe, ggwe nange. Nasoma eby’eddiini okumala emyaka kumi. Nageezako ku buli kimu, nasoma buli kimu, nenkola buli kimu: okusaba, “okwolesebwa” (olumu nga kukyamu), okwogera mu niimi … ne Bayibuli najisoma okumala emyaka kumi nga nsuuubira okugijjamu ekintu. Naye nasigala nga nkyali musajja muzibe.

Eno y’ensonga lwaki omwononyi yetaaga okusisinkana omuntu anamuzibula amaaso era omuntu oyo ye Yesu Kristo Mukama waffe. Awo omuntu lwa kizuula nti ddala ddala tetuyinza kukuuma mateeka ku lwaffe ne bwe tugezaako ennyo okugatambuliramu, tujja kufa nga

tugeezako okugatuukiriza. Naye Yesu yajja okutulokola n’amazzi n’omwoyo allelluya! Amazzi n’omwoyo bye biyinza okutununula. Okununulibwa okwo kutuweereddwa lwa kisa era kirabo kya Katonda. N’olwekyo tendereza Mukama.

Nali wa mukisa okuva mu ddinii n’ennono zaayo ezitalina suubi. Abamu batwala ekiseera nga basoma eby’eddiini naye nga tebamanyi mazima. Basigala mu butamanya buno okutuusa olunaku lw’ebafa. Abantu abalala bakkiriza okumala emyaka n’emyaka n’okuva ku mulembe ku mulembe, naye tebalokokanga.

Bwe tumanya nti tetusobola kukuuma mateeka, tuva mu byononono byaffe, olwo ne tuyimirira mu maaso ga Yesu ne tuwuliriza enjiri ey’amazzi n’omwoyo. Bwe tusisinkana Yesu, tuva mu musango ogw’okuzikirira ogwa teekateekebwa ku lwaffe. Ffe abantu, ffe babi abasingirayo ddala, naye tufuuka abatuukirivu, kubanga Yesu

Page 62: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

62 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

yatulokola n’amazzi n’omusaayi. Yesu yatugamba nti, tetuyinza kutambulira mu

kwagala kwe. Kino yakigamba munamateeka, naye omusajja oyo teyakitegeera. Awo Yesu nalyoka omugerera olugero asobole okutegeera.

Kiki ekifuula abantu okuba no bubi mu bulamu bw’okukiriza?

Ekibi.

“…waliwo omuntu eyali ava e Yerusalemi

ng’aserengeta e Yerliko; n’agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, nebagenda, ne bamuleka ng’abulako katono okufa” (Lukka 10:30). Yesu yagerera munamatteka ono olugero luno asobole okumutegeeza amazima mu bulamu bwe bwonna nti yabonabonanga ng’ono omusajja eya kubibwa ababbi ng’abulako katono okufa.

Omusajja yaserengeta okuva e Yerusalemi

ng’agenda e Yeriko, Yeriko etulaga ensi, ate Yerusalemi kifanaanyi kyensi y’eddiini, ensi ey’okulumizibwa erimu abenyumiriza mu mateeka. Mulugero muno, tuyiga nti bwetukkiriza mu Yesu mu ngeri y’obwanaddinni, tubonabona.

“Waliwo omuntu eyali era e Yerusalemi nga aserengeta e Yeriko, n’agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng’abulakko katono okufa.” Yerusalemi kyali kibuga kinene n’abantu bangi. Mu kibuga omwo, mwalimu kabona omukulu, ne bakabona abalala bangi, abaleevi era n’abantu ab’eddinii abassibwangamu ekitiibwa. Waliwo bangi abali bamanyi amateeka obulungi. Waliwo ate nabo abali bagezaako okutambulira mu mateeka naye nga balemererwa (nga baserengeta e Yeriko). Nga tebasobola kwewala babbi.

Omusajja ono yasisinkana ababbi n’abatemu ku lugendo ng’ava e Yelusalemi nga agenda e

Page 63: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

63 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

Yeriko ne bamwambula. Okwambula kifananyi kya kujibwako butuukirivu. Kitegeeza nti omusajja ono yajibwako obutuukirivu bwe. Ffe abantu tetusobola kukuma mateeka, n’okugatambuliramu. Omutume Paulo yagamba mu Baruumi nti, “kubanga kye njagala ekilungi sikikola naye kye sagala ekibi kyenkola. Naye obanga kyesagala kyenkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula munze” (Abaruumi 7:19-20).

Singa nali nsobola okukola obulungi! Naye mu mutima gw’omuntu mulimu ebirowoozo ebibi, obwenzi, obukaba, obussi, okubba, okwegomba okubi, obulimba obukuusa, obuluvu, eriso ebbi obuvoozi, amalala n’obusiru (Makko 7:21-23).

Kubanga ebintu binno biri mu mitima gyaffe era bigya emirundi egisinga. Tukola bye tutayagala kukola ate ne tutakola bye tulina okukola. Ekibi tweyongera okukikola, kubanga kijjudde mu mitima gyaffe. Omulabe sitani kyakola ye kwe kutuwa enkwaso entono mu

bulamu bwaffe. Naffe kwe tweyongerera okwo ne twonona.

Ekibi mu mitima gy’abantu bonna

Ffe abantu tusobola okutambulira mu mateeka?

Nedda.

Kyawandiikibwa mu Makko 7 nti, “ekintu

ekiri ebweru, bwe kiyingira mu muntu tekiyinza kumwonoona, … ekiva mu mutima kye kyonona omuntu.”

Yesu atugamba nti munda mu ffe mulimu ebirowoozo ebibi. Obwenzi, obukaba, okutta, obubbi, okwegomba okubi, obukuusa, obuluvu, eriso ebbi, obuvoozi, amalala n’obusiru mu muitima gyaffe abantu.

Page 64: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

64 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

Ffenna abantu tulina obussi mu mitima gyaffe. Tewali n’omu muffe atattangako. Bamaama baboggolera abaana babwe nti, “nedda ekyo tokikola! Musiru gwe ekyo sinakikugamba kukikola! Naakugamba emirundi emekka mwana gwe, njakukuba nkutte bw’onokiddamu. Simanyi ompulira!” enjogera bw’etyo ejjudde obussi. Tetutera okutta abaana baffe n’ebigamo bye twogera gye bali nga tetusoose kubirowoozako ebyo bye twogera. Abaana baffe olussi bwe bawulira ebigambo ebifananako bwe bityo batuuka ne bava mu maaso gaffe oba oli awo, abazadde twandibakwatidde ddala ne tubatta! Emirundi emilala tugenda ne twebuuza nti, “ye, mukama wange lwaki nkoze kino kumwana wange?” olwo no nga tumaze okulaba ebizimbye ku mibiri gy’abaana baffe nga tuva kubakuba. Tuyinza n’okulowooza nti tubadde tugudde eddalu. Ensibuko ya bino byonna, buba bussi obubeera munda mu mitima gyaffe.

N’olwekyo ebigambo bino nti “kye sagala kukola kye nkola” bitegeeza nti tukola ekibi, kubanga ffena tujjude ekibi. Omulabe setaani kimwanguyira nnyo okutukema tugwe mu kibi era n’okwonoona twonoona.

Kakano tufune eky’okulabirako kino eky’omusamize w’e Koleya atuula mu kasiisira okumala emyaka kkumi. Omusamize ono atudde, n’amaaso ge nga golokede ekisenge era afumitiriza mu ngeri y’obufumu nga ey’omusamize sungkooli amanyiddwa ennyo wano mu Koleya. Wewawo abantu abamuweereza tebafuna buzibu bwonna mu ngeri gy’atudemu, wabula bamanyi nti balina okumuwa emere n’okumulongoosa nga afulumye. Omusamize ono alina okubeera ng’akolagana n’abantu. Kyandibadde kizibu nnyo ssinga aweereza omusamize ono musajja. Naye katuteebereze (tugambe) nti singa omuweereza ono yali mukyala nga mukyala mulungi. Ono

Page 65: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

65 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

omusamize aba kumulaba omulundi ogwo ogusooka, munda mu ye yandilowoozeza nti, “ye lwaki ssebaka n’omukazi ono omulungi bwati? Eheh nkirina mumutima gwange naye nina okukigyamu mangu. Nedda! Kirowoozo ggwe vva mu birowoozo byange” olwo ekiseera kyaba amaze ng’atudde tekikyagasa, kubanga ava kwenda mu mutima ggwe.

Newankubade omusamize ono amaliridde okumala emyaka ng’afumiitiriza eby’obufumu, taganyulwamu kintu kyonna, kubanga mu mutima obwenzi mwebuli. Omulabe setaani kumwanguyira nyo okutwala obutukirivu bwaffe abantu. Ye kyakola kitono nyo: kusendasenda Bantu. Omuntu bwalwana n’ekibi ye mu maanyi ge, gyakoma okulwana nakyo gye yeyongera okuwangulwa. Kino kibaawo, kubanga omuntu ono alwana mu maanyi ge aba tannaba kununulibwa. Omuntu bwatyo agezaako okuwa ekimu eky’ekkumi buli sande, asiiba ennaku,

awayo ennaku kikumi ez’okusaba okw’okukeesa naye era setaani ye takoowa ku mukema n’ebintu ebilabika obulungi ebisendaasenda.

Eky’okulabirako “njagala okukuwa ekifo ekirungi eky’omuwendo mu kampuni, naye oli mukristaayo ate toosobola kukola ku sande; Ekifo kye nkuwa kirungi oyinza okukolanga ku sande satu. Olwo ku sande emu mu mwezi n’olyoka osaba. Omusaala mulungi kyeeke yo evaayo nga ezitowa bulungi okilowoozako ki kino?” ebyo bye biyinza okuba ebimu ku bisenda senda abakkiriza. Abamu singa bawulidde ku kiteeso nga ekyo bagamba bandikikkirizza era n’omulimu nebagutwala.

Ekiteeso ekisooka bwe kigaana omulabe atera okutusendasenda n’okwaka, obukaba oba obwenzi. Omulabe aletera ddala omukazi anasobola okusendasenda omusajja okutuusa lwa ggwa mu kibi ne Mukama n’amwerabira. Olwo no ng’omulabe amwambuddeko obutuukirivu bwe.

Page 66: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

66 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

Bwe tugezaako okutambulira mu mateeka, bye tufuna ku nkomerero bye bino: biwundu bya kibi, bulumi, n’obwaavu obw’omwoyo. Tujibwaako obutukirivu bwonna. Omusajja yali “ava e Yerusalemi ng’aserengeta e Yeliko; n’agwa mu batemu ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng’abulako katono okufa.” Omulamwa mu bigambo bino gwe guno: wadde tugezaako okubeera mu Yerusalemi, nga tutambulira mu kwagala kwa Katonda okutukuvu, ekisera kituuka ne tuseerera ne tuggwa, kubanga tulina obunafu era tumala ne tulumizibwa. Oyinza okusaba esaala ey’okwenenya ng’eno nti, “Mukama wange nyonoonye, nkwegayiridde nsonyiwa. Sijja kudamu kwonoona bwenti natte. Nkusubiza ai Mukama nti ddala guno gwe mulundi gwange ogusembayo okukola ekibi kino nkwegayiridde nsonyiwa.” Naye oluvanyuma lwe saala bwetyo, wayitawo ebbanga ttono ng’omuntu ava okwenenya ng’akizemu ekibi ekyo. Wewaawo

abamu bagezaako okwewala okukola ekibi ekyo, naye era bamala nabo ne badamu okukola ekibi ekyo natte. N’era ne basaba ekisonyiwo.

Enkola eno ey’okwenenya olutatadde bwe yeyongera abantu besalira omusango ne bava mu kkanisa era n’obulamu bwabwe obw’eddiini babuleka. Olw’obuzito bwe kibi mu bbo, bavva ku Katonda olwo ne babeera nga bolekedde geyena era y’eba enkomero yabwe.

Omulamwa oguli mu kuserengeta e Yeriko gwe guno: kwe kuseerera n’okuggwa mu nsi (ejjudde ekibi) ng’omuntu yeyongerayo okuva e Yelusalemi. Ku ntandikwa Yerusalemi eri kumpi, naye omuntu gye yeyongera okwonoona ne yenenya yesanga aserengeta e Yeriko nga agwiridde ddala mu nsi.

Ani asobola okulokolebwa?

Abo abamaliride okuta obutukirivu bwabwe bwebekoledde.

Page 67: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

67 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

Omusajja bwe yali aserengeta e Yeliko yasisinkana ani? Yasisisnkana ababbi: Omuntu atamanyi era atatambulira mu mateeka afananyizibwako embwa emomboze (omusege). Omuntu bwatyo kyasanze kyakola, yebaka mu bifo byasanze, emmere ajjirya wasanze, ngera embwa etalina maka bwekola. Oluusi embwa zirya mu mpitambi, so n’abantu oluusi naffe bwe tuli twonoona, ne twenenya ate ne twonoona natte.

Omusajja ono yagwa mu batemu bwe yali aserengeta e Yeriko. Babba ebintu bye byonna ne ne bamukuba era ng’abuzaako katono okufa. Amakulu: ekibi kye kiri mu mutima gwe, abulako katono affe. Naffe abantu bwe tutyo bwetuli.

Abantu bakkiriza mu Yesu Kristo ng’ate era bwe batambulira mu mateeka e Yerusalemi, ekibuga ekijjude eddiini, wabula ekibi nga kikyaali mu mitima gyabwe. wadde obulamu bwabwe bujjude eddiini, amabwa gebafunye olw’ekibi mu bo gebalaga. Enkomerero ya

byonna abalina ekibi eri mu geyena. Abantu kino bakimanyi, naye tebamanyi kya kukola.

Gwe owoluganda asoma ebigambo bino, nange tetubadde banaddiini naffe? Yee naffe tetusobola kwegana.

Omunamateeka ataategera mateeka ga Katonda yandifubye okukuuma amateeka obulamu bwe bwonna, naye era enkomerero ye yendibadde geyena. Yandisigadde ng’akosebwa era ng’alinga nze nawe.

Amawulire amalungi ge gano nti Yesu yekka y’asobola okutulokola. Abantu bakagezimunyo bangi nnyo abatwetolodde abenyumiriza mu bye bamanyi. Era nga bananfuusi bagezaako okwerimba nti basobola okutambulira mu mateeka ga Katonda. Ekituufu tebasobola kukiraba ng’ekituufu wabula essira balissa ku bikolwa byabwe eby’ebweru n’endabika yebwe kungulu. Balimba abantu nti besigwa.

Abamu ku Bantu abagwa mu ttuluba lino be bonoonyi abaserengeta e Yeliko, abakubibwa

Page 68: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

68 Ebintu byetukola bwe’tubikola ku lw’amateeka tununulibwa?

ababbi era nga babuzaako katono okufa. Ffe abantu tulina okumanya nga bwe tuyinza okusanawo amangu mu maaso ga Mukama.

Tulina okukkiriza ensobi zaffe era Katonda tumusabe nti, “Mukama, singa tondokola nja kugenda mu geyena. Nkwegayiride ndokola, njakugenda eyo yonna gy’oyagala ŋende wadde waliyo enkuba ey’omuzira. Singa mpulira enjiri eya amazima naalokoka, naye bw’ondeka nzekka nja kugenda mu geyena. Nkusaba ondokole”.

Abantu abamanyi nti bolekedde geyena wabula ng’ate tebanyiikira okufuna obutuukirivu nga besiga Mukama, bebasobola okulokolebwa. Tetuyinza kulokolebwa mu manyi gaffe. Tulina okumanya nti tuli nga omusajja eyagwa mu babbi (batemu).

Page 69: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 4

Obununuzi obw’olubeerera

Page 70: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

70 Obununuzi obw’olubeerera

Obununuzi obw’olubeerera

< Yokaana 8:1-12 >

“Naye Yesu n’agenda ku lusozi olwa Zeyituuni. N’akeera mu makya n’ajja nate mu yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali; n’atuula, n’abayigiriza. Abawandiisi n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng’ayenda; ne bamussa wakati, ne bamugamba nti, ‘omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng’ayenda. Bamusisinkanirizza. Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo: kale ggwe oyogera otya ku ye?’ Baayogera bati nga bamukema, babe n’ekigambo kye banaamulopa. Naye Yesu n’akutama, n’awandiika n’engalo ku ttaka. Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola

n’agamba nti, ‘mu mummwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja. N’akutama nate, n’awandiika n’engalo ku ttaka. Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b’enkomerero: Yesu n’asigalawo yekka, n’omukazi we yeli wakati. Yesu ne yeegolola, n’amugamba nti, ‘omukyala, bazze wa? Tewali asaze kukusinga?’ naye n’agamba nti, ‘mpaawo muntu, Mukama wange: Yesu n’agamba nti, ‘nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.’ Awo Yesu n’ayogera nabo nate, n’agamba nti, ‘nze musana gw’ensi: angobeerera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n’omusana ogw’obulamu.’”

Ebibi bimeka Yesu bye yagyawo?

Ebibi eby’ensi byonna.

Page 71: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

71 Obununuzi obw’olubeerera

Yesu yatuwa obununuzi obw’olubeerera. Buli muntu akkiriza Yesu Kristo ng’omulokozi eyajja okutununula anunulibwa. Yesu yatununula n’atulokola fenna. Abantu abatambulira mu bwennyamivu olw’ebibi byabwe baba tebanaba kumanya bulungi buli mu kusumululwa Yesu kwe yabawa okuyita mu kubatizibwa kwe n’okukomererwa kwe ku musalaba. Abantu tusaanye tumanye, era tukkirize mu kyama ky’obulokozi. Yesu yeetikka omusango gw’ebibi byaffe abantu bwe yaffa kumusalaba.

Ow’oluganda olina okukkiriza mu bulokozi obusibuka mu kubatizibwa mu mazzi n’omwoyo; omwo mwe tufunira obununuzi obw’olubeerera. Olina okukkiriza mu kwagala kwa Katonda okwamala okukufuula omutuukirivu. Kkiriza mu Yesu n’ekyo ky’akukolede (okukulokola) lwe yabatizibwa mu Yoludaani ate n’akomererwa ne kumusalaba.

Yesu y’amanyi ebibi byaffe byonna; weewawo

nebyo ebikusike. Ffe abantu abamu entegeera yaffe ey’ekibi nkyamu. Tulowooza nti tetuyinza kulokolebwa oba kununulibwa kuva mu bibi ebimu. Naye Yesu yatununula n’atugya mu buli kibi. Tewali kibi nakimu ku nsi kuno Yesu kye yagana okununula, kubanga Yesu yanaaza (yajjawo) ebibi by’ensi byonna. Amazima ge gano; tewakyaliwo bonoonyi. Okimanyi nti enjiri etununudde n’etulokola okutujja mu bibi byaffe? (n’ebyo eby’omumaaso bye tutanaba kukola?) Kikkirize kino ow’oluganda, onoolokoka era Katonda onoomuwa ekitiibwa kyonna.

Omukyala eyakwatibwa mukikolwa eky’obwenzi

Bantu bameka mu nsi abenda?

Abantu bonna.

Page 72: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

72 Obununuzi obw’olubeerera

Mu Yokaana 8 mulimu olugero lw’omukazi eyakwatibwa mi kikolwa ky’obwenzi era tulaba engeri Yesu gye yeeyisamu eri omukazi ono. Twandiyagadde naffe okugabana mu kisa kye yafuna. Bwe ŋŋamba nti abantu fenna twali twetabyeeko mu kikolwa kino ek’yobwenzi mu ngeri emu oba endala mu bulamu bwaffe, sibeera mukamu.

Nga tututte eky’okulabirako eky’omukyala ono mu Yokaana 8, nebuuza nti ddala muyinza okubamu muffe omuntu yenna atayendangako? Buli omu kuffe yali ayenzeeko, naye tweyisa nga abatayendangako. Olowooza nti nnimba? Nedda ago ge mazima. Singa weetunuulira munda mu mutima gwo ojja kukizuula nti naawe wayendako. Buli muntu ku nsi yali ayenzeeko. Bwe tutununulira abakyala n’ebirowooza eby’obukaba, n’obwenzi tuba twonoonye era kino kibeerawo emirundi egisiinga mu mitima gyaffe. Abantu fenna twenda wadde emirundi egisinga tetukimanya. Abantu abamu ebyonoono byabwe babimanya banaatera

okufa. Mulimu muffe abantu abenda mu birowoozo ne mu bikolwa ne batakwatibwa. Wadde omuntu akwatidwa, oba wadde takwatidwa ekikulu kiri kimu nti fenna tuli benzi.

Munange ow’oluganda asoma, kino kikinyiziza? Ago ge mazima, ekibi kino tetukyasanguza era tetukissa mu musana, kubanga tutya okuswala. Eky’amazima kye kino: Abantu benda buli kisera, nga tebamanyi nti bali mu kibi.

Abantu tulina obwenzi mu meeme zaffe nazzo. Ffe abaatondebwa mu kifananyi kya Katonda, tutambulira mu bulamu bw’ensi eno nga tetumanyi nti ne mu mwoyo tuli benzi. Tusinza ba Katonda abalala ne tuva ku Mukama Katonda omwami waffe abantu ffena.

Omukyala eyakwatibwa mu kikolwa eky’obwenzi muntu nga ffe. Yafuna ekisa kya Katonda era nga naffe bwe twakifuna n’etununulibwa. Naye Abafalisaayo, bananfuusi bamuwaliriza okuyimirira mu maaso gabwe ne

Page 73: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

73 Obununuzi obw’olubeerera

bamusalira omusango, katono bamukanyugire amayinja bamutte bali beeraba ng’abatuukiride abatayendangako.

Ab’oluganda bakristaayo banange, amazima ge gano nti, abo abeemanyi okuba n’ekibi mu bbo tebasalira Bantu balala musango mu maaso ga Katonda, kubanga nabo bamanyi nti bajudde ekibi. Abantu abo bafuna ekisa kya Katonda ekitununula fenna. Abo bokka abamanyi nti benzi era bonoonyi be balina obusobozi bw’okununulibwa mu maaso ga Katonda.

Ani asobola okufuna ekisa kya katonda?

Ani asobola okufuna ekisa kya Katonda?

Oyo atasaanide.

Muntu ki ku bano ababiri asobola okufuna ekisa kya katonda?

Oyo eyekuumye mu manyi ge okuva mu bwenzi, oba oyo akkiriza nti mwonoonyi, n’amenyeka n’afuna ekisa kya Katonda? Oyo asaba era afuna ekisa kya katonda ekingi y’anunulibwa. Abo abatasobola kweyamba, abanafu bebanunulibwa. Abo bebatambulira mu kisa kya Katonda. Abo abalowooza nti tebalina kibi munda mu bbo, tebayinza kununulibwa. Ate bayinza batya okufuna ekisa mu kununulibwa nga tebasuubira kununulibwa? Abawandiisi n’abafalisaayo baakwata omukyala mu kikolwa eky’obwenzi ne bamuleeta eri Yesu ne bamubuza nti “omuyigiriza, omukazi ono bamukwatide mu bwenzi…kale gwe oyogera ki ku ye?” olowooza lwaki baaleeta omukyala ono mu maaso ga Yesu nga bamukema?

Nabo benyini baali benzi (oba baayendako) emiruundi mingi naye baali bagezaako okusalira

Page 74: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

74 Obununuzi obw’olubeerera

omukazi ono omusango mu maaso ga Yesu era bamutte, nga bagala Yesu naye akkiriziganye nabo.

Yesu yamanya ekyaali mu mitima gy’abantu bano era yali alina by’amanyi ku mukazi. Awo n’alyoka agamba nti “mu mmwe atayonoonangako yaba asooka okumukuba ejjinja.” Awo abawandiisi n’abafalisaayo okuva ku mukulu okutuuka kumuto, ne batandika okuvaawo omu kw’omu, Yesu ne bamuleka n’omukazi. Tukimanye nti abaavaawo baali bawandiisi n’abafalisaayo abakulembeze b’ediini, baali banatera okusalira omukazi ono omusango newankubadde nabo benyini baali bonoonyi.

Yesu Kristo yalangirira okwagala eri ensi eno. Okwagala kusibuka mu ye. Yesu yawanga abantu emmere, yazuukiza nga abafu, namwandu omu yamuddiza mutabani we eyali afudde, yazuukiza ne lazaalo mu bafu, e Besaniya; yawonya abagenge, n’ebyamagero ebirala bingi. Yesu yatwala ebibi by’abonoonyi ffena nalyoka atuwa

obulokozi. Yesu atwagala. Yesu ayiinza byonna; asobola

okukola kyonna kyayagala. Wabula abafalisaayo n’abawandiisi baalowooza nti Yesu mulabe wabwe. Eno y’ensonga lwaki abantu abo baleeta omukazi ono mu maaso ge bamukeme. Baabuuza nti “omuyigiriza Musa yatulagira okubakuba amayinja abakola bwebati. Kale gwe oyogera ki ku ye?” Baali basuubira nti Yesu anabakkiriza okumukuba amayinja, Lwaki? Singa twaali tusala omusaango nga tusinziira ku kyawandiikibwa mu mateeka ga Katonda, buli omu kuffe mwenzi era nga tulina okukubibwa amayinja ne tuttibwa; ffena twandibadde tuttibwa n’amayinja era nga twolekedde geyena ng’omukyala ono eyakwatibwa mu bwenzi bwe yali. Empeera y’ekibi kufa. Wabula, Yesu teyalagira Bantu bano kugenda mu maaso kukuba mukazi mayinja. Yabagamba nti, “mu mmwe atayonoonangako asooke okumukuba ejjinja.”

Page 75: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

75 Obununuzi obw’olubeerera

Lwaki Katonda yatuwa ennono

613 eza’mateeka?

Yazituwa tulyoke tumanye nti tuli bonoonyi.

Amateeka galeeta musango. Katonda

mutukuvu era n’amateeka ge matukuvu. Amateeka ge gali mu nnono 613. Katonda atuwadde ennono 613 tusobole okumanya nti tuli bonoonyi era tuli bantu abatatuukiride. Amateeka gatuyigiriza nti tulina okuyaayanira ekisa kya Katonda, olwo lwe tunaanunulibwa. Singa tetulina kumanya (oba okutegeera) kisa kya Katonda, naffe twandibadde ng’omukyala eyakwatibwa mu bwenzi ng’ayolekede omusango ne geyena. Abawandiisi n’abafalisaayo abataamanya mazima gaali mu mateeka baalowooza nti singa baakanyuga amayinja ne batta omukazi, bandibade basajja batukuvu.

Wabula tebaamanya nti mu kumukuba amayinja, nabo benyini baali besalira omusango. Omukazi newankubadde yakwatibwa mu kikolwa, tewali muntu mu nsi eyandibadde asanidde okumukuba amayinja.

Singa ffe, abantu awamu n’omukazi ono, twasalilwa omusango okusinziira ku mateeka, twandifunye ekibonerezo ekibi eky’ekitalo. Naye Yesu Kristo yatulokola ffe abonoonyi n’atuwonya n’omusango gwe twalina. Olowooza ffe abantu twandibadde tukyali balamu singa amateeka gaali gakyassibwa mu nkola? Singa buli omu kuffe ali mu geyena. Abo abawandiisi n’abafalisaayo bo amateeka baali bagamanyi nga bwe gawandiikidwa. Singa gaali gateekeddwa mu nkola kigambo ku kigambo, nabo gandibasse. Amazima ge gano; amateeka Katonda yagatuwa ffe abantu tusobole okumanya ekibi ekiri muffe. Naye abamu kuffe ng’abawandiisi n’abafalisaayo, mulimu ababonabona, kubanga amateeka

Page 76: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

76 Obununuzi obw’olubeerera

bagategera bubi era tebagateeka bulungi mu nkola. Abafalisaayo ab’enaku zino, ng’era

ab’ebiseera ebya baibuli, amateeka bagamanyi nga bwe gawandiikibwa. Betaaga okumanya ekisa kya Katonda awamu n’obwenkanya era n’amazima ge. Balina okuyigirizibwa enjiri y’obununuzi bwa Yesu era balokoke.

Abafalisaayo baabuza nti, “mu mateeka … Musa yatulagira okubakuba amayinja abakola bwe batyo: kale gwe oyogera ki kuye?” bino baabibuuza n’obuvumu nga bakute amayinja gabwe. Bali bamanyidde ddala nti Yesu yali tayinza ku kontana nabo era nga besunga okumulaba ng’amaze okugwa mu katego kaabwe. Singa Yesu omusango yagusala ng’asinzira ku mateeka, bano abafalisaayo nabo bandimukubye amayinja. Ekiluubirirwa eky’abantu bano abajja eri Yesu kyal kirala. Baali bagala kukuba mukazi awamu ne Yesu amayinja. Singa Yesu yabagaana okukuba omukazi amayinja, abantu bandigambye

nti Yesu anyoma amateeka ga Katonda naye bandimukyukidde era bandimukubye amayinja, kubanga buli eyanyoomanga amateeka yali avvodde Katonda. Kaali katego kazibu nnyo Yesu ke yalimu, naye Yesu yakutama n’awandiika ku ttaka n’engalo. Abantu ne beyongera okumubuuza, “oyogera otya ku ye?” Kiki ky’owandiika ku ttaka? Damu ekibuuzo kyaffe.” bali basoonze engalo eri Yesu nga bamubuuza.

Olwo Yesu n’agolokoka n’abagamba nti, “oyo mu mmwe atalina kibi yabasooka okumukanyugira ejjinja. N’akutama nate n’awandiika ku ttaka. Olwakiwulira, ne balumirizibwa mu myoyo gyabwe, ne bava mu maaso ge, omu kw’omu okutandikira ku bakulu otutuusa ku yasembayo. Yesu n’omukazi bokka be basigalawo.

Page 77: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

77 Obununuzi obw’olubeerera

“Mu mmwe atayononangako yaba asooka okumukuba ejjinja”

Ebibi biwandikiidwa wa?

Mu mitima gyaffe, ne mu bikolwa byaffe.

Yesu yabagamba nti, “mu mmwe,

atayononangako asooke okumukuba ejjinja” n’akutama nate n’awandiika ku ttaka. Abakulu ne batandiika okuva mu maaso ge. Ebibi byali bingi n’okulumizibwa nakwo kwali kungi. N’olwekyo be basooka okuvaawo. N’abato nabo bavaawo. Kandete eky’okulabirako kino: Singa Yesu yali ayimiridde mu ffe, era nga naffe tuyimiridde nga twetoolodde omukazi omwenzi, singa Yesu atugamba nti, “mu mmwe, atayonoonanga asooke okumukuba ejjinja”. Kiki kyewandikoze ggwe?

Yesu yali awandiika ki ku ttaka? Katonda eyatutonda awandiika ebibi byaffe mu bifo bibiri. Ekifo ekisooka, gy’emitima gyaffe. “ekibi kya Yuda kyawandiikibwa ne kalamu ey’ekyuuma n’ejjinja ery’alimasi essongovu. Kyayolekebwa ku kipande eky’omu mitima gyabwe, ne ku mayembe g’ebyoto byammwe;” (Yeremiya 17:1).

Katonda ayogera naffe, ng’ayita mu Yuda omukiise waffe. Ebibi byaffe abantu biwandiikidwa n’ekalamu ey’ekyuma, n’ejjinja ery’alimasi essongovu. Ebibi biwandikiidwa ku bipande by’emitima gyaffe. Yesu yakutama wansi n’awandiika ku ttaka nti abantu ffena tuli bonoonyi. Katonda amanyi nti twonona era ebibi abiwandiika ku bipande by’emitima gyaffe. Asooka n’awandiika ebikolwa byaffe, ebiva (ebisibuka) mu kufuba (okugezaako) okukuuma amateeka. Kubanga ebibi biwandiikidwa mu mitima gyaffe, buli lwe tutunulira amateeka, tumanya nti, tuli bonoonyi. Kubanga ebibi

Page 78: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

78 Obununuzi obw’olubeerera

byawandiikibwa mu mitima gyaffe, tumanya nti tuli bonoonyi mu maaso ga Katonda.

Yesu yakutama wansi omulundi ogw’okubiri n’awandiika ku ttaka. Kyawandiikibwa nti ebibi byaffe byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’ebikolwa ebiri mu maaso ga Katonda (Okubikulirwa 20:12). Buli mwonoonyi n’ekibi ky’akoze oba kye yakola, awandikiiddwa mu kitabo. Ebibi nabyo, biwandiikiddwa ku buli kipande ky’omutima gw’omuntu. Ebibi byaffe, biwandiikidwa, mu kitabo eky’ebikolwa era ne ku bipande by’emitima gyaffe.

Ebibi biwandiikibwa ku kipande ky’omutima gwa buli muntu: eno y’ensonga lwaki abaali bategese okukuba omukazi amayinja baali tebalina kya kwogerako ku kibi mu bbo. Ebigambo bya Yesu byabikula amaaso gaabwe okulaba ekibi ekyali ku bipande by’emitima gyabwe.

Kakano ebibi byaffe bisangulibwa ddi?

Bwe tukkiriza obununuzi bw’amazzi

n’omusaayi gwa Yesu mu mitima gyaffe.

Bw’ofuna obulokozi bwa Yesu, ebibi byo

byonna mu bitabo eby’ebikolwa bisangulibwa era n’erinnya lyo liwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. Abo abawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu bagenda mu ggulu. Ebikolwa byabwe ebirungi n’ebintu bye bakoze mu nsi nga babikolera bwakabaka bwa Katonda, n’obutuukirivu bwe, nabyo biwandiikibwa mu kitabo ky’obulamu. Abo abanunulibwa okuva mu kibi kyabwe, banassikira obulamu obutagwaawo. Jjukira nti ebibi bya buli muntu biwandiikidwa mu bifo so tewali asobola kulimba Katonda. Tewali muntu n’omu muffe atayonoonangako

Page 79: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

79 Obununuzi obw’olubeerera

oba atayendangako mu mutima gwe. Abantu tulina ekibi muffe era tetutuukiridde.

Abo abatanaba kukkiriza kununulibwa kwa Yesu mu mitima gyabwe bakyafugibwa kibi. Tebalina buvvumu. Batya Katonda n’abantu baanabwe, kubanga balina ekibi mu bbo. Naye bwe bakkiriza enjiri ey’okununulibwa okw’amazzi n’omwoyo mu mitima gyabwe, ebibi byonna ebiwandiikidwa ku bipande by’emitima gyabwe ne mu bitabo by’ebikolwa byabwe, bisangulibwa era ne banunulibwa ne bava mu bibi byabwe byonna.

Waliwo ekitabo eky’obulamu mu ggulu. Amannya g’abo abakkiriza mu kununulibwa okw’amazzi n’omwyo gawandiikibwa mu kitabo. Abo bebolekedde eggulu. Mu ggulu bayingirayo, si lwakuba teboononangako mu nsi naye bayingirayo, kubanga baanunulibwa okuva mu bibi byabwe byonna nga bakkiriza okununulibwa kw’amazzi n’omwoyo. “Lino ly’eteeka

ly’okukkiriza” (Abaruumi 3:27). Ab’oluganda, tukimanye nti, abawandiisi

n’abafalisaayo bali bonoonyi, bali tebawukana n’omukazi eyakwatibwa mu kikolwa eky’obwenzi. Amazima gali nti bayinza okuba nga baali bonoonyi okusinga abalabi (abantu abalala) kye bali babasuubira okubeera ate nabo bennyini bali beelimba nti sibonoonyi nnyo. Banaddiini mu biseera ebyo nabo bali babbi bamyoyo, nga babba obulamu. Bagezangako okusomesa abantu n’obuyinza naye nga bo tebanaba kununulibwa.

Okusinziira ku mteeka, tewali muntu n’omu atalina kibi. Wabula omuntu afuna obutuukirivu silwakuba ye tayonoonangako? Nedda. Naye obutuukirivu abufuna, kubanga anunulibwa okuva mu kibi. Erinnya ly’omuntu bwatyo liwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. Ensonga ey’omuwendo omuntu gyalina okumanya yenno: Erinnya lyo liwandiikidwa mu kitabo

Page 80: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

80 Obununuzi obw’olubeerera

eky’obulamu oba teririyo? Abantu tetusobola kutuukirira ku lwaffe. Tetusobola kubeerawo nga tetwonoonye. Eno y’ensonga lwaki tulina okununulibwa tusobole okuwandiikibwa mu kitabo kino eky’obulamu.

Olowooza onokkirizibwa okuyingira mu ggulu ku lunaku luli? Kisinziira ku ky’onoba okoze ng’owulidde enjiri. Bw’onogikkiriza, Yee naye bw’onogigana, nedda! Kiki ekyaba ku mukazi eyakwatibwa mu bwenzi? Osanga yagwa ku mavivige nazibiriza nga bwakaaba, kubanga yamanya nti enkomerero ye etuuse. Oba osanga amaziga ge yakaaba gali maziga ga kunakuwala n’okwenenya. Abantu bwetunaba tunatera okufa, tufuuka b’amazima. Osanga esaala y’omukazi ono, yali efananako bweti, “Ai Mukama kituufu ddala nfe? Kkiriza emmeme yange era onsasire. Nkwegayiride nsasira Yesu. Mukama Katonda bw’ogamba nti nina omusango, oli mutuufu era bw’onoŋŋamba nti sirina kibi, era olimutuufu”.

Omukazi ono osanga yali ayogera buli kimu ekyali kimujjira kusaawa ezo. Osanga yali agambye nti byonna abirekedde Yesu. Omukazi ono teyagamba nti nyonoonye. “Ai Mukama nsonyiwa obwenzi”. Yagamba nti, “nkwegayiride nnunula onzigye mu bibi byange. Bw’ononunula nange, nalokoka, bw’otonunule, naagenda mu geyena, naye netaaga obununuzi bwo. Netaaga okwagala kwa Katonda era nsaba Katonda onsasire”. Yazibiriza nayatula obwononefu bwe.

Yesu n’amubuuza, “omukazi bazze wa? Tewali asaze kukusinga?” omukazi n’adamu n’amugamba nti, “mpaawo muntu Mukama wange”. Yesu teyasalira mukazi musango, kubanga yali atute ebibi bye okuyita mu kubatizibwa kwe mu mugga Yoladani era yali yanunulibwa dda era Yesu yeyalina okusalirwa omusango ku lw’ebibi by’omukazi ono.

Page 81: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

81 Obununuzi obw’olubeerera

Yesu n’amugamba nti “nange sisala kukusinga”

Omukazi omwenzi Yesu yamusalira omusango?

Nedda.

Omukazi omwenzi yawebwa omukisa bwe

yafuna obulokozi mu Yesu. Yanunulibwa okuva mu bibi bye byonna. Mukama waffe Yesu atugamba nti, yatununula okuva mu bibi byaffe byonna era naffe tuli batuukirivu. Bwatyo bwatugamba mu Baibuli. Yaffa ku musalaba, okusasulira ebibi byaffe, bye yajjawo ku lunaku lwe yabatizibwa mu mugga Yoludani. Yesu atugamba kati nti yatununula ffe abakkiriza mu bununuzi obuli mu kubatizibwa kwe era n’omusango gw’ebibi byaffe gwe yeetikka ku musalaba. Ffena abantu tweetaga ekigambo kya

Yesu ekyawandiikibwa era tulina okukinyweeza n’okukitambuliranga mu. Olwo tunaanunulibwa era tubeee ab’omukisa. Esaala: “Mukama Katonda sirina bisanyizo mu maaso go sirina kirungi munda munze. Sirina kirungi kye nyinza kulaga okujjako ebibi byange. Naye nze nzikiriza nti Yesu ye Mukama wange annunula. Yatwala ebibi byange byonna mu mugga Yoludani era n’abeera omutaango ku musaalaba. Olw’okubatizibwa kwe n’omusaayi gwe, yatwala ebibi byange byonna. Ai Mukama wange, nkukkiriza.”

Bwatyo omuntu bw’alokoka asaba esaala ng’eyo gye tusomye waggulu. Yesu tatusalira musango. Yatuwa ffena omukisa okubeera abaana ba Katonda. Eri abo abakkiriza mu kununulibwa kw’amazzi n’omwoyo, Katonda abajjeko ebibi byabwe byona era abafudde abatuukirivu. Ab’emikwano abagalwa, omukazi omwenzi yanunulibwa. Yawebwa omukisa n’okunulibwa

Page 82: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

82 Obununuzi obw’olubeerera

kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Naffe tusobola okuweebwa omukisa bwetutyo. Buli muntu amanyi obwonoonefu bwe nasaba Katonda amusasire, era buli muntu akkiriza mu bununuzi bw’amazzi n’omwoyo obuli mu Yesu, affuna obununuzi n’obulokozi okuva eri Katonda era aba aweereddwa omukisa. Wabula abo abatamanyi nti bonoonyi tebayinza kununulibwa era tebabeera na mukisa.

Yesu yajjawo ebibi by’ensi (Yokaana 1:29). Buli mwonoonyi mu nsi bwakkiriza mu Yesu Kristo, asobola okununulibwa. Yesu yagamba omukazi nti, “nange sisala kukusinga.” Yagamba nti tamusalira musango, kubanga ebibi by’omukazi byali byatwalibwa Yesu okuyita mu kubatizibwa kwe mu mugga Yoludani. Yesu ye yeetikka ebibbi byaffe era n’omusango ogwandibadde kuffe Yesu ye yagutwaala.

Tulina okununulibwa mu maaso ga yesu

Kiki ku bibiri ekisinga omuweendo: Okwagala kwa Katonda, oba okulamula

(omusango) gwa Katonda?

Okwagala kwa Katonda. Abafalisaayo, abalina amayinja mu ngalo

zaabwe ab’edda bafanana banaddiini b’ennaku zino abavvunula obubi amateeka. Bakkiriza nti, kubanga amateeka gagamba ‘oyo akwatibwa mu bwenzi alina kukubibwa mayinja affe.’ Newankubadde kino bakituukiriza, bbo abafalisaayo batunuulira abakazi n’obukaba n’ebamala n’ebeebuzabuza ng’abatalina kibi kyonna. Tebayinza kununulibwa era tebayinza kulokolebwa. Abafalisaayo n’abawandiisi baali bakuumi ba nnono z’ansi. Abo sibe bantu Yesu be yatita. Abantu bwebatyo tebaawulira Yesu

Page 83: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

83 Obununuzi obw’olubeerera

ng’abagamba omukazi nti, “nange sigusala ku kusinga.” Omukazi eyakwatibwa ye yasobola okuwulira Yesu ng’amugamba nti, “nange sisala kukusinga.” Nawe bw’omenyeka n’obeera omwesimbu mu maaso ga Katonda, osobola okuweebwa omukisa nga ye. “Ayi Katonda, obwenzi bwe bujjudde mu bulamu bwange ekyo nkimanyi, kubanga ekibi kye nkola buli kaseera, nkiddamu emirundi mingi buli lunaku.” Esaala ng’eyo etalimu bukuusa, gy’oyinza okusaba Katonda.

Bwe tukkiriza amateka era n’etumanya nti tuli bonoonyi abalina okuffa twetaaga okusaba Katonda nti, ‘Ai Katonda bwenti bwendi era bwenfanana nkwegayiride ndokola.’ Katonda anaatununula era teweebwe omukisa. Okwagala kwa Yesu, enjiri ey’amazzi n’omwoyo bisinga omusango gwa Katonda. ‘Nange sisala kukusinga’ Yesu tatusalira musango. Akugamba nti, “wanunulibwa.” Muakama waffe Yesu Kristo ye Katonda ow’ekisa.

Atununudde okuva mu bibi by’ensi. Katonda waffe ye Katonda ow’obwenkanya era Katonda w’okwagala. Okwagala kwa Katonda, okubatiza kwe okw’amazzi n’omwoyo kusingia ddala omusango gwe.

Okwagala kwe kusingaobwenkanya bwe

Lwaki Katonda yatununula fenna?

Kubanga okwagala kwe kusinga obwenkanya bwe.

Singa Katnda yalamula n’obwenkanya ffe

abantu, fenna twandisuulidwa mu geyena. Naye olw’okwagala kwa Yesu, twalokolebwa okuva mu musango. Omusango gusinga obwnkanya. Katonda yatuma omwana we omu yekka, Yesu.

Page 84: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

84 Obununuzi obw’olubeerera

Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna n’abyeetikka era n’atwala omusango ku lwaffe fenna. Kakano buli akkiriza mu Yesu ng’omulokozi afuuka omwana wa Katonda era abeera mutuukirivu. Okwagala kwa Katonda kusinga obwenkanya bwe.

Tulina okwebaza ennyo Katonda, kubanga tatulamula ng’asinziira ku bwenkanya bwe. Lumu Yesu yagamba abawandiidsi, abafalisaayo n’abayigiriziwa nti, “naye mugende muyige amakulu g’ekigambo kino nti njagala kisa, so si ssadaaka: kubanga sajja kuyita batuukirivu. Wabula abantu ababi” (Matayo 9:13). Abantu abamu bayinza okuba nga batta ente oba embuzi buli lunaku, nga bagiwaayo eri Mukama nga bwe bamusaba nti “Ai Mukama nsonyiwa ebyonoono byange ebya bulijo.” Katonda tayagala ssadaka zaffe, wabula, okukkiriza kwaffe mu kununulibwa okw’amazzi n’omwoyo. Ayagala tununulibwe era tulokolebwe. Ayagala kutuwa era kutulaga okwagala kwe era naffe atukkirize

nga bwetuli. Ab’oluganda mulabye nti Katonda atuwadde obulokozi bwe obutuukiridde.

Yesu tayagala kibi, naye alina okwagala okwa namaddala eri ffe abantu abatondebwa mu kifananyi kye. Katonda yasalawo, nga ttanabana kutonda nsi, nti ffe abantu tuyitibwe abaana bbe era yaggyawo ebibi byaffe ng’ayita mu kubatiza era n’omusaayi gwe. Katonda yatutonda alyoke atununule, atwambaze Yesu era atufuule abaana be. Kuno kwe kwagala kwalina eri ffe abatondeebwa mu kifananyi kye.

Singa Katonda yali atulamula ng’asinziira ku mateeka, ffe abonoonyi twandibadde tulina kufa. Naye yatununula okuyita mu kubatiza kwa Yesu, era ne mu musango Yesu gwe yeetikka ku musalaba. Omusomi kino okikkiriza? Njagala kino tukikkakkase mu ndagaano enkadde.

Page 85: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

85 Obununuzi obw’olubeerera

Alooni y’ateeka emikono gye ku mbuzzi

Ani eyassanga ebibi by’abaisilairi ku mbuzzi?

Kabona omukulu.

Mu ndagaano enkadde, ebibi by’ensi yonna

byatangirirwanga. Mu ndagaano empya, okubatiza kwa Yesu kwe twafuna. Mu ndagaano enkadde, ebibi by’omwaka eby’abaana ba Isirairi byatangirirwanga. Kabona omukulu ye yateekanga emikono gye ku mutwe ge’embuzi ennamu etaalina bulema bwonna.

“Awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n’ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw’abaana ba Isirairi, n’ebyonoono byabwe byonna; n’abiteeka mu mutwe gw’embuzi,

n’agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw’omuntu eyeteeseteese:” (eby’ebaleevi 16:21).

Omutango gw’ebibi bwe gutyo bwe gwaweebwangayo mu nakku ez’endagaano enkadde. Omuntu yateekanga emikono gye ku mutwe gw’ekiweebwayo era ebibi bye bya ssibwanga ku ssadaaka. Awo ssadaaka yattibwa era omusaayi gwa ssadaaka, Kabona yaguteekanga ku mayembe agaali ku “alutaali”.

Amayembe gano gaali gasangibwa ku nsonda ennya eza “alutaali.” Amayembe gano galina kye gatulaga: mu Kubikulirwa 20:12 tusoma ku bitabo eby’ebikolwa. Kino kye kifananyi kyenyini eky’amayembe. Omusaayi gwa ssadaaka ogwasigalawo gwa mansulibwanga ku ttaka. Ettaka wano litegeeza (litulaga) omutima gw’omuntu. Omuntu yatondebwa mu ttaka. N’olwekyo abantu bawaangayo bwebatyo omutango olw’ebibi byabwe bulijo, wabula tebaasobola kuwangayo biwebwayo bya kibi buli

Page 86: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

86 Obununuzi obw’olubeerera

lunaku. Awo Katonda yabakkiriza okuwaayo omutango gw’ebibi byabwe omulundi gumu mu mwaka. Omukolo guno ogw’okutangirira ebibi gwakolebwanga ku lunaku olw’ekumi mu mwezi ogw’omusanvu. Luno lwe lwali olunaku lw’omutango. Ku lunaku olwo, Kabona omukulu eyali akikirira Abaisilairi yaletanga embuzi bbiri naziteekako emikono gye ng’akabonero akokuzisaako ebibi byonna aby’abantu. Era yaziwangayo eri Katonda. Embuzi zino ze zaali omutango gwe bibi by’abantu ba Isirairi. “Awo Alooni anateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n’ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw’abaana ba Isirairi, n’ebyonoono byabwe byonna; n’abiteeka ku mutwe gw’embuzi.”

Katonda yawa Alooni obuyinza nga Kabona omukulu okukikirira Abaisirairi. Kabona yeyakikirira abantu bonna mu Isirairi. Yateekangako emikono gye ku mbuzi

n’agyatulirako obutali butuukirivu bwa Isirairi n’ebyonoono byabwe era Alooni omutango yali aguwaayo kulwa Isirairi yonna.

Alooni yayatulanga ebyonoono bya Isirairi. Esaala yali efenenako ng’eno, “Ai Kataonda, ffe abaana bo twonoonye. Tusinzizza ebibumbe, tetugondedde nnono z’amateeka go, tuvvodde erinnya lyo ne twetonderawo ffe ebibumbe ebirala n’etubyagala okusinga ggwe. Tetukuumye lunaku lwa sabiiti. Abazadde baffe tetubasizzamu kitiibwa, so n’okutta tusse, tuli benzi, tuli babbi era mulimu enyombo n’obugyemu mu ffe.”

Alooni yayatulanga buli kibi ky’abaana ba Isirairi, “Mukama Katonda Abaisirairi wewaawo nange, fenna tetusobodde kukuuma mateeka go. N’olwekyo ffe okununulubwa nga bwe wagamba, nteeka emikono gyange kumutwe gw'embuzi eno okugissaako ebibi ebyo byonna byetukoze”. Kabona omukulu yateekanga emikono ku mbuzi era yakikola ku lwa Isirairi yonna, ng’assa ebibi

Page 87: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

87 Obununuzi obw’olubeerera

byonna ku mutwe gw’embuzi. Ekikolwa eky’okusaako emikono kyamanyibwanga ekikolwa eky’okuyitako oba okusindiikiriza (Eby’abaleevi 1:1-4, 16:20-21).

Ekiwebwayo ekyokutangirira kyatukirizibwanga kitya mu ndagaano enkadde?

Kyatuukirizibwa mu kikolwa eky’okussaako

emikono ku mbuzi (omutango).

Katonda yawa abaisirairi enkola y’okuwa ssadaaka balyoke bayisse (baatule) ebibi byabwe olwo banunulibwe. Katonda yassa essira kukiweebwayo. Kyali kirina kubeera nga kirongoofu, nga tekirina bulema yadde n’ebbala. Era ekiweebwayo kino yeyali ssadaaka eyaffa mu kifo ky’omuntu. N’okununulibwa kwaffe abantu kwali bwe kutyo.

Wabula ku lunaku olw’okutangirira, ekiwebwayo eky’ekibi, kyattibwanga n’omusaayi n’egutwalibwa munda mu weema mu kifo ekitukuvu awaali emeeza ey’ekisa, omusaayi guno gwamansulibwanga ku meeza eno emirundi musanvu. Y’ensonga lwaki Abaisirairi baatangiriranga ebibi byabwe ku lunaku olw’ekumi mu mwezi ogw’omusanvu.

Kabona omukulu yayingiranga mu kifo ekitukuvu yekka okuwaayo ekiweebwayo. Abantu bakuŋŋananga ebweeru n’ebawulira ebidde bya zaabu ku mudalizo (ku mukugiro) ogw’ekyambalo kya effodi ekya Kabona omukulu. Ebidde bya zaabu byavuganga emirundi musaanvu ng’omusaayi nagwo bwe gumansirwa ku meeza ey’ekisa. Olwo abantu ebweru basanyukanga, kubanga baamanya nti ebibi byabwe bitangiridwa. Okuvvuga kw’ebidde bya zaabu kutulaga edoboozi ery’amawulire ag’enjiri agessanyu mu nnaku zino.

Page 88: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

88 Obununuzi obw’olubeerera

Kikyamu nnyo okulowooza nti Yesu alina abamu banunula ate n’aleka abalala. Yesu yatwala ebibi byaffe abantu fenna, bwe yabatizibwa mu Yoludani. Yayagala okutununula fenna omulundi gumu. Ebibi byaffe ebya bulijo byali birina okujjibwawo omulundi gumu.

Mu ndagano enkadde okutangirira kwaweebwa ffe abantu okuyita mu kuteeka emikono ku mutango (embuzi oba endiga etaalina bbala) n’omusaayi gw’omutango. Alooni yateekanga emikono ku mutwe gw’omutango mu maaso g’abantu bonna n’ayatula ebibi by’abantu bonna bye baali bakoze mu mwaka ogwo. Ebibi byassibwanga ku mbuzi mu maaso g’Abaisirairi.

Omukulu ng’oyinza okumbuuza nti, “Kabona omukulu ng’amaze okussa emikono gye ku mbuzi ebibi by’abantu byaddangawa?” oluvanyuma lw’okussibwa ku mbuzi, olwo omuntu “eyeeteeseteese” yeyalina okugisindiikiriza mu ddungu awataali mazzi na

muddo. Embuzi yali ejjudde ebibi by’Abaisirairi. Olwo embuzi yatabaalanga mu ddungu mu musana era waayitangawo akaseera embuzi neffa olw’obuzito bw’ekibi ky’Abaisirairi.

Kuno kwe kwagala kwa Katonda; okwagala kw’atulaga mu bununuzi bw’atuteeketeekedde. Edda bwebatyo bwe batangirira ebibi by’Abaisirairi mwaka ku mwaka. Naye tuli mu nnaku ez’endagano enkadde kyatuukirizibwa era okumala emyaka kati nkumi bbiri ekisuubizo kino eky’okununulibwa kituukiridde. Yajja n’atununula okuva mu bibi byaffe byonna.

Okutununula fenna

Erinnya Yesu litegeeza ki?

Omulokozi anaanunula abantu be okuva mu bibi byabwe.

Page 89: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

89 Obununuzi obw’olubeerera

Tusome mu Mataayo 1:20-21 “Laba bwe yali alowooza bw’atyo, malayika wa Mukama n’ajja gy’ali mu kirooto, n’amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU, kubanga ye y’alilokola abantu be mu bibi byabwe.”

Kitaffe ali mu ggulu yafuna omubiri gw’omuwala embeerera Malyamu era Yesu n’azaalibwa. Yesu yazalibwa asobole okutunazaako ekibi. Katonda yatuma Malayika we n’agamba Malyamu nti, “… era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow’obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu.” Kino kyali kitegeeza nti omwna w’obulenzi owa Malyamu asooka, Yesu, ye yali omulokozi. Erinnya Yesu kiki kye litegeeza? Amakulu mu linnya eryo ge ganno: Oyo anaanunula abantu be, oba omulokozi.

Kale no Yesu atulokola atya okuva mu bibi

byaffe? Yesu bwe yabatizibwa mu mugga Yoludani, yagyawo ebibi byaffe. Ebibi byonna byassibwa ku ye. Mu Mataayo 3:13-17 tusoma nti;

“Awo Yesu n’ava e Galiraaya, n’atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng’agamba nti nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gyendi? Naye Yesu n’addamu n’amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwaanira bwe tutyo okutuukiriza obutukirivu bwonna. N’alyoka amukkiriza. Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkulira, n’alaba Omwoyo gwa Katonda ng’akka ng’ejjiba, ng’ajja ku ye; laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”

Yesu yagenda ewa Yokaana omubatiza abatizibwe, ffe abantu tulyoke tununulibwe okuva mu bibi byaffe. Yatambula n’adda eri Yokaana n’akkiriza okubatizibwa Yokaana.

Page 90: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

90 Obununuzi obw’olubeerera

Nsuubira ebigambo bye byafananako nga bino: “Yokaana, kkiriza okumbatiza kaakano, kubanga kitugwanira bwetyo okutuukiriza obutukirivu bwonna. Kubanga nze ŋŋenda okugyawo ebibi by’ensi yonna n’okununula abonoonyi bonna, n’olwekyo kkiriza omubatize kaakano!

Wewaawo ddala kyali kigwana okutuukiriza obutuukirivu bwonna obwa Katonda. Bwatyo bwe yatwala ebibi byo byonna. Ebibi byo byonna byateekebwa ku Yesu. Kino okimanyi ow’oluganda? Kkiriza mu bununuzi bwa Yesu, mu kubatizibwa kwe n’Omwoyo era olokoke.

Obutukirivu bwonna bwatuukirizibwa butya?

Bwatukirizibwa mu kubatizibwa

kwa Yesu. Katonda yasuubiza Abaisirairi nti ebibi by’ensi

yonna birijjibwawo ng’emikono giteekeddwa ku ssaddsaka eyali eweredwayo olw’ekibi. Wabula kino kyali tekisoboka, kubanga buli muntu yali tasobola kwefunira mbuzi yiye kububwe okugiteekako emikono. Kale nno, Katonda yayita Alooni n’amwawula nga Kabona omukulu asobole okuwangayo ssaadaaka ku lw’Abaisirairi. N’olwekyo kyava ayatulira ebibi by’Abaisirairi ku mutwe gw’embuzi omundi gumu. Gano gegali amagezi era n’amanyi agali mu bununuzi bwa Katonda. Katonda mugezi era yeewunyisa.

Katonda yatuma omwana we Yesu alokole ensi yonna. Kale ssaddaaka ey’okuwebwaayo ey’oluberera (Yesu) yali yategekebwa dda. Ffe abantu fenna twali tulina okufuna atukiikirira eyali alina okuteeka emikono ku Yesu okumusaako ebibi by’ensi yonna. Eyatukiiririra yali Yokaana omubatiza eyali Kabona omukulu asembayo. Ono ye yajja eri ffe abantu. Kyawandiikiibwa mu Mataayo 11:11, “ddala

Page 91: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

91 Obununuzi obw’olubeerera

mbagamba nti tevangamu abbo abazalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana omubatiza.” Yokaana ye mukiise yekka owaffe abantu. Katonda yamutuma alyoke abatize Yesu ng’amussaako ebibi by’ensi yonna.

Singa obuwumbi mukaaga obw’abantu mu nsi bagenda eri Yesu kakati era nga buli omu alina okuteeka emikono ku Yesu, n’ayatula ebibi bye, olowooza kiki ekyandibadde ku mutwe gwa Yesu? Tekyandibadde kirungi abamu kuffe twandimunyigiriza okutuusa enviri lwe zandimuvuddemu. Kale nno, Katonda mu magezi ge amangi yalonda Yokaana omubatiza akiikirire ffe abantu era ebibi byaffe byassibwa ku Yesu omulundi gumu. Mu Matayo 3:13 kyawandikibwa nti, “Awo Yesu nava e Galiraya, n’atukka ku Yoludani eri Yokaana omubaiza” Yesu kw’olwo yalina emyaka asaatu. Yesu yali yakomolwa nga yakamala ennaku munana ku nsi. Ebisinga ku Yesu byamanyibwa nga awezezza

emyaka asatu. Ensonga lwaki Yesu yalinda okutusa

ng’awezezza emyaka asaatu, yali enno: mu biseera by’endagano enkadde, Kabona omukulu yali alina okuwezza emyaka asaatu egy’obukulu nga tanaba kuweereza. Lino etteeka Katonda yaliwa Musa. (Mukyamateeka 2) Kale nno Yesu, nga Kabona omukulu owo mu ggulu, yali alina okusooka okuwezza emyaka asatu. Kino obadde okimanyi era okikkiriza ow’oluganda?

Mu ndagano empya, mu Mataayo 3:13-14, tusoma nti, “Awo Yesu n’ava e Galiraya n’atuka eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugana ng’agamba nti nze nneetaaga gwe okumbatiza, nawe ojja gy’endi?” Omukiise w’abantu y’ani? Yokaana omubatiza. Naye ani mukiise w’eggulu? Ye Yesu Kristo. Abakiise bombi basisinkana. Awo ani asinga mune? Oyo omukiise we ggulu y’asinga.

Yokaana omubatiza yali mutuufu bwe

Page 92: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

92 Obununuzi obw’olubeerera

yakabiranga waggulu ng’agamba bana ddiini nti, “mmwe abaana b’emisota mwenenye. Naye mbagirawo, yewombeeka mu maaso ga Yesu.

“… nze netaaga gwe okumbatiza, naawe ojja gyendi?” Yesu n’amugamba nti, “kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira okutuukiriza obutuukirivu bwonna?” Yesu yajja mu nsi okutuukiriza obutuukirivu bwa Katonda era kino ekikolwa kyatuukirizibwa ku lunaku Yokaana omubatiza lwe yamubatiza.

“N’alyoka amukkiriza. Awo bwe yamala okubatizibwa, amangu ago nava mu mazzi, laba eggulu ne limubikulira n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’aka ng’ejjuba najja ku ye. Laba eddoboozi ne liyima mu ggulu nga ligamba nti oyo ye mwana wange gwe njagala, gwensanyukira ennyo.” Ebyo byabaawo Yesu lwe yabatizibwa. Enziji z’eggulu zagguka era n’ebibi byaffe byagibwawo.

“Okuva ku biro bya Yokaana omubatiza,

okutuusa leero, obwakabaka bw’omuggulu bwawaguzibwa, n’abawagguza babunyaga lwa manyi” (Mataayo 11:12).

Banabbi bonna baalagulanga era n’amateeka gayogera ku biro bya Yokaana omubatiza. “okuva mu biro bya Yokaana omubatiza okutuusa leero, obwakabaka obw’omuggulu, buwaguzibwa n’abawaguza babunyaga lw’amaanyi.” Buli akkiriza mu kubatizibwa kwa Yesu asobola okuyingira mu bwakabaka bwo mu ggulu.

“Nange sisala kukusinga”

Lwaki Yesu yasalirwa omusango kumusaalaba?

Kubanga yajjawo ebibi

byaffe byonna.

Page 93: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

93 Obununuzi obw’olubeerera

Yesu yabatizibwa Yokaana omubatiza n’ajjawo ebibi byaffe byonna. Oluvanyuma yagamba omukazi eyali akwatibwa mu kikola eky’obwenzi nti, “nange sisala kukusinga.” Omukazi ono teyamusalira musango, kubanga yatwala ebibi by’ensi yonna bweyabatizibwa mu mugga Yoludani, era Yesu y’enyini ye yatwala omusango gw’ebibi by’omukazi ono.

Yesu yajjawo ebibi by’ensi yonna. Tusoma mu Baibuli nti Yesu yali atya obulumi bwe yalina okuyitamu nga yeetikka ebibi byaffe ku musalaba. Kubanga “empera y’ekibi kufa.” Yasaba Katonda ku lusozi emirundi esatu. Yasaba Katonda amujjeko ekikompe. Yesu yali nga omu kuffe era okuffa kumusalaba tekyamwanguyira. Naye yali alina okufa asobole okutuukiriza omusango.

Nga ssadaaka ez’ekibi, mu ndagano enkadde bwe zaali, nga zzirina okutiriisa omusaayi ebibi bilyoke bitangirirwe. So no ne Yesu yali alina okuyita mu kufa okufanana bwekutyo ku

musalaba. Yali yajjawo ebibi by’abantu bonna era ng’alina okuwayo obulamu bwe tununulibwe. Yamanya nti yalina okusalirwa omusango mu maaso ga Katonda.

Yesu teyalina kibi kyonna mu mutima gwe, naye ebibi by’ensi byonna byamuteekebwako okuyita mu kubatizibwa kwe. Katonda mwene ye yalina okusalira omwana we omusango. Tusanye tumanye ensonga zino. Esooka: obwenkanya bwa Katonda. Ey’okubiri: Katonda yatutonera okwagala kwe tulyoke tulokoke. N’olwekyo, Yesu yali alina okufa kumusalaba.

Yesu yagamba nti, “nange sisala kukusinga, sikusalira musango.” Katonda yalina okubilamula ebibi byaffe bye tugenderedde okukola ne bye tutagenderedde, bye tumanyi n’ebyo bye tutamanyi.

Katonda ye yatusalira omusango. Omusango yagusalira Yesu eyatwala ebibi byaffe byonna okuyita mu kubatizibwa kwe. Katonda abonoonyi

Page 94: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

94 Obununuzi obw’olubeerera

teyabasalira musango, kubanga ajjude okwagala ate wa kisa. Okubatizibwa kwa Yesu n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba kulwaffe, kwe kwagala okw’olubeerera Katonda kwalina eri ffe. “Katonda bwatyo bwe yayagala ensi n’okuwayo n’awayo omwana we omu yekka nti buli amukkiriza aleme okubula wabula afune obulamu obutagwaawo” (Yokaana 3:16).

Bwe tutyo bwe tumanya okwagala kwe. Yesu bwe bamuleetera omukazi omwenzi, teyamusalira musango.

Omukazi ye yamanya nti mwononyi, kubanga yakwatibwa mu bwenzi. Teyayonoona mu mutima gwokka wabula ne mu bikolwa. Yali tayinza kwegana kibi kye wabula yakkiriza nti Yesu yatwala ebibi bye byonna n’alokoka. Bwe tukkiriza mu kununulibwa kwa Yesu, tulokolebwa. Kkiriza ow’oluganda, kiyamba ggwe.

Bani abaweredwa omukisa?

Abo abatalina kibi.

Abantu bonna bonoona. Abantu bonna benda, naye abantu bonna tebanaba kusalirwa musango olw’ebibi byabwe. Ffena tuli bonoonyi, naye abo abakkiriza mu kununulibwa kwa Yesu Kristo, tebalina kibi mu mitima gyabwe. Omuntu akkiriza mu bulokozi bwa Yesu abeera n’essanyu lingi. Abo abaanunulibwa okuva mu bibi byabwe be basinga okubeera ab’omukisa. Babeera batuukirivu mu Yesu Kristo.

Katonda atubuulira ku ssanyu abasonyiddwa lye balina. Mu Baruumi tusoma nti, “baweredwa omukisa abajjibwako ebibi byabwe…” (Abaruumi 4:7) ebibi byabwe byabajjibwako. Fenna twonoona okutuusa lwe tuffa. Ffe tetulimu: Katonda bwatabeerawo tetutuukiridde tweyongera mu maaso okwonoona wadde nga

Page 95: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

95 Obununuzi obw’olubeerera

n’amateeka tugamanyi. Tuli banafu nnyo. Naye Katonda yatununula n’okubatizibwa kwa

Yesu awamu n’omusaayi gwe. Atugamba nti tetukyali bonoonyi, tuli batuukirivu mu maaso ge. Tuli baana be.

Enjiri y’amazzi n’omwoyo, njiri y’abununuzi obutagwawo. Kino okikkiriza? Eri abakkiriza, abayita batuukirivu, abanunulibwa era abaana be. Muntu ki asinga essanyu mu nsi? Oyo akkiriza era anunulibwa nga akkiriza enjiri ey’amazima. Ow’oluganda onunulibbwa? Olowooza Yesu yakola ensobi bwe yajjawo ebibi byo? Nedda, yajjawo ebibi byo byonna okuyita mu kubatizibwa kwe. Kikkirize onunulibwe okuva mu bibi byo byonna. Tusome Yokaana 1:29.

Nga eby’eeredwaawo n’olweyo

Yesu yajjawo ebibi bimeka?

Ebibi by’ensi byonna.

“Olunaku olw’okubiri n’alaba Yesu ng’ajja gyali n’agamba nti laba omwana gw’endiga ogwa Katonda ajjawo ebibi by’ensi” (Yokaana 1:29).

“Laba omwana gwendiga ajjawo ebibi byensi.”

Yokaana omubatiza y’assa ebibi by’ensi yonna ku Yesu mu mugga Yoludani. Olunaku lw’okubiri yalaba n’akakasa nti Yesu ddala yali mwana gw’endiga ajjawo ebibi by’ensi byonna. Yesu yabyetikka.

Bwe twogera ku bibi by’ensi yonna, tutegeeza ebibi n’ebyonoono abantu bye baakola okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomelero. Kale, emyaka nga nkumi biri gye gyakayitawo, Yesu

Page 96: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

96 Obununuzi obw’olubeerera

kakyanga ajjawo ebibi byaffe abantu natununula. Ng’omwana gw’endiga, yatwala ebibi byaffe byoona, era yasalirwa omusango ku lwaffe. Buli kibi ffe abantu kye tukola, kyassibwa ku Yesu. Yesu yafuuka omwana gw’endiga ajjawo ebibi byonna eby’ensi. Yesu yajja mu nsi munno ng’omusajja omuwombeefu eyali eyetegese okulokola abonoonyi eb’ensi eno yonna. Ffe abantu twonoona, kubanga tuli banafu abonoonyi abatamanyi kubanga tetutegeera ate tetutuukiride. Twonoona, kubanga ekibi twakisikira okuva kujjaja ffe Adamu. Ebibi bino byonna, byayerebwa n’ebiyolebwa n’ebitekebwa ku mutwe gwa Yesu okuyita mu kubatizibwa kwe mu mugga Yoludani. Yesu yamala n’affa ku musalaba naye oluvanyuma Katonda yamuzuukiza ku lunaku olw’okusatu.

Ng’omulokozi w’abonoonyi bonna, ng’omulamuzi era omuwanguzi, Yesu atudde kakati ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda,

talina kununula nate. Kye tulina okukola kwe kumukkiriza era tulokoke. Obulamu obutagwawo bulindiridde abo abakkiriza, naye abo abatakkiriza, bolekedde kuzikirira. Yesu yatununula fenna. Ffe abanunule ffe abasinga okubeera n’essanyu ku nsi. Amazima gali nti tujja kwonoona mu maaso, kubanga tuli banafu naye obunafu bwaffe, nabwo yabutwala. Mulimu ekibi kyonna mu mutima gwo? Nedda. Yesu teyabitwala byonna? Weewawo yabitwala era yabijjawo.

Ffe abantu fenna twenkana teri asinga munne butukuvu oba butuukirivu. Wabula abasinga mu ffe tuli bananfuusi tukkiriza nti tetuli bonoonyi naye nga naffe twonoona. Eno ensi elinga ekifo ekimaamira ekibi.

Eky’okulabilako: ebakyala bwe bavva munju zaabwe, bambala lipisitiki, ne besiiga ebizigo ebibalungiya n’ebambala n’ekakondo…. N’abasajja bwe batyo olufuluma bayitirako ewa

Page 97: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

97 Obununuzi obw’olubeerera

kinyoozi n’ebambala esaati ez’omulembe. Newankubadde abami n’abakyala bafanana bulungi ebweru, munda bajjudde ettaka. Olowooza ffe abantu, sente z’ezitusanyusa? Omubiri omulungi gwe gutusanyusa? Nedda. Okununulibwa okw’oluberera, okusonyibwa ebibi byonna; bino bye bisanyusa abantu wadde omuntu asanyuse atya ebweru, munda mu mutima abeera talina ssanyu: kubanga alina ekibi munda mu ye. Omuntu bwatyo abeera atya okusalirwa omusango.

Naye oyo anunulibwa muvvumu ng’empologoma. Talina kibi mu mutima gwe; “webale nnyo Mukama wandokola nze omwonoonyi, wajjawo ebibi byange byonna. Mmanyi sisanide kufuna kwagala kwo, naye nkuntendereza olw’okundokola. Ebibi byange byasonyiyibwa, ekitiibwa kidde eri Katonda.” Ddala omuntu anunulibwa abeera musanyufu. Omuntu awereddwa omukisa abeera n’ekisa kya

Katonda eky’obununuzi ddala musanyufu, kubanga Yesu “omwana gwe ndiga owa Katonda y’ajjawo ebibi byonna eby’ensi.” aggyewo ebibi byaffe byonna, naffe tetulina bibi. Ye yamaliriza obulokozi bwaffe ku musalaba. Ebibi byaffe byonna, ebibyo n’ebyange byajjibwawo. N’olwekyo fenna twalokolebwa.

Olw’okwagala kwa katonda

Ffe tubeera n’ekibi bwe tuba tulina Yesu mu mitima gyaffe?

Nedda.

Ab’emikwano abagalwa, omukazi eya

kwatibwa mu bwenzi yakkiriza mu bigambo bya Yesu era n’alokoka. Awandiikibwako mu Baibuli, kubanga yawebwa omukisa n’obununuzi bwa

Page 98: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

98 Obununuzi obw’olubeerera

Katonda obw’olubeerera. Naye abo abawandiisi n’Abafalisaayo bananfuusi baddukanga n’ebava ku Yesu. Bw’okkiriza Yesu oyolekedde ggulu, naye Yesu bw’omuleka, ojja kugenda mu geyena. Bw’okkiriza mu bikolwa bya Yesu eby’obutuukirivu, obeera oyingidde mu bwakabaka bwa Katonda. Naye bw’ogana, oba okkiriza ekubbo elikutwala mu geyena. Obununuzi tetubuffubira ffe ng’abantu, wabula busibuka mu bulokozi Yesu bw’atuwa.

Mu Abebulaniya 10 tusoma nti, “…kubanga amateeka bwe galina ekisikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifananyi kye nyini eky’ebigambo n’essadaka ezitajjulukuka z’ebawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera, kubanga tezandirekeddwayo ku weebwayo? Kubanga abasinga bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu, tebandibadde n’akwetegelako bibi nate. Naye mu

ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. Kuabanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okujjawo ebibi. Ng’ajja mu nsi kyava ayogera nti: Ssadaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekeekera omubiri. Tewasiima ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi ne ndyoka njogera nti laba, nzize (mu muzingo gw’ekitabo ekyampandiikwako), okukola by’oyagala ai Katonda. Bw’ayogera waggulu nti Ssadaka n’ebiweebwayo n’ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima. (ebyo by’ebiweebwayo ng’amateeka bwegali) n’alyoka ayogera nti laba nzize okukola by’oyagala. Aggyawo eky’olubereberye alyoke anwyeze eky’okubiri. Mu ebyo by’ayagala twatukuzibwa olw’okuwayo omubiri gw’a Yesu Kristo omulundi ogumu” (Abebulaniya 10:10).

“Olw’okwagala kwa Katonda” Yesu yawaayo obulamu bwe okutwala ebibi byaffe byonna

Page 99: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

99 Obununuzi obw’olubeerera

omulundi gumu, era n’atwala omusango mulundi gumu n’azuukira. N’olwekyo ffe abantu be twatukuzibwa (Abebulaniya 10:10). Obununuzi bwaffe bwatuukirizibwa.

“Na buli Kabona ayimirira, buli lunaku ng’aweereza, ng’awaayo emirundi minji Ssaddaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyako bibi emirembe gyonna: naye oyo bwe yamala okuwaayo Ssadaaka emu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’a Katonda ng’alindirira oluvanyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye. Kubanga olw’okuwaayo Ssadaaka emu yatuukkiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa” (Abebualaniya 10:11-14).

Ow’oluganda otukirizibwa. Bw’onoyoona enkya, ekyo kitegeeza nti onooba mwonoonyi nate? Yesu teyagyawo bibi ebyo nabyo? Wewaawo kye yakola yatwaala ebibi by’obulamu bwo obw’omumaaso nabwo.

“Era n’omwoyo omutukuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw’amala okwogera nti eno y’endagaano gye ndiragana nabo. Oluvanyuma lw’enaku ziri bw’ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe era ne ku magezi gabwe ndi gawandiika; n’alyoka ayogera nti n’ebibi byabwe n’obujjeemu bwabwe siribujjukira nate. Naye awali okujjibwako ebyo, tewakyali kuwangayo Ssadaaka olw’ekibi.” (Abaebulaniya 10:15-18).

Bw’agamba nti, “naye awali okuggibwako ebyo tewakyali kuwangayo Ssadaaka” atutegeeza nti ebibi byaffe byagibwaawo okuva mu nsi. Yesu ye mulokozi waffe. Bwe tumukkiriza, tulokoka. Buno bwe bununuzi obuli mu Yesu era ky’ekirabo n’ekisa ebiva eri Katonda. Gwe nage abanunulibwa okuva mu kibi, tuweeredwa ddala omukisa!

Page 100: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 5

Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Page 101: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

101 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

< Matayo 3:13-17 > “Awo Yesu nava e’Galilaaya natuuka ku

Yoludaani eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugaana ng’agamba nti nze nneetaaga ggwe okumbatiza, nawe ojja gye ndi? Naye Yesu n’addamu n’amugamba nti kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna. N’alyoka amukkiriza. Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa amanagu ago n’ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’akka ng’ejjiba, ng’ajja ku ye; laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu nga ligamba nti, “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”

Muffe mulimu abonanona n’ekibi?

Obusibe bwaffe mu kibi bukomye?

Yee.

Mukama Katonda waffe amenye ebijjegere

by’ebibi by’abantu bonna. Abantu bonna abalina obuzibu n’ekibi, baddu eri ekibi. Naye olw’obununuzi bwa Yesu Kristo, ekibi kyatujjibwako ddala. Katonda yatwala ebibi byaffe. Mulimu muffe omuntu yenna akyabonabona n’ekibi? Tulina okutegera nti olutalo lwaffe eri ekibi lukomye. Tetulibonabona n’ekibi nate. Obusibe bwaffe mu kibi bwakoma dda. Yesu lw’eyatununula ng’ayita mu kubatizibwa kwe n’omusaayi, naffe twasumululwa. Ebibi byaffe byonna, byakoma awo. Omwana wa Katonda ajjewo ebibi byaffe

Page 102: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

102 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

byonna. Katonda yasasulira ebibi byaffe byonna ng’ayita mu Yesu eyatufuula abeddembe. Omanyi abantu nga bwe babonabona olw’ebibi byabwe? Kuno okubonabona kwatandikira mu kiseera kya Adamu ne Kaawa. Abantu okutuusa kati tukyabonabona olw’ekibi kye twasikira (okuva mu biseera bya Adamu ne Kaawa).

Naye Katonda yakola endagano ewandikidwa mu kitabo kyo’olubereberye 3:15 nti, Yesu “alinunula abonoonyi bonna” Yagamba nti abonoonyi balinunulibwa okuva mu byonoono byabwe okuyita mu ssadaaka (Yesu Kristo) nga eriwebwayo ku lwabwe: Kuno kwe kwali okubatizibwa kwe okw’amazzi n’omwoyo. Era ekiseera bwe kyatuuka, Katonda yatuma omwana we Yesu akke abeere muffe. Yasubiza nti alituma Yokaana Omubatiza alangirire okujja kwa Yesu (ekisuubizo). Mu Makko 1:1-8 tusoma nti, “okusooka kwe njiri ya Yesu Kristo omwana wa Katonda nga bwe kyawandikibwa mu Nabbi

Isaaya nti laba ntuma omubaka wange mu maaso go, alirongoosa oluguudo lwo. Eddoboozi ly’ayogerera waggulu mu ddungu nti, mulongoose oluguudo lwa Mukama, muluŋŋamye amakubo ge; Yokaana yajja eyabatiza mu ddungu n’abuulira okubatitizibwa okw’okwenenya olw’okujjibwako ebibi. N’ensi yonna eye’Buyudaaya n’ab’eYerusaalemi bonna ne bavayo ne bajja gyali ne babatizibwa ye mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. Ne Yokaana yayambalanga byoya by’aŋŋamira n’olukoba lw’eddiba mu kiwato kye ng’alya nzige n’omubisi gw’enjuki ez’omunsiko. Nabuulira ng’agamba nti ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula lukoba lwa ngato ze. Nze nababatiza n’amazzi naye oyo alibatiza n’omwoyo omutukuvu.”

Page 103: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

103 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Yokaana omubatiza, omujulirwa era omulanzi w’enjiri.

Yokaana omubatiza y’ani?

Ye Kabona omukulu asembayo era akikirira abantu bonna.

Ekigambo “okubatiza” mu Luyonani “baptizo”

kitegeza “okunnyikka” oba “okunazibwa”, “okuziikibwa” oba “okubbira.”Ku lunaku Yesu lwe yabatizibwa, obutukirivu bwa Katonda bwatuukirizibwa. “Obutuukirivu,” oba “dikaiosune” mu Luyonani (ekitegeeza okubeera “omwenkanya”) oba era “ekintu ekisinga obutuufu”, “ekisiinga obusanyizi oba embeera.”

Kale nno, Yesu yabatizibwa asobole okufuuka omulokozi mu mbeera esinga obutuufu era esaanidde. N’olwekyo abo abakkiriza mu

kubatizibwa kwa Yesu ne mu musalaba bafuna ekirabo ky’obununuzi bwa Katonda. Mu ndagano empya, Yokaana omubatiza ye Kabona omukulu asembayo. Mu Matayo 11:10-11, ebyawandiikibwa bitulaga nti, Yokaana ye mukiise w’abantu bonna; ye Kabona omukulu ow’endagaano empya. Ye yassa ebibi by’ensi yonna ku Yesu. N’olwekyo yaweereza mu ttuluba oba mu kifo eky’enkananga ekyo ekya Kabona omukulu mu ndagaano enkadde.

Yesu yenyini naye yali omujulirwa wa Yokaana. Yagamba mu Matayo 11:13-14 “Kubanga bannabbi bonna n’amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana. Era oba mwagala okukiriza oyo ye Eriya agenda okujja.” Kale, Yokaana omubatiza, eyabatiza Yesu; yava mu lulyo lwa Alooni Kabona omukulu, era Yokaana ye yali Kabona omukulu asembayo. Baibuli eyongera okwogera ku Yokaana nti ava mu lulyo lwa Alooni mu Lukka 1:5 n’Eby’omumirembe

Page 104: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

104 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

(eky’olubereberye 24:10). Kaakano lwaki Yokaana yabeeranga yekka mu

ddungu ng’ayambadde byoya by’aŋŋamira? Kino yakikola kimusanyiize okuweereza mu kifo kya Kabona omukulu. Nga omukiise w’abantu bonna, Yokaana omubatiza teyasobola kubeera mu Bantu bonna. Lumu yagamba abantu nti, “mwenenye mwe abaana b’emisota era n’ababatiza n’abakuutira okubala ebibala eby’okwenenya badde eri Yesu era balokolebwe. Ensonga esiinga y’eno: Yokaana omubatiza ye yassa ebibi by’ensi byonna ku Yesu lwe yamuteekakko emikono ng’amubatiza. Yokaana yakikola kino ffe abantu tufune obulokozi.

Ebika by’okubatiza bibiri

Lwaki Yokaana yabatizanga abantu?

Yabatizanga alyoke abaluŋŋamye okwenenya ebibi

byabwe byonna era bakkirize okubatiza kwa Yesu okulimu obulokozi.

Yokaana omubatiza yabatiza ng’abantu era

n’amala n’abatiza Yesu. Okubatiza okwasooka kwe kwali okw’okwenenya. Mu kubatiza kuno, Yokaana yakuutira abonoonyi okudda eri Katonda. Abantu bangi abawulira ekigambo kya Katonda okuyita mu Yokaana baalumirizibwa, ne baleka ba Katonda abalala n’ebibumbe ne badda eri Katonda.

Okubatiza okw’okubiri kwe kubatiza kwa Yesu. Kwe kubatiza okwayissa ebibi by’ensi yonna ku Yesu. Yokaana omubatiza yabatiza Yesu, kubanga

Page 105: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

105 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

kyali kituufu Yesu atuukirize obutukirivu bwonna obwa Katonda. Kale nno, Yesu yabatizibwa Yokaana omubatiza, asobole ye okulokola abantu okuva mu bibi byabwe (Matayo 3:15).

Lwaki Yokaana omubatiza yabatiza Yesu? Yabatiza Yesu, kubanga Yesu ye yali asobola okujjawo ebibi by’ensi. Yokaana yali muwereza wa Katonda; era omugaso gwe omukulu gw’ali gwa kuyisa bibi bya nsi yonna, abiteeke ku Yesu okuyita mu kubatizibwa kwe. Era n’okubeera omujjulirwa eri Yesu, nti abantu yababuulira enjiri ey’okwenenya ebibi n’okukkiriza mu bununuzi bwe. N’olwekyo Yokaana yali alina okubeera yekka mu ddungu. Mu kiseera kya Yokaana omubatiza, abantu ba Isirairi baali bononyi ddala.

Katonda kyava agamba mu ndagano enkadde nti, “laba ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga telunnaba kutuuka. Era alikyuusa omutima gwa bakitaabwe

eri abaana n’omutima gw’abaana eri bakitaabwe; nneme okujja n’enkuba ensi n’ekikolimo” (Malaki 4:5-6).

Mu maaso ga Katonda, abantu bonna abali basinga yakuwa Katonda bali bonoonefu. Tewali n’omu mu bbo, yali mutuukirivu mu maaso ga Yakuwa. Eky’okulabirako; banaddinii abo mu yekaalu, bakabona, banamateeka n’abawandiisi bali bonoonefu ddala. Abantu ba Isirairi ne bakabona babwe tebawangayo ssaddaaka ezaali zisaniide ng’amateeka ga Katonda bwe gaali gannyonyodde. Bakabona nabo baali tebakyateekako mikono era n’ennono ey’okuwangayo ssaddaaka ey’okujjawo era okusonyiyibwa ebibi bakabona bali tebakyagikuuma. Buno bwe bwali obumu ku bubonero; abantu bali bavudde ku Katonda. Kyawandikibwa nti mu biseera bya Malaki, bakabona baali tebakyakuuma nnono z’amateeka ezali z’etaagisa mu kuwaayo ssaddaaka, ne mu

Page 106: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

106 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

kuteekangako emikono ku mutango. N’olwekyo Yokaana bwe yatumibwa kuno kunsi, yali tasobola kubeera nabo. Ye yagenda mu ddungu n’ayogera n’ayasanguza ekigambo kya Katonda. Kiki kye yayogera? Mu Makko 1:2-3 yayogera ebigambo bya nnabbi Isaaya ng’agamba nti, “laba nze ntuma omubaka wange mu maaso go alirongoosa oluguudo lwo; eddoboozi lye ayogerera wagulu mu ddungu nti, mulongose oluguudo lwa Mukama muluŋŋamye amukubo ge.”

Eddoboozi ly’oyo mu ddungu lyayogerera waggulu nga likutira abantu okwenenya bakkirize okubatizibwa okw’okwenenya. Kuno “okubatizibwa kw’okwenenya” kwe kuliwa mu Baibuli kwe yayogera ko? Kwe kubatiza Yokaana omubatiza kwe yali alangirira bwe yayogereranga waggulu. Okubatizibwa kuno kwali kwa kukuutira bantu kukomawo eri Yesu balyoke bamukkirize, kubanga ye yali ayinza okujjawo ebibi byabwe byonna nabo balokoke.

Okubatizibwa kuno okw’okwenenya kwe kulina okutuusa abantu oba okubaluŋŋamya eri obulokozi. “mwenenye era mubatizibwe.” Okulangilira kwa Yokaana mu bumpi kwe kuno: Yesu ye yali ajja okujjawo ebibi by’ensi era atwaale n’omusango gw’ensi ku musalaba, alyoke alokole abantu bonna n’abo balyoke badde eri Katonda.

Yokaana yagamba nti, “Nze mbabatiza n’amazzi naye ye alibabatiza n’omwoyo omutukuvu…” bwe yagamba nti okubatiza n’omwoyo omutukuvu yali atutegeeza nti Yesu y’aligyawo ebibi byaffe byonna. Okubatiza kitgeeza “okunaazibwa.” Okubatizibwa kwa Yesu mu mugga Yoludani kutulaga nti omwana wa Katonda yabatizibwa era n’atwala ebibi byaffe byonna okutulokola. N’olwekyo tukyuuka ne tuva mu bulamu bwaffe obujjude ekibi n’etukkiriza mu Yesu, y’omwana gw’endiga ajjawo ebibi by’ensi. Eno y’enjiri y’obununuzi

Page 107: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

107 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Yokaana omubatiza gye yaweerako obujulizi.

Omulimu gwa Kabona omukulu mu kutangirira ebibi

Ani eyategeka ekkubo ly’obulokozi?

Yokaana.

Nnabbi Isaaya yali yalagula nti “Mwogere

eby’okusanyusa Yerusalemi mumukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng’obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; ng’aweereddwa mu mukono gwa Mukama emiruundi ebiri olw’bibi bye byonna:” (Isaaya 40:2).

Yesu y’ajjawo ebibi byaffe byonna awatali kusosola: ebibi ebyasooka, ebibi bya leero, ebya jjo, n’ebyo mu maaso byonna byajjibwawo

okuyita mu kubatizibwa kwe. Yatununula ffe ffenna. Era naffe tulina okumanya obununuzi bwa Katonda. Tulina okukkiriza nti Yokaana yassa ebibi byonna ku Yesu bwe yali ng’amubatiza mu mugga Yoludaani. Bwe tukikkiriza kino, tunaalokoka. Wabula era tetulina kubuzaabuzibwa nga tugamba nti “kubanga Katonda kwagala, naffe tusobola okuyingira eggulu (obwakabaka obw’omuggulu) nga tukkiriza Yesu mu mitima gyaffe; nti ssi nsonga nnyo ne bwe tubeera nga mu ffe tulina ekibi mu mitima.” Endowooza eno nkyamu era ssi ya Katonda.

Ffe abantu tununulibwa tuve mu bibi byaffe byonna tulina okukkiriza mu kubatizibwa kwa Yesu. Mw’okwo okubatiza, Yokaana mwe yayisa ebibi by’ensi byonna ng’abissa ku Yesu. Yesu oluvanyuma yakomererwa ku musalaba n’afa. Ekikolwa ekisooka Katonda kye yakola okutununula, kwe kutuma Yokaana mu nsi eno.

Page 108: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

108 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Yokaana omubatiza yali atumiddwa ku nsi kuno era yali nga omukiise wa Kabaka. Yajja ateeke ebibi by’ensi ku Yesu okuyita mu kubatiza. Yawereza nga kabona omukulu ku nsi.

Katonda yatugamba nti yatuma omubaka we. Yokaana omubatiza yatugamba nti, “laba ntuma omubaka mu maaso gamwe.” Lwaki Katonda yatuma Yokaana agende mu maaso ga Yesu? ensonga yali eno: Katonda yali ayagala Yokaana ayise ebibi by’ensi yonna ku Yesu omwana wa Katonda. “anateekateeka ekkubo lyo mu maaso go.” Ani ono anateekateeka ekkubo naffe tununulibwe era tugende mu ggulu? Yokaana omubatiza. Mu bigambo ebirala Katonda yali abuuza nti ani anategeka ekkubo lyaffe ffe abantu, tusobole okugenda mu ggulu? Yali Yokaana. Yokaana omubatiza yayisa ebibi baffe n’abisa ku Yesu, naffe tulyoke tukkirize nti yabijjawo byonna. Omulimu gwe gwali gwa kussa bibi by’ensi ku Yesu nga ayita mu kumubatiza. Yesu ne Yokaana

be baatusobozesa okukkiriza amazima tununulibwe. Obulokozi bwaffe businziira ku nsonga ki?

Businziira ku nsonga zino: tusanidde tukkirize. okukkiriza mu bikolwa bya Yesu eby’obutuukirivu era tukkirize nti Yokaana omubatiza yassa ebibi by’ensi yonna ku Yesu. Ffena tulina okumanya enjiri y’okusonyiyibwa ebibi. Katonda kitaffe yatuma omubaka we mu maaso, y’oyo eyabatiza mutabani we. Katonda amufudde omukiise w’abantu bonna. Kale nno Katonda yamaliriza omulimu gwe ogw’obununuzi ku lwaffe.

Katonda yatuma omuwereza we Yokaana omubatiza abatize mutabani Yesu, alyoke asobole okuteekateeka ekkubo ly’obulokozi eri abo abakkiriza mu Yesu. Eno y’ensonga lwaki Yokaana yabatiza Yesu. Okubatiza kwa Yesu kwatuukiriza obununuzi bwa Katonda. Mu bununuzi buno, ebibi byaffe abantu byassibwa ku Yesu, olwo nga buli muntu asigazza kukola kimu: kukkiriza mi Yesu kristo agende mu ggulu.

Page 109: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

109 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

N’ebibi by’abantu ebyo mu maaso nabyo byassibwa ku Yesu okuyita mu kubatiza kwe. Yesu ne Yokaana omubatiza baatutegekera ffenna ekkubo eritutuusa mu ggulu. Mu kkubo lino, Katonda atubikulidde ekyama ky’obununuzi ng’ayita mu Yokaana omubaiza. Ng’omukiise waffe abantu, Yokaana yabatiza Yesu ffe abantu tusobole okukkiriza mu bununuzi obutuwereddwa era tugende mu ggulu. Yokaana yassa ebibi byonna ku Yesu: gano ge mawulire ag’obununuzi, ag’essanyu.

Lwaki Yokaana omubatiza yazaalibwa?

Ani eyatulaga ekkubo lye tuyitamu okudda eri Yesu?

Yokaana omubatiza.

Malaki 3:1 kyawandiikibwa nti, “laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange.” Baibuli bw’oba ng’ojjisomye n’obwegendereza, olowooza lwaki Katonda yatuma omubaka we okusooka Yesu? Lwaki Yokaana omubatiza yazaalibwa emyeezi mukaaga okusooka Yesu? Ffe abantu tulina okumanya omugaso gwa Baibuli (Ebyawandiikibwa). Mu ndagano enkadde tulaba omulimu gwa Kabona omukulu. Alooni yali mukulu wa Musa. Katonda yamusaako ye ne batabani be amafuta nga bakabona. Waaliwo Abaleevi abalala abakolanga naye nga bamuweereza. Bo abatabani be bawangayo ssadaaka munda mu yekaalu entukuvu. Abaana ba Alooni bateekebwako amafuta, basobole okukola omulimu gwa Katonda mu yekaalu ye. Naye ku lunaku olw’okutangirira, olunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu, Kabona omukulu yekka ye yawangayo ssadaaka

Page 110: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

110 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

ey’okutangirira ku lw’abantu olw’ebibi bye bakoze mu mwaka ogwo.

Mu Lukka 1:5 mulimu olugero olw’ogera ku lulyo lwa Yokaana omubatiza. Tulina okumanya omubaka ono owa Katonda, olwo naffe tunaasobola okumanya n’okutegeera Yesu. Emirundi ejjimu tutera okulowooza ennyo ku Yesu, naye Yokaana natassibwaako ssira, ate nga ye yamusooka. Njagala tufune okumanya n’okutegeera.

“Okusooka kw’enjiri ya Yesu Kristo omwana wa Katonda nga bwe kyawandiikibwa mu nabbi Isaaya nti laba nze ntuma omubaka wange mu maaso go, alirongoosa oluguudo lwo” (Makko 1:1-2). Enjiri ey’obwakabaka bw’omuggulu etandika ne Yokaana omubatiza.

Bwe tuyiga, era bwe tumanya omugaso gw’omubaka (Yokaana omubatiza) tusobolera ddala okutegeera ate ne tukkiriza enjiri y’obununuzi bwa Yesu. Kifanana ng’okuwuliriza

ba Ambasada (abakiise b’egwanga lyaffe mu mawanga amala). Abo be basobola okunyonyola ebirungi ebifa munsi mwe bali. Bwe tumanya Yokaana omubatiza, naffe obununuzi tubutegeerera ddala bulungi.

Kya nnaku nnyo nti Abakristaayo b’ennakku zino tetukyamanyi muwendo gwa Yokaana. Katonda teyatuma Yokaana wano kunsi, kubanga teyalina kya kukola, nedda. Mu Matayo, Makko, Lukka ne Yokaana, Yokaana omubatiza ye yasooka okwogerwaako, oluvanyuma obununuzi bwa Yesu nabwo ne bwogerwaako. Ababuulizi b’enjiri, ennakku zino tebalina kye bamwogerako. Era abantu bagamba nti omuntu akkiriza bukkiriza mu Yesu Kristo, ekyo kimumala okulokoka. Ekikolwa kino kubwakyo tekimala. Omuntu asanye afune okutegeera.

Singa abalokole bonna bakiriza mu Yesu nga tebanaba kutegeera mugaso gwa Yokaana omubatiza, olwo obulokozi bubeera

Page 111: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

111 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

bwonoonedwa. Osobola okununulibwa okuva mu bibi byo nga tomanyi mazima? Tekisoboka.

Enjiri ey’obununuzi si nyangu ate si nzibu. Abasinga mu ffe tusuubira oba tulowooza nti obununuzi buli mu kukkiriza kwaffe mu musalaba, kubanga Yesu yatufirira ku musalaba. Wabula omuntu bw’akkiriza mu kufa (mu kukomererwa n’okufa) kwa Yesu naye nga tamanyi mazima gali mu kuwayo bibi byaffe (nga Yokaana bwe yakola ng’abatiza Yesu), omuntu bwatyo talifuna bununuzi mu bujjuvu, newankubadde omuntu ng’oyo alina amanyi, n’okumanya okungi.

Katonda yatuma Yokaana, kubanga yali ayagala abantu bamanye obununuzi bwe bunafunibwa, era bamanye nti Yesu y’ajjawo ebibi by’ensi. Gano ge mazima. Bwe tuba tugategedde, tumanyira ddala nti Yesu ye mwana wa Katonda eyatwala ebibi byaffe byonna. Yokaana omubatiza atubuulira ku mazima agali mu bununuzi. Atubuulira nga bwe

yajja okujulira nti Yesu Kristo ye Katonda era omusana gw’ensi. Yannyonyolera ddala nti ye, (Yokaana) teyali musana, naye yali mujulirwa wa Musana. Yagamba mu Yokaana nti ye yateekateeka ekkubo ly’enjiri, ng’ayita mu kubatiza Yesu Kristo.

Singa tetwalina bujulizi bwa Yokaana omubatiza olowooza Yesu twandimukkiriza? Ye. twandimukiriza tutya? Yesu tetumulabangako na maaso gaffe, era ffe tuva mu mawanga n’amaddiini ag’enjawulo ne tulokoka. Kino olowooza kisoboka kitya? Ku maddini gonna gonna agali mu nsi ffe abalokole tukkiriza tutya nti Yakuwa ye Katonda waffe? (Lwaki tukkiriza nit Yesu y’omwana wa Katonda eyatununula natwala ebibi byaffe byonna?)

Tulina okutunula mu ndagano enkadde okufuna ebigambo eby’obunnunuzi, era tumanye nti mu lubereberye kyategekebwa ne kimanyibwa nti Yesu yalibeera omununuzi waffe. Tulina

Page 112: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

112 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

okumanya ekituufu, olwo okukkiriza kwaffe nakwo kunaabeera kutuufu. Ffe okukkiriza mu Yesu tulokolebwe, tulina okumanya enjiri ey’obununuzi Yokaana gye yajulira era n’okumanya tumanye omugaso gwa Yokaana. Amazima agali mu Kristo ganaaba gatuukiridde. Kywandiikibwa nti “era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ab’eddembe.” Tulina okumanya amazima g’obununuzi obuva mu Yesu.

Obukakafu okuva mu Baibuli

Ebitabo ebina eby’enjiri bitandikira ku mulamwa ki?

Bitandikira ku mulamwa gwa

Yokaana omubatiza.

Njagala tweyongere okufuna okutegera nga bwe

tusoma ku mazima agamu agali mu bununuzi mu Bayibuli. Tunaasoma era tumanye kiki ebitabo bino eby’enjiri byebyayogera ku Yokaana omubatiza; omubatiza yali ani? Lwaki yayitibwa omubaka w’abantu oba kabona omukulu aseemabyo? Ebibi byensi byasibwa bitya ku Yesu ddala ddala byassibwa ku Yesu oba tebyamussibwako? Tulina okumanya nti ekitabo by’enjiri ebina bitandika nenyanjula ku Yokaana omubatiza. Mu Yokaana 1:6 tusoma kwemu kunsonga enkulu ennyo munjiri. Tusoma Tusoma kwoyo ey’ateeka ebibi byaffe ku Yesu. “Walabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. Oyo yajja olw’okuteheeza ategeeze eby’omusana, bonna bakkirize ku bubwe” (Yokaana 1:6-7).

Tusoma nti Yokaana, “… yajja olw’okutegeeza ategeeze ekyomusana bonna bakkirize kububwe.” Omusana ye Yesu Kristo. Kino kitegeeza nti Yokaana yali omujulirwa wa Yesu. Ng’omubaka w’abantu, Yokaana lw’eyajulira Yesu, ekikolwa ekyo (eky’okujulira) kyandiwaliriza abantu bonna

Page 113: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

113 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

okumukkiriza. Katusome mu Mutayo 3 tulabe kye tuyigamu. Matayo 3:13 -17, “Awo Yesu nava e’Ggaliraaya n’atuuka eri Yokaana amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugaana ng’amugamba nti nze netaaga gwe okumbatiza, nawe ojja gyendi?” Naye Yesu namugamba nti, “kkiriza kaakano kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” N’alyoka amukkiriza. Awo Yesu bwe yamala okubatizibwa amangu ago nava mu mazzi. Laba eggulu ne limubikkukira n’alaba omwoyo wa Katonda ng’akka ng’ejjuba ng’aka ku ye. Laba eddoboozi ne liyima muggulu nga ligamba nti, “oyo ye mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”

Lwaki tulina okumanya olulyo lwa Yokaana?

Kubanga Baibuli etugamba nti Yokaana ye

Kabona omukulu ow’abantu.

Yokaana omubatiza yabatiza Yesu asobole okutuukiriza ekikolwa eky’okugibwaako ebibi byonna eby’ensi. Okubatiza Yesu kwe yafuna okuva eri Yokaana kye kikolwa eky’omuwendo eky’obulokozi bwaffe. Naye okusobola okutegeera n’okumanya amazima, ffe tuteekwa okusooka okutunuulira Yokaana omubatiza n’olulyo lw’asibukamu. Tusoma mu Lukka 1:1-14 nti, “bwe bali abangi abatandika okuwandiika amakulu g’ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe nga baabitubuulira abo abasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b’ekigambo, awo bwe nnaliraanyizza ddala byonna okuva ku lubereberye, era nange nnalaba nga kirungi okukuwandikiiranga gwe Teefiro omulungi ennyo nga bwe byaliraana; olyoke amanye amazima g’ebigambo bye wayigirizibwa. Awo mu mirembe gya Kerode, Kabaka w’e Buyudaaya, waaliwo Kabona erinnya lye Zaakaliya, wa mululyo lwa Abiya: era yalina

Page 114: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

114 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

omukazi ow’omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi. N’abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu bilagiro byonna ne mu by’obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali muguumba, n’abo bombi baali bakaddiye mu myaka gyabwe. awo olwatuuka, bweyali nga akola omulimu ogw’obwa Kabona mu maaso ga Katonda ng’oluwalo lwe bwe lwalilaana, awo akalulu ne kamugwako ng’empisa ez’obwakabona bwe zaali okuyingira mu yekaalu ya Mukama okw’oteza obubaani. Awo ekibiina kyonna eky’abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky’okw’oterezaamu. Awo malayika wa mukama namulabikira nga ayimiride ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto eky’okwoterezako. Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yelarikirira, n’atya. Naye malayika n’amugamba nti “totya zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Elizabesi alikuzaalira

omwana ow’obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana. Olisanyuka era olijaguza era bangi balisanyukira okuzaliibwa kwe.”

Lukka omuyigiriza wa Yesu, atubuulira ebikwata ku lulyo lwa Yokaana mu bujjuvu ng’anyonyola okuva ku luberyeberye. Lukka yali asomesa Teefiro, munnamawanga atamanyi kintu kyonna ku Yesu. N’olwekyo okusobola okusomesa ku Yesu, alokola abonoonyi, Lukka yasuubira nti yali alina okusooka okunyonyola olulyo lwa Yokaana omubatiza mu bujjuvu. Naffe abantu, nga Teefiro, tuli “bannamawanga” era okujjako nga obulokozi Yesu bw’agaba nga bunyonyoddwa bulungi gye tuli, tetusobola ku butegeera (buno obulokozi) nga Katonda bw’ayagala tubutegeere. Waliwo ate ensoonga endala.

Mu lukka 1:5-9 tusomye nti “awo mu mirembe gya Kerode, kabaka w’ebuyudaaya, waaliwo Kabona erinnya lye Zaakaliya, mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow’omubawala ba

Page 115: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

115 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Alooni, erinnya lye Erisabesi. N’abo bombi bali batuukirivu mu maaso ga Katonda nga batambulira mu biragiro byonna n’emu by’obutuukirivu ebya mukama nga tebaliiko kabi. So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, n’abo bombi bali bakaddiye mu myaka gyabwe. Awo olwatuuka, bwe yali nga akola omulimu ogw’obwa Kabona mu maaso ga Katonda ng’oluwalo lwe bwe lwaliraana awo akalulu ne kamugwako ng’empisa ez’obwa Kabona bwe zaali okuyingira mu yekaalu ya mukama okwotereza obubaani.”

Tuyiga nti Zaakaliya yali aweereza mu yekaalu ng’era ennono ya bakabona bwe yali. Lukka atunnyonyola nti Zakaliya yali asibuka mu “musika wa Alooni.” Eky’omuwendo ekirala Lukka ky’atugamba ky’ekino: Zakaliya “…yalinga akola omulimu ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda ng’oluwalo lwe bwe lwaliraana awo akalulu ne kamugwaako

ng’empisa ez’obwakabona bwe zaali okuyingira mu yekaalu ya mukama okwoteza obunaani.” Lukka yafuna okubikulirwa ku Zakaliya. Kino tukilaba okusinziira ku ngeri gye yannyonyola enjiri ey’obununuzi, nga ayogera ku Zakaliya ne Elisabesi, abazadde ba Yokaana omubatiza. Tweyongera okusoma n’okutegera olulyo lwa Zakaliya, taata wa Yokaana.

Olulyo lwa Yokaana omubatiza

Yokaana omubatiza asibuka mu lulyo lwani?

Lwa Alooni Kabona

omukulu.

Tulina okusoma obulungi endagano enkadde, olwo lwe tunategeera olulyo lwa Yokaana: mu 1

Page 116: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

116 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Eby’omumirembe 24:1-19 tusoma nti. “N’empalo za batabani ba Alooni zaali zino.

Batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana: Eriyazaali ne Isamaali kye baava bakola omulimu ogw’obwakabona. Dawudi wamu ne Zadooki ow’okubatabani ba Eriyazaali ne Akimereki ow’okubatabani ba Isamaali ne babasalamu ng’ebisanja byabwe bwe byali mu kuweereza kwabwe. Awo ne walabika abasajja abakulu ku batabani ba Eriyazaali bangi okusinga ab’okubatabani ba Ismaali; era bwe bati bwe basalibwamu: ku batabani ba Eriyazaali kwaliko kkumi na mukaaga, emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali; ng’enyumba za bakitaabwe bwe zaali munaana. Bwe bati bwe baasalibwamu n’obululu, emitindo gyonna wamu; kubanga waaliwo abakulu ab’omu kifo ekitukuvu n’abakulu ba Katonda, ku

batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali; awo Semaaya mutabani wa Nesaneri omuwandiisi ow’oku baleevi n’abawandiikira mu maaso ga kabaka. Abakulu ne Zadoki kabona ne Akumereki mutabani wa Abiyasaala n’emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n’Abaleevi; ennymba emu eya bakitaabwe ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali. Awo akalulu ak’olubereberye ne kamugwako Yekoyalibu, ak’okubiri Yedaya; ak’okusatu Kalimu, ak’okuna Seyolimu; ak’okutaano Malukiya; ak’omukaaga Miyamini; ak’omusanvu Kakkozi; ak’omunana Abiya; ak’omwenda Yesuwa; ak’ekkumi Sekaniya; ak’ekumi n’akamu Eriyasibu, n’ak’ekkumi n’obubiri Yakumu, ak’ekkumi n’obusatu Kuppa; ak’ekkumi n’obuna Yesebayabu; ak’ekkumi n’obutaano Biruga; ak’ekkumi n’omukaaga Immeri; ak’ekkumi n’omusanvu Keziri; ak’ekkumi n’omunaana

Page 117: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

117 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Kapizzezi; ak’ekkumi n’omwenda Pesakiya; ak’amakumi abiri Yekezukeri; ak’abiri mukamu Yakini; ak’abiri mu bubiri Gamuri; ak’abiri mu busatu Deraya; ak’abiri mu buna Maziya. Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng’ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa mu mukono gwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama wa Isirairi bwe yali amulagidde.”

Olunyiriri lw’ekkumi lugamba nti, “…akomusanvu Kakkozi, ak’omunaana Abiya.” Mu nnaku za Kabaka Dawudi waaliwo ba Kabona bangi. N’olwekyo waaliwo obwetaavu obwokulabirira ebyali bigenda mu maaso. Kale no Dawudi yawa batabani ba Alooni obululu basobole okumanya nti ssasdaaka yaweebwanga mu ngeri entuufu (fenna nga bwe tumanyi Alooni, ye yali mukulu wa Musa. Katonda yayita Musa nga omukiise we ne Alooni, Katonda yamuyita nga Kabona omukulu mu yekalu entukuvu mu maaso

ga bantu ba Isirairi). Abaleevi abalala baali wansi wa bakabona ne

Alooni era bakabona ne batabani baabwe be baali bakola ku kuwaayo ssaddaaka mu maaso ga Katonda. Nga Dawudi tanaba kugaba bululu, bakabona ab’omululyo lwa Alooni balina okukuba obululu buli kiseera era kino kyaleetangawo obutakwatagana. N’olwekyo Dawudi yategekangawo empalo bakabona basobole okukwatagana. Empalo zaali abiri mu nnya. Nga entandikwa yazzo essibuka mu bazzukulu ba Alooni, era n’ow’omunaana yali Abiya. Emabegako twasoma nti, omu kubakabona erinnya lye Zaakaliya, yali ava mu luwalo lwa Abiya. Kale Zaakaliya yali kabona ava mu kika kya Abiya. Ye (Zaakaliya) ne Abiya bombi baava mu lulyo lwa Alooni Kabona omukulu.

Zaakaliya kabona ow’oluwalo lwa Abiya, yali taata wa Yokaana omubatiza. Bwe tusoma Baibuli tuyiga nti abantu bakkirizibwa okuwasanga (oba

Page 118: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

118 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

okufumbirwa) mu kkanisa. Awo nno Zaakaliya yawasa muwala wa kojja we (ku luyi lwa maama we). Eky’omuwendo kye tulina okumanya kye kino: Zaakaliya kabona yali agwa mu kisanja kya (mu luwalo lwa) Abiy. Kale Zaakaliya ava mu lulyo lwa Alooni. Okumanya ensonga zino zijja kutuyamba okunnyonyola obununuzi bwa Yesu n’obuwereza bwa Yokaana omubatiza obw’okuteka ebibi bye nsi yonna ku Yesu.

Batabani ba alooni bokka bebanaawerezanga bakabona

Ani eyawerezanga mu kifo kya Kabona Mu kiseera ky’endagano enkadde?

Alooni n’ababakaabava Mu lulyo lwe,

be yateekangawo.

Kyawandiikibwa wa mu baibuli nti tulina okuweereza nga bakabona? Ka tusome mu kitabo ky’okubala 20:22-29. “Ne basitula e Kadesi ne batambula: abaana ba Isirairi, ekibiina kyonna, ne batuuka ku lusozi Koola. Mukama n’alagira Musa ne Alooni ku lusozi Koola, ku nsalo y’ensi ya Edomu, ng’ayogera nti Alooni anakuŋŋanyizibwa eri abantu be: kubanga taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isirairi, kubanga mwanjeemera ekigambo kyange ku mazzi ag’e Meriba. Twala Alooni ne Eriyazaali mutabani we, obalinnyise ku lusozi koola: Alooni omwambuleko ebyambalo bye, obimwambaze Eriyazaali mutabani we. Kale Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be, era anaafiira eyo. Musa n’akola nga mukama bwe yalagira: ne balinya ku lusozi Kooli mu saaso g’ekibiina kyonna. Musa n’ayambula Alooni ebyambalo bye n’abyambaza Eriyazaali mutabani we; Alooni n’afiira eyo ku ntikko y’olusozi. Musa ne

Page 119: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

119 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Eriyazaali ne baserengeta ne bava ku lusozi. Awo ekibiina kyonna bwe baalaba Alooni nga afudde, ne bamala ennaku asatu nga bakaabira Alooni, ennyumba ya Isirairi yonna.”

Mu kitabo ky’okuva kyawandiikibwa mu mateeka nti abatabani ba Alooni nabo baalina okufuuka bakabona, era lwe baali balina emyaka asatu bayingizibwa mu buweereza bwa bakabonona abakulu.

Okuva 28:1-5, “Era weesembereze gy’oli Alooni muganda wo, n’abaana be wamu naye, mu baana ba Isirairi ampeereze mu bwakabona, Alooni; Nadabu, abaana ba Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuvu olw’ekitiibwa n’olw’obulungi. Era olibagamba bonna abalina omutima ogw’amagezi, be nnajjuza omwoyo ogwamagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampereze mu bwa Kabona. Bino bye byambalo bye balikola; eky’omu kifuba, n’ekkanzu, n’omunagiro, n’ekizibawo

eky’akatimba, ekiremba, n’olukoba; era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo n’abaana be, ampeereze mu bwakabona. Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n’olugoye olw’effulungu, n’olumyufu, n’ebafuta.”

Katonda yawa Alooni obuweereza bwo bwakabona omukulu. Buno bwali bubwe yekka, era Katonda yalagira Musa ayawule Alooni nga Kabona omukulu, amukolere ekyambalo ekirungi ekimusaanira mu buweereza bwe ye nga kabona omukulu. Bino ebigambo tetulina kubyerabira.

Era ne mu Kuva 29:1-9 tusoma nti: “Era bw’olibakola bw’otyo okubatukuza, bampereze mu bwakabona: otwale ente ennume ento n’endiga ennume bbiri ezitaliko bulema, n’emigaati egitazimbulukusiddwa; n’obugaati obutazimbulukusiddwa obutabudwamu amafuta, n’emigaati egy’empewere egitazimbukuswa egisiigidwako amafuta: oligikola n’obutta

Page 120: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

120 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

obulungi obw’eŋŋano era oligiteeka mu kabbo, awamu n’ente n’endiga ebbiri. Ne Alooni n’abaana be olibaleeta ku mulyango ogw’eweema ey’okusisinkanirangamu, olibanaaza n’amazzi. Era oliddira ebyambalo n’oyambaza Alooni ekizibawo, n’omunagiro ogw’ekkanzu, n’ekkanzu, n’ekyokukifuba, n’omusiba olukoba olw’ekkanzu olulukibwa n’amagezi: era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n’oteeka engule entukuvu ku kiremba. N’olyoka otwala amafuta ag’okufukibwako, n’ogafuka ku mutwe gwe, n’omufukira amafuta. Era olireeta abaana be n’obassaako enkuufira; era banaabeeranga, n’obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n’abaana be.”

Alooni ne batabani be “olibasiba n’enkoba n’obassako enkuufira … era banabeeranga n’obwakabona mu kiragiro ekitaggwawo.” Onoyawula Alooni n’abaana be … Katonda yalagira nti Alooni yekka n’abaana be be baali

balina okwawulibwa okuweerezanga mu buweereza obwa’kabona. Bwe yagamba nti “banaabeeranga n’obwakabona mu kiragiro ekitaligwawo” kyali kitegeeza nti obwakabona bwali bukyali mu nkola era bwassibwaako nnyo essira, newankubadde Yesu yali amaze okujja mu nsi muno.

Lukka atunyonyola bulungi nti Zakaliya yali ava mu lulyo lwa Alooni kabona omukulu. Zakaliya bwe yali aweereza Katonda nga kabona eyali alabirira eweema mu kiseera ekyo, malayika wa mukama yamulabikira n’amugamba nti, Katonda yawulira esaala ye: mukyaala we Erisabeesi yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi. Zaakaliya kino teyakikkiriza. Kale n’abuuza malayika nti, “nnaakimanya ntya ekyo? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange akadiye mu myaka gye.” Kubanga yabusabuusa, Zaakaliya yaziba omumwa. Yaddamu okw’ogera okutuusa kukisera ekyo malayika kye yamugamba nga bituukirizibwa.

Page 121: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

121 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Oluvanyuuma lw’ekiseera kitono mukyala wa Zaakaliya yali lubuto. Ne Malyamu omuwala omuto era embereera, wayitawo akaseera katono naye nabeera olubuto. Katonda yakozesa embeera abakyala bano ababiri ze baali bayitamu. Katonda yali ateekateeka okwolesa obulokozi bwe mu nsi alyoke alokole ffe abonoonyi. N’olwekyo Katonda yalonda Yokaana omubatiza abatize Yesu. Kino Katonda yakikola, kubanga yali ayagala abo abamukkiriza balokolebwe.

Obugabirizi bwa Katonda obw’enjawulo!

Katonda yateekateeka ani nga tanaba kutuma Yesu kunsi okutununula?

Yokaana Omubatiza.

Yesu Kristo y’omul.okozi w’ensi yonna eyazaalibwa omuwala atamanyi musajja Malyamu. Malyamu yali aky’ayogerezebwa Yusufu (Lukka 1:27). Yusufu yali ava mu lulyo lwa Yuda. Yesu yali alina okuzaalibwa ng’alina enkwaso ku lulyo lwa Yuda. Katonda bwatyo bwe yakyagala, endagano gye yakola esobole okutuukirira. Ne Yokaana omubatiza yali alina okuva mu lulyo lwa Alooni Kabona omukulu. Katonda eno y’enteekateeka ey’enjawulo gye yateekawo okulaba nti Yokaana azaalibwa, asobole okussa ebibi by’ensi byonna ku Yesu nga amubatiza. Kabona ava mu lulyo lwa kabona omukulu ye yali alina okuwayo ssaddaaka ey’okutangirira ekibi; olwo endagano ya Katonda etuukirizibwe. Endagano eno Katonda yagyogera mu ndagano enkadde n’endagano empya. Enjiri eno ey’obununuzi bwa Yesu yali erina okuteekateekebwa mu ngeri entuufu. Singa waliwo okuwaba mu ngeri yonna, ffe abantu

Page 122: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

122 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

b’ensi tetwandinunuliddwa. Mu kitabo ky’okuva, Katonda yawa Isiraeri

amateeka n’endagano. Amateeka gaalimu bino; amateeka ga Katonda n’ebiragiro eby’okugoberera mu kuwangayo ssaddaaka eza buli kika mu weema. Ebyambalo bya bakabona, ssaddaaka ezali zirina okuweebwayo, n’emitendera (enkalala) z’abakabona n’empalo ze bavaamu okutuusa ku bakabona abakulu abaali mu kiragiro ekitaligwawo. Kale no ab’olulyo lwa Alooni bonna bawangayo ssaddaaka era ne bakabona abakulu baali balina okuva mu nju ya Alooni. Ow’oluganda olowooza kino lwaki kyali bwekiti? Okuva mw’abo bonna abava mu lulyo lwa Alooni, Katonda yalonda kabona omu, erinnya Zaakaliya ne mukyalawe Elisabesi. Katonda yagamba nti, “laba: ntuma omubaka wange mu maaso go.” Katonda bwe yagamba Zaalikaya nti, Elisabeesi mukazi we anamuzaalira omwana, Zaakaliya yeewunya

nnyo nga takkiriza era yaziba omumwa okutuusa Yokaana lwe yazaalibwa. Mubutuufu Yokaana ddala yazaalibwa mu nju ya Zaakaliya. Ekiseera bwe kyatuuka okutuuma omwana erinnya lya kitaawe oba erinnya ly’omu ku b’eŋŋanda (Lukka 1:57-66).

“Awo ebiro bya Elisabesi ne bituuka okuzaala: n’azaala omwana wa bulenzi. Baliraanwa be n’ab’ekika kye ne bawulira nga mukama amugulumiririzza ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. Awo olwatuuka ku lunaku olw’omunaana, ne bajja okukomola omwana; baali bagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya. Nnyina n’addamu n’agamba nti nedda, naye anaatuumibwaYokaana. Ne bamugamba nti tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo. Ne bawenya kitaawe, bw’ayagala okumutuuma. N’ayagala ekipande eky’okuwandiikako, n’awandiika, n’agamba nti erinnya lye Yokaana. Ne bewuunya bonna.

Page 123: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

123 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Amangu ago akamwa ke ne kazibuka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka n’ayogera nga yebaza Katonda. Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N’ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey’ensozi ez’e Buyudaaya. Ne bonna abaabulirwa ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti kale omwana oyo aliba ki? Kubanga omukono gwa mukama gwali wamu naye.”

Zaakaliya yali akyazibye omumwa ku lunaku mutabani we lwe yazaalibwa. Ekiseera bwe kyatuuka okutuuma omwana erinnya, ab’eŋŋanda baateesa nti omwana bandimutuumye Zaakaliya. Naye nnyina ye n’agamba nti erinnya lye ye Yokaana. Ab’eŋŋanda bali tebamanyiyo linnya lyonna nga Yokaana mu nju ya Zaakaliya ne mu lulyo lwe, era ne bateesa nti omwana yandituumidwa Zaakaliya (kubanga ly’erimu ku manya agaali gatuumibwa mu lulyo olwo). Naye Elisabesi yagaana. Awo abeŋŋanda ne bagenda ewa Zaakaliya ne bamubuuza nti omwana alina

kutuumibwa linnya ki? Kubanga Zaakaliya yali tayogera yasaba ekipande era okwo kwe yawandiika erinnya “Yokaana.” Ab’eŋŋanda bonna beewunya ekika ky’erinnya eryo. Ate oluvanyuuma lw’okutuuma omwana erinnya akamwa ka Zaakaliya ne kagguka. Zaakaliya n’atendereza Katonda era n’ajjuzibwa omwoyo omukutuvu n’alagula. Kale Lukka atubuulira ku kuzaalibwa kwa Yokaana omubatiza mu nju ya zaakaliya era engeri gy’abinnyonnyolamu nnambulukufu bulungi. “Waaliwo kabona omu erinnya lye Zaakaliya ngava mu lulyo lwa Abiya.”

Mu bugabirizi buno obwa Katonda obw’enjawulo, tulaba era tuyiga nti Yokaana omubatiza mutabani wa Zaakaliya ava mu lulyo lwa Alooni, y’omubaka w’abantu bonna.

Katonda yatuukiriza (yamaliriza) obulokozi bwaffe abantu be. Kino yakikola ng’ayita mu buweereza bwa Yokaana omubatiza ne Yesu Kristo. Ffe abantu, bwe tukkiriza mu bununuzi

Page 124: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

124 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

obwatuweebwa Katonda ng’ayita mu Yokaana ne Yesu Kristo, tulokolebwe.

Okubatizibwa kwa Yesu

Lwaki Yokaana omubatiza yabatiza Yesu?

Yesu asobole okujjawo ebibi

by’ensi byonna.

Yokaana omubatiza y’ennyini yajulira nti Yesu yali mwana wa Katonda era ye yajjawo ebibi byaffe byonna. Yokaana omubatiza era omuweereza wa Katonda ye yali anaajulira obulokozi bwa Katonda. Kino tekitegeeza nti Katonda ye mweene tasobola kutugamba ffe abantu nti ye mulokozi waffe. Katonda akolera mu baweereza be mu kanisa awamu ne mu Bantu

be bonna mu nsi abalokolebwa (Isaaya 40:2, 8). “Mwogere eby’okusanyusa Yerusalemi, mu

mukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng’obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; ng’aweereddwa mu Mukono gwa mukama emirundi ebiri olw’ebibi bye byonna. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.”

Emyaka lusaanvu emabega nga Yesu tanaba kuzaalibwa, Katonda yatusuubiza nti, “temukyaali bonoonyi nate. Nze n’ewaddeyo ng’omutango olw’ebibi byammwe era n’okubonabona kwamwe kukomye.” Eno y’ensonga lwaki enjiri y’obununuzi esiiba ekonkona ku luggi lw’emitima gyaffe. Eno gye tuyita enjiri ey’amazima, eya nnama ddala.

Bwe tutegeera Yokaana omubatiza era ne tutegeerera ddala nti ebibi by’ensi yonna byassibwa ku Yesu Kristo, tusumululwa okuva mu bibi byaffe era tufuuka ba ddembe.

Page 125: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

125 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Ebitabo ebina eby’enjiri bitubuulira ku Yokaana omubatiza. Ne Malaki, nnabbi asembayo mu ndagano enkadde naye ajjulira nti Yokaana omubatiza y’omuweereza Katonda gwe yateekateeka. Endagaano empya etandika n’okuzaalibwa kwa Yokaana omubatiza, n’obuweereza bwe obw’okubeera omubaka w’abantu bonna anateeka emikono ku Yesu nga amussaako ebibi by’ensi. Y’ensonga lwaki tumuyita Yokaana omubatiza; kubanga yabatiza Yesu. Okubatiza kitegeza ki? Kitegeeza “okuyisaako”, “okusaako”, “okuziikibwa mu” “okunaazibwa” era ne mu ndagano enkadde, “okussaako emikono”, omuntu bwe yayonoonanga, yayissanga (oba yassaanga) ebibi bye ku nsolo (ssaddaaka) etaalina bulema bwonna. Bwe yateekanga emikono gye ku mutwe gwa ssaddaaka, yali agissizaako ebib bye. Ensolo eno yafanga n’ebibi ebyo. Ekikolwa kino eky’okuteekako emikono mu ndagano enkadde

kyali kya kuyisaako bibi omwononyi asobole okununulibwa. N’olwekyo okuteekako emikono (ku ssaddaaka), “n’okubatiza” byali bikolwa ebirina ekigendererwa kimu newankubadde mu ndabika bikolwa byanjawulo.

Olwo kiki ekyali kigendererwa mu kubatiza kwa Yesu? Okubatiza kwa Yesu y’engeri yokka ffe abantu (abanoonyi) gye twandifunyeemu okusonyiyibwa n’okujibwako ebibi. Katonda yali atadewo amateeka, ekibi kisobole “okuyisibwako” kissibwe ku ssaddaaka, (nga ssaddaaka eteekedwaako emikono). Mu ndagano enkadde, abonoonyi baalina okussa emikono ku mitwe gya ssaddaaka okusobola okugisaako ebibi byabwe babiteeke ku mutwe gw’ensolo. Oluvanyuma ensolo bagitta era bakabona baddiranga omusaayi ne bagumansira ku mayembe agaali ku “alutaali” ey’ekiweebwayo ekyokebwa. Bwe batyo bwe batangiriranga ebibi by’abantu bulijjo.

Page 126: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

126 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Ebibi by’omwaka bwe bati bwe baabitangirira: Alooni, kabona omukulu, yawangayo ssaddaaka ku lw’abantu ba Isiraeri bonna. Yokaana omubatiza yazaalibwa mu nju ya Alooni (nga bwe tulabye emabegako) n’olwekyo obuweereza bw’obwakabona omukulu bwali bumusaanira, era Katonda bwe yali amuteeketeekedde, okusinziira kukisuubizo kye eky’obununuzi. Yokaana omubatiza yali mubaka w’abantu bonna era ye kabona omukulu asembayo. Yesu Kristo bwe yazaalibwa, endagano enkadde yakoma. Yokaana omubatiza yekka ye yalina obuvunanyizibwa obw’okussaako (okuteeka) ebibi by’ensi yonna ku Yesu (mu ndagaao empya). Kino kikwatagana n’enkola ey’edda, Alooni bwe yatangirira ebibi byaffe mu (ndagaano enkadde). Nga kabona omukulu asembayo mu ndagano enkadde, era nga omubaka (omukiise) w’abantu bonna Yokaana omubatiza yassa ebibi by’ensi yonna ku Yesu lwe yamubatiza. Kubanga kino

kyabaawo, buli akkiriza mu njiri ey’amazzi n’omwoyo anunulibwa. Yesu yafuuka omwana gw’endiga asobole okulokola abonoonyi bonna. Bwe tufuna obulokozi olwo ng’omulimu gw’obununuzi gutuukirizibwa nga Katonda bwe yayagala (era nga bwe yateekateeka) Yesu yatugamba nti Yokaana omubatiza ye yali nnabbi asembayo, ne kabona omukulu asembayo eyamussaako ebibi by’ensi.

Lwaki Yesu teyasobola ku kola byombi? (Kutangirira bibi byaffe era naye nabeera omutango?) Lwaki Yokaana omubatiza yali yeetagibwa? Waaliwo ensonga lwaki Yokaana yazaalibwa emyezi mukaaga okusooka Yesu. Kino kyakolebwa okutuukiriza amateeka ag’omu ndagano enkadde; n’okutuukiriza ebisuubizo ebiwandiikiddwamu.

Yesu yazaalibwa omuwala atamanyi musajja, Malyamu ate ne Yokaana omubatiza yazaalibwa Elisabeesi eyali omugumba okumala emyaka

Page 127: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

127 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

eminji. Bino byonna byali bikolwa Katonda bye yateekateeka okutulokola ffe abonoonyi tuve mu kwonoona okutakoma era tuve ne mu kubonabona okuleterwa ekibi. Eno y’ensonga lwaki Katonda yatuma omuweereza we Yokaana n’omwana we Yesu. Yokaana omubatiza yatumibwa ng’omubaka w’abantu bonna, Kabona omukulu asembayo.

Omusajja asinga eyazaalibwa omukazi

Musajja ki asinga mu nsi eyazaalibwa omukazi?

Yokaana omubatiza.

Tusome mu matayo 11:7-14. “Nabo bwe

baagenda, Yesu n’asooka okwogera n’ekibiina ku

Yokaana nti kiki kye mwagenderera mu ddungu okutunuulira? Olumuli olunyenyezebwa n’empewo? Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba abambala ezinekaaneka baba mu nyumba za bakabaka. Naye kiki kye mwagenderera? Okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba era asingira ddala nnabbi oyo ye yawandiikibwako nti laba ntuma omubaka wange mu maaso go, alikukulembera, alirongoosa ekkubo lyo. Ddala mbagamba nti tevangamu abo abazaalibwa abakazi omuntu asiinga Yokaana omubatiza; naye omuto mu bwakabaka obw’omuggulu amusinga ye. Okuva ku biro bya Yokaana omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw’omuggulu buwaguzibwa, n’abawaguza babunyaga lwa maanyi. Kubanga bannabbi bonna n’amateeka balagula okutuusa ku Yokaana. Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.”

Page 128: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

128 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Abantu bagenda mu ddungu okulaba Yokaana omubatiza, eyakaabiranga wagulu nti “mwenenye mwe abaana b’emisota.” Ne Yesu yababuuza nti “kiki kye mwagenda mu ddungu okutunuulira? omuntu ayambade ezinekaneka? Laba abambala ezinekaneka baba mu nyumba za bakabaka.”

Yesu y’enyini yajjulira obukulu bwa Yokaana. “kiki kye mwagenderera okulaba?” Omukopi ayambadde ebyamalo by’eŋŋamiya awowoganira abantu? Alina okuba nga ayambadde eby’eŋŋamiya? Kiki kye mwagenderera okulaba? omusajja ayambadde ezinekaneka? Oba ayambala ez’ababeera mu mbiri za bakabaka? Naye Yokaana asinga bakabaka. Yesu bwati bwe yagamba “laba abambala ezinekaaneka baba mu nyumba za bakabaka naye kiki kye mwagenderera? Okulaba nnabbi? wewawo mbagamba, era asingira ddala nnabbi.”

Edda bannabbi baali bakulu okusinga bakabaka. Yokaana omubatiza yali asinga kabaka

era yali asinga ne nnabbi. Yali asinga ba nnabbi ab’omundagano enkadde era Yokaana kabona omukulu era omubaka w’abantu yali wamuwendo nnyo n’okusinga ng’asinga Alooni kabona omukulu eyasooka. Yesu ddala yajjulira nti Yokaana abasinga bonna.

Ani akiikirira abantu bonna nga kabona omukulu? Okujjako Yesu, musajja ki asinga obukulu ku nsi? Yokaana omubatiza. “oyo asingira ddala nnabbi, laba ntuma omubaka wange mu maaso go, alikukulembera, alirongoosa ekkubo lyo.” Yokaana omubatiza yajjulira nti olutalo lw’ekibi lwali lukomye. “laba omwana gw’endiga owa Katonda ajjawo ebibi by’ensi.” Yokaana yajjulira nti Yesu yajjawo ebibi by’ensi.

Mu matayo 11:11 tusoma nti “ddala mbagamba nti tevanga mu abo abazalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana omubatiza.” Tewabangawo muntu yena asinga Yokaana

Page 129: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

129 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

omutiza eyazalibwa abakazi. Kino kitegeeza ki? (eky’okuzalibwa abakazi?) kikwaata ku Bantu bonna ab’ensi. Okujjako Adamu ne Kaawa, abantu bona bazaalibwa omukazi. Mw’abo abazaalibwa abakazi, temusibukangamu muntu yenna asinga Yokaana omubatiza. N’olwekyo Yokaana, kabona omukulu asingayo, ye mubaka ow’abantu bonna. Mu ndagano enkadde Alooni ne batabani be bayawulibwa mu buweereza bwo bwakabona obutali bwankomerero. Ebibi byonna abyaali bitangirirwa byali birina kujjibwawo Alooni ne batabani be. Bwatyo Katonda bwe yalagira.

Singa abaleevi abalala baagezako okweddiza obuweereza bwa batabani ba Alooni bandifudde. Bano abaleevi kye baali bakkirizibwa okukola kwe kusonda enku ez’omuliro ogw’okukozesebwa ku alutaali, be baali batta ensolo ne bagijjamu mu amasavu, balongoosa n’ebyenda. Singa betumikiriza ne bagezaako

okukola omulimu gwa bakabona, bandifudde; eryo lye lyali eteeka lya Katonda.

Wano ku nsi tewabangawo musajja yenna asinga Yokaana omubatiza. Ye yali asinga mu Bantu bonna. “okuva mu biro bya yokaana omubatiza okutuusa leero, obwakabaka obw’omuggulu buwaguzibwa, n’abawaguza babunyaga lwa manyi.” Obununuzi bwaffe abantu bwatuukirizibwa mu kiseera Yokaana lwe yali ng’amaze okubatiza Yesu era n’abo abakkiriza mu Yesu basobola okuyingira obwakabaka obw’omuggulu, kubanga bafuuse abatuukirivu olw’okukkiriza. Tusanye tukimanye nti taata wa Yokaana naye yajjulira ku mutabani we. Kino kyajja kitya?

Page 130: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

130 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Obujulizi bwa Zaakaliya, taata wa Yokaana

Zaakaliya yalagula ki ku mutabani we?

Yokaana aliteekateeka ekkubo lya mukama

ng’aleeta okumanya kw’obulokozi eri abantu be.

Tusome mu Lukka 1:67-80. “Kitaawe

Zaakaliya n’ajjuzibwa omwoyo omutukuvu, n’alagula, ng’agamba nti ‘atenderezebwe mukama, Katonda wa Isirairi, kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde, era atuyimusirizza ejjembe ery’obulokozi mu nyumba y’omuddu we Dawudi (nga bwe yayogera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaali wo kasookedde ensi ebaawo), okulokolebwa mu balabe baffe, ne mu mikono gy’abo bonna abatukyawa;

okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe, n’okujjukira endagaano ye entukuvu, okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu, okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy’abalabe baffe tulyoke tumuweereze nga tetuliiko kye tutya, mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna. Naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w’oyo ali waggulu ennyo: kubanga olikulembera mukama okulongoosa amakubo ge; okumanyisa abantu be obulokozi, ebibi byabwe bibaggyibwe ko, olw’ekisa kya Katonda waffe ekirungi, emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu, okwakira abatuula mu nzikiza ne mu kisiikirize ky’olumbe, okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe. Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.”

Zaakaliya yalagula ebintu bibiri.

Page 131: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

131 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Eky’olubereberye nti, kabaka w’abantu bonna alijja. Mu Lunyiriri 68 okutusa ku 73 yalagula n’essanyu nti Katonda teyerabira bisuubizo bye. Yalagula nti Yesu nga Katonda yazaalibwa Malyamu omuwala atamanyi musajja; kino kyali kisuubizo ekyaweebwa abasika ba Ibulayimu. Abasika ba Ibulayimu n’abo banunulibwa.

“Okutuwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy’abalabe baffe, tulyoke tumuweereze nga tetuliko kye tutya…” kino kijjukizo; kye kisuubizo kya Katonda eri Ibulayimu n’abantu ba Isirairi anti, yalagula nti… “okutuwa ffe bwe tulokolebwa … tulyoke tumuweereze nga tetuliko kyetutya …”

Okuva ku lwe 76 n’alagula eri omwana we nti “naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w’oyo ali waggulu ennyo: kubanga olikulembela mukama okulongoosa amakubo ge okumanyisa abantu be obulokozi, ebibi byabwe bibaggibweko, olw’ekisa kya Katonda waffe ekirungi,

emmambya ky’evvudde etusalira eva mu ggulu, okwakira abatuula nzikiza n’emu kisiikirize ky’olumbe okuluŋŋamya ebigere byaffe mukubo ery’emirembe.

Yagamba nti, “… okumanyisa abantu be obulokozi ebibi byabwe bibagyibweko …” Yokaana omubatiza yeyalondebwa Katonda, n’ateekebwateekebwa okumanyisa abantu b’ensi yonna nti Yesu Kristo ye mwana wa Katonda ajjawo ebibi by’ensi yonna.

Mu Maako 1:1-5 tusoma nti, “Okusooka kw’enjiri ya Yesu Kristo omwana wa Katonda. Nga bwe kyawandiikibwa mu nnabbi Isaaya nti, “…laba nze ntuma omubaka wange mu maaso go, alirongoosa oluguudo lwo; eddoboozi lye ayogerera wagulu mu ddungu nti mulongoose oluguudo lwa mukama, muluŋŋamye amakubo ge; Yokaana yajja eyabatiza mu ddungu n’abuulira okubatizibwa okw’okwenenya olw’okujjibwako ebibi. N’ensi yonna ey’e

Page 132: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

132 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Buyudaaya n’ab’e Yerusalemi bonna ne bavaayo n’ebajja gy’ali ne babatizibwa ye mu mugga Yoludani nga baatula ebibi byabwe.”

Abantu ba Isirairi bwe baawulira okubuulira kwa Yokaana omubatiza, bavaanga ku bakatonda babanamawanga ne benenya ne babatizibwa Yokaana omubatiza. Yokaana y’enyini yajjulira nti, “nze mbabatiza n’amazzi musobole okuddira Katonda. Naye omwana wa Katonda alijja abatizibwe nze, ebibi byamwe byonna biryoke bissibwe ku ye. Era bwe mukkiriza mu kubatiza kwe, ebibi byammwe byonna binassibwa ku ye; era ng’ ebibi by’omundangano enkadde bwe byateekebwanga ku ssadaaka mu ndagaano enkadde.” Ebyo Yokaana bye yajjulira.

Mu Baibuli, ne mu biseera bya baibuli omugga Yoludani gwali gukwataganyizibwa n’okufa. Kale Yesu bwe yabatizibwa mu mugga Yoludani, kaali kabonero akalaga nti yali abatizibwa mu mugga gw’okufa. Eno (mu Koleya) ffe bwe tuba

tuyimba nga tuziika abagalwa baffe tugamba nti, “gye buggyako mu maaso tulisisinkana emitala eri mu nsi ennungi.”

Bwe tuliffa, tulisala omugga Yoludani; gwe mugga ogw’okufa. Yesu yabatizibwa mu mugga ogw’okufa, kubanga yatwala ebibi by’ensi yonna anti kyawandiikibwa nti, “empeera y’ekibi kufa.”

Okubatiza okw’okugyawo ebibi byaffe

Kikolwa ki(mundagaano empya) ekiyinza okukufananyizibwako

Ng’ekikolwa kyokuteekako emikono Ekyali mu ndagaano enkadde?

Okubatiza kwa Yesu.

Page 133: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

133 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Mu Matayo 3:13-17 tusoma nti “Awo Yesu n’ava e’Galiraaya, n’atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugana, ng’agamba nti nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gyendi? Naye Yesu naddamu n’amugamba nti kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna. N’alyoka amukkiriza. Awo Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi: laba omwoyo wa Katonda n’akka ng’ejjiba, n’ajja ku ye; laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu nga ligamba nti oyo ye mwana wange gwe njagala gwe nsanyukira ennyo.”

Yesu yagenda mu mugga Yoludani n’abatizibwa. Yagamba Yokaana amubatize. Yokaana n’amugamba nti naye nze nneetaaga kubatizibwa ggwe. Naye ate ojja gyendi?” Bakabona abakulu ab’eggulu baasisinkana. Nga bwe kyawandiikibwa mu Abebulaniya, Yesu Kristo ye kabona omukulu ow’olubeerera

okusiinzira ku ntegeka ya Merikizadeki. Kino kitegeeza nti ensibuko (emirandira) gya Yesu si gy’abantu. Yesu tava mu lulyo lwa Alooni era tava mu lulyo lwonna wano mu nsi. Yesu mwana wa Katonda omununuzi waffe. Yesu yeyambulako ebitiibwa by’omuggulu najja wano ku nsi okulokola abantu be. Ensonga lwaki yajja wano kunsi yali eno: kulokla abonoonyi bonna abaali babonyabonyezebwa obulimba bwa Setaani. Yesu yajjawo ebibi byonna bwe yabatizibwa Yokaana omubatiza. “Naye Yesu n’adamu n’amugamba nti: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna: nalyoka amukkiriza. ”

“Kkiriza kaakano.” Kkiriza! Yesu yatuukirira omubaka w’abantu ne yeewombeeka abatizibwe ye. Mu ndagaano enkadde, ssadaaka bwe yawebwangayo eri Katonda, omwonoonyi, oba kabona omukulu yateekanga emikono gye ku mutwe gwa ssaddaaka okujjiteekako ebibi. Kino

Page 134: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

134 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

ekikolwa eky’okuteeka emikono kitegeeza ki? kitegeeza “okuyisa”, “okunazibwa” oba “okuziikibwa.” Yokaana bwe yabatiza Yesu, ekikolwa eky’okubatiza kyali kikwataganira ddala n’ekyo eky’okusaako emikono ku ssadaaka nga eyatulibwaako ebibi. Endagaano enkadde kisiikirize ky’endagaano empya.

Omuntu bwe yateekanga emikono gye ku ndiga (mu ndagaano enkadde) ebibi bye “byayisibwangako” ne biteekebwa ku ndiga, “ne biziikibwa”, “ne binaazibwa.” Endiga eno yattibwanga n’eziikibwa. Ebibi by’oyo eyassangako emikono ku ndiga byali bimugibwako. Kino eky’okulabirako tekyawukana ne Yesu kye yakola mu ndagaano empya. Y’ensonga lwaki endagaano enkadde kisiikirize.

Ab’oluganda tufune eky’okulabirako kino: muno mu mikono gyange mulimu akatambala n’omuzindaalo (ogw’okwogererako,

maiklofooni). Singa akatambaala ky’ekibi, n’omuzindaalo, ye ssadaaka (endiga). Bw’enteeka emikono gyange ku muzindaalo guno ebibi bino biyisibwa ne bissibwa ku ndiga. Katonda y’enyini ye yasalawo kibe bwe kityo. Omuntu mu ndagaano enkadde yali alina okuteeka emikono ku mutwe gwa ssaddaaka asobole okununulibwa. Bwe kutyo okubatiza kwa Yesu n’akwo kwali kwa kunaazako, kuziika n’okuyisako ebibi by’ensi ku ye (Yesu).

Okutuukiriza obutukirivu bwonna kitegeeza ki?

Kwe kunaaza ebibi byonna

nga bissibwa ku Yesu. Kale nno, Yesu bwe yabatizibwa ddala ebibi

by’ensi byonna “byayisibwa” ne bissibwa ku ye. Bino by’ebibi abonoonyi fenna bye twakola. Kye

Page 135: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

135 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

kifananyi kye tulabye ekyaliwo mu ndagaano enkadde. Okubatiza kwa Yesu kwe kwatuleetera ffe obununuzi. Yesu yava e Galiraaya n’agamba Yokaana nti “kkiriza kaakano kubanga kitugwanira okutuukiriza obutukirivu bwonna.” Olwo Yokaana n’alyooka abatiza Yesu. Yesu bwe yagamba nti “ obutuukirivu bwonna” yali ategeeza ki? Yali ategeeza nti kyali “ekikolwa ekituufu ekisanidde.” Kale nno mu kubatiza kwa Yesu, “ebikolwa byonna ebisanidde” byatuukirizibwa. Yokaana, n’olwekyo yali mutuufu okubatiza Yesu ne Yesu yali mutuufu okukkiriza okubatizibwa Yokaana, ebibi by’ensi byonna bisobole okumuteekebwako.

Katonda ffe abantu atununula nga asinziira ku kubatiza kwa Yesu, ssaddaaka ye ku musalaba n’okukkiriza kwaffe. Nteberezamu nga Yesu ng’agamba Yokaana nti, “Abantu bonna babonabona n’ekibi era batulugunyizibwa nnyo Setaani olw’ekibi mu bbo. N’olwekyo gwe

Yokaana ova mu lulyo lwa Alooni era omubaka w’abantu, osanye ombatize olwo omulimu gw’obwakatonda ogw’obununuzi gunatuukirizibwa.” Yokaana n’addamu, “kino nkitegeera”.

Yokaana n’ateeka emikono ku Yesu, n’amubatiza ebibi by’ensi yonna ne bimussibwako. Yesu n’afuuka omulokozi aggyawo ebibi by’ensi yonna. Ffe twetaga kukkiriza bukkiriza mu bununuzi bwe, olwo tunalokoka. Kino okikkiriza ow’oluganda?

Oluvanyuma lw’okubatizibwa kwe, Yesu yamala emyaka asatu n’ekitundu ng’abuulira enjiri; wabula ekibi ky’ensi yonna yali akyetisse mu myaka egyo mwe yabuulirangamu enjiri. Yagamba omukazi eyali akwatiddwa mu kikolwa eky’obwenzi ntu “nange sisala kukusinga.” Yesu teyamusalira musango, kubanga yali yatwala dda ebibi bye (omukazi eyakwatibwa mu kikolwa ky’obwenzi) era yali anaatera okumufiirira ku

Page 136: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

136 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

musalaba. Yesu bwe yali asaba mu lusuku lwe Gethusemeni yasaba Katonda emirundi esatu ng’amwegayirira amujjeko ekikompe eky’okubonabona kye yali anaatera okunywa; naye yakkiriza n’agamba mukama nti “okwagala kwo kukolebwe.”

“Laba omwana gw’endiga wa katonda ajjwo ebibi by’ensi!”

Yesu yagyawo ebibi by’ensi bimeka?

Ebibi by’ensi yonna.

Yokaana 1:29, “olunaku olw’okubiri n’alaba

Yesu nga ajja gyali n’agamba nti laba, omwana gw’endiga owa Katonda ajjawo ebibi by’ensi!” Yokaana omubatiza ye yabatiza Yesu.

Oluvanyuma nga wayiseewo olunaku lumu Yesu yajja gyali. Yokaana n’alyoka agamba abantu be yali nabo nti “laba, omwana gw’endiga owa Katonda, ajjawo ebibi by’ensi.” Obwo bwe bwali obujulizi bwa Yokaana. Obujulizi buno Yokaana yabuddamu. Mu 1:35-36 tusoma nti “olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n’ab’okubayigirizwa be babiri; n’atunuulira Yesu ng’atambula, n’agamba nti laba, omwana gw’endiga owa Katonda! “Omwana gw’endiga” ye Yesu. Omwana wa Katonda yava mu ggulu nakka kuno kunsi ku lulwo ne kulwange nakka okuggyawo ebibi byaffe byonna; ebyonoono byonna okuva ku kutondebwa kw’ensi okutuuka ku nkomerero. Yesu yatununula n’okubatiza kwe n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba, natuwa obununuzi obutuukiridde. “Laba omwana gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi.”

Emabegako (emyaka nga nkumi biri emabega- 2000) Yesu yazaalibwa mu nsi eno era mu

Page 137: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

137 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

mwaka 30A.D (oluvanyuma lwa Kristo) Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna mu mwaka 1 A.D (oluvanyuma lwa Kristo) Yesu yazaalibwa.

Mu 30A.D (oluvanyuma lwa Kristo) Yokaana omubatiza yabatiza Yesu. Oluvanyuma n’alagirira abantu nti, “laba omwana gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi!” “Laba!” yagamba abantu bakkirize mu Yesu eyagyawo ebibi byabwe. Yokaana yajulira nti Yesu, ye yatulokola ffe abantu okuva mu bibi byaffe. Ebibi byaffe byatwalibwa era twasonyiyibwa. Ffe tetukyalina kibi, kubanga omwana wa Katonda ebibi byaffe byonna yabigyawo. Yokaana omubatiza yajulira nti yesu yatwaala ebyonoono byo n’ebyange. “Oyo (Yokaana) yajja olw’okutegeeza ategeeze eby’omusana, abantu bonna bakkirize…” (Yokaana 1:7).

Awatali bujulizi bwa Yokaana, twanditegedde tutya nti Yesu yatufirira fenna? Yokaana omubatiza yajulira nti Yesu ye yagyawo ebibi

byaffe byonna.

Bibi byenkana ki ebyo Ebimanyiddwa nge’bibi by’ensi?

Ebibi by’abantu bonna okuva kuntandikwa

y’ensi eno okutuusa ku nkomerero. Bangi baajulira Yesu ng’amaze okufa; naye

Yokaana omubatiza yekka ye yajulira Yesu ng’akyali mulamu. Abayigirizibwa nabo baajulira obununuzi bwa Yesu. Baajulira nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe; nti era ye mulokozi waffe. Ow’oluganda asoma nkikakasa nti tonaba kuweza myaka 100, weewawo? Yesu yaggyawo ebibi by’ensi bwe yali emyaka 30. Wekkennenye ekifananyi kino:

Page 138: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

138 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Adamu→Ibulayimu→Okubatiza kwa→Yesu kati→Enkomerero

4000Bc 2000BC 30AD 2006AD ?AD Ebibi by’ensi byonna BC (Yesu nga tanalabisibwa) AD (Oluvanyuma lwa Yesu)

Tetunaba kumanya bulungi myaka ensi gy’erina oba gy’esigazayo naye amazima ge gano: enkomerero erina okutuuka mu (Kubikulirwa 22:13) “Nze Alufa ne Omega, ow’olubereberye era omukoobezi, okusooka n’enkomerero.”

Ffe abantu tutandika okwonoona okuva ku lunaku lwe tuzaalibwa. Ow’oluganda kankubuuze: okuva ku lunaku lwe twazaalibwa okutuusa ku myaka kumi, twonoona oba tetwonoona? Weewawo twonoona. Ebyonoono ebyo byassibwa ku Yesu oba tebyamussibwako? Mazima byamussibwako. Ekyo kimufuula

omulokozi waffe. Okuva ku myaka 11 okutuusa 20 twonoona oba tetwonoona? Mazima twonoona mu bigambo ne mu bikolwa tubeera tukugusse mu kibi. Tulabuddwa emirundi mingi obutonoona n’okwewala ekibi, naye mu kibi mwe twazaalibwa. Wabula Katonda atugamba nti ebibi ebyo byassibwa ku Yesu. Yamanya nti tuli bonoonyi, n’olwekyo ebibi yabiggyawo byonna mbagirawo.

Singa omuntu amala emyaka 70 ku nsi. Bwe tugatta ebyonoono ebikoleddwa mu myaka egyo 70, olowooza obuzito bwabyo bwandibadde bwenkana ki? Singa ebibi ebyo tubissa ku galoole aganene, gayinza okulemererwa okutambula.

Gezaako okufumitiriza ku byonoono bye tuzziza mu bulamu bwaffe. Olowooza ebyo ebibi bya nsi oba si bibi bya nsi? Mazima ddala kituundu kya bibi bya nsi. Twonoona okuva ku lunaku lwe tuzaalibwa okutuusa lwe tufa. Naye

Page 139: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

139 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

ebyonoono ebyo byonna biri mu bibi by’ensi era byateekebwa ku Yesu okuyita mu kubatiza kwe.

Omulokozi w’abantu, Yesu Kristo

Yesu yaggyawo ebibi byenkanawa?

Ebibi byonna ebyabasika baffe n’abo ab’olulyo lwaffe okutuusa ku

nkomerero y’ensi.

Yesu atugamba nti yajja mu mubiri atunazeeko ebibi ebyo byonna. Naye Yesu yali tasobola kwebatiza, n’olwekyo Katonda yatuwa omuwereza we Yokaana, eyalondebwa ng’omubaka w’abantu bonna. Nga bwe kyawandikiibwa “… n’erinnya lye liriyitibwa nti wakitalo, ateesa ebigambo, Katonda ow’amaanyi …” Katonda yennyini mu magezi ge

agasukuluma, mu kuteesa kwe, yatuma omubaka w’abantu bonna okukulembera ne Yesu, omwana wa Katonda. Yajja mu mubiri okuggyawo ebyonoono byonna eby’ensi. Olowooza obugabirizi bwa Katonda si bulungi nnyo?

Ddala obulokozi buno bulungi, bwa tendo! Yokaana, omubaka w’abantu bwe yamala okumubatiza Yesu, ebibi bya buli muntu mu nsi byaggyibwaawo era buli muntu yasumululwa okuva mu kibi ku lunaku Yesu lwe yakomererwa. Yatusumulula fenna. Kifumitirizeeko kino ow’oluganda; ebyonoono byo byonna Yesu yabiggyawo: ye mukolozi w’abantu.

Kaakano tumanyi nti Yokaana omubatiza yateeka ebibi byaffe fenna ku Yesu. Katonda bwatyo bwe yakyagala. N’olwekyo ffe bwe tukkiriza Yesu tulokoka. Naye kambuzze: ggwe nange tuli bonoonyi? Ebibi byaffe tebyateekebwa ku Yesu? Nedda tetukyaali bonoonyi, kubanga ebibi byaffe byateekebwa dda ku Yesu.

Page 140: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

140 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Ani agamba nti ekibi kikyali mu nsi eno? Yesu yaggyawo ebibi by’ensi yonna. Yamanya nti tujja kwonoona so yatwala n’ebibi byaffe byonna n’eby’omumaaso. Abamu mu ffe tetunawezza myaka 50; ate abamu tetunaba kutuusa kituundu ky’abulamu bwaffe, naye abamu mu ffe, nange kamwa koogera, tweyogerako nga abantu abafuna edda obulamu obutagwaawo.

Edda ennyo, Yesu yaggyawo ebibi by’ensi yonna bwe yaffa ku musalaba n’agamba nti “Kiwedde.” Ku lunaku olw’okusatu yazuukira mu bafu n’agenda mu ggulu. Era ye y’alina obulamu obutaggwawo. Atulaba era fenna atumanyi.

Omuntu ayinza okugamba nti, “banange nze ndi mwonoonyi, mu nsi munno mazeemu emyaka 20, naye ebibi byange byo bingi. Nsobola ntya okubeera omutukuvu?” Wabula Katonda waffe agamba atya? Katonda amuddamu nti, “tomanyi nti nakununula n’enkuggya mu bibi byo n’ebya bajjajabo,

awamu n’ebibi by’abo abantu abatanaba kuzaalibwa?” Katonda bino abyogera ng’asinziira ku ki? Abyogera ng’asinziira ku busobozi bwalina okubeera nga ye y’alina obulamu obutagwaawo. Ow’oluganda kino okikkiriza? Kikkirize kaakano. Onofuna ekirabo ky’obulokozi Katonda ky’agaba, era onoyingira obwakabaka obw’omuggulu.

Twelarikirira na birowoozo bikyamu, wabula kkiriza mu kigambo kya Katonda. “Kituggwanira ffe okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Omwana gw’endiga owa Katonda yatuukiriza dda obutuukirivu bwaffe. Yesu yaggyawo ebibi by’ensi byonna. Kino sikituufu ow’oluganda? Ddala kituufu.

Yesu, yagamba ki lwe yali ttanaba kufa ku musalaba?

Kiwedde!

Page 141: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

141 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Yesu Kristo yajjawo ebibi by’ensi yonna okuyita mu kubatiza kwe; yasalirwa omusango gw’okufa mu Kooti ya Pontiyo Pilato era n’akomererwa ku musalaba.

“N’afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa: ne bamukomererera awo, era n’abalala babiri wamu naye, eruuyi, n’eruuyi, ne Yesu wakati Ne Piraato n’awandiika ebbaluwa n’agissa ku musalaba, ng’ewandiikidwa nti YESU OMUNAZAALESI KABAKA W’ABAYUDAAYA. Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi” (Yokaana 19:17-20).

Njagala twekkanya bulungi ebintu ebyabaawo Yesu bwe yali amaze okukomererwa ku musalaba. “Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu bwe

yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n’agamba nti nina enyonta. Waali wateekeddwawo ekibya ekkijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenga omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n’agamba nti kiwedde: n’akutamya omutwe gwe, n’awaayo omwoyo gwe.” (Yokaana 19: 28- 30).

Bwe yannywa ku nnvinnyo ekaawa eyamuweebwa, yagamba nti “Kiwedde!” n’awayo omwoyo we n’affa. Yesu Kristo Yazuukira ku lunako olw’okusatu n’agenda mu ggulu.

Mu Abaebbulaniya 10:1-9 tusoma nti, “Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, tebayinza ennaku zonna

Page 142: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

142 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

kutuukiriza abo abazisemberera. Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo? Kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu, tebandibadde na kwetegeerako bibi nate. Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. Kubanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi. Ng’ajja mu nsi, kyava ayogera nti, ‘Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri; Tewasiima ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi; Ne ndyoka njogera nti Laba, nzize (Mu muzingo gw’ekitabo ekyampandiikibwako) okukola by’oyagala, ai Katonda.’ Bw’ayogera waggulu nti Ssaddaaka n’ebiweebwayo n’ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng’amateeka bwe gali), n’alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by’oyagala. Aggyawo eky’olubereberyw, alyoke anyweze eky’okubiri.”

Obununuzi obw’oluberera

Twewala tutya okwonoona okutattadde newankubadde nga

tumaze okukiriza Yesu?

Tulina okukakasa nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna lwe

yabatizibwa. Amateeka gaali kisiikirize ky’ebyo ebyo

mumaaso. Ssadaaka ez’omundagaano enkadde ez’endiga n’embuzi zaali nga akabonero akatulaga nti mu ngeri ye emu Yesu alijja atununule ffe abantu okuva mu bibi byaffe. Abantu bonna ab’omu ndagaano enkadde, Ibulayimu, Dawudi n’abalala bonna bamanya era bakkiriza mu nnono eyaliwo kw’olwo ey’okuwangayo ssadaaka. Kristo yali yasuubizibwa: yatubikkulirwa (Kristo kitegeeza

Page 143: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

143 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

“oyo ateekedwako amafuta”) era Kristo ye yali omununuzi mulindwa.

Amateeka gaali kisiikirize ky’ebirungi ebigenda okujja. Okuwayo ssadaaka olw’ebyonoono ku lunaku, mwaka ku mwaka kyalimu obuzibu, kubanga abantu tebaanunulibwa ddala. Baddangayo mu kibi: Kale y’ensonga lwaki omwana wa Katonda ataalina kibi yakka n’ajja kunsi. Yesu yagamba nti yajja okutuukiriza okwagala kwa kitaawe, nga bwe kyawandiikibwa mu Baibuli ku ye “…era neŋŋamba nti laba nzize okukola okwagala kwo, ai Katonda aggyawo eky’olubereberye, alyoke anyweze eky’okubiri.” N’olwekyo ffe twawuliddwa okuyita mu ssaadaka ey’omubiri gwa Yesu Kristo mulundi gumu. Mazima ddala twayawulibwa.

Kino kitegeeza ki? Katonda kitaffe yatuma omwana we Yesu era Yesu yateekebwako ebibi byaffe byonna okuyita mu kubatiza kwe, n’akomererwa ku musalaba, okununula ffe fenna

abaali babonyabonyezebwa olw’ekibi tulyoke twawulibwe. Twayawulibwa, kubanga Yesu Kristo yeeyawula ku lwaffe n’ebibi byaffe n’afa ku lwafe tuleme kubeera na musango gwonna. Ssadaaka ez’o mu ndagaano enkadde zaweebyangayo bulijjo, kubanga ebibi ebya bulijjo byali birina okunaazibwa era n’okuggibwawo ssadaaka endala.

Amakulu agali mu kikolwa yesu kye yakola eky’okunaaza ebigere bya petero n’abayigirizwa abalala

Wakyaliyo ebibi bye tulina ffe era nga twetaaga okusaba ekisonyiwo?

Nedda.

Mu Yokaana 13 mulimu olugero lwa Yesu nga

Page 144: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

144 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

anaaza ebigere bya Petero. Yanaaza ebigere bya Petero amulage nti yali ajja kuddamu okwonoona mu biseera byo mumaaso. Era yamusomesa nti yali anunuliddwa okuva mw’ebyo ebyonoono bye yali tanaba kukola. Yesu yamanyira ddala nti Petero aliddamu okwonoona. N’olwekyo yayiwa amazzi mu bansini namunaaza ebigere.

Peetero yagezaako okugaana, naye Yesu n’amugamba nti “kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvanyuma.” Amakulu ge gano: ojja kwonoona nate. Ojja kwonoona nga mmazze n’okuzuukira. N’olwekyo, nnaazza ebigere byo nsobole okulabula setaani aleme okukugezesa, kubanga ebibi byo bijjibwawo. Olowooza lwaki Yesu yanaaza ebigere bya Petero? Olowooza yakikola tusobole okumanya nti twetaaga okwenenya? Nedda. Singa twali tulina okwenenya bulijjo, kitegeeza nti Yesu teyandigyewo bibi byaffe mulundi gumu.

Naye Yesu yagamba nti yaggyawo ebibi byaffe omulundi gumu. Kaakano bwe twenenya bulijjo, tubeera nga abazeeyo mu ndagaano enkadde. Ani kale ayiinza okubeera omutuukirivu? Ani asobola okununulibwa? Newankubadde tukkiriza mu Katonda, ani mu ffe ayiinza okugamba nti tayonoona? Ani asobola okwawula olw’okwenenya? Twonoona bulijjo; kale tuyinza tutya okusaba Katonda ekisonyiwo olwa buli kibi kye tukola? Tuyinza tutya okukakanyala ate nga tweyoongera okumusaba obununuzi obwa bulijjo? Ffe tutera okwerabira ebyonoono bye tuzza ku nkya okutuusa olw’eggulo. Omuntu tasobola kwenenyeza ddala bibi eby’oluberera nasigala nga atuukiridde. Kale, Yesu yabatizibwa omulundi gumu era ne yeewaayo ku musalaba ffe tulyoke twawulibwe omulundi gumu. Kino okitegeera ow’oluganda? Twanunulibwa okuva mu bibi byaffe omulundi gumu. Tetununulibwa buli kiseera lwe twenenya. Bwe twakkiriza nti

Page 145: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

145 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Yesu ye yatulokola okuva mu bibi, twalokolebwa. (Abaebbulaniya 10:11-18); “na buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza ng’awaayo emirundi emingi ssadaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyawo bibi emirembe gyonna: naye oyo bwe yamala okuwaayo ssadaaka emu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna, n’alyoka atuula ku Mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; ng’alindirira oluvanyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye. Kubanga olw’okuwaayo ssadaaka emu yatuukiriza okutuusa ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw’amala okwogera nti, “eno ye ndagaano gye ndirangaana n’abo oluvanyuma lw’ennaku ziri, bwayogera mukama; ‘nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n’alyoka ayogera nti n’ebibi byabwe n’obujeemu bwabwe siribijjukira nate. Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssadaaka olw’ekibi.”

“Naye awali okuggibwako ebyo tewakyali kuwangaayo ssaddaaka” Olunyiriri luno lutegeeza ki? Amakulu agali mu ge gano: Ekibi, ekya buli kika kyanaazibwa Katonda atusonyiye era aggyewo ebyonoono byaffe byonna ow’oluganda kino okikiriza? Kale nno “tewakyali kuwangayo ssadaaka olw’ekibi.”

Kaakano katumalirize n’okunuwumbawumba kuno: Singa Yokaana omubatiza teyateeka mikono gye ku Yesu, oba singa Yokaana omubatiza teyabatiza Yesu, tetwandinunulibwa. Singa Yesu teyalonda Yokaana omubatiza ng’omubaka w’abantu bonna era singa Yesu teyagyawo byonoono byaffe, ddala twandisigadde n’ebyonoono byaffe.

Amateeka ga Katonda gabwenkanya. Katonda kyali tekimugwanira kwogera bwogezi n’okututegeeza nti tuli bonoonyi. Yajja n’atwala ebyonoono byaffe. Lwaki Yesu, Katonda, yajja gye tuli mu mubiri? Yajja okugyawo ebyonoono

Page 146: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

146 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

by’abantu bonna okuyita mu kubatiza kwe. Yesu ddala yamanya nti ebyonoono byaffe byonna eby’emitima, n’ebikolwa tebyasobola kujjibwawo okujjako nga Yesu azze ne yeewayo nga ssaddaaka ey’oluberera. Singa Yesu teyabatizibwa ebyonoono byaffe tebyandigyidwawo. Singa Yesu yakomererwa nga tanaba kujjawo bibi byaffe, okufa kwe tekwandibadde na makulu. Bwe yali atandise obuweereza bwe ku myaka 30, Yesu yagenda ewa Yokaana abatizibwe mu Yoludaani. Obuweereza yabumaliriza ku myaka 33. Yagamba Yokaana nti, “kkiriza kaakano kubanga kitugwanira okuyuukiriza obutuukirivu bwonna….” olwo abantu bonna balyoke balokoke era batuukirirre. Katonda teyatunuulira Yesu (bwe yali akomereddwa ku musalaba), kubanga yali ajjude ebyonoono eby’amuteekebwako ku lunaku luli lw’ebamubatiza. Katonda yali alina okumuwaayo nga ssaddaaka. Katonda yali alina

okukkiriza Kristo omwanawe affe. Kale okumala esaawa satu ensi yali ekutte ekizikiza. Yesu bwe yali tanafa n’akabira waggulu nti, “Eli, Eli lama Sabaehtani” ekitegeeza “Katonda wange Katonda wange lwaki ondekulidde?” Yesu yeetikka ebibi n’atwala omusango ku musalaba ku lwaffe. Kale yatulokola fenna. Awatali kubatiza kwa Yesu, okufa kwe tekwandibadde na mugaso.

Oli mwonoonyi oba oli mutuukirivu?

Ndi mutuukirivu atalina kibi

mu mutima gwange.

Singa Yesu yafa ku musalaba nga tajjeewo byonoono byaffe okuyita mu kubatiza kwe, okufa kwe ku musalaba tekwanditununudde. Yesu yabatizibwa Yokaana omubatiza omubaka w’abantu, alyoke atununule, era omusango

Page 147: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

147 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

yagufunira ku musalaba. Kale buli amukkiriza (Yesu) analokolebwa. N’olwekyo okuva mu biro bya Yokaana omubatiza okutuusa kati obwakabaka bw’omuggulu buwaguzibwa. Ebibi byaffe bitangiriddwa, kubanga Yokaana omubatiza yateeka ebibi by’ensi yonna ku Yesu. Ggwe nange tusobola okukowoola Katonda kitaffe era tusobola okuyingira obwakabaka bw’omuggulu n’obuvumu.

Twasomye (mu ab’ebulaniya 10:18) nti “naye okuggyibwako ebyo tewakyali kuwangayo ssadaaka olw’ekibi.” Ow’oluganda okyali mwonoonyi? Oluvanyuma lw’okumanya nti Yesu yasasula ebbanja lyo? Okyalinayo ebbanja lyonna?

Lumu waaliyo omusajja eyanywanga ennyo omwenge. N’abo abaagumuguzanga kati baali bamubanja. Wabula mutabani w’omusajja yali wa mukisa n’afuna esente ezasobola okusasula ebbanja lyonna. Kati taata yali takyalina bbanja lyonna.

Kino Yesu naffe kye yatukolera ffe. Yasasulira n’ebibi byaffe eby’omu maaso, ate so ebyo byokka; naye eby’ensi yonna. Byonna byateekebwa ku Yesu, lwe yabatizibwa. Kankubuuze ow’oluganda; okyali mwonoonyi kati? Nedda toli. Singa enjiri eno ey’obununuzi twagimanya okuva kuntandikwa, kyanditwanguyiridde okukkiriza mu Yesu. Naye nga bwe kirabika kati, kiwulikika ng’ekintu ekipya ennyo nti abantu bakyeewunya naye kino si kipya. Kibadewo okuva ku ntandikwa, mu luberyeberye. Tetwakimanyako. Enjiri ey’amazzi n’omwoyo yawandiikibwa mu baibuli era ebadde eteekebwa mu nkola. Ebaddewo buli kiseera, mu baibuli, ebaddewo gwe nange nga tetunazaalibwa, ebaddewo mu lubereberye.

Page 148: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

148 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

Enjiri ey’obununuzi obw’olubeerera

Kiki kye tulina okukola mu maaso ga Katonda?

Tulina okukkiriza mu njiri ey’obulamu etagwaawo.

Yesu Kristo, eyanaaza n’agyawo ebibi byaffe, yafa nga gwe nange tetunnazaalibwa. Yaggyawo ebibi byaffe byonna. Kale nno okyali n’ekibi? Nedda. Olwo ate ebyonoono byo ebyenkya oba mu maaso? Byonna byatwalibwa mu bibi by’ensi. Olwo n’ebya leero? Olowooza nabyo byateekebwa ku Yesu oba tebyamutekebwako? Wewawo byamutekebwako. Tewali kyonoono nakimu kirekeddwayo emabega? Enjiri etukuutira okukkiriza nti Yesu agyawo ebibi byaffe byonna omulundi gumu era byonna

n’abitusasulira. “Okusooka kw’enjiri ya Yesu Kristo, omwana

wa Katonda” (Makko 1:1). Enjiri y’omuggulu elimu amawulire amalungi. Yesu akubuuza, “natwaala ebibi byo. Nze mulokozi wo. Onzikkiriza? Batono mu mwe abayinza okugamba nti, ‘ye nzikkiriza nga bw’otugambye…’ abo abayatula bwebatyo bafuuka batuukirivu nga Ibulayimu. Abalala bagamba nti sisobola kukkiriza, tekiwulikika bulungi gyendi. Olwo Yesu n’abuuza “mbulira leero: ebibi byo nabigyawo oba sabigyawo?” Naawe n’odamu nti, “nayigirizibwa nti waggyawo ebibi byange ebyasooka, naye si bino ebyabulijjo n’ebyo mu maaso.”

“ndaba nti oli mugezigezi mu maanyi go gwe. Okikkiriza nga bwewasomesebwa, ne kulw’ensonga eyo eyolekede geyeena,” okukkiriza mu bununuzi bwa Yesu butulokodde. Abo bonna abakyanywerera ku ndowooza nti

Page 149: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

149 Okubatizibwa kwa Yesu n’omutango gw’ebibi

balina ekibi, balina okugenda mu geyeena era ekyo bakisalawo ku lwabwe. Enjiri y’obununuzi etandikira mu njiri ya Yokaana omubatiza. Yesu y’agyawo ebibi byaffe byonna okuyita mu kubatizibwa kwe. Naffe bwe tumukkiriza twawulibwa.

Omutume Pawulo yayogera naye ku kubatiza kwa Yesu mu baluwa ze yawandiika. Mu (Abgalatiya 3:27) tusoma nti “kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo” okubatizibwa mu kristo kitegeeza nti tubeera mubumu ne kristo bwe tukkiriza mu kubatiza kwe. Yesu bwe yabatizibwa, ebibi byaffe byonna byateekebwa ku ye okuyita mu Yokaana omubatiza era byonna byamalizibwa ddala.

Mu 1 Peetero 3:21 “era kaakano gegabalokola mwe mu kifaanayi eky’amazima kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okudamu okw’omwoyo omulungi

eri Katonda olw’okuzuukira kwa Yesu kristo.” Abo bokka abakkiriza mu bino: obujulizi bwa

Yokaana omubatiza, mu kubatiza kwa Yesu, ne mu musaayi gwe yayiwa ku musaalaba, abo bebafuna ekisa eky’obununuzi okuva eri Katonda. Ow’oluganda weetwalire okubatiza kwa Yesu ng’ekifaananyi eky’obulokozi mu mutima gwo nawe onolokoka.

Page 150: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 6

Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi

n’Omwoyo

Page 151: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

151 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi

n’Omwoyo

< 1 Yokaana 5:1-12 > “Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye

Kristo, ngazaaliddwa Katonda: na buli ayagala eyazaala ayagala n’oyo gwe yazaala. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala Katonda ne tukola ebiragiro bye. Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa. Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okuwangula ensi, okukkiriza kwaffe. Era awangula ensi y’ani, wabula akkiriza nga Yesu ye mwana wa Katonda? Oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi, Yesu

Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n’amazzi gali n’omusaayi guli. Era omwoyo yategeeza, kubanga omwoyo ge mazima. Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n’amazzi, n’omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu. Bwe tukkiriza okutegeeza kw’abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti atageezezza eby’Omwana we. Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng’amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw’ategeezezza eby’Omwana we. Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu mwana we. Alina Omwana alina obulamu; atalina mwana wa Katonda talina bulamu.”

Page 152: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

152 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Yesu Kristo yajja ku bwaki?

Amazzi, omusaayi n’omwoyo.

Ddala ddala Yesu yajja ku bw’amazzi? Yee

yajja ku bw’amazzi. Amazzi kifaananyi ky’okubatiza kwa Yesu, nga Yokaana omubatiza amubatiza mu mugga Yoludani. Okubatiza kuno kwe kubatiza okw’obununuzi okwagyawo ebibi by’ensi byonna.

Ddala ddala Yesu yajja ku lw’omusaayi? Yee yajja ku lw’omusaayi. Yajja mu mubiri gw’omuntu, n’abatizibwa okugyawo ebibi byonna eby’ensi yonna; olwo n’asasula empeera y’ekibi bwe yayiwa omusaayi gwe ku musalaba. Yesu yajja ku bw’omusaayi.

Yesu yajja ku bw’omwoyo? Yee yajja ku bw’omwoyo. Yesu yali Katonda, naye yajja ng’omwoyo mu mubiri okulokola abonoonyi. Abantu bangi tebakkiriza nti Yesu yajja ku

bw’amazzi, omusaayi n’omwoyo. Abantu batono nnyo bakkiriza nti Yesu ye Katonda wa bakatonda era ye Kabaka wa bakabaka. Abantu bangi bewunya nti, ‘ddala ddala Yesu mwana wa Katonda oba mwana wa muntu?’ Ate abantu bangi, nga mwotadde n’abakulu b’eddiini n’abaweereza, bakkiriza mu Yesu ng’omuntu si nga Katonda, omulokozi.

Naye Katonda yagamba nti buli akkiriza nti Yesu Kabaka wa bakabaka, anazaalibwa Katonda. Abo abagala Katonda bakkiriza mu Yesu. Okugyako ng’abantu balokoka, tebayinza kuwangula nsi. Kale omutume Yokaana yatugamba nti abakristayo abamazima be bayinza okuwangula ensi. Lwaki abakristayo abamazima era abesigwa be bayinza okuwangula ensi? Kubanga bakkiriza mu mazzi, omusaayi,n’omwoyo. Amanyi ag’okuwangula ensi tegayinza kuva mu kwagala kw’omuntu, okufuba kwe oba okuyayana kwe okungi.

Page 153: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

153 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

“Bwe njogera n’ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n’ebitaasa ebisaala. Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n’okutegeera kwonna; era bwe mba n’okukkiriza kwonna, n’okuggyawo ne nziggyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza” (1 Abakkolinso 13:1-3).

‘Okwagala’ okwogerwaako wano kutegeeza ki? Nti Yesu yajja ku bw’amazzi, omusaayi n’omwoyo. Mu baibuli, ekigambo ‘okwagala’ kikwataganyizibwa nnyo ‘n’okwagala amazima’ (Abasessaloniika 2:10). Okwagala kwa Katonda kwalabisibwa mu mwana we Yesu Kristo (1 Yokaana 4:9).

Oyo yekka akkiriza mu mazzi n’omusaayi y’asobola okuwangula ensi

Ani asobola okuwangula ensi?

Abo abakkiriza mu bununuzi Bw’okubatiza

kwa Yesu, owb’omusaayi gwe N’obw’omwoyo

1 Yokaana 5:5-6 tusoma nti, “Era awangula

ensi y’ani, wabula akkiriza nga Yesu mwana wa Katonda? Oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n’amazzi gali n’omusaayi guli.”

Ab’oluganda, oyo eyawangula setani n’ensi ye Yesu Kristo. Abo abakkiriza mu kigambo ky’amazzi, omusaayi n’omwoyo wa Yesu n’abo bawangula ensi. Yesu yawangula atya ensi?

Page 154: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

154 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Yawangula ensi okuyita mu bununuzi obw’amazzi, omusaayi n’omwoyo.

Mu Baibuli, ‘amazzi’ gatulaga okubatiza kwa Yesu (1 Peetero 3:21). Yesu yajja mu nsi eno mu mubiri. Yajja okulokola abonoonyi mu nsi eno; yabatizibwa n’affa ku musalaba okuggyawo ebibi byaffe.

Omusaayi ku musalaba kitulaga nti Yesu yajja mu nsi muno mu mubiri gw’omuntu. Yajja mu kifananyi ky’omwonoonyi okulokola abonoonyi era yabatizibwa n’amazzi. N’olwekyo, Yesu yajja gye tuli ku lw’amazzi n’omusaayi. Yesu yaggyawo ebibi by’ensi yonna n’amazzi g’okubatiza kwe, n’omusaayi gw’okufa kwe.

Omulabe setaani yafuga atya ensi? Omulabe yakema omuntu n’amusigamu okubuusabuusa, n’obugyeemu mu mutima. Omulabe ne leero akema abantu era afuba okulaba nti tebakkiriza kigambo kya Katonda; ayagala begyeeme Katonda.

Yesu yajja kuno ku nsi n’aggyawo ebibi by’ensi yonna n’amazzi ag’okubatiza kwe

n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba. Yawangula setaani n’aggyawo ebibi by’ensi yonna. Kino kyabaawo, kubanga Yesu Kristo ye yali asanidde okulokola abonoonyi, n’amazzi n’omusaayi.

Yesu yagyawo ebibi by’ensi yonna n’Okubatiza kwe okutununula

Tutegeeza ki bwe tugamba nti, Yesu yawangula ensi?

Yesu yagyawo ebibi by’ensi

yonna. Yesu yabatizibwa okugyawo ebibi by’ensi

byonna. Yasobola okutununula fenna, Yokaana omubatiza (eyali akiikiridde abantu fenna) bwe yamubatiza mu mugga Yoludani. Yesu yawayo obulamu bwe ku musalaba ku lw’ebibi byaffe.

Page 155: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

155 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Yawangula amanyi g’omulabe Setaani n’okufa kwe n’okuzuukira kwe. Yesu yasasula empeera y’ebibi byaffe n’okufa kwe.

Yesu yajja eri ffe abonoonyi, okuyita mu Mazzi ag’okubatiza kwe n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba

Yesu yawangula atya Amanyi ga setaani?

Okuyita mu kubatiza kwe,

Omusaayi n’omwoyo Omutuma Yokaana yagamba nti, obununuzi si

bwa mazzi gokka, wabula amazzi n’omusaayi. N’olwekyo, nga Yesu bwe yaggyawo ebibi byaffe byonna emirembe gyonna, abonoonyi bonna bwe bamukkiriza era ne besiga ekigambo kye, balokoka.

Yesu bwe yajja mu nsi, teyaggyawo bibi byaffe byokka, wabula byonna yabisasulira bwe yayiwa omusaayi gwe ku musalaba naffa ku lwaffe. Yaggyawo ebibi byaffe byonna n’okubatiza kwe mu mugga Yoludani, n’asasula empeera y’ekibi kyaffe ku musalaba; yasasulira ebibi byaffe n’okuffa kwe. Eteeka lya Mukama ery’obwenkanya lyatuukirizibwa; eteeka ligamba nti, ‘empeera y’ekibi kufa’ (Abaruumi 6:23).

Yesu ategeeza ki bw’ayogera ku kuwangula ensi? Okukkiriza okuwangula ensi kwe kukkiriza mu njiri ey’obununuzi, Yesu gye yatuwa; enjiri y’amazzi n’omusaayi. Yajja mu nsi mu mubiri n’abeera omujulizi w’obulokozi n’okubatiza kw’amazzi n’okufa kwe ku musalaba.

Yesu yawangula ensi eno ne setaani. Abayigirizwa b’ekkanisa eyasooka bayimirira ku mazima g’enjiri ya Kristo era tebamwegaana. Tebasiinza bakatonda b’eburuumi, ate n’ebikemo eby’ensi babyewala.

Kino kyabawo ku bakkiriza b’ekkanisa eyasooka,

Page 156: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

156 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

kubanga bakkiriza nti Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi (yabatizibwa okuggyawo ebibi by’ensi yonna), era yayiwa omusaayi gwe ku musalaba (yasasulira empeera y’ebibi byaffe).

Yesu yajja mu nsi n’obujjuvu bw’omwoyo omutukuvu (newankubadde nga yali mu mubiri), n’aggyawo ebibi by’abonoonyi n’okubatiza kwe, n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba, ffe fenna abanaanunulibwa tusobole okuwangula ensi.

Era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa,…olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo <1 Peetero 3:21>

Ekifaananyi ky’obulokozi Kye kiriwa?

Okubatiza kwa Yesu

Kyawandiikibwa mu 1 Peetero 3:21 nti, “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo.” Omutume Paulo yajulira Yesu ng’agamba nti ye yali omulokozi, era yajja ku lw’amazzi g’okubatiza kwe n’omusaayi.

N’olwekyo, tulina okukkiriza mu Yesu, eyajja ku bw’amazzi n’omusaayi; era tusaanye tumanye nti amazzi ag’okubatiza kwa Yesu kifaananyi ky’obulokozi bwaffe. Omutuma Peetero yatugamba nti amazzi g’okubatiza kwe, omusaayi omusaayi n’omwoyo nsonga nkulu nnyo mu bununuzi bwaffe abantu.

Abayigirizwa ba Yesu bakkiriza mu musaayi gw’omusalaba ogwayiika, n’okubatiza kwa Yesu. Bwetukkiriza mu musaayi gwa Yesu gwokka, okukkiriza kwaffe kubeera kwa kituundu.

Page 157: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

157 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Okukkiriza kuno okunnyweredde ku mazima ag’ekituundu si ga lubeerera. Naye okukkiriza kw’abo abakkiriza mu njiri ey’amazzi, omusaayi n’omwoyo ennywera n’eggumira.

Oluusi tusuubira nti bwe tukuba akabonero k’omusalaba, tubeera tusobola okugoba omulabe Setaani. Eno endowooza nkamu era si ya bwakatonda. Setaani ayise mu ndowooza bwe ziti okulimba abakristayo nebawalirizibwa okukkirza mu musaayi gw’omusalaba gwokka.

Peetero n’abayigirizwa abalala bonna bajulira enjiri ey’amazima ey’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba. Naye, ffe abakristayo b’ennaku zino kiki kye tujulira? Tujulira musaayi gwe Yesu Kristo gwokka.

Kitugwanira okukkiriza mu bigambo ebiwandiikidwa mu Baibuli, era n’okukkiriza mu bulokozi bw’omwoyo, okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Bwe tu nnyoma okubatiza kwa Yesu ne tujulira okufa kwe ku musalaba kwokka,

tubeera n’obulokozi obutatuukiridde.

‘Ekigambo ky’obujulizi’ obw’obulokozi obusibuka mu kubatiza kwa Yesu

Kiki ekikakasa nti Katonda yatulokola?

Amazzi, Omusaayi, n’Omwoyo

Mu 1 Yokaana 5:8, Mukama atugamba nti,

“Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n’amazzi n’Omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.” Abajulirwa (abategeeza) banu bali basatu nyau mw’omu (mu muntu omu) Yesu yajja mu nsi muno okutulokola ng’ayita mu basatu bano.

Page 158: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

158 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Singa ekimu ku bino ebisatu ebyogereddwako tebikkirizibwa, obulokozi bwa Katonda tebutuukiridde. Nate magamba nti abajulizi (abategeeza) bali basatu: Omwoyo amazzi n’omusaayi.

Yesu Kristo, eyajja gye tuli mu mubiri, ye Katonda, omwoyo era n;omwana. Yakka mu nsi ng’omwoyo mu mubiri gw’omuntu. Yabatizibwa mu mazzi okugyawo ebibi by’ensi yonna. Yetikka ebibi byaffe byonna bwe yayiwa omusaayi gwe kumusalaba n’afa. Yasasulira ebibi byaffe byonna. Eno y’enjiri obutuukiridde okuyita mu mazzi, omusaayi, n’omwoyo.

Newankubadde omu ku bajulizi (bategeeza) bano annyoomebwa, oyo aba amunnyomye tayawukana n’oyo atakkiriza mu bulokozi bwa Katonda (obwatununula okuva mu buli kibi). Abakrisataayo ennaku zino bangi abakkiriza nti abajulizi (abategeeza bali babiri) omusaayi n’omwoyo. Naye omutume Yokaana

yatutegeezeza nti waliyo ebibtu bisatu ebyajuliranga: amazzi g’okubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe yayiwa ku musalaba, n’Omwoyo. Omutume Yokaana yali mulambulukufu nnyo mu bujilizi bwe.

Okukkiriza okununula omwonoonyi kwe kukkiriza mu mwoyo, amazzi, n’omusaayi. Kukkiriza kwa kika kki okusobozesa omuntu okuwangula ensi? Kyawandiikibwa mu baibuli. Kwe kukkiriza mu Yesu eyajja ku bw’amazzi. Omusaayi, Omwoyo n’Amazzi water, bye tulina okufuna, tulyoke tufune obulokozi n’obulamu obutagwawo.

Obulokozi bwa Katonda bunatuukirira awatali kubatiza

kwa Yesu?

Nedda

Page 159: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

159 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Edda ennyo, nga sinaba kulokoka, nange nnali mukristayo eyali akkiriza mu musaayi ne mu musalaba, wewaawo ne mu Mwoyo. Nakkiriza nti Yesu yajja ku bw’omwoyo era nanfirira kumusalaba okundokola mu bibi byonna. Nnali nakkiriza mu bino ebibiri era nabubuuliranga abantu bonna.

Nnalinasoma eby’eddiini nga njagala okufuuka omumiinsani, nsobole okukolera era n’okwewayo ku lw’emyoyo gya Katonda ejibuzze; nga Yesu bwe yakola. Nnali ntegese ebintu bingi ebinene. Wabula okuva kw’olwo lwe nakkiriza, ekibi kyali kikyali mu mutima gwange. N’olwekyo nnali sisobola kuwangula nsi. Bwe nnakkiriza mu musaayi ne mu mwoyo, nnali nkyali n’ekibi mu mutima gwange.

Ensonga lwaki nnali nkyali n’ekibi mu mutima gwange (newankubadde Yesu nnali mukkiriza) y’eno: Nnali sirina kye mmanyi ku mazzi g’okubatiza kwa Yesu. Obununuzi bwange bwali

tebutuukiridde okutuusa lwe nnakkiriza mu mazzi g’okubatiza kwa Yesu, omusaayi n’omwoyo.

Nnali sisobola kuwangula bibi byange eby’omubiri, nnali sinamanya makulu agali mu kubatiza kwa Yesu. Leero, mu nnaku zino, abantu bangi bakkiriza mu Yesu, naye bakyayonoona mu mubiri. Balina ebibi mu mitima gyabwe era bagezaako nga bwe basobola okwagala Katonda n’okwagala okw’asooka kwe bali balina eri Yesu.

Abantu tebayinza mu manyi gaabwe kuzza buggya kwagala kwabwe okwasooka, kubanga tebanazanga bibi byabwe n’amazzi. Tebamanyi nti ebibi byabwe byonna byateekebwa ku Yesu bwe yabatizibwa, era bwe beesittala ne baggwa, emirundi egisinga tebasigala mu kukkiriza.

Ow’oluganda njagala okukunnyonnyola ensonga eno. Tuyinza okutambulira mu kukkiriza ne tuwangula ensi bwe tukkiriza mu Yesu.

Page 160: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

160 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Weewawo tetusanidde, twonoona emirundi mingi… naye bwe tukkiriza mu Yesu Kristo, eyatutukuza n’atugyako ebibi byaffe okuyita mu kubatiza kwe n’omusaayi gwe yayiwa, tununulibwa okuva mu nsi, era tugiwangula.

Bwe tukkiriza mu Yesu nga tetukkiriza mu mazzi g’okubatiza kwe, obulokozi bwaffe tebuyinza kutuukirira. Omutume Yokaana yatugamba nti okukkiriza okuwangula ensi kwe kukkiriza mu Yesu Kristo, eyajja gye tuli (mu nsi) ku bw’amazzi, omusaayi, n’omwoyo.

Katonda yatuma omwana we yekka okujja okununula abo abakkiriza mu kubatiza kwe n’omusaayi. Yesu yagyawo ebibi byaffe byonna n’okubatiza kwe. Yesu, omwana wa Katonda, yajja gye tuli mu mwoyo (ne mu mubiri ng’omuntu). Yayiwa omusaayi gwe ku musalaba okusasulira ebibi byaffe. N’olwekyo, Yesu yanunula abantu fenna okuva mu bibi.

Okukkiriza okutuwangusiza ensi kuva mu

kukkiriza nti Yesu yajja ku bw’amazzi, omusaayi, n’omwoyo. Gano ge mazima agatununula okuva mu buli kibi.

Singa okubatiza kwa Yesu tekwaliwo, era singa Yesu teyayiwa musaayi gwe, tewandibaddewo bulokozi. Awatali mwoyo, mazzi, n’omusaayi tewali bulokozi bwa mazima. N’olwekyo, tulina okukkiriza mu mazzi, omusaayi n’omwoyo. Ow’oluganda kino bw’onokimanya, onobeera n’okukkiriza okw’amazima.

Obulokozi obw’amazima bwe bw’amazzi, omusaayi n’omwoyo

Bisanyizo ki ebisatu ebijulira obulokozi obw’amazima?

Amazzi, Omusaayi n’Omwoyo.

Page 161: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

161 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Weekaliriza enjogera eno etera okubaawo mu bantu. Babeera bagamba nti, “Mmanyi Yesu mulokozi wange. Nzikkiriza mu musaayi gwe yayiwa ku musalaba era nange njagala okwewayo gyali. Nzikkiriza mu Yesu, newankubadde nina ebibi mu mutima gwange. Nenenya bulijjo era nfuba nnyo okutambulira mu makuba amalongoofu bulijo. Mmpaddeyo obulamu bwange ne byonna byenina gyoli mukama. N’okuwasa saawasa (oba n’okufuumbirwa saafumbirwa). Mazima ddala oyinza okuba nga nze tommanyi? Ddala ku by’enkoze oyinza okuntwala mu geyena? Nedda tayinza!’

Abantu bangi balowooleza mu ndowooza efananako ng’eyo gye tulabye waggulu. Tebakkiriza nti Yesu yabatizibwa okujjawo ebibi byonna eby’ensi. Abakristaayo bano bwe bafa bagenda wa? Bagenda mu geyena, kubanga endowooza yabwe mbi. Abo abeenyumiriza mu

bikolwa eby’okungulu ate ne balowooza nti Katonda naye abyenyumirizaamu, babeera bakyamu era bolekedde geyena.

Abantu abamu balowooza nti, mu nsi temukyali kibi nakimu, kubanga Yesu yagyawo ebibi by’ensi yonna.

Tulina okukkiriza nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe n’okubatiza kwe, yatwala omusango gwaffe n’akomererwa ku musalaba, n’azuukira mu bafu ku lunaku olw’okusatu. Awatali kukkiriza mw’ebyo, obununuzi bwaffe abantu tebwandituukiriziddwa wano kunsi. Yesu Kristo yabatizibwa, n’affa ku musalaba era n’azuukira. Yesu yajja gye tuli ku bw’amazzi, omusaayi n’omwoyo n’agyawo ebibi by’ensi yonna.

Ebisanyizo biri bisatu ebijulira obulokozi bwa Yesu kuno ku nsi: Omwoyo, amazzi n’omusaayi.

Omwoyo omutukuvu ajulira nti Yesu ye Katonda era yakka mu mubiri ng’omuntu.

Ekisanyizo eky’okubiri ge mazzi: kwe

Page 162: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

162 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

kubatiza kwa Yesu mu mugga Yoludaai. Yokaana omubatiza ye yabatiza Yesu. Ebibi byaffe byonna byateekebwa ku Yesu ku lunaku lwe yabatizibwa (Matayo 3:15).

Omujjulizi ow’okusatu gwe Musaayi; ke kabonero akalaga nti Yesu yakkiriza okutwala omusango ogw’okwetikka ebibi byaffe. Yesu yaffa n’akkiriza omusango hwa kitaawe muggulu, ku lwaffe. Wabula ku lunaku olw’okusatu yazuukira mu baffu.

Katonda kitaffe atuwa omwoyo we (mu mitima gyaffe) bwe tukkiriza mu kubatiza kwe n’omusaayi gw’omwana we, kubanga bino by’ebisanyizo ebijulira obulokozi bwaffe.

Abo abanunule balina ekigambo kya Katonda mu bo. Kino kye kibasobozesa okuwangula ensi. Abanunule bokka be bayinza okuwangula Setaani, obuliimba bwa bannabi abaliimba n’emizzizzikko emirala egiri mu nsi egiyinza okubalumba. Lwaki abakkiriza balina amanyi ga

Katonda mu bulamu bwabwe? Kubanga balina obujulizi bw’amazzi g’okubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe n’omwoyo.

Omulabe setaani n’ensi Tubiwangula tutya?

Bwe tukkiriza mu bajulirwa

abasatu

Ffe abakkiriza tusobola okuwangula setaani, kubanga tukkiriza mu mazzi, omusaayi n’omwoyo. Abo abakkiriza mu bino tebayinza kuwangulibwa mulabe setaani ne bannabi be abalimba. Okukkiriza kwaffe abakkiriza kuli mu bisanyizo bino ebisatu. Owoluganda kino okukkiriza? Toyinza kulokoka era n’ensiotoyinza kugiwangula bw’oba tokkiriza mu bisanyizo ebisatu. Owoluganda ebisanyizo bino obirina mu mutima gwo? Okkiriza nti ebibi byo

Page 163: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

163 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

byateekebwa ku Yesu? Olina obukakafu nti omusango Yesu yaguggyawo bwe yayiwa omusaayi gwe? Buno obukakafu bwe bu beera mu mutima gwo, ojja kuwangula ensi. Bw’oba okkiriza nti Yesu yeetikka omusango ku lulwo, ojja kuwangula ensi.

Omutume Yokaana yawangula ensi, kubanga ebisanyizo ebisatu yali abirina mu mutima gwe. Era yagabana ku bisanyizo bino eri baganda be mu kukkiriza. Yabalaga nga bwe bayinza okuwangula ensi; okuyita mu Yesu eyajja ku bw’amazzi, omwoyo n’omusaayi. Nga Yesu bwe yawangula, n’abo abeesigwa bajja kusobola okuwangula ensi.

Mu 1 Yokaana 5:8, kyawandiikibwa nti, “Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n’amazzi n’omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.” Abantu bangi bogera ku musaayi n’omwoyo, naye amazzi gokubatiza kwa Yesu bagaleka. Tutegeezeddwa nti ebisatu bigendera wamu. Kale

nno amazzi bwe gajjibwamu, tubeera tulimbiddwa omulabe setaani. Amazzi ag’okubatiza kwa Yesu tulina okugakkiriza; olwo tunalokoka.

Tewali n’omu ayinza okuwangula ensi okugyako ng’akkiriza mu mazzi n’omusaayi gwa Yesy Kristo. Nate njagala okukugamba nti tewali asobola kuwangula nsi! Olutalo lwaffe n’ensi tulina okululwana nga tukozesa amazzi (ag’okubatiza kwa Yesu) n’omusaayi ng’eby’okulwanyisa byaffe eby’amanyi. Ekigambo kye ky’ekitala eky’omwoyo era ekitangala.

Abantu bangi tebakkiriza mu kubatiza kwa Yesu okwatunaazaako ebibi byonna. Kale nno Yesu bw’abagamba okugolokoka baake, oluusi bamunnyoma. Bakyali n’ekibi mu mitima gyabwe. Newankubadde bakkiriza mu Yesu, bajja kugenda mu geyena, bwe batakkiriza mu njiri ye etuukiridde.

Page 164: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

164 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Abakkiriza mu njiri eno ey’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe yayiwa balina okugijulira; olwo abantu banawulira era banakkiriza n’okulokoka balokolebwe

Okukkiriza mu kubatiza kwa Ndowooza y’abantu?

Nedda si ndowooza y’abantu, wabula mazima.

Ffe abakkiriza bwe tulina okujulira enjiri ya

Kristo mu bujjuvu. Kristo Yesu yajja ku bw’omwoyo, n’abatizibwa okugyawo ebibi byaffe era nayiwa omusaayi gwe okusasula omusango gw’ebibi byaffe. Kitugwanira okukkiriza mu nnono zino esatu.

Bwe tugana okukkiriza mu njiri eno, tetubuulira mazima wabula twelimbira mu diini.

Abakrisatayo bangi ennaku zino balowooza nti obukristayo diini, naye kino si kituufu. Obukristayo kukkiriza okuzimbiddwa ku musingi gw’okukkiriza. Obukristayo si diini.

Ediini yo yatondebwawo bantu. Okukkiriza kwo kuva wa Katonda, era abakkiriza bo beesiga Katonda okubalokola. Eno y’enjawulo eriwo wakati w’eddiini n’okukkiriza. Omuntu bw’agana amazima, obukristayo aba abututte ng’eddiini.

Yesu Kristo teyajja ku nsi kutandikawo diini eyitibwa ey’obukristaayo.

Aboluganda, tulina okuyimirira tunywerere ku mazima. Tulina ‘okugolokoka twake.’ Tulina okubuulira abantu amazima.

Omuntu yenna bwa kugamba nti, ‘Yesu si ly’kkubo lyokka eritutuusa mu ggulu’ olina okubeera n’obuvvumu obumuddamu nti, ‘mazima ddala Yesu ly’ekkubo lyokka eritutuusa mu ggulu. Oyo akkiriza nti Yesu yajja ku bw’amazzi, omusaayi, n’omwoyo ajja kuganda

Page 165: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

165 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

muggulu.’ Owoluganda, ekitangala mu ggwe kirina okwakira ddala mu mutima gwo, abantu abalala bawulire ekigambo ky’obulokozi balokoke era bagende mu ggulu.

Beera n’okukkiriza okutuufu: Abo abagamba nti Katonda bamwagala, naye nga tebakkiriza mu bununuzi bwa Yesu, okubatiza kwe n’omusaayi, bajja kusanawo

B’ani abanasaanawo, newnkubadde Bakkiriza mu Yesu?

Abo abatakkiriza mu Kubatiza

kwa Yesu

Ffe abakkiriza bwe tugamba nti tukkiriza mu

Yesu, okwagala kwetulina gyali emirundi egisinga kubeera kw’esigamye ku ndowooza etali ntuufu. Kandeete eky’okulabirako kino: Lumu emmeeri yali esala ng’eyolekedde oluyi olulala olw’enyanja n’efuna obuzibu mu ntambula. Abali bavunanyizibwa mu mmeeri ne bawereza obubaka obuwandiike obusaba obuyambi. Wayitawo ebbanga ttono, enyonyi entono (helicopter) n’ejja n’esuula omuguwa awaali emmeri eyali efunye obuzibu.

Singa omu ku bantu abaali mu mmeeri yakwata ku muguwa n’emikono gye mukifo ky’okugwesiba mu kiwato, yandibadde tasobola kununulibwa, kubanga emikono gye tegiyinza kunyweza muguwa okumala ebanga eddene. Kale nno, n’abo abagamba nti bakkiriza mu Yesu (naye ng’okukkiriza kwabwe tekulina we kwesigamye) bwe bali – ng’omuntu akwata omuguwa ng’agenda okununulibwa – bagamba nti, “nzikkiriza” naye nga tebanaba kununulibwa.

Page 166: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

166 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Omuntu atategeera mazima agali emabega w’okubatiza kwa Yesu Kristo n’omusaayi gwe abeera ng’oyo ow’omu mmeeri akkiriza nti bw’akwata omuguwa, ananunulibwa. Omuntu ono bw’asikibwa, ajja kuta omuguwa, kubanga emikono gimufuuyirira era n’engalo ziseerera. Abeera ayagala kununulibwa mu manyi ge ye, naye kino tekisoboka anti amanyi ge gabeera matono ddala.

Omuntu bwatyo tayawukana n’omukristayo akkiriza obukkiriza mu Yesu, naye Kristo ng’okukkiriza kwe tekulina we kwesigamye. Bangi bagamba nti bakkiriza mu Yesu, eyajja ku bw’omwoyo. Kino kirungi, wabula eno si y’enjiri etuukiridde. Yesu yajja ku bw’omwoyo, n’abatizibwa, n’ayiwa omusaayi gwe kumusalaba. Eno y’enjiri etuukiridde. Omuntu bwatagikkiriza anaba ayolekedde geyena.

Owoluganda, siba omwoyo wo n’omuguwa gw’enjiri eyamazima, enjiri ey’amazzi

n’omusaayi. Yesu bwanakanyuga omuguwa gw’obulokozi, abo abanasiba emyoyo gyabwe n’omuguwa guno ogw’enjiri y’amazzi n’omusaayi n’omwoyo be banalokoka.

Kaneyongereyo n’akagero kange ak’emmeeri: Omununuzi eyajjira mu nyonyi entono

yagamba abasajja (ababiri abalimu) beesibe omuguwa gwe yali abawadde mu kiwato; ebirala babimulekere. Yabagana okukwata ku muguwa.

Omusajja eyasooka yagondera amateeka agamuweebwa era nanunulibwa. Owokubiri yagamba nti “Tofaayo nina amanyi mangi, nsobola okukwata omuguwa guno n’endokoka.” Kuntadikwa omusajja ono yali anwezezza omuguwa, naye ate wayitawo ekiseera kitono nnyo nagwamu amanyi n’ata omuguwa era yaffa. Omusajja eyasooka yagonda n’awuliriza endagiriro z’omununuzi, naye owokubiri yaguguba era enkomerero ye bwetyo bwe yali, yafa.

Omuntu eyetaaga obununuzi obutuukiridde,

Page 167: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

167 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

asanya akkirize mu bununuzi obw’amazzi, ag’okubatiza kwa Yesu, n’omusaayi gwe ogutulokola okuva mu kibi kyonna. Omuntu bwakkiriza ekigambo kya Katonda n’omutima gwe gwonna, alokoka. Ekigambo kitutegeeza nti Yesu yatulokola n’okubatiza kwa Yokaana omubatiza,n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba.

Abakristayo abakkiriza mu musaayi bagamba nti, “tofaayo nze nzikkiriza, era nebaza nnyo Yesu olw’omusaayi gwe. Nja kugoberera Yesu okutuusa ku nkomerero, ate nokukkiriza kwange mu musaayi kujja kunsobozesa okuwangula ensi n’ebibi byonna mu bulamu bwange.”

Okukkiriza kuno tekumala. Abo Katonda bakkiriza okubeera abaana be, be bo abalina obukakafu buno mu mitima gyabwe; nti Yesu yajja ku bw’omwoyo omutukuvu, yabatizibwa (n’aggyawo ebibi byaffe bwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani), era yaffa ku musalaba okusasula ebibi by’abantu byonna ate n’azuukira

okuva mu bafu ku lunaku lw’okusatu. Eri abakkiriza ebisatu bye tulabye waggulu, omwoyo omutukuvu abalabikira. Abo abatalina bukakafu ku nsonga esatu ze tulabye, tebafuna bulokozi. Abayigirizwa ba Yesu bonna (mu ndagaano empya) bakkiriza ensonga zino. Yseu atugamba nti okubatiza kwe kye kifaananyi ky’obulokozi era omusaayi gwe gwe musango.

Omutume Paulo n’Omutume Peetero n’abo bajulira okubatiza kwa Yesu n’omusaayi ggwe

Abayigirizwa ba Yesu bajulira ki?

Okubatiza kwa Yesu n’omusaayi ggwe

Page 168: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

168 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Omutume Paulo yayogera ku kubatiza kwa Yesu? Kiki kye yawandiika? Tusome mu Baruumi 6:3, “Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?” ne mu Abaruumi 6:5, “Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky’okufa kwe, era tuligattibwa ne mukifaananyi ky’okuzuukira kwe;”

Paulo yawandiika ne mu Baggalatiya 3:27, “Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo mwayambala Kristo.” Abayigirizwa ba Yesu nabo bajulira ku mazzi (okubatiza kwa Yesu. “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwa Kristo,” (1 Peetero 3:21).

Obulokozi obw’obununuzi bwa Mukama bwajja gye tuli ku bw’amazzi n’omusaayi gwa Yesu

B’ani Katonda bayita abatuukirivu?

Abo abatalina kibi kyonna mu Mitima gyabwe

Obununuzi Yesu bwe yatuwa ffe abantu bwe

bw’amazzi g’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe kumusalaba. Tulina obusobozi ffe abanunule okugolokoka ne twaka nga tuyita mu bununuzi buno.

“Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n’ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.” (Isaaya 60:1). Katonda ayasizza ekitiibwa kye mu ffe era atulagira naffe okugolokoka twaake. Tulina okugondera eteeka

Page 169: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

169 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

lino. Oluusi enjiri tubadde tujibuulira mu manyi gaffe, wabula abantu bangi tebawulira. Kkiriza mu Yesu era naawe ononunulibwa. Onobeera mutuukirivu. Bw’oba okyalina ekibi mu mutima gwo, toli mutuukirivu; tonaba kuwangula bibi by’ensi. Omuntu bwatakkiriza mu kubatiza kwa Yesu, tayinza kwewala kibi mu mutima gwe. Omuntu tayinza kwewala musango bwatakkiriza mu musaayi gwa Yesu. Era omuntu bwatakkiriza mu Yesu Kristo (eyajja kubw’omwoyo) tayinza kulokoka. Abantu tetuyinza tufuna butuukirivu bwa Katonda bwe tutakkiriza mu mazzi (okubatiza kwa Yesu), Omusaayi n’Omwoyo.

Omuntu yenna bwe yeeyita omutuukirivu naye ng’amanyi nti akyali n’ebibi, aba takkiriza Yesu. Abantu abamu ennaku zino beesigama ku bununuzi bwe beekoledde mu butuukirivu bwabwe. Bawandiise obutabo bungi nnyo ku mutwe guno.

Naye kanbuuze! Omuntu bwaba alina ekibi

mu mutima ggwe abeera mutuukirivu mu maaso ga Katonda? Nedda. Katonda talimba. Abantu tebamanyi mazima agali mu kubeera omutuukirivu. Ekintu, ffe abantu kye tuyita ekirongoofu kyawukana nnyo n’ekyo Katonda kyayita ekirongoofu. Oyinza okulowooza nti Yesu akuyita mulongoofu, newankubadde olina ekibi mu ggwe. Naye endowooza eno nkyamu. Yesu bwe tumukkiriza ng’oyo eyajja ku bw’omwoyo, amazzi n’omusaayi (n’agyawo ebibi yaffe byonna bwe yabatizibwa, naffa ku musalaba kuwaffe), olwo tufuuka batuukirivu era Yesu atuyita batuukirivu.

Bakristayo banange, waliyo obutuukirivu abantu bwebatandise okuyiya. Obutuukirivu bun tebukwatagana na njiri ya mazzi n’omusaayi. Omuntu alina ekibi tabeera mutuukirivu mu maaso ga Katonda, newankubadde omuntu oyo akkiriza mu Yesu n’omutima gwe gwonna. Eno y’endowooza abantu abakkiriza mu butuukirivu

Page 170: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

170 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

buno (obuyiiye) gye balina. Abantu Katonda bayita abatuukirivu be bo

abamanyi nti tebalina kibi mu mitima gyabwe. Abantu bano bakkiriza nti Yesu Katonda era yajja mu nsi mu mubiri, n’abatizibwa mu mugga Yoludaani, n’ayiwa omusaayi gwe ku musalaba okugyawo ebibi byaffe byonna.

Abo bokka abakkiriza mu mawulire amalungi ag’obununuzi bwa Katonda be batuukirivu mu maaso ga Katonda. Balina okukkiriza okutuufu, kubanga bakkiriza mu bikolwa Yesu bye yatukolera ffe abantu; Yesu yajja, n’abatizibwa okujjawo ebibi byaffe byonna, n’atwala omusango gwaffe bwe yaffa ku musalaba n’azuukira okuva mu bafu ku lunaku olw’okusatu.

Bino byonna Katonda yabitukolera mu kwagala. Yesu yakka okuva mu ggulu n’agamba nti, “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” (Matayo 11:28). Yesu yatuwummuza bwe

yajjawo ebibi byaffe byonna. Abo abakkiriza mu musaayi gwa Yesu

gwokka si batuukirivu mu maaso ga Katonda, era bakyali bonoonyi. Okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu Kristo, omusaayi gwe nsonga nkulu nnyo. Yesu yajjawo ebibi byaffe bwe yajja mu nsi n’abatizibwa Yokaana omubatiza. Ebibi by’ensi yonna byateekebwa ku ye era yabisasulira ku musalaba n’atulokola fenna.

Abo abakkiriza mu mazzi, omusaayi n’omwoyo banunulibwa, era baana ba Katonda abatuukirivu. Kkiriza leero mu kubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe, n’omwoyo. Nawe ononunulibwa. Abo abakkiriza mu musaayi n’omwoyo bakyalina ekibi mu mitima gyabwe.

Obwakabaka bwa Katonda butambulira ku nnonno zino: obwenkanya, obwesimbu, okwagala, n’ekisa. Gano ge mazima. Obulimba tebuliyo mu bwakabaka bw’omuggulu.

Page 171: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

171 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Ebikolwa ebitali bya Katonda

bikolebwa ani?

Bikolebwa abo abatakkiriza Mu kubatiza kwa Yesu

“Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti

Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?” (Matayo 7:22)

Katonda tateeka ssira mu bikolwa by’abantu bwa beera ayagala tuyingire obwakabaka bwe. “Ne ndyoka mbatulira nti ‘sibamanyangako mmwe:muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu’” (Matayo 7:23).

Mu nnaku zino abantu abenyumiriza mu bikolwa bogera bwe bati:

“Yesu mukama wange nawayo enju bbiri. Obulamu bwange bwonna nabuwayo gyoli.

Mazima ddala tewandaba Yesu? Si kweganangako mu bulamu bwange bwonna.”

Yesu n’akubuuza, “Olina ekibi mu mutima gwo?” “Yee, Mukama wange. Nina ebibi bitono.” “Kale no, vva mu maaso gange! Teri

mwonoonyi n’omu akkirizibwa okujja mu maaso gange.”

“Naye nafiirira ggwe mukama wange, neewayo ng’omujulizi ku lulwo mukama wange!”

Yesu nalyoka akuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza nti weewayo ng’omujulizi?

Wali mukakanyavu mu mutima. Wakkiriza mu kubatiza kwange n’omusaayi? Najulira mu mutima gwo nti oli mwana wange? Nedda. Tokkiriza na mu kubatiza kwange, era n’okujulira sajulira mu mutima gwo nti oli mwana wange. Wakakanyala n’okkiriza mu kikyamu n’offa. Wagezaako okwenunula mu

Page 172: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

172 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

manyi go. Kale no, vva mu maaso gange.” Yesu yatulagira okugolokoka twake.

Abakkiriza abamanyi amazima oluusi tutya okwasanguza amazima getutegedde. Tugaana okugolokoka n’okwaka! Kale ekiseera kituuse ekitangala muffe okwakira ddala. Omukkiriza omu bwanayimirira n’ajulira amazima, ensi yonna eneyaka.

Mu Isaaya 60:1-2, kiwandiikiddwa nti, “Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n’ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo. Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n’ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.”

Katonda atulagira okugolokoka twake, kubanga ekizikiza eky’obulimba (enjiri enkyamu) kibisse ensi yonna. Abo bokka abakkiriza Yesu Kristo be basobola okumwagala. Abatanaba kununulibwa tebasobola kwagala Katonda. Bo kibanguyira

okwogera ku kwagala kwa Katonda, wabula tebasobolera ddala kumwagala, okujjako nga bakkiriza mu mazima gonna.

Ebintu bisatu ebitegeeza (ensonga satu ezitegeeza) obulokozi eri abonoonyi

Kiki ekijulira(ekitegeeza) Obulokozi mu mutima gwo?

Okubatiza kwa Yesu

“Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo

n’amazzi n’omusaayi era abasatu abo bagendera wamu.” Yesu yajja mu nsi n’akola omulimu gwe kubw’amazzi n’omusaayi. Kiono yakikola n’alyoka atulokola.

Page 173: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

173 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

“Bwe tukkiriza okutegeeza kw’abantu, okutegeeza kwa Katondakwe kusinga obukulu: kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby’Omwana we. Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng’amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw’ategeezezza eby’Omwana we. Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu mwana we. Alina Omwana alina obulamu;atalina mwana wa Katonda talina bulamu” (1 Yokaana 5:9-12).

Abalokole bafuna okutegeeza (obujulizi) obw’abantu. Tumanyibwa ng’abantu abatuukirivu. Ffe abalokole abanunule, bwe twogera ku mazima ag’obununuzi abantu tebatuwakanya. Bakkiriza mu mazima ge tubagamba. Bwe tubabuulira ku bujulizi bwaffe (nga bwe twalokoka) bakkiriza bukkiriza, anti tewali muntu yenna asobola okuwakanya enjiri

ey’amazima ffe abalokole gye tujulira. Bakimanyi nti tuli batuufu, n’olwekyo naffe tufuna obujulizi obw’abantu.

Wabula tumanyi nti, omujulizi wa Katonda (ajulira Katonda) y’asinga. Okutegeeza kwa Katonda ye Mwana we. Si kituufu? Okutegeeza kw’omwana we kwe kuliwa? Kwe kutegeeza nti Katonda yatulokola. Yesu yajja ku bw’omwoyo, amazzi ag’obununuzi n’omusaayi gwe kumusalaba. Katonda y’ajulira nti bwatyo ye bwe yatulokola, era naffe tuli baana be, kubanga tukkiriza mu bulokozi bwe.

“Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng’amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw’ategeezezza eby’Omwana we.”

Olunyiriri luno luttulagira ddala abo abanunulibwa. Tuyiga nti oyo akkiriza mu mwana wa Katonda alina okutageeza (obujulizi) mu ye. Ow’oluganda olina okutegeeza kuno mu

Page 174: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

174 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

mutima gwo? Kubeera mu gwe nange (bw’okkiriza).

Yesu yajja mu nsi kululwo ne kulwange. (yajjira mu mubiri bwe yazaalibwa omuwala atamanyi musajja Maliyamu). Bwe yali awezezza emyaka asatu, yabatizibwa era ne yetikka ebibi byaffe byonna. Era yetikka n’omusango gwaffe ku musalaba. Ku lunaku olw’okusatu yazuukira mu bafu era n’atuwa obulamu obutagwaawo.

Kiki ekyandibaddewo singa Yesu teyazuukira? Olowooza obujulizi bwe ku bulamu bwange nadi butegedde (nti yaggyawo ebibi byange byonna)? Nedda! Eno y’ensonga endala lwaki Yesu mmuyita mulokozi wange, era y’ensonga lwaki ffe tumukkiriza. Yesu yagamba nti yatununulan’okubatiza kwe n’omusaayi. Ggwe nange tulokolebwa, kubanga tukkiriza. Abnunule tebayinza kunnyoma “mazzi” ag’okubatiza kwa Yesu.

“…kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna…” (Matayo 3:15).

Tumanyi nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna mu mugga Yoludani bwe yabatizibwa (Yokaana omubatiza). Abanunule tetuyinza kwegana ‘mazzi’ ag’okubatiza kwa Yesu.

Abo Abakkiriza, naye nga tebanunulibwanga beegaana okubatiza kwa Yesu

Ani oyo afuula Katonda omulimba?

Oyo atakkiriza mu kubatiza Kwa Yesu.

Yokaana omutume yali mutuufu bwe yagamba

nti “oyo atakkiriza mu Katonda aba amufudde muliimba.” Singa omutume Yokaana yali abeera wano kati, olowooza abakkiriza ab’omulembe

Page 175: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

175 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

guno yandibadde abagamba ki? Yandibadde atubuuza oba tumanyo nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe. Olowooza Yokaana omubatiza naye singa yali wano teyandijulidde njiri ya Yesu n’okubatiza kwe okwatununula? Kan kubuuze: ebibi byaffe tebyatekebwa ku Yesu? Era omanyi nti Yesu bwe yabatizibwa yatwaala ebibi byaffe? Ne Yokaana omubatiza yajulira nti Yesu yabatizibwa asobole okutununula fenna. (Yokaana 1:29, 1 Yokaana 5:4-8).

Abo abatakkiriza mu Katonda (abatakkiriza mw’ebyo bye yakola asobole okutulokola) bamufuula muliimba. Fe abakkiriza bwe tugamba nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe omulundi gumu (ku lunaku luli lwe yabatizibwa), abatakkiriza bagamba nti “Nedda, Yesu tayinza kuggyawo bibi byange. Ebibi ebya bulijjo bikyaliwo, ebyo ebyemabega bye byasonyiyibwa.” Kale nno abantu bwebatyo benenya ebibi byabwe olutatadde basobole okununulibwa. Kino kye

bakkiriza. Owoluganda nawe kino okikkiriza? Abo abatakkiriza nti ebibi byabwe byanaazibwa n’okubatiza kwa Yesu, Katonda aba amufuula omuliimba.

Yesu yatununula ffe abantu, bwe yabatizibwa n’ayiwa n’omusaayi gwe kumusalaba

Omuntu omulimba y’ani?

Y’oyo atakkiriza mu kubatiza kwa Yesu

Yesu yabatizibwa era naggyawo ebibi byonna

omulundi gumu. Katonda alokola abo abakkiriza mu musaayi gwa Yesu Kristo, wabula abatakkiriza tebalokolebwa. Babeera boolekedde geyena. N’olwekyo, okulokoka kwaffe abantu

Page 176: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

176 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

kusinziira ku kye tukkiriza. Yesu yanunula ensi okuva mu bibi byonna. Abo abakkiriza bolokolebwa ate n’abo abatakkiriza tebalokolebwa, kubanga Katonda babeera bamufudde omulimba.

Abantu tebagenda mu geyena, kubanga balina obunafu (mu mubiri ne mu mwoyo) nedda. Bagenda mu geyena, kubanga tebakkiriza. “Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng’amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw’ategeezezza eby’Omwana we” (1 Yokaana 5:10). Aba abatakkiriza nti ebibi byabwe byonna byateekebwa ku Yesu bakyalina ekibi mu mitima gyabwe. Tebayinza kugamba nti tebalina kibi mu bbo.

Olunaku lumu nasisinkana omudiinkoni n’emubuuza nti, “Ssebo omudiinkoni ebibi byo byonna byajjibwawo bwe wakkiriza mu Yesu?”

N’aŋŋamba nti, “Weewawo byonna byajjibwawo.”

“Kale nno, Yesu bwe yajjawo ebibi byo n’eb’ensi yonna n’agamba nti ‘Kiwedde,’ walokolebwa. Ekyo kituufu?”

“Yee, kituufu nalokolebwa.” “Kitegeeza nti tolina kibi kakati.” “Yee, sirina kibi.” Bwe y’anziramu. “Kiki ekibeerawo bw’oddamu okwonoona?” Y’aŋŋamba nti, “Ffe naffe tuli bantu.

Olowooza tetusobola kuddamu kwonoona nate? Bwe tuddamu okwonoona, tulina okwenenya ebibi byaffe ebya bulilunaku.”

Omudiinkono ono yali akyalina ekibi mu mutima gwe, kubanga yali tamanyi mazima agali mu bununuzi bwa Katonda obutuukiridde. Abantu abalina endowooza bw’etyo batera okunyooma Katonda era ne bamufuula omulimba. Mazima ddala olowooza nti Yesu, Katonda mwene, yalemererwa okuggyawo ebibi by’ensi yonna? Singa Yesu teyaggyawo bibi bya nsi, olowooza nti yandifuuse omulokozi w’ensi?

Page 177: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

177 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Olowooza yandibadde asobola okutukuutira okumukkiriza? Kale nno naffe tetulina kumufuula mulimba!

Baibuli etulabula kaati nti tetulina kunnyoma Katonda. Kino kitegeeza nti tetulina kumufuula mulimba: Katonda talinga ffe abantu. Omutume Yokaana alina by’atubuulira kunjiri ey’obununuzi. Abantu bangi tebagala kukkiriza mu bintu Katonda by’atukoledde. Wabula, amazima ge gano: Yesu yajja kubw’amazzi (ag’okubatiza kwe), Omusaayi, n’omwoyo.

Waliyo ebika byabakritaayo bibiri: abo abatakkiriza mu Baibuli ky’egamba, era abagamba nti, “Nze ndi mwonoonyi,” era n’abo abakkiriza mu bintu Katonda byabakoledde ate nebaatula n’okukkiriza nti, “Ndi mutuukirivu.” Olowooza bakristaayo ki abogera amazima ow’oluganda?

Abo abakkiriza mu mulimu ogw’obununuzi Katonda gw’abategekedde. Abo abakkiriza mu

kubatiza kwa Yesu, omusaayi n’omwoyo (ebikolwa bya Katonda eby’obutuukirivu). Abo abatakkiriza mu bikolwa ebyo Katonda bye yakola balimba, era beerimba. Okukkiriza kwabwe kukyamu; Katonda babeera bamufudde omulimba.

Owoluganda Katonda tomufuula mulimba. Yesu yajja ku mugga Yoludani era bwe yabatizibwa, yatuukiriza obutuukirivu bwonna (anti yaggyawo ebibi by’ensi yonna).

Abatakkiriza begaana okubatiza kwa Yesu n’obutukuvu bwe

Setaani n’emizimu gye Begaana ki?

Okubatiza kwa Yesu

Akkiriza mu Yesu alina obujjulizi ku ye.

Page 178: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

178 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Omulokole akkiriza nti ebibi bye byateekebwa ku Yesu (Yesu bwe yabatizibwa). Era omukkiriza (omulokole) akkiriza nti yanunulibwa n’amazzi n’omusaayi gwa Yesu. Ffe abalokole tukkiriza nti Yesu yazaalibwa mu nsi eno okuyita mu mubiri gwa Malyamu; yabatizibwa mu mugga Yoludani nga tanaba kufa ku musalaba era yazuukira ku lunaku olw’okusatu.

Abatuukirivu balina obujulizi mu mitima gyabwe. Obujulizi bw’obulokozi bwaffe buli mu kukkiriza Yesu Kristo, eyajja kubw’amazzi, omusaayi n’omwoyo. Obujulizi buno buli mu ggwe nange. Nkukuutira ow’oluganda era nkusaba obeere n’obujulizi buno mu ggwe. Singa tobeera n’abwo, tolina bulokozi. Obujulizi buno bwe bukakasa oba olina obulokozi munda mu ggwe.

Omutuma Yokaana yagamba nti, “Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng’amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw’ategeezezza

eby’Omwana we” (1 Yokaana 5:10). Bwe tubeera n’okutegeeza kuno (obujulizi

buno) tunalokolebwa. Tebakkiriza mu mazzi, naye ate beenyumiriza mu kukkiriza kwabwe! Bangi mu nsi bakkiriza mu musaayi n’omwoyo, era bajulira ne bawandiika n’ebitabo. Tebalina bujulizi mu mitima gyabwe. Buno si bwe bulokozi obwogerwaako. Abo bokka abakkiriza mu Yesu, eyajja kubw’omwoyo, amazii n’omusaayi, be balina obujulizi bwa Katonda n’obw’abantu.

Omutume Paulo yagamba, “Kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.” (1 Abasessaloniika 1:5). Omulaba Setaani asanyuka nnyo bw’alaba nga abantu bakkiriza mu musaayi gwa Yesu gwokka. Bangi abantu bakkiriza nti bwe bassa essira ku musaayi gwa

Page 179: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

179 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

Yesu, setaani addukka. Balowooza nti setaani atya omusalaba.

Omulabe setaani asinga kutya abo abakkiriza mu Yesu; abamanyi nti Yesu yabanaaza n’abatukuza n’okubatiza kwe, era ne yeetikka omusango gwabwe ku musalaba naffa n’azuukira ku lunaku olw’okusatu. Omulabe tayinza kwesembaza awali omuntu akkiriza mu kubatiza kwa Yesu Kristo n’obulokozi obuva mu musaayi gwe yayiwa.

Omulokole ayogera ku musaayi gwa Yesu Kristo n’obuvvumu. Ate n’okujulira ajulira okubatiza kwa Yesu. Omulabe bw’agezaako okumutulugunya, omukkiriza amuddamu nti “okimanti nti Yesu yaggyawo ebibi byange byonna?” Awo omulabe adduka buddusi, anti akkyawa omulokole alina okumanya.

Abo abatakkiriza, Katonda bamufudde omulimba. Tebakkiriza mu bujulizi bw’omwana we Yesu Kristo (obujulizi obw’amazzi n’omusaayi).

Obujulizi bw’omwana wa Katonda bwe buliwa?

Okubatiza kwe,omusaayi gwe,

N’Omwoyo.

Obujulizi bw’omwana wa Katonda bwe buliwa? Bwe buno: Yesu yajja kubw’omwoyo n’aggyawo ebibi byaffe n’amazzi. Yeetikka ebibi by’ensi yonna n’ayiwa omusaayi gwe kumusalaba kulwaffe. Obw bwe bununuzi obw’amazzi, omusaayi n’omwoyo.

Abantu balimba Katonda, kubanga tebakkiriza mu njiri eyamazima; enjiri ey’obununuzi ey’amazzi n’omusaayi. Enjiri endala zonna nkyamu. Mu 1 Yokaana 5:11 tusoma nti, “Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu mwana we.” Katonda ye y’alina obulamu obutagwaawo

Page 180: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

180 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

ate obulamu buno bubeera mw’oyo abufuna. Ate obulamu buno bui mu mwana we.

Abo abafuna obulamu obutaggwawo bebanunulibwa, kubanga bakkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Abanunule balina obulamu obutaggwawo. Ow’oluganda olina obulamu obutagwaawo?

Mu lunyiriri olw’ekkumi n’ebbiri tusoma nti, “Alina omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.” Oyo akkiriza mu mw’ebyo omwana bye yakola ku nsi (okubatizibwa kwe, okufa kwe, n’okuzuukira kwe) alina obulamu obutaggwaawo. Wabula oyo annyoma omwana bye yakola ku nsi talina bulamu era talinunulibwa.

Omutume Paulo yayawualnga abantu ba Katonda ng’asinziira ku nikkiriza yabwe mw’ebyo Yesu bye yakola: okubatiza kwe, omusaayi n’omwoyo. Ensonga zino za muwendo eri buli akkiriza. Yokaana yamanya abanunule

bwe yategeera nti bakkiriza mu kubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe n’omwoyo.

Abo abatanaba kulokoka tebasobola kwawula ndiga ku mbuzi

Ani asobola okwawula Abanunulu kw’aboabatali

banunule?

Omulokole

Omutume Yokaana yamanyira ddala abo abatuukirivu abanunulibwa. Omutume Paulo naye bwatyo bwe yakola, bwe yali abuulira enjiri. Mpozzi oyinza okumbuuza nti omuweereza wa Katonda aasobola atya okwawula wakati w’endiga n’embuzi? Omuntu ayinza atya okwawula wakati w’omuweereza wa Katonda n’oyo munanfuusi? Abo abanunule abakkiriza

Page 181: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

181 Yesu Kristo yajja ku bw’amazzi, Omusaayi n’Omwoyo

mu kubatiza kwa Yesu (amazzi) n’omusaayi gwe be bafuna amanyi okuwawula n’okumanya.

Omusumba, omubuulizi w’enjiri oba n’omukadde w’ekkanisa bonna tebasobola kwawula wakati wa ndiga na mbuzi bwe babeera nga tebanaba kulokoka, era tebabeera na bulamu mu bbo. Naye abo abalokokedde ddala be basobola okulaba enjawulo era n’okwawula basobolera ddala okwawula wakati w’endiga n’embuzi.

Enjawulo wakati w’embuzi n’endiga ya lwatu era erabibwa mangu. Bwekityo era bwe kiri ne kubantu abanunule n\abo abatnaba kununulibwa.

Tulina okubuulira enjiri ey’obununuzi, enjiri ey’amazzi, omusaayi, n’omwoyo. Tulina okugolokoka twaake. Abantu bwe bajja gye tuli tulina okwogera Katonda by’ayagala twogere gye bali. Kino kinnyonnyoleddwa bulungi mu 1 Yokaana 5.

Ekigambo kino kye tubuulira; ekigambo ky’amazzi, omusaayi, n’omwoyo ky’ekitangala eky’obununuzi. Ekitangala muffe kirina okwaka

ennyo, abantu bategeera okubatiza kwa Yesu; kubanga gano ge mazima.

Singa abalokole tetugolokoke ne twaaka, abantu bangi bajjakusaanawo, era kino tekijakusanyusa Katonda. Aja kutuyita abaweereza abanafu. Kale nno kitugwanira fenna okubuulira enjiri eno ey’amazzi n’omusaayi gwa Yesu.

Ab’oluganda, okubatiza kwa Yesu kwa muwendo mungi nnyo gye tuli. Eno y’ensonga lwaki ensonga zino nziddamu emirundi mingi. Bwe tubeera twogera eri abanna, waliwo ensonga z’etulina okuddamu buli mulundi; tubeera twagala bategeere.

Naffe tugezaako okunnyonnyola okubatiza kwa Yesu. Yesu yajja mu nsi muno kubw’amazzi, omusaayi n’omwoyo. Nkusabira ow’oluganda osobole okukkiriza mu mulokozi Yesu onunulibwe. Obununuzi obw’amazzi n’omwoyo buvva mu kukkiriza mu kubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe yayiwa kumusalaba, ne mu kukkiriza nti Katonda ye mulokozi waffe.

Page 182: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 7

Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi

(ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

Page 183: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

183 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi

(ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

< 1 Peetero 3:20-22 > “edda abataagonda okugumiikiriza kwa

Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyaali nga likyayisibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana: era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa , si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa katonda, bwe

yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n’abalina obuyinza n’abamaamasaza bwe baateekebwa wansi we.”

Obutuukirivu tubufuna tutya?

Tubufuna lwakisa kyakatonda.

Katonda yatumanya dda fee nga tetunaba na kuzaalibwa kunsi kunoi. Yamanya nti tulizaalibwa ng’abonoonyi era natulokola okuyita mu kubatiza kwe okwaggyawo ebibi byaffe byonna. Katonda yalokola abakkiriza fenna natufuula abana be. Kino kye kisa kya katonda kye yatulaga; kyawandiikibwa mu Zabbuli 8:4 nti, “Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, oba omwana w’omuntu, ggwe okumujjira?” abanunula abalokoleddwa okuva mu bibi be bafuna okwagala kwa Katonda okw’enjawulo.

Page 184: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

184 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

Abo be baana ba Katonda. Fee twali kiki? Nga tetunaba kukkiriza mu musaayi gwe n’omwoyo we, nga tetunaba kuyitibwa baana be nga tetunaba kufuna butuukirivu bwe n’ebisanyizzo ebiyita Katonda nti Ye Kitaffe, Twali kiki ng’ebyo bonna tebinabaawo? Twali bonoonyi abali bazaliddwa ku’nsi okumala emyaka egitassukka nsanvu oba kinaana. Nga tetunaggibwako bibi byaffe, era nga tetunaba kukkiriza mu njiri ey’okubatiza kwa Yesu n’omusayi gwe twali tujjudde obutali butuukirivu ngera twolekedde geyena.

Omutuma Paulo yajulira nti, yali ekyo kyali, lwa kisa kyamukama. Naffe abakkiriza tuli ekyo kyetuli lwa kisa kyakatonda. Katonda tumwebazze olw’ekisa kye gye tuli. Omutonzi w’eggulu n’ensi yakka kuno ku’nsi natulokola natufuula abaana be era abantu be. Tumwebaza Katonda olw’ekisa eky’obulokozi bwe obw’amazzi n’omwoyo. Lwaki Katonda

atukkiriza ffe okubeera abaana be? Kubanga tulabika bulungi nnyo natiki? Kubanga ffe tusanidde? Kubanga tukola ebikolwa ebirungi? Lowooza ku kibuuzo ekyo owoluganda. Amazima ge gano: Katonda yatutonda ffe abantu, kubanga yali ayagala tubeere mu bwakabaka bwe obw’muggulu naye. Yali ayagala tubeere naye mu bulamu obutagwawo. Eyo y’ensonga lwaki Katonda yatuwa omukisa gw’obulamu obutaggwawo. Teyatufuula baana be, kubanga tulabika bulungi, oba kubanga tusanidde, oba kubanga ffe tulina empisa esukkiridde, nedda. Katonda yatufuula abaana be, kubanga atwagala.

“era kaakano gegaabalokola mmwe mukifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwe Yesu Kristo,…” (1 Peetero 3:21). “…eryato bwe lyali nga likyasibibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye

Page 185: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

185 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

myoyo omunaana:” (1 Peetero 3:20). Abantu si bangi abalokose;omu wano omulala

wali. Naye kino olowooza kitegeeza nti abtanalokoka tubasninga omugaso? Nedda. Fenna twalokolebwa. Tulina kukkiriza mu kubatiza kw’ammazzi n’omwoyo. Ddala ddala kyamagero ffe fenna okulokolebwa; obulokozi kirabo kya Katonda ekitaliiko bukwakkulizo. Era ffe abaana bakatonda tuweredda omukisa okubeera ne Taata omulungi bwati. Amazima gano tetuyinza kugegaana. Kaakano Katonda tusobola tutya okumuyita Kitaffe naye nga tukyalina ekibi muffe (nga tukyali bonoonyi?)

Bw’ofumiitiriza mu mazima gano nti twalokolebwa, tumaya era tukakasa nti katonda atwagalira ddala. Olwo tetusanidde kumwebaza banange? Singa twaffa dda oluvanyuma lw’okuzaalibwa. Geyena ye yandibadde enkomerero yaffe, singa Katonda teyatubunya kwagala kwe na mikisa gye. Katonda tumwebaze

nate olw’okwagala kwe n’emikisa gye; egyo gye gitusaanyiza okuyitibwa abaana be.

Obulokozi obw’omuwendo obutuwereddwa okuyita mu kubatiza kwa Yesu.

Lwaki abantu mu basanyizibwaawo Mu biseera bya Nuuwa?

Kubanga tebakkiriza mu mazzi

(okubatiza kwa Yesu). “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu

kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa,….” Kyawandiikibwa mu 1 Peetero nti emyoyo munaana (mu biseera bya Nuuwa mu lyato) gye gyalokolebwa okuva mu mazzi. Bantu bali

Page 186: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

186 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

bameka mu biseera bya Nuuwa? Tetuyinza kumanyira ddala muwendo gw’abantu abaliyo, wabula katusuubire nti bali nga akawuumbi kamu. Munaana kw’ako akawuumbi be balokoka. Abantu bagamba nti embalirira y’abantu fenna mu’nsi eri mu Billiyoni nga mukaaga kati wetwogerera. Olowooza bantu bameka mu nsi abanaazibwako ebibi byabwe? (mw’abo abalokose mu nnaku zino?) Singa tubanoonya mu kibuga kimu kyonna mu nsi, babeera batono ddala. Mu kibuga kyange mwe mbeera, mulimu abantu nga 250,000. mw’abo bameka abanunuliddwa okuva mu bibi byabwe? Osanga balinga 200! Kino kitegeeza nti mu bantu lukumi, kizibu nnyo okufuna mu omuntu omu anunulidwa okuva mu byonoono bye. Wano mu Koleya kiteberezebwa nti abakristayo fenna, nga nabakatuliki mw’obatwalidde tuli obuwuumbi 12. Mu bano abakristayo bonna bameka abalokose (abazaaliddwa obuggya) okuyita mu mazzi

n’omwoyo? Tulina okumanya nti abantu munaana bokka be banunulibwa mu biseera bya Nuuwa. Tulina okumanya n’okukkiriza tukkiriza nti Yesu yanazaako ebibi by’abo abakkiriza mu kubatiza kwe okuggyawo ebyonoono byonna.

Ennakuu zino abantu abakkiriza nti Yesu yatununula fenna ng’ayita mu kubatiza kwe n’omusayi gwe yayiwa kumusalaba batono ddala. Bwotunulira ekifaananyi ekyokuzuukira kwa Yesu (ebifaananyi ebitera okukubibwa ku bipande oba mu bayibuli), bantu bameka abaali mu? Mu bifaananyi ebisinga bakubiddwa nga baserengeta okuva e’Yerusalemi nga boolekedde Yesu (nga ne Yesu naye yetegesa okubasisinkana) wabula batono ddala.

Leero wadde banaddini bangi mu’nsi, tusanga mu batono ddala abakkiriza mu kubatiza kwa Yesu ng’omusingi ogwnkalakalira. Banaddini abasinga bagamba nti Yesu yabatizibwa, kubanga yali mugonvu; abalala bagamba nti Yabatizibwa

Page 187: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

187 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

asobole okufuuka nga ffe abantu. Wabula kyawandiikibwa mu Bayibuli nti,

abatume nga Peetero ne Yokaana bajjulira ku kubatiza kwa Yesu nga bwe kwali ekikolwa eky’obwakatonda ekyo’kuteeka ebibi byaffe ku Yesu; era naffe kino tukikkiriza. Abatume bajjulira nate mubyawandiikibwa nti, ebibi byaffe byateekebwa ku Yesu lwe yabatizibwa. Buno obujulizi bwa kyewunyo nnyo gyetuli; ekisa Katonda kyatuwadde kyakyewunyo, ffe tulina kukkiriza bukkiriza ne tununulibwa.

Tewali kya’kwekwasa ku kubatiza kuno okw’obununuzi.

Ani afunna okwagala Kwa katonda okutakoma?

Oyo akkiriza mukubatiza kwa

Yesu n’omusayi gwe.

Abantu twanguwa nnyo okumala gagamba nti, okukkiriza mu Yesu kwe kujja okutulokola. Abalokole kumpi bonna (kababe aba’pentekote, aba’bptisti, aba’ fullgospel, abazuukufu, aba karizimatiki nabalala…) bamanyi nti okubatiza kwa Yesu nnono ya bakristaayo fenna. Mu bitabo ebingi ebyabakristaayo byensomye, si sanzemu kitabo kyonna kikwataganya ku nkolagana wakati w’obununuzi obuva mukubatiza kwa Yesu n’omusaayi ggwe.

Jjukira nti, mu biseera bya Nuuwa abantu munaana bokka bebanunulibwa. Simanyi muwendo gw’abantu abalokole leero; osanga si bangi nnyo. Abo abalokole beboo abakkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Bwe mba ntambula nga nkyalira amakanisa agasinga, nkizudde nti batono nnyo (ababulizi b’enjiri) ababuulira ku kubatiza kwa Yesu; ate eno y’enjiri ey’amazima.

Bwe tuba tetukkiriza mu bununuzi obuva mu kubatiza kwa Yesu, tukyali bonoonyi era

Page 188: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

188 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

tetunalokoka, newankubadde nga tuli besigwa mu kkanisa oba nga ebintu bya Katonda tubijjumbira nnyo; bwe tuba tulina ekibi mu ffe tuli bonoonyi.

Ffe abakkiriza bwe tuba nga twajjumbira okugenda mu kkanisa okumala emyaka ataano, naye ng’ekibi ki kyali mu mitima gyaffe tuba tumazze emyaka ataano mu bunanfuusi n’okwelimba. Kiba kisingako okubeera n’olunakku lumu olw’okukkiriza. Mu ffe abakkiriza mu Yesu, mulimu abo abalina enzikkiriza entuufu mu makulu agali mu kubatiza kwa Yesu n’omusayi ggwe. Abalina enzikkiriza eno entuufu be bajja okuyingira mu bwakabaka obw’omuggulu.

Okukkiriza okutuufu kwe kuno: kwe kukkiriza nti Yesu Kristo, omwana wa Katonda yakka ku’nsi nabatizibwa okuggyawo ebibi by’ensi yonna. Kuno okukkiriza kwe kututuusa mu bwakabaka obw’omuggulu. Tulina okukkiriza nti

Yesu yayiwa omusayi gwe kumusalaba ku lulwo nange. Kino naffe tulina okukimanya tusobole okumwebaza katonda n’okumuwa ekitiibwa.

Naye ffe tuli kiki? Tuli baana ba bantu abanunulibwa n’okubatiza kwa Yesu n’omusayi ggwe. Lwaki kale tetumwebaza? Yesu yali alina emyaka asatu lwe yabatizibwa Yokaana omubatiza mu mugga Yoludaani, olwamala naggyawo ebibi byaffe neyetikka omusango gwa’byo ku lunaku lwa yakomererwa kumusalaba.

Bwe tukilowoozaako, katonda tumwebaza bwebaza. Kitugwanira fenna okumanya nti buli kintu Yesu kye yakola mu nsi eno kyakolebwa lwa bununuzi bwaffe. Eky’olubereberye, yakka ku nsi, n’abatizibwa, n’akomererwa, naffa ku musalaba, n’azuukira mu baffu ku lunaku olw’okusatu era kati atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Obununuzi bwa Katonda bwa buli omu mu ffe.

Page 189: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

189 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

Obulokozi bwa Katonda nabwo bwaffe fenna gwwe nange. Katonda tumusinze olw’okwagala kwe n’emikisa gye.

Oluyimba lwe tutera okuyimba lunsanyusa, “♫Waliwo olugero olulungi. ♫Mu bantu bonna abo mu nsi, nze nina okwagala kwe n’obulokozi. ♫Okwagala kwe nga kwakitalo! ♫Okwagala kwe gyendi, okwagala kwe gyendi. Waliwo olugero olulungi. ♫Mu bantu bonna abomu nsi, ffe abalokole abafuuse abantu be. Twambala okwagala kwe.♫ Okwagala kwa katonda,ekisa kya Katonda.♫ Okwagala kwe nga kwakitalo! Okwagala kwe gyendi.♫”

Yesu yajja okutulokola, ggwe nange. Era n’obununuzi obuva mu kubatiza kwe bwaffe. Enjiri eno si lugero; ge mazima agatujgya mu mpitambi negatuyingiza mu bwakabaka bwakatonda obulungi. Olina okumanya nti okukkiriza kusibuka mu nkolagana ey’obuntu wakati wo ne katonda. Yesu yakka kuno kunsi

atulokole. Yabatizibwa era neyetikka omusango gw’ebibi byaffe kumusalaba kwe yakomererwa, natunazaako ebibi byaffe.

Guno mukisa gye tuli aboluganda; ffe abeesigwa bwetuyita Katonda Kitaffe ne tumukowola mu bwetavu! Olowooza tusobola okukkiriza mu Yesu ng’omulokozi waffe netulokoka okuva mu kibi? Olw’okwagala Katonda kw’alina gyetuli, kisoboka. Tulokolebwa, kubanga katonda ye yasooka okutwagala ffe nga tetunalowooza na kumwagala.

Yesu yaggyawo ebibi byaffe omulundi gumu.

“Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa

olw’ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw’obutali butuukirivu, atuleete eri Katonda;…” (1 Peetero 3:18). Yesu yabitizibwa ffe tununulibwe; yaffa

Page 190: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

190 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

kumusalaba atulokole nze naawe.

Tulokoka mulundi gumu, oba mu mitendera?

Mulundi gumu.

Okuffa kwe yaffa, yaffa mulundi gumu,

asobole okutuwonya omusango gwa Katonda, era tusobole okuyingira obwakabaka obw’omuggulu emirembe n’emirembe. Yesu yajja mu’nsi muno mu mubiri natuzazaako ebibi byaffe omulundi gumu n’okubatiza kwe, okuffa kwe kumusalaba, n’okuzuukira kwe. Okkiriza nti Yesu Kristo yatulokola n’kubatiza kwe n’omusaayi? Bw’oba tokkiriza mu njiri ey’okubatiza n’omusaayi toyinza kulokoka. Ffe abantu tuli banafu nnyo, n’olwekyo tetuyinza kulokoka okugyako nga tukkiriza nti Yesu yatunaliza ddala natugyako ebibi byaffe okuyita mu kubatiza kwe n’omusayi.

Yabatizibwa alyoke agyewo ebibi byaffe, era ne’yettikka omusango kumusalaba kulwaffe. Yesu yagyawio ebibi by’abonoonyi omulundi gumu ng’ayita mu bununuzi bweyatuwa obuli mu kubatiza kwe n’omusayi. Kyandibadde tekisoboka ffe abantu okununulibwa singa twali tulina okwenenya buli kiseera lwe twonoona, oba okukola ebirungi tulyoke tusonyiyibwe.

N’olwekyo, okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu, n’omusayi gwe ogwayiika kumusalaba, nsonga nkulu nnyo era za tteeka eri obulokozi bwaffe abakkiriza. Tulina okukkiriza mu mazzi ne mu mwoyo. Okukola ebikolwa ebirungi, newankubadde kulungi naye tekugasa era tekutufuula bantu basanidde mu maaso ga Katonda. Okugabira abaavu, okulabirira abasumba nebikolwa ebirala ebifaananako ng’ebyo biriungi naye tebiyamba. Yesu alokola abo bokka abakkiriza mu kubatiza kwe n’omusayi gwe. Bwe tukkiriza nti Katonda

Page 191: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

191 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

yatulokola okuyita mu kubatiza kwa Yesu n’omusayi gwe omulundi gumu, tulokolebwa. Gano gemazima agali mubyawandiikibwa.

Mu Abaebulaniya 10:1-10, kyawandiikibwa nti Katonda yatulokola fenna abakkiriza omulundi gumu. Kino naffe tusanye tukikkirize. “♫Yaffa mulundi gumu, natulokola omulundi gumu, abooluganda mukkirize munaanunulibwa. Muleete ebibazitoweredde mubimuwe mu funne okubatiza kwa Yesu.♫” Yesu bwe yabatizibwa nayiwa omusayi gwe, yatulokola okuva mu buli mpitambi n’ekibi omulundi gumu.

“Omutuukirivu olw’abatali batuukirivu” (1 Peetero 3:18) Yesu yali mutuukirivu; tayonoonangako era taliyonoonangako. Yakka kuno ku’nsi okutulokola ffe abantu okuva mu bibi byaffe. Yabatizibwa nagyawo ebibi byaffe byonna natulokola okuva mu bwononefu.

Ebibi by’abantu bonna; okuva lwe bazalibwa okutuusa lwe baffa, byateekebwa ku Yesu ku

lunaku lwe yabatizzibwa era bonna balokolebwa okuva mu musango ku lunakku Yesu lwe yakomererwa kumusalaba. Yabatizibwa ku lwaffe abonoonyi era yaffa mu kifo kyaffe. Obwo bwe bununuzi obuli mu kubatiza kwa Yesu. Ffe abonoonyi fenna twalokolebwa mulundi gumu. Ffe abantu ddala tuli banafu, naye Yesu si munafu. Tetuli besigwa, naye Katonda mwesigwa. Katonda era yatulokola mulundi gumu. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwayo n’awaayo Omwaana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo” (Yokaana 3:16). Katonda yatuwa omwana we yekka. Ye yawaayo n’omwana we abatizibwe ffe tusobole okuteeka ebibi byaffe ku ye, era ye yettikke omusango gw’ensi yonna. Kino nga kya kyewunyo gye tuli! Ng’okwagala katonda kw’alina gyetuli kungi! Katonda tumwebazenga olw’okwagala kwe n’obulokozi bwe. Katonda alokola abakkiriza mu

Page 192: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

192 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

mazzi (ag’okubatiza kwa Yesu) n’omwoyo. Abo abakkiriza mw’ebyo babera baana. Abo abakkiriza mu Yesu bayinza batya okulokolebwa? Balina okukkiriza mu mazima agali mukubatiza kwa Yesu n’omusayi gwa Yesu, basobole okufuna obulamu obutuukirivu obw’oluberera. Fenna tulina okugikkiriza. Ani eyatulokola? (eyatununula?) Yali Katonda oba ekimu kubitonde bye? Yesu, Katonda ye yatununula. Twalokoka, kubanga twakkiriza mu Katonda ow’obununuzi,era buno bwe bulokozi obuva mu bununuzi obutuweredwa.

Yesu ye mukama w’obulokozi bwaffe.

Ekigambo “kristo” Kitegeeza ki?

Kabona, Kabaka, N’Nnabbi.

Yesu Kristo ye Katonda, erinnya Yesu litegeeza omulokozi; erinnya Kristo litegeeza “oyo afukiddwaako amafuta.” Nga Samwiri bwe yafukka amafuta ku Saulo mu ndagaano enkadde, bakabaka, bakabona ne bannabbi nabo bafukibwaangako amafuta basobole okuweereza Katonda. Yesu bew yajja mu nsi muno, Yali ateekedwaako amafuta okukola emirimu esatu: Ogwa Kabona, ogwa Kabaka, n’ogwa nnabbi. Nga Kabona akiikiridde eggulu, yabatizibwa asobole okujjawo ebibi by’abantu bonna. Yagonderanga okwagala kwa Katonda, era yewaayo nafuuka ekibi kulwaffe. “Nze kkubo n’amazima, n’obulamu; teri ateuuka eri Kitaffe okujjako nga ayise mu nze” Yesu yalokola abo abamukkiriza na ggyawo ebibi byabwe okuyita mu kubatiza kwe n’okukomererwa kwe kumusalaba.

“Kubanga obulamu bwe’nnyama buba mu musaayiblood” (Eby’abalevi 17:11). Yesu

Page 193: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

193 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

yayiwa omusaayi gwe kumusalaba oluvanyuma lw’okubatizibwa kwe; Yawaaayo obulamu bwe mu maaso ga Katonda nge empeera ey’ebibi byaffe ffe abakkiriza tulyoke tulokoke. Yazuukira kulunaku olwokusatu, oluvanyuma lw’okuffa kumusalaba, nabuulira enjiri eri emyoyo ejgyali gisibidwa mu geyena. Abo abatanaba kununulibwa balinga abasibe abomukkomera ery’omwoyo. Yesu ajja gyebali nababuulira enjiri ye ey’amazzi n’omusaayi. Katonda atuwadde enjiri y’amazzi n’omwoyo okutulokola: oyo atajikkiriza talilokoka. Okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe bye bilokola abonoonyi.

Tuyinza tutya okutuukirira Mu maaso ga Katonda?

Tulina okukkiriza mu kubatizakwa

Yesu n’omusaayi gwe.

Yesu Kristo ye mulokozi waffe; kino omutume Paulo akijjulira mu 1 peetero 3:21, “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo.” Okubatiza kw’amazzi tteeka eri abonoonyi bonna abetaaga obulokozi. Yesu yaggyawo ebibi by’abonoonyi bonna lwe yeetikka ebibi byonna okuyita mu kubatizibwa kwe. Okkiriza mu kubatiza kwa Yesu? Okkiriza nti emitima gyaffe ginazibwa negitukuzibwa okuyita mu kubatiza kwe? Newankubadde emibirigyaffe gikyayonoona, emitima gyaffe ginaazibwaako buli kibi. Bwe tuzalibwa obuggya (bwe tulokoka) tekitegeeza nti tukomye okwonoona; nedda. Naffe abalokole twonoona, naye emitima gyaffe gisigala nga mirongoofu, kubanga tukkiriza mukubatiza kea Yesu. Y’ensonga leaaki kyawandiikibwa nti, “…si

Page 194: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

194 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’omwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo” (1 Peetero 3:21).

Kale nno Yesu Kristo bwaba yannazaako ebibi; era bwaba nga yakkiriza omusango kulwange, kale nno lwaki nange si mukkiriza? Ffe mu maaso ga Katonda twalokoka era n’entegeera yaffe (omuntu waffe owomunta) mulongoofu. Kale tetuyinza kuyimirira mu maaso ga Katonda ne tugamba Yesu teyatuggyaako bibi; nga naffe fe tetusobola kuyimirira mu maaso ga Katonda netugamba nti Katonda tatwagala. Bwe tumala okulokoka, omuntu waffe owomunda abeera ategeera ekibi. Tulabulibwa buli kiseera bwe tuba tuwaba oba buli lwe tukola ekikyamu. Emitima gyaffe (omuntu ow’omunda bwa bulwa emirembe) bwegibulwa emirambe, tetuyinza kweyita banunule, kubanga ekibi kiba kikyali muffe. Mu biseera nga bino tulina okujjukira amaanyi ag’okubatiza kwa Yesu. Yengeri yokka

mwe tusobola okutukuza emitima gyaffe n’entegeera yaffe.

Entegeera y’omuntu (omuntu owomunda) bwabulwaako emirembe, olwo nga waliwo ekikyamu mu ffe. Amazzi g’okubatiza kwa Yesu gasangulawo buli kikyafu n’ekibi. Yesu yaggyawo ebyonoono byaffe n’okubatiza kwe netunaazibwa ddala netutukula. (awamu n’omuntu waffe oyo owomunda) Kino bwe tukikkiriza tulokokera ddala. Kino naye kisoboka kitya? Omuntu alina okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Buli omu ku ffe yali alina entegeera eddugala era enkyamu okuva ku lunaku lwe yazaalibwa; wabula bwetukkiriza nti obunaffu bwaffe bwona n’ebyonoono byaffe byonna byatekeebwa ku Yesu, tutukuzibwa. Okwo kwe kukkiriza kwaffe abalokole. Omuntuwo owomunda mulongoofu? Lwaki? Mulongoofu kubanga obadde otambula bulungi mu maasa ga Katonda, oba mulongoofu, oba

Page 195: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

195 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

kubanga ebibi byo byonna byateekebwa ku Yesu era kubanga nawe omukkiriza? (Entegeera yo nnongoofu? Lwaki? nnongoofu kubanga obadde otambula bulungi mu maasa ga Katonda, oba nnongoofu, oba kubanga ebibi byo byonna byateekebwa ku Yesu era kubanga nawe omukkiriza?) Entegeera ennongoofu tugifuna lwa kukkiriza.

Waliyo ebigambo eby’obulamu n’ebigambo ebitali byabulamu. Entegeera z’affe abantu ziyinza zitya okutukuzibwa? Ekkubo liri limu; Kukkiriza mu bununzi bwa Yesu obutuukiridde. Bwe tugamba nti tukkiriza mu kubatiza kwe era netwawulibwea, kino tekitegeeza nti ebibi ebyomubiri biggidwaawo, wabula tukakasibwa nti omuntu waffe owomunda atukuzibwa mu maaso ga katonda; kulwensonga eyo yajja, n’abatizibwa, naffa ku musalaba n’azuukira mu baffu, era kati atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa katonda. Mu kiseera ekituufu, alikomawo

kuno ku’nsi. “era ne Kristo bw’atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by’abangi, alirabika omulundi ogw’okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw’obulokozi.” (Abaebulaniya 9:28). Fee abalindirira Yesu era n’abakkiriza mukubatiza kwe n’omusaayi, tukkiriza nti alikomawo natte okututwala eyo muggulu.

Eky’okulabirako ekiyigiriza Okukkiriza. (Okunoonyereza okutuyigiriza Okukkiriza)

Tusobola okulokoka awatali Kubatiza kwa Yesu?

Tetusobola.

Mu Kkanisa yaffe ey’e Daejeon, twategekayo

Page 196: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

196 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

okunonyereza. Rev Park ow’Kkanisa yaffe eno yagamba abafumbo nti muno mu nsi temwalimu kibi. Kino bwe yali akibategeeza, teyayogera ku kubatiza kwe Yesu. Omwami yagandanga mu makkanisa amalala era yateraanga okwebaka ng’ekigambo kibuulirwa eyo ku sande. Enjiri y’okubatiza kwa Yesu teyabuulirwaanga, kale no yali awalirizibwa buli kiseera okulokoka n’okwenenya ebibi. Wabula wano mukkanisa yaffe eye’Daejon, yawuliriza okubuulira kwonna n’okwebaka nateebaka; yategeezebwa nti ebibi bye byateekebwa ku Yesu, omukyala naye kyamwanguyira okulaba enjawulo mu mwami era naye yamala najjira wamu naye. Olunaku lumu omwami ono yali atudde mu Kkanisa nawulira olunyiriri oluva mu Baruumi 8:1 “Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu.” kino bwe yakiwulira, yamanya nti, omutnu yenna bwakkiriza mu Yesu aba talina kibi kyonna mu ye; kale no naye yakakasa nti

talina kibi mu ye. Oluvanyuma omwami ono yakwata essimu n’akkubira mukko we n’emikwano gye emirala mingi ngabagamba omu kw’omu nti, “Okimanyi nti olina ekibi mu mutima gwo? Era okimanyi nti okukkiriza kwo kukyamu?” Rev Park kino bweyakiwulira yewuunya nnyo. Omusajja oyo yali talina kyamanyi ku kubatiza kwa Yesu, naye yali akakasa mu ye nti yali talina kibi.

Wayitawo nnaku ntono ddala, abafumbo bano n’ebatandika okebeera n’ebizibu. Omukyala yali atandise okukaknyalira ddala mu ddini; ye yali amanyi nti akyalina ekibi mu mutima gwe: omwami ye teyaliimu kibi kyonna. Yagendaanga mu kkanisa emirundi mitono nnyo wabula ng’akakasa nti talina kibi mu ye. (newankubadde omukyala ye yali akikakasa nti bombi balina ekibi mu bbo) Ensonga eno batandikanga okugikayanirako: omwami ng’agamba nti ye talina kibi, kubanga “…tebaliiko musango abali

Page 197: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

197 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

mu Kristo Yesu.” Naye omukyala ng’awakana nti ekyo si kituufu.

Olunaku lumu omukyala yasalawo ajje alabe Rev park amubuuze kiki kye yali ategeeza bwe yagamba nti ebibi byonna byateekebwa ku Yesu Kristo. Oluvanyuma lw’okusaba okw’olweggulo yatuukirira omusumba n’amubuuza nti “ manyi olina eky’omuwendo ky’otubuulira; wabula kikusike tekiyinza kumanyibwa mangu, nkwegayiridde nsonga ki eyo” Omusumba olwo n’amubuulira enjiri y’obulokozi obuva mukukkiriza mu mazzi n’omwoyo. Omukyala nakizuula nti ddala kyawandiikiba mu Abaruumi 8:1 nti, “Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu.” Omukyala yakkiriza era nalokokerawo.

Yamanya nti ebibi bye byonna byateekebwa ku Yesu, okuyita mu kubatiza kwe era nti nabo abali mu Kristo tebalina musango. Yatandika okusoma n’okutegeera ekigambo kya Katonda.

Eky’enkomerero yazuula nti ekkubo ery’obunuzi bwali mu kubatiza kwa Yesu era tufuuka abatuukirivu okuyita mu bununuzi bw’okubatiza kwe. Kw’olwo olunaku omwami we teyagenderawo kka: yali amulinze ko wabweru. Yawuliriza obujulizi bwe namugamba nti “kakati onunulidwa?” Naye ate bwe yamala okuwulira omusumba bye yagamba mukyala we naye nabuzaabuzubwa: anti yali tawuliranga ku njiri y’okubatiza kwa Yesu. Yali akakasa nti talina kibi mu ye, newankubadde nga n’okubatiza kwa Yesu nakwo yali takumanyi, kale nate badayo ekka nebakayana nate! Ku mulundi guno, omukyala ye yabuzaanga omwami oba alina ekibi oba talina. Omukyaala yali yeewunya nti, omwami we ayinza atya okuba nga talina kibi mu ye naye ng’era ate takkiriza mu kubatiza kwwa Yesu Kristo. Omukyala yamukuutira okwetunulamu mu muntu we ow’omunda. Oluvanuma omwami y’akizuula oluvanyuma nti

Page 198: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

198 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

alina ekibi mumutima gwe. Omusajja yagenderawo ewa Rev park nayatula

nti alina ekibi mu mutima ggwe. Omwami yabuuza omusumba nti, “Ab’omundagaano enkadde ddi lwebateekangako emikono gyabwe ku kiweebwaayo? (ssaddaakka?) nga bamaze okugitta oba nga tebannaba kugitta? Omwami ddala yabuzaabuzibwa, kubanga yali tawuliraanga ku njiri ey’amazzi n’omwoyo.

Eno y’ensonga enkulu mu ky’okulabirako kino. Yesu yali alina okubatizibwa, ebibi by’ensi yonna biryoke biteekebwe ku ye; oluvanyuma yali aganda kukomererwa kumusalaba (empeera y’ekibi kwe kufa) “Ab’omundagaano enkadde ddi lwebateekangako emikono gyabwe ku kiweebwaayo? (ssaddaakka?) nga bamaze okugitta oba nga tebannaba kugitta? Kino ekibuuzo kyabuuzibwa, kubanga omwami yali abuzabuzziddwa ku kikolwa kino eky’okuteekako emikono ku Yesu nga

abatizibwa. Omusumba Park yamunyonyola ku bununuzi obuli mu kubatiza kwa Yesu mu bujjuvu.

Ku lunaku olwo omwami naye yawulira n’akkiriza enjira y’amazzi n’omwoyo era nanunulibwa. Ekyo kye kyokulabirako kyaffe eky’okukkiriza.

Tuyinza okugamba nti tetulina kibi naye nga amazima gali nti ekibi kitudde muffe. Abantu abasinga bamanyi nti Yesu yatutukuza kulunaku lwe yaffa kumusalaba, naye abo bokka abakkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayi ggwe kumusalaba, be bayinza okugamba nti tebalina kibi kyonna mu maaso ga Katonda.ensonga eno ekakasibwa mu kyokulabirako ky’abafumbo be tusomyeko nti, awatali bununuzi obusibuka mu kubatiza kwa Yesu, tetuyinza kulokoka.

Page 199: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

199 Okubatiza kwa Yesu ky’ekifananyi (ky’ekyokulabirako) Eri abononyi

Okubatiza kwa Yesu: Ekifaananyi ky’obulokozi.

Ekifaananyi ky’obulokozi Kye ki?

Kwe’kubatiza kwa Yesu “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu

kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa…” Yesu yakka kuno ku’nsi okutunazaako buli kibi n’okututukuza. Twajjibwako buli kibi, kubanga Yesu byonna yabyettikka okuyita mu kubatiza kwe: eno y’ensonga lwaki buli kitonde kimusinza. Bwe tukkiriza mu Yesu tulokoka. Tufuuka abaana be era tubeera batuukirivu so n’obutuuze bwaffe bubeera muggulu. Tuli kia kitukuvu, Katonda tumuyita kitaffe newankubadde tuli mu’nsi ffe tuli bakabaka. Owoluganda okkiriza nti katonda alokola abo bonna abakkiriza mu

bununuzi obuva mu maazi ne mu mwoyo? Obununuzi bwaffe tebuyinza kutuukirizibwa awatali kubatiza kwa Yesu Kristo. Okukkiriza okusanidde mu maaso ga Katonda ne Yesu Kristo omwana we kwe kuno: Enjiri y’okubatiza kwa yesu, omusalaba n’omwoyo. Mu bino ebisatu mu tusinzziira okufuna obulokozi. Era kuno kwe kukkiriza okwa nama ddala. Weewaawo kino tukikkiriza!

Page 200: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

OKUBUULIRA 8

Enjiri y’okutangiria okungi

Page 201: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

201 Enjiri y’okutangiria okungi

Enjiri y’okutangiria okungi

< Yokaana 13:1-17 > “Naye embaga ey’Okuyitako yali nga

tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng’ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero. Bwe baali balya emmere ey’kyeggulo Setaani nga yamaze dde okuweerera Yuda Isukaliyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe, Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nge yava wa Katonda, ate ng’adda wa Katonda, nava ku mmere n’ayambulamu engoye ze; naddira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. N’alyoka afuka amazzi mu kibya,

natanula okunaaza abayigirizwa ebigere n’okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. Awo n’ajja eri Simooni Peetero. Naye n’amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere? Yesu n’amuddamu n’amugamba nti kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma. Peetero n’amugamba nti, Tonnaazenga bigere byannge emirembe gyonna. Yesu n’addamu nti bwe ssiikunaaze tossa kimu nange. Simooni Peetero n’amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n’emikono n’omutwe. Yesu n’mugamba nti Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna. Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti mwenna temuli balongoofu. Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, nayambala engoye ze,

Page 202: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

202 Enjiri y’okutangiria okungi

n’attuula nate, n’abagamba nti Mutegedde kye mbakoze? Mmwe mumpita muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi. Kale oba nga nze Mukama wammwe: era omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere. Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwemutyo. Ddala ddala mbagamba nti omuddu tasinga buklu oli eyamutuma. Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.’”

Lwaki Yesu yanaaza ebigere bya Peetero

oluvanyuma lw’embaga y’okuyitako? Nga tanaba kubanaaza, Yesu abayigirizwa yabagamba nti, “ky’enkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvanyuma.” Peetero yali omu kubayigirizwa ba Yesu abagalwa. Yakkiriza nti

Yesu mwana wa Katonda era najjulira nti Yesu ye Kristo (oyo eyafukibwaako amafuta). Waaliwo ensonga enungi lwaki Yesu yanaaza ebigere bya Peetero (nabayigirizwa abalala). Peetero bwe yayatula nti Yesu ye Kristo, kyali kiraga nti Peetero yali akkiriza nti Yesu y’omulokozi eyajja okulokola ensi mu bibi bya yo.

LwakiYesu yanaaza Ebigere byabayigirizwa nga

tanakomererwa?

Yali ayagala abayigirizwa bategeera Obulokozi bwe obutuukiridde.

Lwaki yanaaza ebigere bya Peetero? Yesu

yamanya nti Peetero ali mwegaana emirundi esatu; ate nti ne mumaaso aliddamu okwonoona. Singa Peetero yali alina ekibi mu mutima gwe teyandizzeemu kutabagana ne Yesu, naddala ku

Page 203: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

203 Enjiri y’okutangiria okungi

lunaku luli Yesu bwe yabasisinkana nga agenda muggulu. Yesu yamanya obunafu bw’abayigirizwa be. N’olwekyo yali alina okubasomesa nti eby’onoono byabwe byabajjibwaako. Eyo y’ensonga lwaki yanaaza ebigee by’abonoonyi. Yesu nga tanaffa, yali ayagala okukakasiza ddala nti bayimiridde ng’era anyweredde ku’njiri y’okubatizakwe n’okujjibwaako ekibi emirembe n’emirembe.

Yokaana 13 ayogera ku bulokozi obutuukiridde Yesu bwe yatuukiriza eri abayigirizwa be. Bwe yali ng’abanaaza ebigere, yababuulira ku magezi g’enjiri y’okubatiza kwe, nga okuyita mu yo, abantu bonna bajjibwaako ebibi byabwe. “Tolimbibwa mulabe setaani mu bulamu bwo. Nze najjawo dda ebibi byo n’okubatiza kwange mu mugga yoludaani; era n’omusango gw’ebibi naagwettikka ku musalaba. Oluvanyuma n’azuukira mu baffu nsobole okutuukiriza obulokozi gye muli mwenna.

Njagala kale mbasomese nti naazizza ebibi byammwe byonna (weewawo nebyobulamu bwammwe obwo’mumaaso,musobole okumanya enjiri eyasookera ddala ey’okujjibwaako ebibi. Nze mbanaaza ebigere nga sinakomererwa kumusalaba. Kino kye kyama kyeno enjiri y’okulokoka, kibagwanira okujikkiriza” ntebereza nti Yesu bwatyo bwe yayogera eri abayigirizwa.

Tulina okutegeera ensonga lwaki Yesu yanaaza ebigere byabayigirizwa be; lwaki yabagamba nti, “kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvanyuma.”. Bwe tuzuula lwaki, olwo naffe tunakkiriza mu njiri ey’okulokoka naffe netulokoka.

Page 204: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

204 Enjiri y’okutangiria okungi

Yayogera mu Yokaana 13:12

Ebibi bye biruwa?

Bye byo byetukola buli lunaku Olw’obunafu bw’emibiri gyaffe.

Nga tanaba kufa kumusalaba, Yesu yakuŋŋana

n’abayigirizwa be ku mbaga ey’okuyitako. Mu kikolwa ekyo eky’okunaza ebigere byabayigirizwabe, Yesu yali abasomesa enjiri y’okujjibwako ebibi.

“Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nge yava wa Katonda, ate ng’adda wa Katonda, nava ku mmere n’ayambulamu engoye ze; naddira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. N’alyoka afuka amazzi mu kibya, natanula okunaaza abayigirizwa ebigere n’okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. Awo n’ajja eri Simooni Peetero.

Naye n’amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere? Yesu n’amuddamu n’amugamba nti kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.’” (Yokaana 13:3-7).

Yesu yabasomesa enjiri y’okubatiza n’okutangirira ebibi okuyita mu mazzi ag’okubatiza kwe. Mu kiseera ekyo, Peetero yali tasobola kutegeera nsonga lwaki Yesu, Mukama we era omuyigiriza, yali anaaza ebigere bye. Naye oluvanyuma, Peetero yategeera ensonga lwaki Yesu Mukama yamunaaza ebigere; ekikolwa kino kyakyusa okukkiriza kwa Peetero mu Yesu Kristo. Yesu Kristo yayigiriza abayigirizwa be enjiri y’okubatiza n’okutangirira ebibi okuyita mu mazzi g’okubatiza kwe. Yesu yabanaaza ebigere basobole okunyweera mu kukkiriza kwabwe. Oluvanyuma kino Peetero yakitegeera. Yesu yategeka ekkubo ng’ayagala omuntu yenna akkiriza mu kubatiza kwe n’omusaayi gwe

Page 205: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

205 Enjiri y’okutangiria okungi

anunulibwe okuva mu bibi bye emirembe n’emirembe. Mu Yokaana 13 Ebigamo Yesu bye yayogera ng’abanaza biwandiikidwa. Bigambo byamuwendo nnyo naddala eri abo abalokose.

Ensonga lwaki Yesu yanaaza ebigere byabayigirizawa be oluvanyuma lwe embaga y’okuyitako y’eno: Yali ayagala kubayamba bamanye nti ebibi byabwe byabanaazibwaako emirembe n’emirembe. Yababuuza mu ngeri efanaanako nga eno “Lwaki mbanaaza ebigere? Ensonga temugimanyi, naye oluvanyuma mulikimanya” ebigambo bino, ebyayogererwa eri Peetero bye byali mu amazima ag’obununuzi mu ye.

Tulina okumanya era n’okukkiriza tukkirize mu kubatiza kwa Yesu okutunaazaako buli kibi. Fenna kitugwanira okukkiriza mu bigamb bya Yesu Kristo: yaggyawo ebibi by’ensi yonna era n’atuukiriza ekikolwa eky’okutugyako ebibi lwe yettikka omusango kumusalaba. Yabatizibwa fe abantu tulyoke tununulibwe tuve mu bibi byaffe.

Ekikolwa ky’okuggibwako ebibi byaffe byonna kyatuukirizibwa n’Okubatiza kwa Yesu n’Omusaayi gwe.

Katego ki setaani katezel abatuukirivu?

Setaani agezaako okulimba abatuukirivu,

Basobole okuwaba bademu bafuuke Abonoonyi.

Yesu yamanya nti oluvanyuma

lw’okukomererwa kwe kumusalaba, okuzuukira kwe n’okuganda kwe muggulu, omulabe setaani nabawereza be abekizikiza bagya kugezaako okulimba abakkiriza. Kino tukiraba mu bujulizi bwa Peetero, “gwe Kristo, omwana wa Katonda omulamu”. Newankubadde Peetero amazima yali agamanyi, Yesu yali alina okumujjukiza okukuuma

Page 206: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

206 Enjiri y’okutangiria okungi

enjiri y’okuggibwako ebibi mu mutima gwe. Eyo enjiri ye y’okubatiza kwa Yesu Kristo era mu yo, ebibi by’ensi yonna byatangirirwa. Kino Yesu yali ayagala Peetero addemu akiyige awamu n’abayigirizwa abalala. Yensonga lwaki yagamba nti “kyenkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.”

Abayigirizwa ba Yesu bayonoonanga, omulabe yabakemanga n’abasalira omusango: enjogera ye efaananako ng’eno, “Labayo! Osobola otya okugamba nti tolina kibi naye ng’ate okya yonoona? Tonalokoka okyali mwonoonyi ddala.” Yesu atuyigiriza nti okwewala endowooza zino eza setaani tulina okussa okukkiriza kwaffe mu kubatiza kwa Yesu kubanga okuyita mu kwo, ebibi byaffe byonna byanaazibwa weewaawo n’ebyo bye tutanaba kukola (eby’omumaaso).

Yesu ayagala tumanye nti Yabatizibwa mu mugga Yoludaani asobole okugyawo ebibi byaffe

byonna. Yanaaza ebigere byabayigirizwa okubalaga nti yali agyeewo ebibi byabwe eby’oluberera okuyita mu kubatiza kwe: era n’omusango gw’ebyonoono ebyo byonna yagwettikka kumusalaba.

Kaakano ggwe nange tununulidwa era tuggibwaako ebibi byaffe okuyita mukukkiriza munjiri y’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Ebyo bye bitusobozesa okufunna ekirabo ky’okuggibwaako ebibi. Yesu yabatizibwa era n’akomererwa kumusalaba ku lwaffe. Atunazizaako ebibi byaffe byonna n’okubatiza kwe awamu n’omusaayi gwe. Buli akkiriza mu mazima gano anunulibwa.

Kale tukole ki oluvanyuma lw’kulokoka? Tulina okwatula ebib byaffe ebyoluberera era n’okukkiriza tukkirize mu bulokozi obusibuka mu kubatiza kwa Yesu Kristo n’omsaayi ggwe. Eno y’enjiri y’okutangirira ebibi byaffe gye tulina okukuuma mumitima gyaffe.

Page 207: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

207 Enjiri y’okutangiria okungi

Olowooza bwoddamu okwonoona kitegeeza oli mwonoonyi era tolokokaanga? Nedda kino si kituufu. Bw’oba omanyi nti nti Yesu yagyawo ebibi byaffe byonna, osobola otya okufuka omwonoonyi nate? Tuyize nti okubatiza kwa Yesu n’omusaayi ggwe yayiwa kumusalaba by’ebikolwa eby’obwakatonda, era mu byo enjiri y’okutangirira ebibi byaffe byonna mwesibuka. Buli akkiriza mu njiri eno eyasooka, alokolebwa era aba mutuukirivu mu maaso ga katonda.

Abatuukirivu tebayinza kuddamu kufuuka bonoonyi nate.

Lwaki abatuukirivu tebayinza Kufuuka bonoonyi nate?

Kubanga Yesu yamala okutangirira

Ebibi byabwe byonna.

Bw’oba okyakkiriza mu njiri ey’okusonyiyibwa ebibi (ey’amazzi n’omwoyo) naye ng’owulira munda okyali mwonoonyi, kikugwanira okuddayo mu mugga Yoludaani, Yesu we yabatizibwa okuggyawo ebibi byo byonna. Bw’oddamu okwonoona ng’omazze okusonyiyibwa ebibi, Yesu anaadamu okukubatiza. Omuntu kimuggwanira okukkiriza mu kusonyiyibwa kw’ebibi ne’munjiri y’okubatiza kwa Yesu.

Okukkiriza mu Yesu kye ki? Kwe kukkiriza mu kubatiza kwe okwaggyawo ebibi byaffe byonna. Bw’oba okkiriza mu kubatiza n’omusalaba n’okuzuukira kwa Yesu, toyinza kuddamu kwonoona (toyinza kufuuka mwonoonyi nate), newankubadde ng’okoze ekibi ekisingayo obunene. Onunuliddwa okuva mu bibi by’obulamu bwo bwonna okuyita mu kukkiriza.

Yesu Kristo yaggyawo ebibi byaffe eby’omumaaso nabyo (awamu n’ebibi byetukola

Page 208: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

208 Enjiri y’okutangiria okungi

ebisibuka mu bunafu bw’emibiri gyaffe). Yesu yali alina okunyweza omuwendo gw’okubatiza kwe; kye yava anaaza ebigera byabayigirizwa be n’amazzi okulaga enjiri y’okusonyiyibwa ebibi (okubatiza kwe). Yesu Kristo yabatizibwa, n’akomererwa kumusalaba naffa, nazuukira mu bafu, n’agenda muggulu okutuukiriza ekisuubizo kya Katonda eky’okutangirira okungi olw’ebibi by’ensi yonna. Oluvanyuma lw’okuzuukira kwa, abayigirizwa be baatandikka okubuulira enjiri y’okutangirira ebibi, okubatiza kwa Yesu omusalaba, n’okuzuukira okutusa kunkomerero y’obulamu bwabwe.

Obunafu bw’omubiri gwa Peetero

Lwaki Peetero yegaana Yesu?

Kubanga yali munafu.

Bayibuli etugamba nti abaweereza ba Kabona omukulu, bwe balaba Peetero (nga bamumanyi ng’omu kubayigirizwa ba Yesu): Peetero yegaana Yesu nagamba nti, “Nedda omusajja simumanyi” naddamu okwegaana omulundi ogw’okusatu. Matayo bwati bwatugamba mu suula ye 26 n’olunyiriri lwe 69 “Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n’ajja gy’ali, n’amugamba nti naawe wali wamu ne Yesu omugaliraaya. Naye ne yeegaanira mu maaso ga bonna, ng’agamba nti ky’ogamba sikimanyi. Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulal n’amulaba n’agamba abantu abaali awo nti n’ono yali wamu ne Yesu omunazaaleesi. Ne yeegaana nate, n’alayira nti omuntu oyo simumanyi. Ne wayitawo ebbanga ttono,abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti mazima naawe oli munaabwe; kubanga enjogera yo ekutegeezezza. Awo n’atanula okukolima n’okulayira nti omuntu

Page 209: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

209 Enjiri y’okutangiria okungi

oyo simumanyi. Amangu ago enkoko n’ekookolima. Peetero n’ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N’afuluma ebweru, n’akaba nnyo amaziga.” (Matayo 26:69-75).

Peetero yakkiriza mu Yesu: yakkiriza nti y’omulokozi era nnabi mulindwa. Naye Yesu bwe yatwalibwa mu bayudaaya okusalirwa omusango yaganibwa era n’okukolimirwa nakolimirwa bayudaaya bane. Peetero naye teyamanya nti alyegaana Yesu, wabula Yesu ye yakimanya. Yesu yamanya obunafu bwa Peetero. Kale Yesu yanaaza ebigere bya Peetero n’akkakasa enjiri gye yali ayagala ategeere mu mutima gwe (nga bwe kyawandiikibwa mu Yokaana 13). Yali nga amugamba nti “Ojja konoona mu maaso naye ebibi byo mazze okubinaaza, weewawo n’bibi byo eby’omumaaso.” Peetero yeegaana Yesu bwe

yalaba ng’obulamu bwe buli mu kabi. Buno bwe bwali obunafu bw’omubiri gwe obw’amukozesa ekibi ekyo. Eno Y’ensonga lwaki Yesu yalaba nti kyali kimugwanira okunaaza ebigere byabayigirizwa nga tanaba kufa. Yali nga agamba nti “nja kuggyawo ebibi byammwe byonna, weewaawo n’ebibi byammwe eby’omumaaso. Nja kukmererwa kumusalaba, kubanga nabatizibwa nsobole okuggyawo ebibi byammwe. Nja kutangirira ebibi byamme byonna nfuuke omulokozi wammwe. Nja kufuuka omusumba wammwe okuyita mu kubatiza kwange:mazima nze musumba w’obulokozi bwammwe.” Yesu Kristo yanaaza ebigere by’abayigirizwa oluvanyuma lw’embaga y’okuyitako asobole okusiimba amazima gano ag’enjiri mu mitima gy’abayigirizwa be.

Ffe abantu twonoona nate, kubanga emibiri gyaffe minafu. Kituufu buli mulokole (buli mukkiriza) talina kuddamu kwonoona: wabula

Page 210: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

210 Enjiri y’okutangiria okungi

emirindi egisinga twesanga mu biseera ebizibu nga Peetero bye yalimu, ne twonoona nga tetugenderedde. Olulala tutambulira mu mubiri ne tuwaba mu bwonoonefu. Omubiri guno oguli mu nsi era oguyayanira eby’ensi gwonoona: naye Yesu yaggyawo ebibi ebyo byonna n’okubatiza kwe n’omusaayi kumusalaba. Tukkiriza nti Yesu mulokozi waffe: naye bwe tutambulira mu mubiri tutambulira mu mubiri ne tuwaba okuva ku kwagala kwa Katonda. Ffe abantu twazaalibwa mubiri ate obulamu bwakatonda butuukirira mu ffe bwe tuba tutambulira mu mwoyo.

Yesu yamanyira ddala nti tujja kwonoona mu maaso bwe tutambulira mu mubiri. N’olwekyo yafuuka omulokozi waffe bwe yeewaayo mu kbatiza kwe n’omusaayi gwe okutwala ebibi byaffe, era natuukiriza obulokozi bwaffe bwe yazuukira. Eno y’emu kunsonga lwaki ebitabo by’njiri ebina byonna bitandika n’okubatiza kwa Yesu (nga kulangibwa Yokaana omubatiza) mu

nyanjula. Ogumu kumugaso gw’obulamu bwa Yesu kuno ku nsi gwali kutuukiriza njiri y’obulokozi.

Ffe abakkiriza twonoona Mirundi emeka?

Twonoona paka lwe tuffa.

Peetero yeegaana Yesu si mulundi gumu, si mirundi ebiri naye emirund esatu mu maaso g’abantu. Kino ddala kyamenya omutima gwa Yesu! Peetero naye alina okuba nga yanakuwala, kubanga yalayira n’okulayira nti yesu tamumanyi. Ebyo byonna Peetero yabikola, kubanga yali munafu mu mubiri, era kirabika yawulira bubi oluvanyuma lw’okwegaana Yesu emirundi esatu. Naye ate Yesu yaddamu namutunuulira n’ekisa nate.

Bino byonna ebyabaawo ku Peetero Yesu yali abimanyi n’ebirala bingi. N’olwekyo Yesu

Page 211: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

211 Enjiri y’okutangiria okungi

yalinga agamba nti, “ Manyi nti ojja kuddamu okwonoona. Naye ebibi byo biggiddwaawo okuyita mu kubatiza kwange. Kino nkikoze, kubanga saagala bibi byo bikufuule omwonoonyi nate: bwonofuuka omwonoonyi oyinza obutaddamu kukomawo gyendi. Nfuuse omulokozi wo. Nabatizibwa era natwala omusango gw’ebibi byo, nfuuse katonda wo: omusumba wo. Kkiriza leero mu njiri y’okuggyawo ebibi. Nze nja kweyongeranga okukwagala newankubadde oyonoona mu mubiri. Okwagala kwange gyoli kwaluberera.”

Yesu yagamba peetero n’abayigirizwa abalala nti “bwe ssiikunaaze tossa kimu nange.” Yesu yayogera bwati, kubanga yali ayagala okussa essira ku kuzaalibwa nate amazzi n’omwoyo. Kino okukkiriza owoluganda? Tusoma mulunyiriri olw’omwenda nti, “Simooni Peetero n’amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n’emikono n’omutwe. Yesu

n’amugamba nti anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu.”

Aboluganda muliddamu okwonoona, oba temuli ddamu kwonoona nate? Mazima ddala mujja kuddamu. Naye Yesu yagamba nti ebyonoono byamme ebyomumaaso nabyo yabggyawo n’okubatiza kwe n’omusaayi gwe era nabayigirizwa be yababuulira ekigambo ky’amazima; y’enjiri ey’okutangirira. Kino yakibabuulira nga tanaba kukomererwa kumusalaba.Yesu tanazizza mitwe gyaffe gyokka n’amibiri wabula n’ebigere byaffe; eno y’enjiri ey’amazima.

Oluvanyuma lw’okubatiza kwe, Yokaana omubatiza yajulira nti, “Laba! Omwana gw’endiga owa katonda aggyawo ebibi by’ensi” (Yokaana 1:29). Kitugwanira fenna okukkiriza nti ebibi byaffe byonna byateekebwa ku Yesu kulunaku lulilwe yabatizibwa. Obunafu

Page 212: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

212 Enjiri y’okutangiria okungi

bw’emibiri gyaffe bwe bulabika era kitugwanira ffe okwejjukizza nti Yesu yanaaza ebibi byaffe neby’ensi yonna okuyita mu kubatiza kwe n’omusaayi gwe. Tulina okumwebaza Katonda okuva kuntobo y’emitima gyaffe, era twatule okukkiriza kwaffe mu Yesu omulokozi era katonda Mukama yebazibwe! Ebirowoozo ebibi mu mitima gy’abantu.

Kiki eyonoona abantu?

Ebibi eby’njawulo N’endowooza enkyamu.

Yesu agamba mu Matayo nti 15:19-20

“Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi,

okuwaayiriza, okvuma: ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.” Ebibi ebyenjawulo mu mutima gw’omuntu bye bimwonoona. Omuntu alina okumanya obwonoonefu bwe.

Kiki ekiri mu mutima Gwa buli muntu?

Ebibi eby’ogerwako mu

(Makko7:21-23).

Nga tetunaba kuzaalibwa nate mu mazzi n’omwoyo (kulokoka) tulina okukkiriza nti ebibi (ekkumi n’ebibiri ebyogerwaako mu Makko) biri mu mitima gyaffe. Tulina okukkiriza nti tuli bonoonyi mu maaso ga Katonda, wabula

Page 213: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

213 Enjiri y’okutangiria okungi

emirundi egisiinga ekyo tetukikola. Abasinga muffe twewolerezza nga tugamba nti, “nedda nze sibngako mwonoonyi era n’ebibi ebyo mu makko sibirina mu mutima kano akabi akatono kenakoze nawabye buwabi.”

Yesu yayogera ki ku ffe abantu? Yagamba nti ekiva mu mutima gw’omuntu kye kikufuula omwonoonyi; amakulu gali nti mu mitima gyaffe mujjudde ebirowoozo ebikyaamu. Okimanyi nti buli omu alina ebirowoozo ebikyamu? Kino kituufu.

Emyaka kati mitona emabegako waliwo Stoowa ennene wano mu Seoul eyaggwa. Abantu bangi baafiirwa abagalwa baabwe; abalala abantu bagenda kunyumirwa nakufuna kyebayinza okuyaga. Abantu abamu beebuuza nti bameka abafudde? 200? “Nedda abo batono. 300? Osaanga bawera naye kayandibadde kirabikako bulungi singa abantu nga 1000 be bafudde…..” (Abantu abamu baali bogera batyo). Obwo bwe

bwonoonefu obuli mu mitima gya abantu. Kno nga kitalo!

Fenna tumanyi obwonoonefu obuyinza okutuvaamu. Oluusi bye tulowooza tetuyinza kubyogera mu lwatu. Tuyinza okweyogeza ebigambo ebiseendereza oba ebikubagiza (mukiseera ky’okuffa nga kyetuva okusomako) naye nga mumitima gyaffe ekibi kubumbujja mu ffe. Tuba tuyayaana okulaba obubi oba obukyammu nga bweyongera mu maaso. Kino kye kibi ekiri mu mitima gy’abantu. Abasinga mu ffe bwe tuli nga tetunaba kulokoka.

Obussi mu mutima gwa buli muntu

Lwaki twonoona?

Kubanga tulina ebirowoozo ebibi Mu mitima gyaffe.

Page 214: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

214 Enjiri y’okutangiria okungi

Katonda yatugamba nti mulimu obussi mu mitima gya buli muntu. Naye bangi beegana mu maaso ga Katonda. Bagamba nti “Osobola otya okwogera ekintu bwekityo! Sirina kirowoozo kyonna ekyobussi n’ekimu. Oyinza otya okugamba nti ndi mussi?” Abantu bwebatyo tebalikkiriza nti balina obussi mu mitima gyabwe. Balowooza nti abassi bawuffu nnyo ku bo. Enjogera n’endowooza yabwe efaananako ng’eno “Oyo omussi gwe baalaze ku televizoni ku mawulira g’esaawa esatu, oyo yalina obussi mu mutima siyinza nze kubeera nga bo abo bo boolekedde geyeena. Wabula ebirowoozo by’obussi buli mu mitima gy’abantu aboogera batyo kale kino nbo kibafuula abassi. Tulina okukkiriza ekigambo kya Katonda, kubanga katonda alaba byonna n’ebikwekedwa mu mitima gyaffe. Kyetulina okukola kwe kukkiriza “nti nze nina ekibi mu mutima gwange.” Weewawo Katonda yagamba nti tulina ebirowoozo

by’obussi mu mitima gyaffe. Byetukozesa emirundi egisinga (ng’bisso, emundu nebirala) bisibuka mu birowoozo byetubeera nabyo eby’obussi. Omuntu ayinza okutta nga obusungu bumutta. Weewaawo tuyinza okuba nga tetusse na mikono gyaffe naye era ekirowozo kyobukyayi buba bussi. N’olwekyo, ekkubo etuufu kwe kukkiriza ekigambo kya Katonda tumugondere. Twonoona mu nsi eno, kubanga tulina ebirowoozo ebikyamu.

Obwenzi mu mitima gyaffe. Katonda agamba nti mu buli mutima

gw’omuntu mulimu obwenzi. Kino si kituufu owoluganda? Okukkiriza nti naawe olina obwenzi mu mutima gwo? Weewawo mulimu obwenzi mu mutima gwa buli muntu. Eno y’emu kunsonga lwaki abantu betuunda, abalala

Page 215: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

215 Enjiri y’okutangiria okungi

nebakwata obwana obuto, abalala nebenda kubakyala baabwe oba abaami baabwe. Abeetunda abasinga mwe bafunira sente eza mangu. Bizineesi endala ziyinza okuggwa naye eno eyabamalaya teyinza kugwawo. Lwaki? Kubanga obwenzi bujjudde mu mitima gyaffe.

Abonoonyi bakungula kibala kya kibi (ky’ebibi)

Omuntu afaanananyizibwa ki?

Omuti ogubala ebibal by’ Ekibi.

Ng’emiti gy’micungwa bwe gibala emicungwa, egy’emiyembe bwe gibala emiyembe, so naffe abazaalibwa mu bibi (ebyogerwako mu Makko) tubala ebibala eby’ekibi.

Yesu yagamba nti ekyo ekiva mu muntu kye kimwonoona. Kino okukkiriza owoluganda. Tulina okukkiriza obutali butuukirivu bwaffe mu maaso ga Katonda. Nga Yesu bwe yakkiriza okwagala kwa Katonda eri obulamu bwe naffe tulina okukkiriza ekigambo Katonda kyayogera ku ffe era tukigondere: eno y’ngeri yokka gye tunayinza okulokolebwa okuva u bibi byaffe. Obulokozi bwaffe buli mu kukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omwoyo we: Bino bye birabo Katonda byatuwadde.

Nsi yange (ey’eKorea) eweeredwa omukisa ne Sizoni nnya mu mwaka. Sizoni zino nga ziyita, emiti egy’enjawulo gibala ebibala. Mu ngeri yemu, ebibi ebyenjawulo mu mitima gyaffe bifubutuka mu mitima gyaffe nebituwabye buli jjo. Leero buyinza okuba obussi nga bwe bukutte emitima gyaffe enkya buyinza okuba obwenzi, olulala birowoozo bikyamu, luli nga bukaba, obubbi, okuwayiriza…nebirala. Lunaku ku

Page 216: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

216 Enjiri y’okutangiria okungi

lunaku mwezi ku mwezi mwaka ku mwaka twonoona bulijjo. Tewali lunaku luyitawo nga tetwonoonye. Oluusi tulayira nti tetugya kuddamu kwonoona, naye tetuyinza kwe yamba kubanga twzaalibwa mu kibi.

Wali olabyeyo omuti gw’omuyembe ogugaana okubala ebibala (by’emiyimbe) kubanga tegwagala? Newankubadde omuti gusalawo gwokka nti tegwagala kubala kibala kya muyembe tegusobola kugaana gwokka. Oluvanyuma lw’ekiseera emiyembe gibala. Lino tteeka lya butonde. So neri ffe abantu tulina kugondera tteeka lino ery’obutonde; kale n’obulamu bw’abonoonyi bulina okugoberera etteeka lino ery’obutonde. Y’ensonga lwaki ebibala bya bonoonyi kibi.

‘Okubatiza kwa Yesu n’omusalaba gwe’ bya labisibwa gyetuli ebibi byaffe bisobole okutangirirwa.

Okutangirira kwa Yesu kye ki?

Y’empeera y’ekibi ky’ensi okuyita mu Kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe

yayiwa kumusalaba.

Tusome mu bayibuli tuigw nga abonoonyi ab’edda bwe baali batangirira ebibi byabwe mu maaso ga Katonda. Eno y’enjiri y‘okutangirira ebibi. Mu byabaleevi tuyiga nti “Era oba ng’omuntu yenna kubantu ab’omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng’akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng’azziza omusango; ekibi kye ky’ayonoonye

Page 217: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

217 Enjiri y’okutangiria okungi

bw’anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw’ekibi ky’ayonoonye. Awo olw’ekibi ky’ayonoonye. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’attira ekiweebwaayo olw’ekibi mu kifo ekyekiweebwayo ekyokebwa. Awo Kabona anaatoolanga n’engalo ye ku musaayi gwayo, n’agusiiga ku mayembe g’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n’omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto. N’amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng’amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era Kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga” (Eby’abaleevi 4:27-31).

Abantu b’omundagaano enkadde batangiriranga batya ebibi byabwe? Bateekanga emikono gyabwe ku kiweebwayo olw’ekibi

nebakiteekako ebibi byabwe. N’era mu by’abaleevi kyawandiikibwa nti, “Yogera n’abaana ba Iseraeri obagamba nti omuntu yenna mu mmwe bw’awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi. Oba ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga mukama. Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira” (eby’abaleevi 1:2-4).

Omuntu yenna mu biseera by’endagaano enkadde bwe yamanya nti alina ekibi mu mutima yatekateeka ebiweebwayo eby’okutangirira ebibi bye. Yali alina okuteeka emikono gye ku kiweebwayo nga akabonero akokuteekako ebibi bye ku mutwe gw’ekiweebwaayo. Munda mu

Page 218: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

218 Enjiri y’okutangiria okungi

weema m wwaliwo ekyoto awatwalibwa ebiweebwayo ebyokebwa. Kwaliko amayembe kubuli nsonda (ensonda zaali nnya; era nga n’ekyoto kiringa bokisi ennene). Abantu ba Iseraeri batangiriranga eibbi byabwe nga bassa emikono gyabwe ku kiweebwayo.

Oluvanyuma omubiri gw’ekiweebwayo gwalongoosebwanga munda era n’enyama yaggwo yasalibwanga mu ebiffi n’eyokyebwa ku kyoto ku kyoto ky’ebiwebwayo eby’okebwa. Olwo evvumbe eddungi lyaweebwangayo eri Mukama okutangirira ebibi byabwe. Bwe bati bwe batangiriranga ebibi byabwe ebya buli jjo.

Katonda yakkiriza ssaddaakka endala ey’okutangirira ebibi byabwe by’omwaka. Ssaddaaka eno yayawukana n’eyo eyali ey’okutangirira ebibi bya buli lunaku. Ku ssaddaaka eno, Kabona omukulu yekka ye yali akkirizibwa okuteeka emikono gye. Ekikolwa kino yali akikola ku lw’abantu; yali ateeka

emikono gye ku kiweebwayookutangirira ebibi byabwe. Oluvanyuma omusaayi ne gumansulibwa emirundi musanvu ku sanduuko ey’kisa. Ekikolwa kino eky’okussako emikono ku mutwe gw’embuzi kyakolebwa mu maaso g’abantu ba Iseraeri ku lunaku olw’ekumi olw’omwezi ogw’omusanvu buli mwaka (Eby’abaleevi 16:5-27).

Ekifaananyi ky’ekiweebwaayo olw’ekibi Mu ndagaano enkadde ky’ani?

Kya Yesu Kristo.

Kitugwanira okuyiga era okumanya enkola

eno ey’okuwaayo (ey’ebiweebwayo) nga bwe yakyuuka mu ndagaano empya, era netteeka lya Mukama ne lisigala nga lya lubeerera. Lwaki Yesu yali alina okuffa ku musalaba? Kikyamu ki kye yakola kuno kunsi alyoke affe kumusalaba?

Page 219: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

219 Enjiri y’okutangiria okungi

Ani ye eyamukaka okuffa ku musalaba? Ffe fenna abonoonyi mu nsi nga tumaze okuwaba n’okuva ku Katonda Yesu yajja ku nsi okutulokola. Yabatizibwa Yokaana omubatiza mu mugga Yoludaani n’atwaala omusango gw’ebibi byaffe fenna.

Mu ndagaano enkadde, omwonoonyi yateekanga emikono gye ku kiweebwayo n’ayatula ebibi bye ng’agamba nti, “Mukama wange nyonoonye nzibye era nyenze.” Olwo ebibi bye byateekebwanga ku kiweebwayo. Olwo ekiweebwayo nekitwala omusango n’ekittibwa nekiweebwayo eri Katonda. Mu ngeri yemu, Yesu yaweebwayo mu ndagaano empya nafuuka omutango gw’ebibi byaffe. Yesu yabatizibwa era n’ayiwa omusaayi gwe kumusalaba asobole okutangirira ebibi byaffe. Eyo y’ensonga lwaki yafuuka ssaddaakka. Yesu yaffa ku lwaffe. Olowooza lwaki ensolo ezitaliiko bulema bwonna ze zaweebwangayo? Olowooza ensolo

ezo zali zimanyi ekibi? Nedda ensolo tezimayi kibi. Tezalina bwonoonefu bwonna. Ng’ensolo ez’omundagaano enkadde bwe zitaalina kibi, so ne Yesu bwe yali: nga talina kibi nakimu. Ye Katonda mutukuvu. Yaffa kumusalaba, kubanga omusango gwamuteekebwaako.

Entandikwa y’enjiri y’okutangirira ebibi.

Lwaki Yesu yabatizibwa Yokaana omubatiza Mu mugga

Yoludaani?

Kutuukiriza obutuukirivu bwonna.

Kyawandiikibwa mu Matayo 3 nti, “Awo Yesu n’ava e Galiraaya, n’atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala

Page 220: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

220 Enjiri y’okutangiria okungi

okumugaana, ng’agamba nti nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi? Naye Yesu naddamu n’amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwona.” (Matayo 3:13-15).

Lwaki Yesu yabatizibwa nga alina emyaka asatu? Yabatizibwa asobole okutangirira ebibi byaffe era n’okutuukiriza atuukirize obutuukirivu ba Katonda bwonna. Kino okutuukirira omutntu atalina kibi kyonna ye yali alin okubatizibwa atangirire ebibi byaffe: eno y’ensonga lwaki Yokaana omubatiza ye yabatiza Yesu. Gano amazima tusaanye tugakkirize tulokolebwe.

Makulu ki agali mu kubatiza kwa Yesu? Ge gamu agaali mu mu kuteekako emikono mu ndagaano enkadde. Mu ndagaano enkadde ebibi by’abantu byateekebwa ku mutwe gw’ekiweebwayo. Kabona omukulu ye yateekangako emikono kukiweebwayo kino. Mu ndagaano empya, Yesu yennyini yewaayo

nafuuka ekibi ku lwaffe. Yokaana omubatiza ye yakikirira ffe abantu fenna (Y’ensonga lwaki Yesu yagambe nti teri muntu n’omu ku’nsi yali amusinga). Ye yali Kabona omukulu ow’abantu bonna ku’nsi. Yateeka emikono gye Ku Yesu n’amuteekako ebibi by’ensi. Mu kikolwa kino mwe tufuna amakulu g’okubatiza, era ge gano; okuteekako (ebibi), okuyisaako, okuziikibwa (awamu ne Yesu), okusindiikiriza oba okunaazibwa.

Owolugaanda omanyi lwwaki Yesu yajja n’abatizibwa Yokaana omubatiza? Okkiriza mu makulu agali mukubatiza kwa Yesu? Okubatiza kwa Yesu kwbaawo tusobole okujjibwaako ebibi byaffe byonna; ebibi fee abantu abonoonyi byetukola. Kale nno Yokaana omubatiza yabatiza Yesu asobole okutuukiriza enjiri eyasooka, ye y’okutangirira ebibi byaffe byonna.

Yesu yabatizibwa omulundi gumu era n’okuffa kumusalaba yaffa omulundi gumu

Page 221: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

221 Enjiri y’okutangiria okungi

n’azzuukira mu bafu ku lunku olw’okusatu. Ekibi ky’ensi yonna yakifirira mulundi gumu nanulula abantu fenna okutujja mu bwonoonefu. Lwaki Yesu yeetikka ebibi by’ensi yonna nakomererwa kumusalaba ng’omubbi wa bulijjo? Lwaki yali alina okubatizibwa? Bino byonna byamubaako asobole okununula ggwe nange okuva mu byonoono byaffe tulokolebwe. Tusanye tukkirize mu kigambo ky’obulokozi Katonda kyatuwadde tumwebaze, kubanga awatali kubatiza kwa Yesu, omusalaba ggwe, n’okuzuukira kwe tetwanilokose. Atakkiriza mu mazima gano ali mu kkubo eriwabya. Kituufu nti Yesu yaggyawo ebibi by’obulamu bwaffe bwonna (n’ebyomumaaso)? Weewaawo kituufu! Tugenda kukikakasa mu by’abaleevi. Tuyiga bingi ku kabona omukulu bye’yakolanga kulunaku lw’okutangirira.

Ekiweebwayo eky’okutangirira eky’ebibi by’abaiserairi eby’omwaka.

Olowooza abaisereri baali basobola Okwawulibwa omulundi gumu nga bawadeyo

Ekiwebwayo(olw’ekibi) ekiva mu nsi?

Nedda. “Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume

ey’ekiweebwayo olw’ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n’ennyumba ye. Awo anaatwalanga embuzizombi, n’aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu. Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n’akalulu ak’okubiri ka Azazeri. Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n’agiwaayo okuba ekiweebwayo olw’ekibi”

Page 222: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

222 Enjiri y’okutangiria okungi

(Eby’abaleevi 16:6-10). Alooni yateeka embuuzi biri ku mulyango gwa

Yeekalu okutangirira ebii by’abaisiraeri. “Awo anaatwalanga embuzizombi, n’aziteeka

mu maaso ga Mukama ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu.

Ssaddaaka yali yetaagisa okutangirira ebibi eby’abonoonyi ebya bulijjo nga biteekebwa ku mutango. Wabula ebibi by’omwaka byali biteekebwa ku mutango ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu buli mwaka. Kabona omukulu ye yali ali okuteekako emikono gye ku mutango.

Omwonoonyi bwakkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’okufa kwe ku musalaba alokoka n’afuuka omutuukirivu. Abalokole be b’oluganda abanaazzibako ebibi byabwe byonna “era abalindirira Mukama waffe okulabisibwa gye tuli omulundi ogw’okubiri nga tetulina kibi wabula obulokozi bwokka.”

Alooni Yatwalaanga embuuzi biri ku

mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu okutangirira ebibi by’abaisiraeri. Ku lunakku olw’ekkumi, mu mwezi ogw’omusanvu buli mwaka, Kabona Yateeka emikono gye ku kiweebwayo okutangirira ebibi by’abantu bonna. Ye yali akikirira abaana ba isiraeri.

Bino bye’tusoma mu by’abaleevi 16:29-31 “era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw’omsanvu, ku lunaku olw’ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolangamulimu gwonna, enzaalwa newankubadde omugenyi atuula mu mmwe: kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga mukama. Olwo ye ssabbiiti ey’okuwummula ey’okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe; lye tteeka ery’emirembe gyonna.” (Eby’abaleevi 16:29-31).

Mu ndagaano enkadde, abaana ba Isiraeri

Page 223: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

223 Enjiri y’okutangiria okungi

baleetanga ekiweebwayo olw’ebibi byabwe ebya bulijo bitangirirwe. Basabanga Katonda okubasonyiwa, era oluvanyuma nebagisala. Omusaayi owavamu baguwa Kabona omukulu. Bwe bamala, ne bagenda ekka nga bakkiriza nti basonyiyidwa. Embuzi yali ettiddwa mu kifo ky’oyo eyali agiwaddeyo. Mundagaano enkadde, ebiwebwayo Katonda bye yakkirizanga bye bino; omwana endiga, enyana oba ente ensajja. Katonda, mu kisaakye ekingi, yakkiriza obulamu bw’ensolo eterina musango okuttibwa mu kifo kyaffe.

Bwe batyo abaana ba Isiraeri mu ndagaano enkadde bwe bataangirira ebibi byabwe. Bateekanga emikono gyabwe ku mutwe gw’omutango (ekiweebwayo, ssaddaakka). Omusaayi gwaweebwa Kabona eyabakirira ng’agenze okutangirira ebibi byabwe. Wabula tulina okumanya nti kyali tekisoboka kutangirira bibi by’abaana ba Isiraeri bulijo. Katonda kye yava akkiriza kabona omukulu okutangirira ebibi

by’omwaka gwonna buli mwaka ku lunaku lw’ekkumi mu mwezi gw’omusaanvu.

Kabona omukulu yakolanga ki ku lunaku ow’okutangirira ebibi by’omwaka? Alooni, kabona omukulu yateekanga emikono gye ku kiweebwayo, nga bwayatula ebibi by’abantu nga agamba nti “Mukama, abantu bo bonoonye; bassi, benzi bajude obukaba, babbi, bawayiriza….” Oluvanyuma nasala ekiweebayo olw’ekibi. Omusaayi gw’ensolo ne gumansirwa emirundi musanvu ku sanduuko eri munda mu weema (Mu baibuli enamba musaanvu ya butuukirivu). Ebyo Kabona omukulu bye yakolanga ku lunaku lw’okutangirira ebibi by’omwaka.

Kubanga Katonda wa bwenkanya, yakkiriza ssaddaaka eweebweyo ettibwe kulw’abantu. Kabona omukulu Yamansira omusayi ku luuyi lw’ebuvanjuba lw’esanduuko y’ekisa eyali mu weema.

Page 224: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

224 Enjiri y’okutangiria okungi

Ani mwana gw’endiga eyaweebwayo?

Yesu atalina kibi kyonna.

Emu kumbuzi kabona omukulu gye yawaayo yayitibwa yamutango. Mu ndagaano empya, Yesu Kristo ye yafuuka omutango gwaffe. “Katonda bwatyo bwe yayagala ensi bwatyo n’okuwayo nawaayo omwana we omu yekka Katonda nti buli amukkiriza aleme okubula wabula afune obulamu obutagwawo” (Yokaana 3:16).

Katonda yatuwa omwana we omu yekka, Yesu. Ye yali omwana gw’endiga. Yabatizibwa Yokaana omubatiza n’afuuka omulokozi w’ensi era eyafukibwako amafuta.

Emyaka kati 2000 emabega Yesu kyanga ajja okutufirira. Yajja nabatizibwa n’ayiwa omusaayi gwe kumusalaba asobole okutuukiriza enjiri y’okutangirira ebibi byaffe.

Mu by’abaleevi 16:21-22 bino byetusoma; “Awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n’ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw’abana ba Isiraeri, n’ebyonoono byabwe byonna; n’abiteeka ku mutwe gw’embuzi, n’agisindiikiriza mu ddungu.”

Kabona omukulu ye yateekanga emikono gye ku mbuzi nagyatulirako obutali butuukirivu bwonna. Okusinziira ku mateeka ga Katonda, ffe Abantu tulina okumanya ebibi byaffe.

Lwaki Katonda yatuwa amateeka?

Tusobole okumanya ekibi muffe.

Page 225: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

225 Enjiri y’okutangiria okungi

Etteeka lya Mukama liri mu ennono endala 613 ezamateeka amatono. Mulimu Katonda byatulagira okukola n’ebyo byatugaana okukola. Kale engeri gytutayiinza kugatuukiriza gonna, amateeka ago ge gazuula ekibi ekiri mu ffe (nga bwekyawandiikibwa mu Baruumi 3:20). Amateeka gatuweebwa okutusomesa nti tuli bonoonyi. Katonda teyagatuwa kugagondera, kubanga twali tetusobola kugatambuliramu. Yagatuwa kubanga twali bonoonyi naye ng’atte tetukimanyi. Amateeka gatugamba nti tottanga, toyendanga… naaye twesanga tubikoze ebibi ebyo.

Mu ndagaano enkadde, ebiweebwayo olw’ekibi bibiri bye byaleetebwa mu maaso ga Katonda. Ekimu kya weebwayo ewa Katonda, ekirala kyassindikirizibwanga mu ddungu oluvanyuma lw’okugiteekako emikono n’okugyatulirako ebibi by’abana ba Isiraeri bonna. Ensi ye Palestine ya ddungu. Muno embuzi omuntu asanide mwe

yagisindiikirizibwanga era oluvanyuma lw’ekiseera neffa.

Naffe, ebibi byaffe byonna byatangirirwa mu ndagaano empya okuyita mu mwana gw’endiga owa Katonda, Yesu Kristo. Mu Kubatiza kwe n’okuffa kwe kumusalaba, fenna twasonyiyibwa. Yesu yatondebwa mu kifaananyi kyaffe ye; era ensonga eyamuleeta wano mu nsi Yali kutufiirira.

Ebibi byaffe byonna (n’ebyomumaaso) byateekebwa ku Yesu lwe yabatizibwa, okutuukiriza obutuukirivu bwa Katonda. Bwe yali nga tanaba kukomererwa, Yesu yali yaggyawo dda ebibi byaffe n’okubatiza kwe mu mugga Yoludaani. Obulokozi bwe yali atuletedde ffe abantu bwatandikira mu mugga Yoludaani. Kuno okubatiza tekwayawukana na nkola y’okuteekako mikono (ku kiweebwayo) mu ndagaano enkadde okusindiikiriza ebibi ku ssaddaakka.

Amakulu emabaga w’okunyikirwa mu mazzi

Page 226: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

226 Enjiri y’okutangiria okungi

ge gano: kwali kufa. n’amakulu mu kuva mu mazzi kwe kuzuukira. Kale no Yesu lwe yabatizibwa Yokaana omubatiza, Yesu yali atuukiriza era n’okubikkulirwa n’atubikkulira ensonga satu ezikwatagana n’ensonga eyamuleeta ku nsi. Ensonga ze zino: okutwala ebibi byaffe, okukomererwa kwe kumusalaba, n’okuzuukira.

Katonda yasalawo okutuwa obulokozi ng’ayita mu Yesu; era n’endagaano gye yakola mu ndagaano enkadde etuukirizibwa. Bwe tumugondera Yesu, tulokoka.

Kiki kye tulina okukola oluvanyuma Lw’okumanya nti Yesu atusonyiye?

Tulina okukkiriza mu bigambo

Bya Katonda.

Mu Yokaana 1:29, kyawandiikibwa nti “olunaku olw’okubiri n’alaba Yesu ng’ajja gyali, n’agamba nti Laba, omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!” Yokaana yajulira nti, “Laba omwana gw’endiga gwa Katonda aggyawo ebibi by’ensi!” ebibi by’ensi yonna byateekebwa ku Yesu lwe yabatizibwa. Kino okikkiriza ow’oluganda? Bw’oba okikkiriza ojja kuweebwa omukisa.

Tulina okukkiriza mu kigambo kya Katonda. Tukomye endowooza enkyamu ze’tulina eri ekigambo kya mukama tukkirize. Tukkirize mu mazima nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna (n’ebyensi yonna). Ekikolwa ky’okussako emikono ku ssaddaakka mu ndagaano enkadde, tekyawukana n’ekyo eky’okubatiza kwa Yesu mu ndagaano empya. Byonna amakulu ge gamu.

Yesu yabatizibwa era n’akomererwa kumusalaba okutangirira ebibi byaffe. Eno y’enjiri eyasooka gye tulina okkukiriza naffe.

Page 227: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

227 Enjiri y’okutangiria okungi

Tumaze okkuyiga nti Yesu yaggyawo ebibi by’ensi. Bye biruwa ebyo? Byebyo? Z’endowooza enkyamu, obukaba, okwegomba okubi, obwonoonefu, amalala, okuvvola Katonda, n’obussirusiru obutudde mu mitima gyaffe.

“Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katondabwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe” (Abaruumi 6:23). “era mu mateekakubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayitewabaawo kusonyiyibwa” (Abaebbulaniya 9:22). Nga bwekitangazidwa mu byawandiikibwa, ebibi byonna bisasuliddwa Obulamu bwa Yesu bwe bwasasula ebibi by’abantu bonna omulundi gumu. Kale kitugwanira okukkiriza mu njiri eyasooka – okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe yayiwa kumusalaba – kino kiraga obwakatonda bwe.

Okutangirira kw’ebibi by’enkya.

Tukyetaaga okuwayo ssaddaaka Olw’ebibi byafe nate?

Nedda tetwetaaga.

Ebyonoono byaffe eby’enkya, n’oluvanyuma

lw’enkya okutuusa lwe tuliffa byonna nabyo bibalibwa mu “bibi by’ensi” (Yokaana omubatiza bye yali ayogerako bwe yalaba Yesu). Ebibi byaffe eby’omumaaso bisonyiyidwa ng’era ebyajjo ne leero bwe bisonyiyidwa. Kino tulina okukikkiriza tusobole okulokolebwa. Tetwetaaga kubuusabusa. Oyinza okuba nga weebuuza nti “kakati Yesu asobola atya okuggyawo ebibi ebitanakolebwa? (eby’enkya?) Nange ka nkubuuze, “Olowooza Yesu kimugwanira okukomawo kuno ku nsi ayiwe omusaayi gwe buli lwe twonoona?”

Page 228: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

228 Enjiri y’okutangiria okungi

Mu njiri eno ey’okulokoka mulimu etteeka ly’okutangirira ebibi byaffe. “…era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.” (Abaebbulaniya 9: 22). Mu ndagaano enkadde, omuntu bwe yali yetaaga obununuzi okuva mu kibi, yateekanga emikono gye ku kiweebwayo nayatulirako ebibi bye era ensolo eyo yaffanga mu kifo kye.

Mu ngeri y’emu, omwana wa Katonda yakka mu nsi okulokola abantu bonna. Yabatizibwa asobole okuggyawo ebibi byaffe byonna. Yayiwa omusaayi gwe ku musalaba okusasula empeera y’ebibi byaffe, n’agamba nti “Kiwedde” bwe yali affa ku musalaba.Yazuukira ku lunaku olw’okusatu. Era afuuse omulokozi waffe emirembe gyonna.

Kitugwanira naffe okuta endowooza enkyamu ze tulina eri amazima katonda gatulaze. Tuleke ensomesa enkyamu gye tubadde tumanyi. Okusinziira ku mateeka, ssaddaaka

eyaweebwayo kulwaffe yaweebwayo mulundi gumu era kyaggwa. Obulokozi bwaffe bwatuukirizibwa ku lunaku Yesu lwe yazuukira.

“mazima yeetikka obuyinike bwaffe n’asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n’abonyaaboyezebwa…era mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.” Mu Isaaya 53, kiwandiikidwa nti obutali butuukirivu bwaffe bwonna bwateekebwa ku Yesu Kristo.

Ate mu ndagaano empya, mu abaefeeso 1:4 kyawandiikibwa nti, “nga bwe yatulondera mu ye ng’ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala.” Uyiga nti Katonda yatutonda n’atulonda ng’ensi eno tenaba kutondebwa. Katonda yasalawo okututuukiriza mu Kristo nga n’eno ensi tenaba kutondebwa. Gano amazima kitugwanira okugakkiriza, awamu ne mu njiri eyamazzi, omusaayi n’omwoyo.

Page 229: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

229 Enjiri y’okutangiria okungi

Katonda yatugamba nti Yesu Kristo, omwana gw’endiga, ye yaggyawo ebibi by’ensi. Mu Abaebbulaniya 10 kyawandiikibwa nti “Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera” (Abaebbulaniya 10:1).

Ssaddaaka abantu ze bawangayo mwaka ku mwaka zali teziyinza kubatuukiriza. Amatteeka galinga kisikirize ky’ebyo ebirubgi ebigenda okujja naye si ebyo byenyini ebigenda okujja. Yesu Kristo eyajjo ku lw’okwagala kwa Katonda, yatutuukiriza omulundi gumu (ng’era ebibi by’abaana ba Isiraeri bwe byatangirirwa omulundi gumu mu mwaka). Yesu yabatizibwa naffa kumusalaba era n’atangirira ebibi byaffe omulundi gumu.

N’olwekyo Yesu kyava agamba mu abaebbulaniya 10, “nalyoka ayogera nti Laba,

nzize okukola by’oyagala. Aggyawo eky’olubereberye, alyoke anyweze ekyo’kubiri. Mu ebyo by’ayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu. Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza ng’awaayo emirundi emingissadaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyako bibi emirembe gyonna: naye oyo bwe yamalaokuwaayo ssaddaakaemu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna, nalyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; ng’alindirira oluvanyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye. Kubanga olw’okuwaayo ssaddaaka emu yatuukirizaokutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa. Era n’Omwoyo Omutukuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw’amala okwogera nti Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo oluvanyuma lw’ennaku ziri, bw’ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, era ne kumagezi gaabwe ndi gawandiika; n’alyoka ayogera nti n’ebebi byabwe

Page 230: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

230 Enjiri y’okutangiria okungi

n’obujeemu bwabwe siribijjukira nate Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw’ekibi” (Abaebbulaniya 10:9-18).

Tukkiriza nti Yesu yatulokola natujja mu byonoono by’ensi okuyita mu kubatiza kwe n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba.

Obulokozi obw’okuzaalibwa nate Amazzi n’Omwoyo, buli mu mitima gyaffe ne mu ndowooza yaffe.

Lwaki tuli batuukirivu? Kubanga tetuddamu kwonoona?

Nedda.tuli batuukirivu, kubanga Yesu

Yaggyawo ebibi byaffe byonna era Naffe tumukkiriza.

Owoluganda okkiriza mu bulokozi obutuukiridde? Okkiriza nti Yesu yabatizibwa naffa kumusalaba okutulokola? Tulina okukkiriza ekigambo kya Katonda. Tetuyinza kufuuka batuukirivu abatalina byonoono bwe tukkiriza mu mateeka. Obutuukirivu bwaffe busibuka mukukkiriza mu bikolwa bya Yesu Kristo; okubatizibwa kwe mu Yoludaani, okubonyabonyezebwa kwe kumusalaba awamu n’okuffa kwe. Mu kukkiriza mu njiri eno n’emitima gyaffe gyonna, tufuuka abatuukirivu. Kino okukkiriza owoluganda?

Byonna Yesu byatukoledde bisibuka mu kwagala kwe kwalina eri ffe Abaana be. Katonda atwagala bwaagazi ffe abantu nga bwe tuli. Katonda wa bwenkanya. Yatufuula abatuukirivu okuyita mu bulokozi obusibuka mu kubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe yayiwa. Okwo kwe kwagala kwa Katonda okutaliiko bukwakulizzo.

Mu abaebbulaniya 10:16 tusoma nti,

Page 231: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

231 Enjiri y’okutangiria okungi

“…nditeeka amateeka ganga ku mutima gwabwe, era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika;” mu mitima gyaffe ne mundowooza zaffe, tuli bonoonyi mu maaso ga Mukama oba tuli batuukirivu? Bwe tukkiriza mu kigambo kya Mukama tufuuka abatuukirivu. Yesu yaggyawo ebibi byaffe ne yetikka omusango gwabyo; ye mulokozi waffe. Newankubadde oyonoona bulijjo, era ng’olowooza tosanidde mu maaso ga Katonda, kkiriza bukkiriza mu kigambo kya Katonda ojja kulokoka ofuuke omutuukirivu.

Emabegako nagambye nti, twalina ekibi munda muffe nga tetunaba kulokoka. Bwe twakkiriza enjiri y’okusonyiyibwa ebibi twwlokolebwa. Nga tetunaba kumayna njiri, twali bonoonyi. Bwe twatandika okukkiriza mu bulokozi bwa Yesu twafuuka batuukirivu. Kuno kwe kukkiriza omutume Paulo kwe yali ayogerako; okukkiriza mu kusonyiyibwa ebibi kwe kututuukiriza.

Omutuma Paulo ne Jjajaffe Ibulayimu tebafuuka batuukirivu lwa bikolwa byabwe. Ne banaggwano aboogerwako mu biseera bya Baibuli tebatuukirira lwa bikolwa, wabula bakkiriza bukkiriza mu kigambo kya Katonda. Kino ekigambo kye kye kyalimu omukisa gw’okufuna ekisonyiwo ky’ebibi.

“Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw’ekibi” (Abaebbulaniya 10:18). Katonda yatulokola ffe tuleme okufiirira ebibi byaffe okikkiriza kino owoluganda?

Era mu Abafiripi 2 tusoma nti, “Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw;obuntu, ne

Page 232: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

232 Enjiri y’okutangiria okungi

yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okwomusalaba. Era Katonda kye yava amugulumiza ennyo n’amuwa erinnya liri erisinga amanya gonna; buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa” (Abafiripi 2:5-11).

Yesu Kristo, eyali mu kifanaanyi ky’ekitiibwa kye (abaebbulaniya 1:3), teyayagala kuluubirira kufuna tuttumu ku lulwe. Naye yajja gyetuli ng’omuntu era n’okwewombeeka n’eyewombeeka okutuusa ku kuffa n’agondera mukama.

Yesu Tumutenderezza, “Yesu ye Katonda waffe Omulokozi waffe era Kabaka waffe.” Yesu tumutendereza era tumwebaza, kubanga yagondera okwagala kwa Katonda kitaawe okutuusa ku nkomerero. Abantu b’ensi yonna

abalala nabo batendereza Yesu, kubanga nabo bamanyi nti yagondera okwagla kwa Kitaffe. Singa Yesu teyagondera kitaffe, twandibadde tetumwa kitiibwa kyonna kati.

Yesu Kristo yafuuka omwano gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi; era ebyonoono byaffe byaggibwawo okuyita mu kubatiza kwe mu mugga Yoludaani. Emyaka kati 2000 egiyise gyetujjkira bukya Yesu atwala ebibi by’ensi.

Tunaafuuka abonoonyi nate Bwetwonoona enkya?

Nedda,kubanga Yesu yaggyawo ebibi

byaffe Byonna;ebya jjo, leero n’ebyomumaaso.

Yesu yamanya nti tuli bonoonyi. Okuva

kulunaku lwe twazaalibwa okutuusa kulunaku lwe tuffa, yamanya nti ebikolwa byaffe si bya

Page 233: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

233 Enjiri y’okutangiria okungi

butuukirivu, n’olwekyo yaggyawo ebibi byaffe tuleme kuba n’omusango. Omuntu bw’aba nga amala emyaka 70 kuno ku nsi, ebibi bye byandibadde bijjuzza loole nga kikkumi. Naye Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna omulundi gumu, okuyita mu Kubatiza kwe n’atwala omusango gwa byo kumusalaba. Singa Yesu yaggyawo ebibi ebimu naleka okuggyawo ebyonoona bya bulijjo bye tukola, n’era twandibadde twolekedde geyena.

Bibi byenkanaki bye twakola ffe abantu? Buli kyonoono abantu ku nsi kye tukola kibalirwa mu bibi by’ensi. Yesu bwe yagamba Yokaana omubatiza okumubatiza, Yesu yali ajulira nti ye yenyini yaliggyawo ebibi byaffe byonna. Katonda yatuma omuddu we, Yokaana omubatiza, mu maaso ga Yesu. Kale nno ebibi byaffe byonna, okuva ku myaka gyaffe emito n’okudda waggulu, byonna bibalibwa mw’ebyo Yesu bye yaggyawo okuyita mu kubatiza kwe.

Ani agamba nti ekibi ki kyali mu nsi? Yesu yaggyawo ebibi by’ensi era naffe fenna tusobola okulokoka bwe tukkiriza mu mitima gyaffe, awatali kubusabuusa kwonna nti Yesu ye yatangirira ebibi byaffe byonna: okuyita mu kubatiza kwe n’okuyiwa omusaayi gwe.

Obulokozi bw’abonoonyi butuukirizibwa.

Lwaki Yesu yanaaza ebigera bya Peetero?

Kubanga yali ayagala Peetero agume era

akukkirize Mu mazima nti Yesu yali yanaaza dda ebibi bye nabiggyawo okuyita

mu kubatiza kwe.

MU Yokaana 19 bino byetusoma; “Awo ne

Page 234: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

234 Enjiri y’okutangiria okungi

batwala Yesu: n’afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa: ne bamukomererera awo, era n’abalala babiri wamu naye, eruuyi n’eruuyi, ne Yesu wakati. Ne Piraato n’awandiika ebbaluwa n’agissa ku musalaba, ng’ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W’ABAYUDAAYA. Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga: era yawandiika mu lwebbulaniya, ne mu Luyonaani ne mu Luruumi” (Yokaana 19:17-20).

Aboluganda, tukimanye nti Yesu yaggyawo ebibi by’ensi byonna era n’alamulwa n’asalirwa omusango mu Kooti ya Piraato.

Mu ssuula y’emu n’okuva kulunyiriri olwa 28, “Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, nagamba nti

nnina ennyonta. Waali wateekeddwawo ekibya ekkijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, nagamba nti kiwedde: n’akutamya omutwe gwe, n’awaayo omwoyo gwe” (Yokaana 19:28-30).

Yesu yagamba, “kiwedde” n’akutamya omutwe gwe n’awaayo omwoyo gwe. Oluvanyuma lw’ennaku satu, yazuukira mu baffu n’agenda muggulu.okubatiza kwa Yesu Kristo awamu n’okuffa kwe kumusalaba bikwatagana. Ebyo byombi (okubatiza n’okuffa kumusalaba) tebisobola kwawulibwa. Ffe abantu twonoona mu mibiri gyaffe, naye Yesu yajja natuwa okubatiza kwe n’omusaayi tusobole okununulibwa. Yatununula natuwa amawulire amalungi ag’enjiri ye. Abo abasonyiyibwa ebibi byabwe be bayinza okuyingira mu bwakabaka obw’omuggulu. Anti babeera bakkiriza mu Yesu eyazaalibwa e’Beserekemu, n’abatizibwa mu mugga

Page 235: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

235 Enjiri y’okutangiria okungi

Yoludaani, n’affa ku musalaba era yazuukira ku lunaku olw’okusatu. Erinnya lya Mukama lyebazibwe emirembe gyonna.

Mu suula ya Yokaana esembayo, Yesu yagenda e’Galiraaya, oluvanyuma lw’amazuukira, n’abuuza Peetero nti “onjagala okusiinga bano?” Peetero namuddamu nti “Weewaawo, Mukama: okimanyi nti nkwagala” namuddamu nti “liisa endiga zange.”

Peetero yamala n’akkiriza mu njiri y’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe (okuggibwako ebibi). Bwe yakkiriza mu njiri eno ey’amazzi n’omwoyo, yajjibwako ebibi bye, n’okumanya yamanya lwaki Yesu yanaaza ebigere bye era nanywera.

Mu Yokaana 21:15 tusoma nate “Awo bwe bamala okulya, Yesu n’agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N’amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N’amugamba nti Liisanga abaana b’endiga bange.” Kati Peetero yali asobola okuweebwa obuvunaanyizibwa

obw’okuliisa, kubanga Peetero yali omuyigirizwa eyali atuukirizibwa mu bulokozi, era yali afuuse omuweereza wa Katonda atuukiridde.

Singa ebibi Peetero bye yali akola bulijo byamufuula omwonoonyi, Yesu teyandimugambye lubuulira njiri y’okutangirira ebibi, kubanga ababuulira bandi badde tebasanidde mu maaso ga Katonda.

Mukama wange, okimanyi nti nkwagala.

Osuubira onoddamu okubeera‘omwonoonyi’ Bw’onoddamu

okwonoona nate?

Nedda. Yesu yaggyawo dda ebibi byange Bwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani.

Page 236: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

236 Enjiri y’okutangiria okungi

Tulowooze kubigambo Yesu bye yagamba Peetero. “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? Weewaawo Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” Peetero ya yayatula amazima eri mukama waffe. Obuvvumu bwe bwali buva mukukkiriza mu njiri y’okutangirira ebibi.

Singa Yesu teyasomesa Peetero awamu n’abayigirizwa abalala enjirie eno ey’okusonyiyibwa ebibi kulunaku lwe yabanaza ebigere, Peetero teyandisobode kwatula kwagala kwalina eri Yesu Kristo. Singa enjiri y’okutangirira bali tebagimanyi, Yesu tabandimugambye nti bamwagala. Bandi badde beesalira omusango ng’era tebasuubira kusasira kwa Katonda n’ekisa kye. Wabula tusanyu tulowooze ku bigambo ebyo Peetero bye yaddamu Yesu. Yaweebwa omukisa; yagamba nti, “Weewaawo Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” Yakkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi Yesu mwe yayita okuggyawo ebibi by’ensi yonna; muno mwe mwali

n’ebibi byaffe ebyo mu maaso. Peetero yakkiriza mu njiri y’okusonyitibwa

ebibi, kubanga yakkiriza nti Yesu yali omwana gw’endiga owa Katonda. Peetero yamanya nti ebibi bye ebya bulijo bisonyiyidwa, weewaawo n’ebyo ebyomumaaso. Owoluganda nawe olinga Peetero? Okkiriza era weesiga okwagala kwa Yesu? Okkiriza nti ye yaleeta enjiri y’okusonyiyibwa ebibi okuyita mu kubatiza kwe, n’omusaayi?

Singa Yesu yaggyawo ebibi byaffe ebya jjo oba ebya leero byokka, na tulekera ebyo mu maaso, tetwandisobodde kumutendereza nga bwe tukola leero; twandibadde twolekedde geyena fenna. N’olwekyo, tulina okukkiriza mu njiri Yesu gye yaleeta. Emiriundi mingi omubiri gwaffe guwaba netwesanga nga tuli mu kibi. N’olwekyo tulina okukkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi Yesu gyatuwadde eno y’enjiri y’okubatiza n’omusaayi eya Yesu. Atakkiriza, tasobola kununulibwa. Yesu yaleeta enjiri eno, tumanye nti yatwagala era naffe

Page 237: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

237 Enjiri y’okutangiria okungi

tusobole okumwagalira ddala. Abakkiriza mu njiri eno bafuuka abaddu eri

okwagala kuno okwa Yesu. Aboluganda abagalwa, singa Yesu yaleka akabi kona wano ku nsi, tetwandisobodde kukkiriza mu Yesu newankubadde okufuuka omujulirwa w’enjiri ey’okusonyiyibwa ebibi. Tetwandisobodde kuweereza Katonda nga bwe kitugwanira. Naye, bwetukkiriza mu njiri eno, tulokolebwa.

“Onjagala okukira bano?”

Kiki ekitusobosezza okwagala Yesu okukira ebirala byonna?

Okwagala kw’atulazze okuyita mu kubatiza

Kwe okwaggyawo ebibi byaffe byonna, (weewaawo n’ebyomumaaso).

Ffe abantu bwe twagala omuntu yenna, era okwagala kuno bwe kuba okwagala okukakke, emirundi egisinga tunafuwala era okwagala kuno kwe tulaga banaffe tekuba kwalubeerera. Wabula okwagala kuno bwe kuba nga kusibuka mu kwagala okwasooka Katonda kwatubikulidde, okwagala okwo kwetulagabanaffe kubeera kwalubeerera. Okwagala kwa Katonda kuno kwe kusibuka mu kusonyiyibwa (okutangirira) ebibi byaffe abantu; obulokozi bwamazzi g’okubatiza kwa Yesu, n’omwoyo. Okkukkiriza kwaffe mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi gwe musinji fee abakkiriza gwetulina. Era muguno omusiingi mwetusinziira okufuna okwagala kwa Katonda. Singa Katonda tumwagala na ndowooza zaffe zokka, tuwaba era ne twesanga nga tuzzeyo mubulamu obw’ekibi. Naye ate Yesu yanaaza ebibi byaffe byonna: ebibi bya bulijo, ebyajjo, ebya leero n’ebyenkya. Tewali n’omu gwalese wabweeru w’obulokozi bwe.

Page 238: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

238 Enjiri y’okutangiria okungi

Kale, okwagala kwaffe kulina okusibuka mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi Katonda gyatubikkulidde. Okwagala okwo kwe kutufuula abaana be. Era bwe tukkiriza mu bulokozi obw’amazzi n’omwoyo, tetulina kibi kyonna. Obulokozi bwaffe tebwava mu butuukirivu bwaffe, naye bwava mu kwagala Katonda kwalina gyetuli awamu n’amateeka ge. Newankubadde nga muno mumubiri tuli banafu, tubalibwanga abatuukirivu. Tujja kuyingira obwakabaka bwa Katonda era tutendereze Katonda emirembe n’emirembe.

Mu 1 Yokaana 4:10 tusoma nti, “Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n’atuma Omwana we okuba omutango olw’ebibi byaffe.” Yesu yatulokola n’amazzi n’omwoyo ffe tusobole okukkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa, okubatiza kwa Yesu awamu n’omusaayi gwe. Singa Katonda teyatulokola ng’ayita mu njiri

y’okusonyiwa, tetwandilokose ne bwe twandiffubye enyo.

Tulina okukkiriza mu kubatiza kw’amazzi n’omwoyo. Eno y’enjiri ya Katonda ey’okusonyiyibwa ebibi. Eno enjiri y’erimu okukkiriza okwamazima; guno gwe musingi gw’obulokozi bwaffe, era ekisumuluzo ekituyingiza mu bwakabaka bwa Katonda.

Tetulina kusinziira mu kukkiriza kw’endowooza zaffe.

Okukkiriza okw’amazima kuva wa?

Kuva eri Mukama Katonda, Eyanaaza ebibi byaffe byonna.

Okukkiriza oba okwagala okuva mu ndowooza

Page 239: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

239 Enjiri y’okutangiria okungi

y’omuntu tekubeera kwagala oba okukkiriza okw’amazima. Bangi mu nsi basooka kukkiriza na ndowooza. Oluvanyuma bakoowa era n’obulokozi babuddukamu, kubanga ebibi mu mitima gyabwe bibeera bibazitoweredde.

Mu Yokaana 13, Yesu yakuŋŋanya abayigirizwa be nga tanaba kukomererwa. Yali ayagala bayige obumu obwali mu njiri gye yali anateera okubayigiriza. Yesu yabanaaza ebigere. Ekikolwa kino yakikola nga ayagala bamanye obulokozi bwazze okubabikulira.Peetero yasooka nagana Yesu okunaaza ebigere bye (okwo kwe kwali kukkiriza kw’endowooza ye). Naye Yesu yamutegeeza nti yali tana manya makulu g’ekikolwa Yesu kye yali akola.

Mu njiri eno ey’amazzi n’omwoyo, tuyiga ebigambo ebirina amakulu agayinza okutuzibuwalira. Bwetukkiriza munjiri eno, ekituzibuwalira kifuuka kyangu gye.

Enjiri y’amazzi n’omwoyo etusobozesa

okutegeera ebibtu ebikusike ebisukka okutegeera kwaffe bulijo. Buli mwonoonyi agikkiriza atuukirira mu maaso ga Katonda. Peetero yagenda okuvuba n’abavubi abalala. Bali tebanaba kusisinkana Yesu. Olwo Yesu n’abalabikira; yali abategekeredd eky’enkya. Kw’owo Peetero lwe yazuula amakulu g’ebigambo Yesu bye yamulagira (bwe yamugamba nti, kyenkola Kaakano tokimannyi…).

Katonda yanaaza n’asonyiwa ebibibyange byonna. Byonna byenkola olw’obunafu bwange, awamu nebyo byenkola eby’omumaaso. Peetero yali alina okukkiriza okw’obuntu era okukkiriza okwo yaku leka; kubanga kwali tekugasa era nga tekubala bibala. Peetero kale yatandika okuyimirira mu kikkiriza kwe mu Kubatiza n’omusaayi gwa Yesu; eyo ye yali enjiri ey’okusonyiyibwa ebibi.

Ea oluvanyuma Yesu bwe yabuuza Peetero, Peetero yaddamu n’obuvumu nti “Weewaawo Mukama: wange gwe omanyi nti nkwagala.” Yali

Page 240: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

240 Enjiri y’okutangiria okungi

asobola okwatula okukkiriza kwe mu lujjudde; okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe.

Oluvanyuma, Peetero yafuuka omuweereza wa Katonda owamazima.

Ensonga lwaki Peetero n’abayigirizwa ba

Yesu abalala baabuulira enjiri okutuusa lwe baafa y’eno; Bali bategedde enjiri eyamazima. Ne Paulo omutume naye, eyabonyabonya abakkiriza, yamala najulira ku mazima agali mu njiri mu nakku ezo enzibu ez’omu Ruumi.

Ofuuka otya omuweereza Wa Katonda owamazima?

Kkiriza mu kutangirira kwe okw’oluberera

olw’ebibi byo.

Mu bayigirizawa ekkumi nababbiri, Yuda ye yalyamu Yesu olukwe atte oluvanyuma neyetugga. Paulo ye yatwala ekifo kye. Abayigirizwa baali balonze mubo omuyigirizwa wabwe, naye Paulo yalondebwa Katonda. Paulo awamu n’abayigirizwa abalala be babunya enjiri y’okusonyiyibwa ebibi.

Abayigirizwa abasinga baafa nga abajulizi. Newankubadde batiisibwa n’okuffa, tebeegana kukkiriza kwe bali bafunye mu njiri era baganda mu maaso ne bajibuulira. Osanga abantu babagambanga nti Yesu yaba nazaako ebibi byabwe, nga ayita mu njiri y’okubatiza kwe n’omusaayi gwe yayiwa kumusalaba ne yetikka omusango gwaffe.eno enjiri yalokola bangi.

Abayigirizwa babuulira enjiri y’amazzi n’omwoyo nga bagamba nti Yesu ye Katonda era y’omulokozi. Kino bakyogera, kubanga bajulira enjiri y’okubatiza n’omwoyo. Olw’okukkiriza kw’abayigirizwa, gwe nage tusobola okuwulira

Page 241: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

241 Enjiri y’okutangiria okungi

enjiri y’okubatiza kwe era ne tulokolebwa okuva mu kibi. Olw’okwagala kwa Katonda okutakoma, n’obulokozi bwe obutuukiridde, fenna tufuuse abayigirizwa ba Yesu. Kino okukkiriza? Yesu yatwagala nnyo nnyini nti yatuwa enjiri eno ey’amazzi n’omwoyo era yatufuula abayigirizwa be abatuukirivu. Eno y’enzonga lwaki abayigirizwa be yali nabo yabanaaza ebigere. Yabanaaza ebigere asobole okubasomesa nti ebibi byonna eby’ensi, byanaazibwa ku lunakku luli Yesu bwe yabatizibwa era nayiwa omusaayi gwe ku musalaba. Twebaza nnyo Katonda olw’okwagala kwe n’enjiri y’okusonyiyibwa ebyonoono.

Bwe yanaaza ebigere by’abayigirizwa, Yesu yabasomesa ebintu bibiri. Ekisooka: nti ebibi byabayigirizwa byonna byasonyiyibwa, lwe bakkiriza mu njiri y’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Ekyokubiri: Yesu ye wombeeka asobole okulokola abonoonyi abafuule

abatuukirivu. Ffe abakkiriza tulina okuwereza abalala nga tubuulira enjiri y’okusonyiyibwa.

Omuyigirizwa tayinza kusinga musomesa we. N’olwekyo mu nakku zino, tubuulira enjiri mu nsi era tuweereza nga abo abaweereza Yesu. Ffe abasooka mu okulokoka tulina okuweereza abo abgenda okulokoka. Kye tuyiga mu kikolwa Yesu kye yakola bwe yanaaza abayigirizwa be. Yesu bwe yanaaza ebigere by’abayigirizwa be yali abalaga nti ye yali omulokozi atuukiridde; nga tayagala ffe abakkiriza tulimbibwe setaani nate.

Fenna tusobola okulokolebwa nga tukkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi, n’okubatiza kwa Yesu okw’amazzi n’omwoyo. Yesu yanaaza ebibi byaffe fenna n’okubatiza kwe, okukomererwa kwe kumusalaba. Abo bokka abakkiriza mu njiri eno be bafuna obulokozi obw’olubeerera.

Page 242: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

242 Enjiri y’okutangiria okungi

Kkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi ebya bulijo.

Bwe tukkiriza mu njiri eno, tusobola

okwewala emitego n’obulimba bwa setaani. Abantu bangi balimbibwa omulabe setaani ne bawaba. Ffe abakkiriza tumanyi nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna n’okubatiza kwe. Olwo omukkiriza asobola atya okubeera n’ekibi? Yesu bwa ba nga yewaayo okusonyiwa kiki ffe kyetwetaaga okusasula? Bwe tugaana okukkiriza mu njiri y’amazzi n’omwoyo twesanga nga tukkiriza ebigambo bya setaani. Naye ate bweyuba n’okukkiriza okutajulukuka mu njiri, n’ekigambo kya Katonda eky’amazima, tutuukirira.

Ekifanaanyi ky’eweema entukuvu (mu ndagano enkadde) wali okirabyeko? Nyumba ntono eyawuddwamu bibiri, oluuyi olw’ebweru (ekifo ekitukuvu) n’ekitundu eky’omunda (ekifo

ekisinga obutukuvu) omwo mwe tusaanga essanduuko ey’ekisa. wabweru we weema mwazimbibwa empagi 60. Ekifo ekitukuvu kyalina embawo (enzimbe ng’ebisenge) 48.

Omulyango gw’oluggya mu weema (y’abaiseraeri) gwali gwa kika ki?

Omulyango gw’oluggya mu weema Gw’akolebwa na ki?

Kaniki, n’olugoye olw’effulungu, n’olumyufu

Ne bafuta erangiddwa omudalizo.

“Era olw’omulyango ogw’oluggya walibeera oluggi olw’emikono amakumi abiri, olwa kaniki, n’olugoye olw’effulungu, n’olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw’omudaliza: empagi zaazo nnya, n’ebinnya byazo bina” (Okuva

Page 243: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

243 Enjiri y’okutangiria okungi

27:16). Laangi ezakozesebwa zaali nungi era nga zirangiddwa bulungi. Katonda bwatyo bwe yalagira Musa okubikola, buli muntu eyali ayagala okuyingira eweema afune obwangu.

Engoye zino zali zirina akabonero ak’obwakatonda akakusike: bwe bulokozi Katonda bwe yaleeta (obw’okubatiza n’omusaayi). Muno mwe yali agenda okuyita okulokola abantu b’ensi yonna. Ebyakozesebwa kumulyango gw’oluggya mu weema birina amakulu amakusike eri entekateeka ya mukama okulokola ensi. Singa tebyalina makulu, tebyandiwandiikiddwa mu baibuli, era ebintu bino bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu njiri. Eno y’ensonga lwaki Katonda yabibikulira Musa.

Engoye ezo zitegeeza ki bwe tuzikwataganya n’enjiri ya Katonda?

Makulu ki amakusike agali emabega W’engoye ezakozesebwa

kumulyango gw’oluggya?

Bulokozi bwa Yesu Kristo obuva mukubatiza Kwe n’omusaayi gwe.

Olugoye lwa bulu (nge bwetugiyita enaku

zino) lwali lwogera ku kubatiza kwe Yesu. Mu 1 Peetero 3:21 tuyiga nti, “era kaakano ge gaabalokola mu kifanaanyi eky’amazima, kwe kubatizibwa, …” Peetero yakakasa okubatiza kwa Yesu. Era okuyita mu kwo, yaggyawo ebibi by’ensi yonna. Mu lunyiriri luno, ekifanaanyi eky’okutangirira, kwe Kubatiza. N’olwekyo langi ya bulu ya muwendo nnyo eri ekigambo

Page 244: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

244 Enjiri y’okutangiria okungi

ky’obulokozi. Amakulu agali mu lugoye olumyufu ge gano:

Omusaayi gwa Yesu. Ate makulu ki agali mu lugoye lw’effulungu (ennakku zino gwe tumanyi nga kakobe?) obwakatonda (bwa Yesu), ekifo kye ekikulu kuno kunsi nga Kabaka era nga Katonda. Langi zino esatu za muwendo mungi nnyo eri obulokozi bwaffe.

Ekyambalo ekirungi Kabona omukulu naye kye yayambala nakyo kyonna kyali kya bulu. Kabona omukulu y’esibanga olugoye ku mutwe gwe. Kungulu n’alyoka ateekako ekpande okwali kuwandiikidwaako mu nukuta za zaabu nti ‘OMUTUKUVU ERI MUKAMA.’ Ekipande kino kyanywezebwanga ku mutwe n’olugoye olwa bulu.

Amazima (amakulu) agali mu lugoye ka bulu.

Olugoye lwa bulu lulina Makulu ki?

Okubatiza kwa Yesu.

Nanonya amakulu golugoye lwa bulu mu baibuli nge nebuuza nti olugoye lwe langi eno lutegeeza ki? Ekifanaanyi kya bulu mu baibuli ge mazzi (kwe kubatiza kwa Yesu). Kristo yabatizibwa Yokaana omubatiza okugyawo ebibi by’ensi yonna (Matayo 3:15). Singa Yesu teyaggyawo bibi bya nsi n’okubatiza kwe, tetwandibadde batuukirivu mu maaso ga katonda. (tetwandibadde “baawule” mu maaso ga Katonda). N’olwekyo Yesu Kristo yali alina okuggya mu nsi muno abatizibwe Yokaana omubatiza mu mugga Yoludaani era aggyewo

Page 245: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

245 Enjiri y’okutangiria okungi

ebibi by’ensi yonna. Langi ya bulu yali kumulyango, kubanga

Katonda yali ayagala tumanye nti omwo (mu makulu agali mu langi eyo) okwawulibwa kwaffe mwe kuva. Awatali kubatiza kwa Yesu, twandibadde twtwayaawulibwa. Olugoye olumyufu, omusaayi, kwe kufa kwa Yesu, ate olw’effulungu ye Katonda (omu mu busatu; Kitaffe, omwana n’omwoyo omutukuvu) ye “Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w’abaami” (1 Timoseewo 6:15).

Olugoye olumyufu lwogera ku musaayi gwa Kristo ogwayiika kumusalaba okusasula ebibi by’abantu bonna mu nsi. Yesu Kristo yajja mu nsi eno mu mubiri okuggyawo ebibi by’abantu bonna. Enjiri y’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe y’njiri ey’amazima era yalagulibwa mu langi ezo esatu (mu biseera by’endagaano enkadde).

Empagi z’eweema zali z’ambaawo ezekika

kya kasiya, era n’ebinya byazo byali bya kikomo. Ebinya bino eby’ekikomo byalina enkwaso za ffeeza (ebikwaso bya feeza).

Abonoonyi bonna balamulibwanga,kubanga empeera y’ekibi kufa. Omuntu yenna nga tanaweebwa (nga Katonda tanamuwa) mukisa kufuna bulamu buggya, yali alina okuwaayo ssadaaka olw’ebibi bye. (kino kyaliwo mu biseera by’endagaano enkadde).

Okubatiza kwa Yesu kwaggyawo ebibi byaffe byonna. Yesu yayiwa omusaayi gwe kumusalaba, natulokola ffe abakkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi. Yesu ye Kabaka wa bakabaka era Katonda omutukuvu.

Aboluganda abagalwa, okubatiza kwa Yesu bwe bulokozi Yesu bwe yaleeta okuggyawo ebibi byaffe. Yesu, Katonda, yakka ku’nsi mu mubiri (olugoye lw’effulungu); yabatizibwa okuggyawo ebibi by’ensi (olugoye lwa bulu); yakomererwa era nayiwa omusaayi gwe okukkiriza omusango

Page 246: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

246 Enjiri y’okutangiria okungi

ogwandibadde kuffe (olugoye olumyufu). Kale okubatiza kwa Yesu kutubuulira ddala nti yajja okulokola abantu fenna.

Tuyiga nti langi zino zali zikozesebwa ku mulyango gw’eweema entukuvu. Okulanga (okutunga) kw’olugoye olwalina langi zino (eya’bulu, ey’effungulu oba kakobe, nemyuffu) kwabawo, kubanga Katonda yali ayagala abantu bamanye ammazima agali mu bulokozi bwe. Ewuuzi ezakozesebwa zitulaga nti fenna talokolebwa.

Okusinziira ku byetulabye era ne bye tuyize tumanyi kati nti Yesu yateekateeka obulokozi bwaffe. Yabatizibwa, n’akomererwa kumusalaba n’azuukira mu bafu okutuukiriza obulokozi bwaffe abantu. Mu langi zino, ekyo kyetuyigamu.

Ekinabirwaamu eky’ekikomo mu ndagaano enkadde, kye kifanaanyi ky’okubatiza mu ndagaano empya.

Lwaki bakabona banaaza emikono Gyabwe n’ebigere nga tebanaba

Kuyingira mu kifo ekitukuvu?

Bali balina okuyimirira mu maaso ga Katonda nga tebalina kibi kyonna.

Ekinaabirwaamu kino kyakolebwa n’ekyuuma

eky’ekikomo. Langi y’ekikomo kifanaanyi ky’omusango Yesu gwe yettikka ku lwaffe. Amazzi agali mu kinaabirwaamu kye Kigambo ky’enjiri. Enjiri etugamba nti ebibi byaffe byonna bugidwawo. Tuyiga nti ebibi byaffe ebyabulijjo byasonyiyibwa okuyita mu kubatiza kwa Yesu.

Ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa gwe

Page 247: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

247 Enjiri y’okutangiria okungi

musango. Amazzi ga Yesu (aga bulu) y’enjiri y’okutangirira ebibi oba okubatiza kwa Yesu nga bwekyawandiikibwa mu (Matayo 3:15, 1 Yokaana 5:5-10). Ky’ekigambo ky’obujulizi bw’enjiri y’obulokozi okuyita mu mutango.

Mu 1 Yokaana 5 kyawandiikibwa nti, “Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye mwana wa Katonda? Oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gokka naye namazzi gali n’omusaayi guli. Era omwoyo yategeeza, kubanga omwoyo ge mazima.” Era atubuulira nti oyo akkiriza mu mwana wa Katonda alina obujulizi obw’amazzi, omusaayi, n’omwoyo mu ye.

Katonda yakkiriza okwawulibwa nga ayita mu kukkiriza mu njiri ey’okutangirira; natukkiriza n’okuyingira mu weema entukuvu. Kale tuyinza okutambulira mu kukkiriza, nga tuliisibwa ekigambo kya Katonda nga tuli batuukirivu. Kitugwanira okukkiriza mu njiri y’okutangirira

ebibi byaffe, tusobole okuyingira mu weema entukuvu.

Abantu bangi ennakku zino bagamba nti “kimala okukkiriza obukkiriza nga tolowoozeza ku langi” zino ez’eweema entukuvu. (nga tofuddeyo kunyonyolebwa ku makulu gazo). Omuntu bwakkiriza mu Yesu nga tamanyi makulu gano, okukkiriza kwe si kwa mazima, kubanga ekibi kibeera kiyyatudde mu ye. Omuntu oyo aba akyalina ekibi mu mutima gwe, kubanga takkiriza mu mazima agali mukuzaalibwa omulundi ogw’okubiri (Okulokoka) ng’ayita mu njiri y’okutangirira ey’amazzi, omusaayi, n’omwoyo.

Katonda ayagala tumwesige n’emitima gyaffe gyonna, newankubadde oluusi tetulina kutegeera.Katonda ayagala tukkirize mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi okuyita mu Yesu Kristo. N’olwekyo tulina okumanya nti Yesu yatulokola okuva mu buli kika ky’ekibi.

Page 248: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

248 Enjiri y’okutangiria okungi

Bwe tutegeerera ddala nti Yesu yatulokola okukkiriza kwaffe kuba kutuukiridde. Okukkiriza okw’amazima kujja nga tukkiriza mu bujulizi obw’obulokozi bwa Yesu, n’enjiri y’okusonyiyibwa ebibi.

Okukkiriza okunyoma Yesu.

Kiki kyetwetaaga okukkiriza?

Okumanya okutuufu okw’ Okubatiza kwa Yesu.

Tulina okumanya nti okukkiriza obukkiriza

mu Yesu kuba kumunyooma. Abagamba nti, “nze banange nfuna obuzibu okukkiriza, naye Yesu nga bwali omwana wa Katonda, kale ka male ga mukkiriza” baba banyooma Yesu. Bwoba oyagala okulokokera ddala olina

okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayo gwe: enjiri y’okutangirira (okusonyiyibwa ebibi).

Omuntu akkiriza mu Yesu nga tamanyi njiri ya kusonyiyibwa bibi, aba bubi nnyo. Oyo atakkirizanga Yesu okuba omulokozi we aba amusiinga. Ababuulira enjiri y’omusaayi gwa Yesu gwokka bakolera bwereere era tebamanyi mazima. Yesu tayagala muntu yenna kugenda mu maaso nga abuulira enjiri gy’atanamanya mubujjuvu, oba tayagala kuabagana n’abo abamukkiriza naye nga tebalina nsonga yonna lwaki bamukkiriza. Ayagala tumukkirize nga tumanyi enjiri y’okusonyiyibwa.

Bwe tukkiriza mu Yesu, tulina okukkiriza nti enjiri y’okusonyiyibwa ebibi, kwe kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Bwe tukkiriza mu Yesu, tulina okutegeera enjiri y’okusonyiyibwa ebibi okuyita mu kigambo kye era tumanye engeri gye yatunazaako ebibi. Era awamu n’ebyo tulina okumanya amakulu amakusike emabega wa langi

Page 249: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

249 Enjiri y’okutangiria okungi

ezo ez’eweema entukuvu (eya’bulu, ey’effungulu oba kakobe n’emyuffu). Olwo tunaabeera n’okukkiriza okw’amazima era okw’oluberera.

Tetuyinza kuzaalibwa gwakubiri (okulokoka) nga tetukkiriza mu Yesu, n’amazima agazuuliddwa emabega wa langi ez’eweema (bulu, kakobe ne kamyuffu).

Bakabona bakolanga ki nga Tebanaba kuyingira kifo kitukuvu?

Banazaanga emikono gyabwe n’ebigere byabwe

N’amazzi ag’ekinaabirwaamu Eky’ekikomo.

Mukama waffe Yesu yatilokola. Tulina

kumwebaza buli kiseera, bwe tulaba enkola etuukiridde gye yayitamu okutulokola. Yatuwa ebigambo by’enjiri y’okusonyiwa (okuyita mu langi z’eweema) era natulokola. Tumwebaza nnyo nyini olw’ekyo.

Abonoonyi tebasobola kuyingira kifo kitukuvu nga tebanayita mu kulamula (mu musango). Omuntu ayinza atya okutuuka mu kifo ekitukuvu nga tanalamulibwa kibi kye? (tanatwala musango gw’ekibi kye?) omuntu bwatyo bwe yayingiranga mu kifo ekitukuvu yattibwanga amngu ago. Kyali kivve omwonoonyi okuyingira ekifo ekitukuvu.

Mukama waffe yakozesa ekyama ky’amakulu agali mu mulyango (mu weema entukuvu) okutulokola. Yatubuulira ekyama ky’obulokozi bwe okuyita mu mazima agazuulidwa mu lugoye lwa bulu, kakobe ne kamyuffu). Langi ya bulu si kabonero ka katonda, wabula langi eno etunnyonyola nti okubatiza kwa Yesu kwe kuggyawo ebibi byaffe. Omuntu yali ayinza

Page 250: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

250 Enjiri y’okutangiria okungi

okuyingirira ddala natuuka ku kyooto ky’ebiweebwayo naye nga takkiriza (oba nga n’okumanya tamanyi) makulu gali mu langi eno eya bulu (newankubadde nga tasobola kutuuka mu kifo mukama w’abeera).

Kale, okuyingira mu mulyango gw’eweema entukuvu, tulina okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu (langi ya bulu), omusaayi gwe kumusalaba (olugoye olumyuffu) ne mu mazima nti Yesu Katonda era mwana wa Katonda (Olugoye lwa Kakobe). Bwe tukkiriza, tukkirizibwa okuyingira mu kifo ekisinga obukuvu mu weema.

Abantu abamu bayingira ne batuuka ku mulyango gw’oluggya y’eweema ne balowooza nti bali munda. Naye buno si bwe bulokozi. Kitugwanira okuyingira mukifo ekisinga obutukuvu. Okutuukayo, tulina okunaaba mu kinaabirwaamu eky’akakomo (kye kifaananyi ky’okubatiza kwa Yesu). Ebibi byaffe ebya buli jjo tulina okubinaaza n’okubatiza kwa Yesu era

twawulibwe, olwo lwe tunasobola okuyingira ekifo ekitukuvu.

Mu ndagaano enkadde, bakabona bali balina okwenaaza nga tebanaba kuyingira yekaalu. Ate ne mu ndagaano empya, Yesu yazaaza ebigere by’abayigirizwa; kano kali kabonero akalaga nti ebibi byabwe ebya buli jko byali bigidwawo. Etteeka lya Katonda ligamba nti, “kubanga empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe” (Abaruumi 6:23). Katonda alamula ebibi by’abantu bonna. Kuno kwe kwagala kwe era obulokozi bwe. Obulokozi obwa nnama ddala bufunibwa nga tukkiriza mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi (ey’okutangirira ebibi). Muno mwe muli okubatiza kwa Yesu, omusaayi gwe, okuffa kwe kumusalaba n’okuzuukira kwe.

Page 251: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

251 Enjiri y’okutangiria okungi

Tewali alina kunyooma mazima agali mu njiri y’okusonyiyibwa ebibi.

Kiki kye tulina okukola?

Tulina okukkiriza mu njiri, Ekigambo kya Katonda.

Nze sinyooma bantu. Omuntu bwa yogera ku

kintu kyonna nga sirina kye manyi ku nsonga eyogerwako, musaba ademu okukinyonyola. Kale nno bwe nagezaako okubuuza ku bigendererwa bya yekaalu entukuvu, tewali n’omu yaŋŋamba ekintu kyonna. Nebuuza muli nti kiki kye nali nina okukola? Kye nali nina okukola kyawandiikibwa mu bujjuvu mu kitabo ky’okuva. Omuntu bw’asoma ekitabo kino, afuna okutegeera n’okumaya okuva eri Katonda.

Aboluganda, okugenda mu Kanisa tekutulokola. Bino bye bigambo Yesu bye yagamba Nikoodemo.

“Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw’atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n’ototegeera ebyo?” (Yokaana 3:5, 10)

Abo bonna abakkiriza mu Yesu balina okukkiriza mu kubatiza kwe, okuffa kwe ne mu mazima nti Yesu ye Katonda, y’omulokozi waffe era mwana wa Katonda. Tulina okukkiriza nti Yesu y’omulokozi w’abonoonyi binna mu nsi, kubanga awatali kukkiriza, tetuyinza kulokoka so n’okuyingira tetusobola kuyingira mu bwa Kabaka bwa Katonda.

Olowooza tekyandibadde kyangu, singa omuntu akkiriza bukkiriza mu Yesu nalokoka? -weewawo- kyandbadde kyangu. Oluyimba olumu lugamba nti, “♫ olokose. Nange ndokose. Fenna tulokose. ♫” kino nga kirungi! Wabula ddala ddala bameka abakkiriza mu Yesu naye nga tebalokokedde ddala? (nga tebazaalidwa mazzi na mwoyo?)

Tulina okukkiriza Yesu nyae eyo si

Page 252: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

252 Enjiri y’okutangiria okungi

y’enkomerero. Tulina okweyongera okumanya amazima. Kitugwanira okutegeera enjiri y’okusonyiyibwa ebibi mu byawandiikibwa, era tulina okumanya amakulu emabega wa langi (ez’eweema entukuvu). Kino kitusobozesa okuyingira mu kubeerawo kwa Mukama (okw’omwoyo) nga tuyita mu kukkiriza. Tubeera tuyingidde mu bwakabaka bwa Katonda. Kale abooluganda kitugwanira okukkiriza mu Yesu Kristo n’endowooza entuufu.

Enjiri eyasooka mwe musibuka okwawulibwa

Kiki ekitayinza kwawulibwa Kubulokozi (ng’akakwakulizo), okuggyako

omusalaba gwa Yesu?

Okubatiza kwa Yesu.

Abantu balowooza nti buli kiseera basobola okutambula nga batuukiridde. Bagezaako nga bwe basobola okukola ebirungi, naye oluvanyuma bazuula obunafu bwabwe. Ffe abantu tetutuukiridde era omuntu tasobola kwewala kibi mu manyi ge ye.

Wabula Yesu yatulokola ng’ayita mu njiri y’okutangirira ebibi byaffe era ne twwawulibwa ne tufuna obusobozi obutuyingiza mu kubeerawo kwa Katonda. Singa Katonda teyatulokola, tetwandisobodde kuyingira kifo kitukuvu ku lwaffe. Lwaki? Singa abo bokka abali batuukiridde mu manyi gabwe be bakkirizibwa okuyingira mu kifo ekitukuvu, tewali n’omu kuffe yandibadde n’abusobozi obutuukayo(mu maaso ga Katonda).

Omuntu bwakkiriza mu Yesu naye nga tamanyi njiri y’amazima, aba yeyongerako kibi na musango mu mutima gwe. Ate omutnu bwakkiriza okujulira enjiri, olwo yegatta “ku

Page 253: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

253 Enjiri y’okutangiria okungi

b’ekika ekitukuvu” (1 Peetero 2:9) era kukyenyi kye kuliko akapande akawandiikidwako ‘OMUTUKUVU ERI MUKAMA.’ Omuntu bwatyo, munakku zino, y’akola nga kabona omukulu, kubanga aba aweereza Katonda.

Twafuuka tutya abatuukirivu? Kyawandiikibwa mu Matayo 3:15, nti kitugwanira okutuukiriza obutuukirivu bwonna. Yesu yabatizibwa na tulokola okuva mu bibi by’ensi. Mu kubatiza kwe, yaggyawo ebibi by’ensi era naffe abakkiriza tufuuse abatuukirivu.

Singa twali tulowooza bulowooza ku musalaba gwa Yesu olwo tetwandilokose. Singa tukaaba amaziga amangi ne twenenya nga bwe tusobola, era ebibi byaffe byanditusigadeko; awatali kubatiza kwa Yesu Kristo, tewali kusonyiyibwa bibi.

Kubanga yaggyawo ebibi byaffe, mukama yakkiriza Yesu okwutikka buli kibi abantu b’okunsi kye baali bakoze, era kubanga ekigambo ky’obulokozi kiwandiikidwa mu Baibuli, naffe

tufuuse batuukirivu okuyita mu kukkiriza, newankubadde tulina obunaffu. N’olw’ensonga eyo, tusobola okuyimirira mu maaso ga Katonda n’obuvvumu ne tubuulira enjiri ye era n’okuyimba ne tuyimba nti, “♪ ndokose. Olokose.fenna tulokose. ♪” era ddala, okusinziira ku ntekateeka ya’mukama Katonda ey’ekisa, fenna tulokose.

Awatali kigambo kya njiri ey’okutangirira ebibi mu mitima gyaffe, tewali bulokozi. Kino kifaananako n’oluyimba lwe tumanyi wano mu Koleya olw’okwagala omusajja kwalina eri omukyala naye ate omukyala ye nga tafaayo. “♫Oh, buli lwe mulaba omutima gwange gukuba nnyo, awatali nsonga yonna. Nini okuba nga mwagala newankubadde ye nga tanjagala. Buli lwe muliraana omutima gwanga gukubba nnyo.♫” omutima gw’omusajja gwe gukuba ennyo, si gwa mukyala. Omusajja yali yebuuza muli nti lwaki omukyala gw’ayagala tamuddizza kwagala kwe. Eky’ennakku naffe abakkiriza bwe tutyo bwe tuli. Katonda atwagala ffe

Page 254: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

254 Enjiri y’okutangiria okungi

n’omutima gwe gwonna, wabula ffe tetumuddiza kwagala kwaffe.

An bantu, enakku zino balowooza nti obulokozi buli omu abufuna mu ngeri ez’anjawulo. Babuuza nit, “yiyi! Lwaki obulokozi bulina kuva mu njiri y’okubatiza?” tebamanyi nti awatali njiri y’akubatiza enjiri y’obulokozi teyandituukiridde. Engeri gye tuyinza okufuuka abatuukirivu mu maaso ga Katonda kwe kukkiriza mu kubatiza kwa Yesu, okufa kwe kumusalaba n’omwoyo; olwo ebyonoono byaffe bigibwawo era nga naffe tetulina musango.

Bulokozi ki Yesu bwe yatuwa?

Kiki ekitufudde abatuukirivu?

Enjiri(nga bwe yazzulibwa mu Kitabo ky’okuva)

Obulokozi obwalabisibwa mu makulu agali mu lugoye lwa bulu, olwa kakobe n’olumyufu bwali buva eri Katonda era kino kyali kirabo kye gyetuli. Ekirabo kino, kye kituwa obusobozi okuyingira mu yekaalu ya mukama waffe (mukubeerawo kwa Mukama waffe) era tutambulire mu mirembe. Ekirabo kino kitufudde abatuukirivu era nekitusobozesa okubeera mu Kanisa ne nga tutambulira mu byawandiikibwa.

Buli lwe tugenda mu maaso ga Katonda, tusaba era atuwa omukisa n’okwagala kwe. Yesu atulagira okuziimba enju ey’okukkiriza ku lwaazi. Olwaazi y’enjiri y’okubatiza. Fenna kitugwanira okulokoka, tutambulire mu bulokozi, tugende mu ggulu era tube n’obuvumu nti tuli baana ba Katonda.

Aboluganda tukkirizibwa okuyingira mu kubeeraw kwa mukama, kubanga tukkiriza mu njiri ey’okusonyiyibwa ebibi.Kubanga Yesu yabatizibwa, natwala omusango gw’ebibi byaffe

Page 255: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

255 Enjiri y’okutangiria okungi

kumusalaba, naffe abakkiriza tulokolebwa, kubanga tukkiriza. Kino okikkiriza ow’oluganda? Mukama yebazibwe!

Enjiri eno Yesu Kristo ye yagibuulira. Ekitabo kino kiwandiikidwa, kubanga ekyama ky’enjiri eno ey’amazzi n’omwoyo kitugwanira okumaya. Abantu bangi bakkiriza naye nga tebamanyi mazima gonna. Abamu batambulira mu malala nga benyumiriza mu ku manya kwabwe okw’obufilosoofu. Tebamanyi nti bakyamye era nga bawaba. Wabula ffe kitugwanira akudda ku njiri yaffe eyasooka. Okyalina omukisa owoluganda bw’oba tokkirizanga.

Nja kweyongera okunyonyola mubujuvu (mu kitabo kyange eky’okubiri) ku nsonga zino ezi kwata ku kuzaalibwa nate amazzi n’omwoyo.

Page 256: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

EBY’ENKOMERERO 1

Obujulizi bw’Obulokozi

Page 257: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

257 Obujulizi bw’Obulokozi

Obujulizi bw’Obulokozi

Nali nenyamidde olw’ebibi byange.

Brother Jae-dong Park, Korea “Naye Yesu n’addamu namugamba nti kkiriza

kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” (Matayo 3:15).

Nze eyali ayolekedde geyena kakati ndokose. Ekitiibwa kidde eri Katonda!

“yimirira nnon’obusawo bwo n’obulogo bwo obwayinga obungi…” (Isaaya 47:12). Ekyo nze kyenakolanga.

Nazaalibwa mu maka agalina amateeka amakakali. Mama wange yali akkiriza mu

Buddha, era yali mwesigwa mu ddini ye. Bwe nali nkula, nage nali neetaba mu mikolo gy’abakkiriza mu Buddha, ng’ebyawandiikibwa bya Buddha nabyo mbisoma awamu n‘okukuŋŋaniranga mu yekaalu yabwe buli kiseera. Nalowooza ku bunyoomi obutaliimu abakyala abasinga bwe bagobereranga mu nzikiriza eno. Nagezangako nnyo okufuba okulaba nga nfuna ekintu ekirala ekiynza okungasa okusinga obulamu buno bwe nalimu. Omuggugu gw’ekibi nali nguwulira ku mutima gwange. Nali nkoye munda munze era nga neetamidwa okuwaanibwa buli kiseera (abantu abanetolodde nga bampaana).

Bwe nali ŋŋenda mu somero elimu mu kibuga kye Sokcho, nasisinkana mukwano gwange omukristayo (omukkiriza). Nzikkiriza nti Katonda ye yeteekateeka okusisinkana okwo, kubanga obulamu bwanga bwakyukiraddala. Oluvanyuma nakizuula nti mukwano gwange

Page 258: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

258 Obujulizi bw’Obulokozi

naye yali atambulira mu bulamu bwe nalimu nga tanaba kulokoka. Nange namunakuwalirako. Bwe natuuka mu Kanisa, namanya nti okufuba kwange kwonna kwali tekusanyusa Katonda (kyali kibi).

“Kubanga munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru:” (Makko 7:21-22).

Namanya nti si sobola kwefuula mulungi, kubanga endowooza yange yali ejjudde obubi bungi, era obuzibu bwe nali nini n’ekibi nali sisobola kubwejjako. Nali njolekedde geyena. Okuva kw’olwo, nanakuwalanga nnyo olw’ebibi byange. Natuukirira Rev. Samual Kim nemusaba obuyambi. Kye nayiga kye kino: nti oyo “aggyawo ekibi ky’ensi” (Yokaana 1:29) ye Yesu, era ye yaggyawo n’ebibi byange byonna. Okumanya okwo kwansumulula ebirowoozo era

n’enfunna eddembe eriva muggulu. Oluvanyuma, nasisinkana Rev. Paul Jong

naŋŋamba nti Yesu yanaaza ebibi byaffe byonna. Yandaga nga abantu b’omundagaano enkadde mu Isiraeri bwe bawangayo ebiwebwayo. Neeyongera okuyiga lwaki Yesu, eyazaalibwa omwoyo omutukuvo (mu Matayo 1:20), yafuuka ekikolimo n’akomererwa kumusalaba (Abagalatiya 3:13). “kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna” (Matayo 3:15).

Yokaana omubatiza, Kabona omukulu asembayo, yabatiza Yesu namuteekako ebibi byaffe fenna. Yesu ye yali omwana gw’endiga ataliiko bulema bwonna. Yesu yasasula buli mpeera ey’ekibi kyaffe kumusalaba. Eno y’enjiri ey’anzukusa n’enfula omutuukirivu; nze eyali omwonoonyi kakati ndi mutuukirivu.

“eby’edda nga biweddewo;laba, nga bifuuse biggya” (2 Abakkolinso 5:17). Ekyo kyenyini

Page 259: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

259 Obujulizi bw’Obulokozi

kyatuukirira mu bulamu bwange. Nenenya obulamu obubi (Ebikolwa byabatume 11:18) n’embatizibwa mu Yesu Kristo era sirina musango gwonna ate tewaliba musango nate (Abaruumi 8:1) abo bonna abenyamidde olw’ebibi byabwe era abanoonya Yesu mbasabira era nsuubira nti munakkiriza enjiri y’obununuzi mu Yesu! Allelujah.

Navva mu bufumu n’enzikkiriza Katonda ow’amazima.

Sister Sung-neo Kim, Korea Nafumbirwa nga nin emyaka 19 ate baze yali

mwavu nnyo. Omwami wange yali tanjagala. Nali nini obuggya eri abakyala abalala abalina obugaga era abagalwa ennyo abaami babwe. Ab’omumakka g’omwami wange bakkirizanga mu bakatonda b’ensozi; era ne sezaala yali musamize. Oluvanyuma lw’enakku satu nga maze okufumbirwa, omwami wange yayingira amajje, muganda w’omwami wange (omukko) yatabuka omutwe. Yali wa myaka 22. ne nyazaala wange ku myaka 50 yaziba amaaso. Ennaku ezo zali nzibu nnyo.

Nali ndowooza nti ndi beera mwavu obulamu bwange bwonna, kubanga sasooma era nali siri

Page 260: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

260 Obujulizi bw’Obulokozi

mulingi. Nyazaala wange yali ayagala nnyo okulongoosebwa naye obusobozi obumutwala mu ddwaliro nali sibulina. Esente ezigula eddagala zali tezirabika. Nali nsuubira nti akaseera keyali anamala nga mulwadde kanabeera katono.

Kati nina emyaka 54. nyazaala wange yaffa emyaka ebiri emabega. Abantu baffe (abakoleya) bakkiriza nti kyamuzizo okuzizika omulambo ne pillo (ku mutwe) nga guli mu sanduuko. Nze ekyo nali sikimanyi era nyazaala wanga namuzizika ne pillo so n’okumuziika twamuziika nayo.

Okuva kw’olwo nyazaala wange yandabikiranga mu birooto. Nanakuwala nnyo, kubanga nakola eky’omuzizo; ate ne bwe yali nga akyali ku nsi, namukambuwalira nnyo. Abantu abalala bali beyisa bulungi eri baynazaala ne basezaala babwe. Nze nali nina bukyayi bwereere. Nabonyabonyezebwa ebirowoozo ebikyamu (oluvanyuma lw’okuffa kwa nyazaala).

Nina omulenzi omu n’abawala bana. Natya nnyo, kubanga nali nsuubira nti ekintu ekibi kigenda kubeera ku mutabani wange. Bwe nabuulira kubaliraanwa bange, baŋŋamba nti nalina omwoyo omubi era gwali gulina okugobebwa. Bano abaŋŋamba bali bashamani (enzikiriza mu koleya). Nagenda mu masinzizo gabashammani nenvvunamira bakatonda babwe nembasaba okunyamba naye sa funna buyambi.

Banange singa sa funna Yesu nandi bade si kyali wano leero. Olunaku lumu, nadduka n’enva mu nju ne ŋŋenda ew’abawala bange okuwumula era nfune nekuddagala. Ku lunaku olwo Katonda lwe yandaga obulamu bwange. Omu kubawala bange mulokole. yayita omukyala w’omusumbawe agye ayogereko nange. Omukyala ono yagya nabakyala abalala era bayogera nange.

Nali sirina kye manyi ku Katonda. Bwe baŋŋamba nti Yesu yaggyawo ebibi byange

Page 261: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

261 Obujulizi bw’Obulokozi

byonna, nange nasalawo okukkiriza ekigambo kye. Nagananga bawala bange okugenda mu kkanisa, kubanga nalowooza nti balikomawo n’emikisa emibi nga sagala kubeera na bakatonda babiri mu nju emu. Naye nali mwenyamivu nnyo era nali saagala kuffa nga mwonoonyi.

Omukyala w’omusumba yaŋŋamba nti abantu bonna bazaalibwa nga bonoonyi; naye katonda aggyewo ebibi byaffe byonna okuyita mu Yesu Kristo era tetukyali bonoonyi nate, singa tukkiriza mu Yesu Kristo. Natandikanga okugenda mu Kanisa era najjumbiranga nnyo okusaba,nengezaako okuwuliriza ekigambo kya Katonda, newankubadde ebisinga nali sibitegeera. Oluvanyuma lw’ekiseera natandika okutegeera ekigambo. Nazuula nti ndi mwonoonyi atasobola kwe yamba; era namanya nti enowooza zange oluusi zali mbi; era nakino kyali kibi mu maaso ga Katonda.

Enkola ey’okuwayo ssaddaakka mu ndagaano

enkadde, y’engeri Katonda gye yakozesa okutulaga ebirungi byatutegekedde. Era Yesu, yateekebwako emikono kulunaku lwe yali abatizibwa Yokaana omubatiza, era ebibi byange byonna byateekebwa ku Yesu n’okuffa n’anfirira kumusalaba. Nakizuula oluvanyuma nti sirina kibi era tewali n’omu yali asanidde okunsalira omusango. Okuva kw’olwo nali nsobola okwebaka mu mirembe. “Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu” (Abaruumi 8:1). nabonabona nyo n’ekibi mu mutima gwange, naye kakati ekibi kigenze. Si kyalina birooto bikyamu.

Kyempulira si yinza kukissa bulungi mu buwandiike, naye nsobola okubuulira buli gwensanga ku mawulira amalungi, nga Yesu bwe yaggyawo ekibi mu mutima gwange. Nsaba era nkya suubira nti Yesu ajja kulokola omwami wange awamu n’abenju yange abatanaba kumumanya; nga bwe nalokoka nzikkiriza nti

Page 262: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

262 Obujulizi bw’Obulokozi

naba bajja kulokoka nkya suubira nti obujulizi buno bunayamba bangi okulokoka bakkirize Yesu.

Nebaza nyo katonda eyandokola, era ndi musanyufu nnyo kubanga nsobola okubunya enjiri eri abantu bensanga. Kakati sikyalina buggya eri abagagga nabo abalabika nti bansinga.

Ku lw’Enjiri ey’amazima eyabuulirwa mu Moscow.

Sister Belova Lyssa Moscow, Russia

Ka ntuuse okulamusa kwange eri obuweereza

bwonna mu Koleya, mu linnya lya Yesu. Njagala ate okugabana namwe ku nsonga eyakyussa obulamu bwange bwonna.

Emyaka mitono emabega nali mu lukuŋŋana mu Moscow, n’empulira ekigambo kya Katonda. Bwe nali mu trainingi e’Koleya mu mwaka ogwaddako, n’era nawulira ku kigambo eky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri (okuzaalibwa omwoyo n’amazzi). Kyansanyusa nyo okumanya nti nasumululwa mu era naggibwako ebibi!

Kati wayiseewo emyaka 6 okuva lwe nakkiriza mu Yesu. Nga sinaba “kuzaalibwa gwakubiri”, nalowooza nti ndi mwonoonyi nyo era nali nina okwenenya emirundi mingi. Nasabanga bulijo era ne’nenenyanga buli lwe naggwa mu kibi. Nali nabatizibwa mu mazzi, naye nga si nazaalibwa mulundi gwakubiri. Nazuula nti ndi mwonoonyi alina ebibi bingi mu mutima. Nali sikoowa kusaba katonda kisonyiwo. Ebibi byange byantuluguyanga omwoyo. Naye nakkiriza ddala nti Katonda talindekka mu kunakuwala kuno era alindokola.

Page 263: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

263 Obujulizi bw’Obulokozi

Katonda yanuŋŋamya eri omuweereza eyali alokose (azaalidwa ogwokubiri). Okuyita mu muweereza oyo nasobola okuwulira enjiri; enjiri ey’amazima ey’obulokozi. Nayiga nti Yesu yanaaza ebibi byange n’okubatiza kwe naffa kumusalaba era kati si kyali mwonoonyi era omutima gwange gujjudde essanyu!

Eyali asaba essaala z’ekisonyiwo si kyazisaba. Nsiiba nebaza Katonda buli lunaku era obulamu bwange bufunye emirembe n’essanyu. Manyi nti teriyo njiri ndala yonna ey’amazima ng’eno. Kyensaba kye kino; nti okukkiriza kwange kunywerera ddala. Katonda neyongera okumwebaza n’okumutendereza bulijjo era nzikkiriza nti teri kukkiriza kusinga kuno okwaffe abalokole (abazaalida ogw’okubiri).

Kati nina eddembe, kubanga nkakasa nti nja kuyingira obwakabaka bwomuggulu ku nkomerero. Kakati mpeereza Katonda mu kubuulira enjiri eri abantu bensisinkana. Nina

essanyu (era ntambulira mu ssanyu) eritagambika nga ngabana okwagala kwa Katonda eri abantu b’ensi yonna.

Kakati, nina okukkiriza okunywevu (okunyeredde) mu Kristo.

Peter Chris, Teenagers for Christ, Nigeria Bwe nasoma ekitabo kino, namanya

obutuukirivu bwakatonda; kwe kubatiza kwa Yesu n’okufa kwe kumusalaba. Bino byombi bikwatagana, era byetagisa okutuukiriza obulokozi bwaffe. Okubatiza kwa Yesu (Yokaana bwe yamuteekako emikono ng’amubatiza) kwaggyawo ebibi by’abantu fenna. Olwo kumusalaba ng’affa Yesu yetikka omusango gw’ebibi byaffe fenna, kubanga

Page 264: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

264 Obujulizi bw’Obulokozi

yafuuka ekibi kulwaffe. Kale nno singa sakkiriza kubatiza kwe n’okuffa kwe kumusalaba, obulokozi bwange tebwandituukiridde (newankubadde nga Katonda byonna abituukiriza).

Wadde nakkiriza Kristo oluusi nyonoona, naye siri mwonoonyi, kubanga Kristo atamanyi kibi kyonna yafuuka omubi (omwonoonyi) nange ndyoke nfuuke obutuukirivu bwa Katonda. Bwe nasoma ekitabo kyo, nafunna okukkiriza okunywevu mu mulimu gw’obulokozi bwa Kristo okuyita mu kubatiza kwe n’omusalaba. Manyi nti ebibi byange byonna biggibwawo okuyita mu Yesu Kristo. Ng’omulokole, nkola buli ky’ensobola okwewala ekintu kyonna ekinansuula mu kibi. Tulina okumanya nti Kristo yasasulira ebyonono byaffe byonna, tuleme okw’enyumiriza mu kibi nate, kubanga bwe tunenyumiriza mukyo, tujja kuba tunyooma ekisa kye ekirokola.

Yesu yetikka ebibi byange.

Pastor Timothy Katola, Kenya Katonda akuwe nnyo omukisa Rev. Paul C.

Jong. Mukama yebale okukusobozesa okuwandiika ekitabo ekyo “ddala wazaalibwa nate amazzi n’omwoyo?” n’otangaaza kumazima ag’enjiri. Wiiki ntono nyo emabega, nga mazze okusoma ekitabo kino, natandika okutegera obununuzi bwenafuna okuyita mu kufa kwe mukama waffe Yesu Kristo. Amazima g’okubatiza kwe mu mugga Yoludaani gatuwa ffe abakkiriza obuvumu nti omugugu gw’ekibi gutuggibwako bwe tukkiriza mu njiri.

Yokaana omubatiza, mu ndagaano empya, ye yali nga Alooni, kabona omukulu mu ndagaano enkadde. Alooni yawangayo ebiweebwayo kulw’abaana baisiraeri ng’asaba Katonda

Page 265: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

265 Obujulizi bw’Obulokozi

abasonyiwe. Yateekanga emikono gye ku mitwe gy’emitango nga yegayirira Katonda abasonyiwe, abaana ba Isiraeri. Ne Yesu naye, yaggyawo ebibi byaffe byonna ku lunaku luli Yokaana omubatiza bwe yamuteekako emikono gye. Bakabona abakulu bawangayo ssaddaakka buli mwaka, “naye mw’ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. Kubanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi.” (Abaebbulaniya 10:3-4). Wabula Kristo ye yaffa mulindi gumu; ate ng’affirira abantu fenna. Bwetukkiriza mu Yesu Kristo, tusonyiyibwa ebyonoono byaffe omulundi gumu.

Paul C. Jong atulaga bulungi ng’ebibi byaffe bwe byateekebwa ku Yesu era ekibi tekirina kutuleetera buzibu nate. Nze sikyali mwonoonyi, kubanga nasonyiyibwa era YESU Y’ETIKKA EBIBI BYANGE okuyita mu kubatiza kwe nanfirira kumusalaba.

Abantu fenna tutawanyizibwa n’ekizibu

ky’okusumulibwa okuva ku muntu ow’edda (endowooza n’eneyisa ey’ekibi). Kino ekitabo kitulagira era kitusomeseza ddala okutambulira mu bulamu obutalina kibi na kwesalira musango nga tutambulira mu kukkiriza. Twebaza katonda olw’okubikulirwa kwa wadde omuddu we Paul C. Jong.

Page 266: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

266 Obujulizi bw’Obulokozi

Banange! Kino kya kyewunyo!

Missionary Brucilla Johnson, USA Mbalamusiza mu linnya lya Mukama waffe

Yesu Kristo omulokozi waffe. Njagala okuddamu ekibuuzo kye nafuna mu bbaluwa gyenafuna: Lwaki Yokaana omubatiza yateeka emikono gye ku Yesu bwe yali amubatiza mu mugga Yoludaani?”

Lino lye lyali etteekka ly’okutangirira mu ndagaano enkadde. Katonda Yalagira Musa okwawula muganda we Alooni, kabona omukulu eyasooka. Alooni yali alina okuteeka emikono gye ku mutwe gw’omutango (emirundi egisinga yali mbuzi) nayatulirako ebibi by’abaana ba iserairi. (Isaaya 53:3-5). Oluvanyuma, embuzi yatwalanga ebibi n’ebyonoono byabaana baiserairi era yasindikirizibwanga mu ddungu

(Eby’abaleevi 16:21-22). Mu ngeri y’emu, Yokaana omubatiza yateeka

emikono gye ku Yesu (nga tanaba kutandika kubunya njiri) Yesu yakkiriza okw’etowaza nabatizibwa Yokaana omubatiza, asobole okugyawo ebibi by’abantu fenna.

Yesu yetikka ebibi byaffe byonna ku mutwe gwe ne kukibegebega (Isaaya 53:3-5, Matayo 3:13-17). Yesu bwe yabatizibwa, yaggyawo ebibi byaffe (Yokaana 1:29).

Baibuli egamba nti, tugwa netuyimuka (zabuli 37:23-24), fenna twayonoona (abaruumi 3:23), muffe tmuli mutuukirivu (Abaruumi 3:10-12). Wabula Mukama yebazibwe! Halleluya, kubanga olw’ekisa kye twalokolebwa (Abaefeso 2:8, 1 Yokaana 1:9). Omwana gw’endiga owa Katonda y’ettikka era yatwala empeera y’ekibi kyaffe okuyita mu kubatiza kwe n’okufa kwe kumusalaba.

Kati sirina kibi, kubanga nalokolebwa

Page 267: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

267 Obujulizi bw’Obulokozi

(olw’ekisa kya Yesu Kristo mu kukkiriza) rea ebibi byange byaggibwawo, okuyita mu kubatiza n’omusaayi gw’omwana gw’endiga. Mazima tulina okudda tukkirize mu njiri y’amazzi n’omwoyo; kino kitegeeza nti tulina okubeera n’emyoyo egiboneredde n’emitima egyetegese okukkiriza amazima. Era mukama waffe Yesu anatusonyiwa ebibi byaffe era atuwonye mu buli kirwadde n’obutali butuukirivu (1 Yokaana 1:9, Eby’omumirembe eky’okubiri 7:14, 3 Yokaana 2). Kino Katonda akikola nga ayita mu bununuzi bw’atutegekedde mu njiri eno ey’amazzi n’omwoyo.

Okudda ku njiri eno ey’amazzi n’omwoyo, kitugwanira ffe okwatula ekibi kyetukoze era ne tukyusibwa mu ndowooza yaffe (ne mu mwoyo) ne tubatizibwa n’omwoyo omutukuvu. (ebikolwa by’abatume). Nina essanyu lingi nnyo bwe nsoma ekitabo kino era nfunna okutegeera okw’ekigambo kya Katonda. Katonda ampadde

okumanya kwe nnali si suubira kufuna banange! Kino kya kyewunyo!

Page 268: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

268 Obujulizi bw’Obulokozi

Nali mwonoonyi atalina suubi.

Mrs. Alderman, USA Okusookera ddala, Katonda yatuma omuddu

we Yokaana omubatiza abatize omwana we Yesu Kristo. Kino yakikola, kubanga Katonda yali ategeka ekkubo ly’obulokozi. Yokaana yateeka ebibi bye ku Yesu mu mugga Yoludaani. Kino kye kyali ekikolwa kya muntu omu, ekya gyawo ebibi by’abantu fenna. Yesu Kristo bwe yabatizibwa, yaggyawo ebibi by’ensi yonna. Yesu yawaayo obulamu bwe ku musalaba okusasula empeera y’ekibi kyaffe; yasasula empeera y’ekibi kyaffe n’okuffa kwe.

Ebibi byaffe byateekebwa ku Yesu, era ye yalamulibwa mu kifo kyaffe asobole okulokola abantu bonna. Yesu yali alina okuggyawo ebibi byabwe byonna era abafirire. Omuntu abeera mu

kibi bw’aba takkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba. N’olwekyo, obutakkiriza kigambo kya Katonda nakyo kibi; ng’okuwaba okuva kumazima nakyo bwe kiri ekibi. Omuntu bwatakkiriza mu mazima nti Yesu yabatizibwa n’affa kumusalaba, era nazuukira nga bwe kyawandiikibwa, abeera mu kibi.

Bwe twenenya ne tukkiriza nti tuli bonoonyi mu maaso ga Katonda, ne tukkiriza mu Yesu Kristo omwana we eyatulokola okuva mu buli kibi, tununulibwa ddala okuva mu kibi (bulamu obw’ekibi). N’olwekyo, tulina okukkiriza mu kubatiza n’omusaayi ogwa Yesu ogwatunazaako buli kibi. Bwe nnali sinaba kukkiriza Yesu Kristo ne mu kubatiza kwe, nnali mwonoonyi atalina suubi. Singa Yesu teyabatizibwa Yokaana omubatiza, nandisigadde nga nkyali mwonoonyi atalina suubi, era abuzze.

Page 269: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

269 Obujulizi bw’Obulokozi

Kakati nsobola okuyimirira mu maaso ga Katonda.

Pastor Steven Icke, England Mu ndagaano enkadde,kabona omukulu

yateekanga emikono gye ku mutwe gw’ekiweebwayo okuteekako ebibi. (Eby’abaleevi 16:3-4). Ekikolwa eky’okuteekako emikono kyali kyamuwendo nnyo kulunaku lw’okutangirira. Singa emikono tegyateekebwangako (ku ssaddaakka), ekikolwa eky’okuwaayo tekyandituukirizibwa, kubanga okutangirira kw’ebibi kwali tekusoboka awatali kuteekako mikono ku kiweebwayo (ssaddaakka).

Mu eby’abaleevi 16:21 tusoma nti, “Awo Alooni anateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n’ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw’abaana ba

Isiraeri, n’ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n’abisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw’omuntu eyeeteeseteese.”

Alooni yaddira embuzi bbiri okuba ebiwebwaayo, n’mbuzzi ensajja okuba ekiwebwayo ekyokebwa okuva mu bantu. Oluvanyuma yawangayo ebuzzi ebbiri mu maaso ga Katonda ku mulyango gw’eweema, n’akuba akalulu asobole okulonda embuzi eya Katonda n’endala okubeera omutango. Embuzi ya Katonda yaweebwangayo ng’ekiwebwayo olw’ekibi. Embuzi y’omutango yaweebwangayo nga nnamu mu maaso ga Katonda okutangirira ebibi by’abantu ba Isiraeri oluvanyuma n’esindikirizibwa mu ddungu (Eby’abaleevi 16:7-10).

Ebibi bya Isiraeri byali birina okuteekebwa ku mutango guno (kabona lwe yateekanga emikono gwe ku mutwe gw’embuzi). Embuzi eno, eyettikka ebibi bya Isiraeri, yasindikirizibwanga mu ddungu. Kano kali kabonero ka mirembe

Page 270: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

270 Obujulizi bw’Obulokozi

wakati wa Katonda n’abantu be. N’olwekyo ebibi bya Isiraeri eby’omwaka byaggibwawo. Mu ngeri y’emu, mu ndagaano enkadde, Yesu Kristo yabatizibwa (akabonero ak’okuteeka emikono ku mutango mu ndagaano enkadde) Yokaana omubatiza, kabona asembayo okuva mu lulyo lwa Alooni. Era Yesu yaggyawo ebibi by’ensi nga omwana g’endiga okutuukiriza obulokozi bwa Katonda (Eby’abaleevi 20:22, Matayo 3:15, Yokaana 1:29, 36).

Mu ndagaano enkadde, nga obululu tebunakubibwa, Alooni yattanga ensolo ensajja okubeera ekiweebwayo olw’ekibi eri ye n’abenjju ye (Eby’abaleevi 16:11). Oluvanyuma yaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag’omuliro ng’agagya mu kyoto mu maaso ga Mukama, n’embatu ze nga zijjudde obubaane obw’akaloosa obusekuddwa ennyo, nabuleeta munda w’eggigi: y’ateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka

gw’obubaane gubikke ku ntebe ey’okusasira eri ku bujulirwa, Alooni aleme okufa. Yaddiranga n’omusaayi gw’ente n’agumansira n’engalo ze ku ntebe y’okusasira emirundi musanvu (eby’abaleevi 16:12-19).

Ku lunaku lw’okutangirira, Alooni yali alina okuteeka emikono gye kukiweebwayo. Yateekangako ebibi by’abaana ba Isiraeri ku mutwe gw’omutango. Oluvanyuma omuntu eyeeteeseteese yaddiranga embuzi n’agisindikiriza mu ddungu. Eyo omutango guno gyegwatabaaliranga, n’ebibi by’abaana ba isiraeri okutuusa lwe gwaffa. Eno ye yali enkola y’okutangirira ebibi mu ndagaano enkadde.

Mu ndagaano empya, enkola y’emu, wabula waliwo enjawulo. Yesu Kristo, omutango gwaffe, yetikka ebibi y’ensi yonna nabiggyawo bwe yabatizibwa n’affa kumusalaba ku lwaffe. N’olwekyo obulokozi bw’ensi yonna tebwandituukiridde awatali kubatiza

Page 271: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

271 Obujulizi bw’Obulokozi

n’okukomererwa kwa Yesu Kristo ku musalaba. Yesu era ye kabona waffe omukulu ava mu ggulu. Yesu y’oyo “Aggyawo ebibi by’ensi” (Yokaana 1:29) era ye yatwala ebibi byange n’abisasulira. Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna (ng’era abaana ba Isiraeri mu ndagaano enkadde bwe bawangayo ebiweebwayo nebasonyiyibwa). Eno y’ensonga lwaki Yesu Kristo eyazaalibwa omwoyo omutukuvu (Matayo 1:20) yafuuka ekikolimo n’akomererwa kumusalaba (Abagalatiya 3:13). “Kkiriza kaakano, kubanga kiŋŋwanira okutuukiriza obutuukirivu bwonna” (Matayo 3:15).

Yokaana omubatiza, Kabona omukulu yabatiza era yateeka ebibi by’nsi yonna ku Yesu, omwana gw’endiga ataliiko kibi kyonna.Yesu nasasulira ebibi byange kumusalaba. Eno y’enjiri ey’amazima eyanfuula omutuukirivu. Nnali mwonoonyi, kati ndi mutuukirivu. “eby’edda nga biweddewo; laba nga bifuuse biggya” (2 Abakkolinso 5:17). N’enennya

(Ebikolwaby’abatume 11:18) n’embatizibwa mu Kristo, era tebakyalina musango abo abali mu Kristo (Abaruumi 8:1). Kakati ntambulira mu kisa kya Katonda era nebaza Katonda eyandokola. Newankubadde nyonoona oluusi nkomawo mu kukkiriza (mu kubatiza kwa Yesu n’okuffa kwe kumusalaba) ne manya nti Yesu yasasula empeera y’ekibi kyange, era kulw’ekisa kye nsonyiyibwa MUKAMA YEBAZIBWE!

Kakati sikyalina kibi, newankubadde nyonoona bulijo. Nga bwe kyawandiikibwa, “Empeera y’ekibi kuffa” (Abaruumi 6:23). Nakizuula nti siyinza kuyimirira mu maaso ga Katonda n’ebibi byange ebyali binzitoweredde mu mutima, naye KATONDA ANJAGALA. Yatuma omwana we Yesu Kristo okundokola.

“Laba omwana gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi!” (Yokaana 1:29) Namanya nti mu kibi ky’ensi mwe mwali ebibi byange. Yesu yabiggyawo byonna, ebya jjo, ebya

Page 272: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

272 Obujulizi bw’Obulokozi

leero n’eby’enkya. Yesu yabiggyawo byonna ku lunaku lwe yabatizibwa.

“Yesu yagamba Yokaana nti kkiriza kaakano, kubanga kitugwanira fenna okutuukiriza obutuukirivu” (Matayo 3:15). Nange nakkiriza nti ebibi byange byonna byateekebwa ku Yesu ku lunaku luli Yokaana omubatiza lwe yamubatiza, oluvanyuma nga wayisewo ebbanga Yesu yaffa kumusalaba ku lwange. “kubanga obulamu bw’ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangirira obulamu bwamwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw’obulamu.” (Eby’abaleevi 17:11). Yesu nga tanaffa yagamba nti “kiwedde!” (Yokaana 19:30). Yafumitibwa mu mbirizi era omusaayi n’amazzi nebibifubutukayo (Yokaana 19:34). Bwe yafumitibwaekisenge ky’ekibi, ekyawula omuntu ku Katonda nekimenyeka. Kakati nsobola okuyimirira n’obuvumu mu maaso ga Katonda, kubanga nanunulibwa.

Kakati nzikkiriza ddala mu njiri ey’amazzi n’omwoyo.

Brother Godson, India

Mu byawandiikibwa tunyonyolwa bulungi ku kubatiza kwa Yesu. Mu Yokaana 3:5 tusoma nti “omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwa’kubiri mazzi na mwoyo, tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Amazzi agogerwako wano kwe kubatiza kwa Yesu Kristo; era olunyiriri lutulaga nti ekkubo eritutuusa mu maaso ga Katonda liri limu. Awatali kukkiriza mu kubatiza kwa Yesu tetuyinza kulokoka. Yesu Kyakulabirako (kifaananyi) gye tuli eky’obulokozi. (1 Peetero 3:21).

Tetuyinza kununulibwa mu maaso ga Katonda nga tukkiriza mu kufa kwe kumusalaba kwokka. Mu ndagaano enkadde, abaana ba Isiraeri singa bawangayo ebiweebwayo nga tebanaabye

Page 273: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

273 Obujulizi bw’Obulokozi

mungalo kino kyandibadde kikyamu. Naye Yokaana omubatiza, kabona omukulu eyakiikirira abantu fenna mu ndagaano empya, yateeka emikono gye ku Yesu bwe yali ng’amubatiza namuteekako ebibi by’ensi yonna.

Yesu yalina okutuukkiriza obutuukirivu bwonna eri abantu fenna okuyita mu kubatiza kwe. Kale Yokaana omubatiza yajulira ku Yesu ng’agamba nti, “Laba omwana gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi.” (Yokaana 1:29). Yesu bwe yettikka ebibi by’abantu fenna, n’atambula ng’ayolekera omusalaba okutwala omusango gwaffe. Nakkiriza okukomererwa kumusalaba ng’agamba nti, “Kiwedde” (Yokaana 19:30).

Yesu Kristo yaggyawo ebibi byaffe fenna, n’ebyo ebyakolebwa nga tetunaba kuzaalibwa. Byonna yabiggyawo. Ebibi by’etutasuubira kukola mumaaso, naye bye tukola, nabyo biri mu tuluba eryo ery’ebibi by’ensi. Kale ebibi by’ensi yonna byateekebwa ku Yesu emyaka 2000

emabega. Teyalekayo kibi kyonna, wabula ebibi byaffe byonna, ebyajjo (emabega), leero (kakati) n’enkya (eby’omumaaso) Yesu yaby’etikka omulundi gumu nabisasulira.

“Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo” (Abagalatiya 3:27). Okubatizibwa mu Kristo kitegeeza ki? Kitegeeza nti tuli bumu ne Kristo bwe tukkiriza mu Kubatiza kwe. Yesu bwe yabatizibwa, ebibi byaffe byateekebwa ku ye okuyita mu Yokaana omubatiza; era n’ebyonoono byaffe byaggibwawo. Kakati tetulina kibi. Bwe tukkiriza okubatiza kwa Yesu mu mitima gyaffe, tufuuka abatuukirivu.

Enakku zino, abantu abasinga tebayinza kukakasa oba basonyiyibwa oba tebanasonyiyibwa. Obulamu bwabwe bwonna babumalira mukubuusabuusa. Naye singa bamalirira n’ebakkiriza enjiri eno (ey’okubatiza kwa Yesu), bayinza okwatula n’obuvumu nti

Page 274: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

274 Obujulizi bw’Obulokozi

tebakyalina kibi mu bo. Yesu yagamba nti fenna yatwawula. Bwe

tenenya bulijo, tufaananako ng’abo abazeyo mu ndagaano enkadde. Olw tetulifuuka batuukirivu. Newankubadde tukkiriza mu Katonda, tetuyinza kutambula mu bulamu buno nga tetwonoonye; era tetuyinza kwawulibwa nga twenenya buli kiseera. Twonoona emirundi mingi bulijo.

Mu kitabo ky’abaebbulaniya, tumanya nti ebbanja lyaffe lyasasulibwa omulundi gumu. N’olwekyo Yesu yabatizibwa omulundi gumu ne yewayo kumusalaba fenna tusobole okwawulibwa omulundi gumu. Ffe abantu tetununulibwa buli lwe twenenya, wabula tununulibwa okuva mu bibi byaffe omulundi gumu. “Mu ebyo by’ayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu.” (Abaebbulaniya 10:10). Kale tulina okukkiriza mu kubatiza kwe n’okukomererwa kwe kumusalaba.

Nzikkiriza ddala mu njiri ey’amazzi n’omwoyo era manyi nti y’enjiri ey’amazima. Nsuubiza okukola buli mulimu gwemperedwa (era gwempeebwa), kubanga Yesu neyongedde okumwagala okusinga ekintu kyonna era nina kumuweereza buweereza, kye kyokka ky’ensobola okumukolera.

Page 275: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

EBY’ENKOMERERO 2

Eby’okunyonyola ebirala

Page 276: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

276 Eby’okunyonyola ebirala

Eby’okunyonyola ebirala

Okununula Okuta ekintu oba omuntu oluvannyuma

lw’okukisasulira (lw’okumusasulira). Zino z’essenta omuntu z’asasula okufuna ekintu (okununula omuntu). Mu byawandiikibwa, ekigambo kino kikozesebwa okutulaga obununuzi (Okuva 21:30; Okubala 35:31-32; Isaaya 43:3). Mu ndagaano empya, mu Matayo 20:28 ne Makko 10:45, ky’ekikolwa eky’okusasula essente.

Okutangirira, Omutango. Enkola (ekikolwa) eky’okuteeka ebibi

by’abantu bonna ku Yesu. Mu ndagaano enkadde, ekikolwa eky’okuteeka emikono ku Ssaddaaka. Kabona yateeka emikono gye ku mutwe gw’ekiweebwayo. Mu ndagaano empya, ekikolwa ky’okutangirira kikwatagana n’okubatiza kwa Yesu Kristo mu mugga Yoludaani. (Yokaana bwe yali abatiza Yesu). Mu luyudaaya n’oluyonaani, amakulu g’ekigambo kino ge gano; okuteeka ekibi ku Yesu, ffe abonoonyi tulyoke tubeere n’enkolagana ennungi wakati waffe ne Katonda. Endagaano empya etunnyonola bulungi ku kikolwa kino. Tukiraba mu kubatiza kwe Yesu n’okufa kwe kumusalaba.

Mu ndagaano enkadde: Ekigambo ‘omutango’ kikozesebwa emirundi 100 mu ndagaano enkadde. Ekigambo kino mu luyudaaya kiwandiikidwa nga ‘kaphar’ (amakulu: okufuula omutango.kino tukiraba mu eby’abaleevi 23:27, 25:9, okubala 5:8). Amakulu amalala agali mu kigambo ‘omutango’ ge gano; okuteeka ebibi ku

Page 277: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

277 Eby’okunyonyola ebirala

ssaddaakka n’okugyatulirako ebibi by’abaana ba Iserairi ng’emikono gya kabona giteekedwa ku mutwe bgw’mbuzi (ssaddaaka) nga bwe kiwandiikidwa mu eby’abaleevi 16:20).

Mu ndagaano empya: ekigambo kino ‘omutango’ kikwatagana n’ekigambo ‘kpr’ mu lw’alamiya ekitegeeza ‘okubikka.’ Okubikka kuno kwe kubatiza okw’obununuzi obuva mu Yesu bwetusoma mu ndagaano empya. Yesu yajja mu nsi. Bwe yali alina emyaka asatu yabatizibwa. Kino yakikola asobole okulokola abantu bonna.

Omutango ogwo mu Baibuli. A. Mu ndagaano enkadde, ensolo etaliko

bulema (ssaddaakka) ye yali omutango. (okuva 30:10, Eby’abaleevi 1:3-5, 4:20-21, 16:6-22).

B. Ne mu ndagaano empya, enkola

ey’okutangirira teyakyuka nnyo. Enjawulo eyaliwo y’eno: mu ndagaano eno empya, Yesu Kristo omwana wa Katonda yeyaweebwayo ku lw’abantu fenna okutulokola. Omutume Paulo atugamba nti Yesu Kristo yatufirira (1 Abakolosaayi 15:3).

Ekigambo kino, ‘omutango’ kyakozesebwanga mu ngeri bibir; kukuggyawo ekibi eky’asooka (m lusuku Adeni), n’okuggyawo ebibi byaffe fenna abantu ebyyateekebwa ku Yesu (Matayo 3:15). Yalokola abantu fenna lwe yayiwa omusayi gwe kumusalaba (eby’abaleevi 1:1-5, Yokaana 19:30).

Omutume Paulo atunyonyola mu 2 Abakkolinso 5:14 nti, “…ng’omu yabafiirira bonna, bonna kyevaava bafa;” ne mu luyiriri olwa 21 tunyonyolwa nti “ku lwaffe” ate mu abaggalatiya 3:13, “…bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe:” enyiriri ntono nnyo mu ndagaano empya ez’ogera ku Yesu nga ssaddaaka (Abaefeso 5:2): mu Yokaana 1:29, 36, Amanyibwa ng’omwana

Page 278: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

278 Eby’okunyonyola ebirala

gw’endiga) ne mu 1 abakkolinso 5:7 (amanyidwa ng’okuyitako kwaffe).

Omutuma Paulo yakikakasa nti okubatiza kwa Yesu mu Yoludaani, ke kali akabonero ak’okutangirira ebibi by’ensi. Atunnyonyola mu Abaruumi 6 nti ebibiby’ensi yonna byateekebwa ku Yesu okuyita mu kubatiza kwe (Yokaana omubatiza lwe yamubatiza). Paulo yeyongera okutunyonyola nti, okukomererwa kwa Yesu gwe musango n’empeera y’ekibi, era ne ssaddaakka (Yesu Kristo) yaweebwayo ku lw’emeeme z’abantu fenna.

Okufa kwa Yesu kwatuukiriza entekateeka ya Katonda. Eno enteekateeka yaliwo ne mu ndagaano enkadde (mu nkola y’okuwaayo omutango ogutalina bulema). Ekikolwa eky’okuteekako emikono, mu ndagaano enkadde, n’okubatiza kwa Yesu, mu ndagaano empya, byonna bikwatagana n’amateeka ga Katonda (Isaaya 53:10, Matayo 3:13-17, Abaebbulaniya

7:1-10, 18, 1 Peteero 3:21). Endagaano empya tekoma ku kubatiza kwa

Yesu. Wabula tweyongera okuyiga nti okutuukirizibwa kw’obulokozi bwaffe kubeerawo bwe tukkiriza okubatizibwa mu Kristo, ne tufiira mu ye (Abaruumi 6:3-7, abagalatiya 2:19-20). Yokaana omubatiza yabatiza Yesu, kubanga Yesu ye yali atumiddwa okuggyawo ebibi by’ensi yonna; era oluvanyuma lwa byonna, yakomererwa naffa. Yesu Kristo, okuyita mu kubatiza kwe n’omusaayi, yaggyawo ebibi by’ensi byonna n’atulokola okuva mu manyi ga Setaani natuzzayo mu manyi ga Katonda. Kino yakikola lwe yakkiriza omusango gwaffe n’obulumi bwaffe abantu.

N’olwekyo, obununuzi (obulokozi) bwa Yesu bwaggyawo ekibi ekyali kiziyiza abantu okusemberera Katonda. Olwo Katonda naye yasobola okutabagana n’abantu be mu ddembe, n’abawa essanyu n’obulokozi (Abaruumi 5:11),

Page 279: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

279 Eby’okunyonyola ebirala

obulamu (Abaruumi 5:17-18) n’obununuzi (Matayo 3:15, Yokaana 1:29, abaebbulaniya 10:1-20, abaefeeso 1:7, abakolosaayi 1:14) byonna omulumu.

Olunakku olw’Omutango (olw’Okutangirira)

Mu Abbaebulaniya, ekigambo kino kitegeeza

‘okubikkirira’ oba ‘okutabagana.’ Mu bayudaaya, olunaku olw’omuwendo olusiinga lwali lunaku lwa mutango (olunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu. (Eby’abaleevi 23:27, 25:9). Tusoma mu by’abaleevi 16 nti Kabona omukulu yali tayinza kuyingira mu watukuvu okuggyako ng’atuukirizza ennono n’amateeka g’olunaku luno olw’omutango.

Ekifo kino mu weema, (awatukuvu) kyali kirina okutangirirwa. N’abaana ba Isiraeri n’abo

baali balina okutangirirwa. Kale nno, Kabona omukulu yali alina okuwaayo ssaddaakka (ng’ateeka emikono gye ku mutwe gw’omutango) asobole okutangirira ebibi by’abaana ba Isiraeri. Ku lunaku luno, Abaisiraeri balowoozanga ku bwonoonefu bwabwe ne ku Katonda.

Mu kiseera kye kimu (kulunaku luno) ebiweebwayo 15 (nga mwe muli n’omutango), ebiweebwayo ebyokebwa 12 n’ebiweebwayo 3 eby’okutangirira byaweebwayo eri Katonda (Eby’abaleevi 16:5-29, okubala 29:7-11). Bwe tubala ‘omwana gw’endiga’ gwetusomako mu kubala 28:8, tufuna ebiweebwayo ebyokebwa 13, n’ebiweebwayo eby’omutango bina.

Abaana ba Isiraeri batangiriranga ebibi by’omwaka ku lunaku olw’kkumi mu mwezi ogw’omusanvu. Mu ndagaano empya, olunaku olw’omutango olw’ensi yonna lwe lunaku Yesu Kristo lwe yabatizibwa Yokaana omubatiza. Lwe

Page 280: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

280 Eby’okunyonyola ebirala

lwali olunaku lw’abantu bonna olw’omutango.Lwe lunaku Katonda lwe yaggyawo ebibi by’ensi yonna (Matayo 3:13-17). Lwe lunaku Katonda “…lwe yatuukiriza obutuukirivu bwonna.”

Ssaddaakka ey’Omutango Mu ndagaano Enkadde: ssaddaakka

ey’okwawulibwa (kw’abaana ba Isiraeri) nayo yaweebwayo mu yeekalu. Kabona omukulu yeelongoosanga nateekako ebyambalo bya bafuta (mu kifo ky’engoye ezabulijjo), nalonda ente ento ensajja etaliiko bulema okuda ekiweebwayo olw’ekibi n’embuzi ensajja okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lulwe ne ku lw’enyumba ye (Eby’abaleevi 16:3-4). Kabona omukulu yateeka emikono gye ku mutwe gw’ebiweebwayo nayatulirako ebibi by’abantu eby’omwaka.

Ekikolwa eky’okuteekako emikono kyali kituundu kyamuwendo nnyo ku lunaku olw’omutango. Singa ekikolwa kino tekyakolebwa, okuwayo ssaddaakka tekwandikoleddwa, kubanga omutango gw’ekibi tegwandituukirizibwa awatali kuteekako mikono ku kiweebwayo olw’ekibi.

Mu eby’abaleevi 16:21, “Awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n’ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw’abaana ba Isiraeri, n’ebyonoono byabwe byonna; n’abiteeka ku mutwe gw’embuzi, nagisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw’omuntu eyeeteeseteese.”

Yatwalanga embuzi bibi okuba ebiweebwayo olw’ekibi n’embuzi ensajja ng’ekiweebwayo ekyokebwa okuva eri abantu (eby’abaleevi 16:5). Oluvanyuma yaleetanga embuzi bbiri mu maaso ga Katonda ku mulyango gw’eweema nakuba akalulu, asobole okulonda eya Mukama, n’endala

Page 281: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

281 Eby’okunyonyola ebirala

okubeera omutango. Embuzi eya londebwa okuba eya Katonda

yaweebwangayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Omutango gwaweebwayo nga mulamu mu maaso ga Katonda okutangirira ebibi by’abantu ba Isiraeri eby’omwaka era oluvanyuma n’esindiikirizibwa mu ddungu (Eby’abaleevi 16:7-10).

Ebibi bya Isiraeri byali birina okuteekebwa ku mutango nga Kabona omukulu amaze okutaakako emikono gye ku gwo. Olwo, omutango omutango negusindiikirizibwa mu ddungu. Kano kali kabonero akazza obuggya okutabagana wakati wa Katonda n’abantu be (okulaga nti ebibi byabwe eby’omwaka biggibwawo).

Mu ndagaano empya: Mu ngeri y’emu, Yesu Kristo yabatizibwa Yokaana omubatiza (Yokaana yamuteekako emikono, era ekikolwa kino kikwatagana n’eky’omundagaano enkadde)

n’aggyawo ebibi byonna eby’ensi ng’omwana gw’endiga okutuukiriza obulokozi bwa Katonda (Eby’abaleevi 20:22, Matayo 3:15, Yokaana 1:29, 36).

Mu ndagaano enkadde, nga tanaba kukuba kalulu, Alooni yatta embuzi ennume n’ebeera ekiweebwayo olw’ekibi ku lulwe n’enjju ye (Eby’abaleevi 16:11). Oluvanyuma yaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag’omuliro okuva mu kyoto mu maaso ga mukama nga embattu ze zijjudde obubaane obw’akaloosa obusekuddwa ennyo, nabuleeta munda w’eggigi. Awo yateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga mukama, omukka gw’obubaane gubikkenga ku ntebbe ey’okusaasira eri kubujulirwa, aleme okufa. Yaddiranga n’omusaayi ogw’ente ennume n’agumansira mu maaso g’entebe ey’okusasira emirundi musanvu. (eby’abaleevi 16:12-19).

Ku kunaku lw’omutango, ekikolwa kya Alooni kye yakola eky’okuteekako emikono

Page 282: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

282 Eby’okunyonyola ebirala

kyali tekisobola kuggibwawo. Alooni yateekanga emikono gye ku mutwe gw’embuzi n’ateekako ebibi byonna ebya Isiraeri ku mutwe gwayo. Omusajja eyeteeseteese yatwala embuzi mu ddungu nagisindiikiriza. Omutango guno gwatabalanga mu ddungu n’ebibi bya Isiraeri. Oluvanyuma lw’ekiseera embuzi eno yamala n’effa. Eno ye yali enkola ey’okutangirira mu ndagaano enkadde.

Kye kimu mu ndagaano empya. Eky’enjawulo kye kino: omutango mu ndagaano empya ye Yesu eyaggyawo ebibi byonna eby’ensi okuyita mu kubatiza kwe n’okufa kwe kumusalaba ku lwaffe fenna.

N’olwekyo kati, obulokozi obutujja mu buli kibi tebuyinza kufunibwa awatali kubatiza n’okukomererwa kwa Yesu Kristo, kabona ow’omuggulu. Kuno kwe kutuukiriza obulokozi obw’okuzaalibwa nate amazzi n’omwoyo.

Okuteekako Emikono (okwawulibwa).

Kino ekikolwa kyaweebwa Katonda okubeera

enkola ey’okuteeka ekibi ku kiweebwayo olw’ekibi mu ndagaano enkadde (Eby’abaleevi 4:29, 16:21). Mu nakku z’endagaano enkadde, Katonda yakkirizanga abantu okutangiriranga ebibi byabwe nga bateeka emikono ku mitwe gy’ebiweebwayo olw’ekibi munda mu weema. Kino kyabwo okubeera akabonero akatulaga okubatiza kwa Yesu okwali kugenda okuggya mu ndagaano empya.

Okubatiza

Okubatiza kutegeeza okunaazibwa okuziikibwa (okunyikirwa) ate mu kutegeera

Page 283: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

283 Eby’okunyonyola ebirala

okw’omwoyo, okuteeka ekibi ku kiweebwayo (ng’okitadekko emikono).

Mu ndagaano empya, okubatiza kwa Yesu (Yokaana omubatiza lwe yamubatiza) kwaggyawo ebibi by’ensi yonna. “Okubatiza kwa Yesu” kwe kuggyawo ebibi by’abantu bonna ab’ensi.

Yesu yabatizibwa Yokaana omubatiza (omukiise w’abantu bonna era kabona omukulu ava mu lulyo lwa Alooni) neyettikka ebibi byonna eby’ensi. Guno gwe gwali omugaso gw’okubatiza kwe.

Amakulu ag’omwoyo ag’ekigambo kino ‘okubatiza’ ge gano: ‘okuteekako’ oba ‘okuziikibwa.’ Kale mu “kubatiza kwa Yesu” tumanya nti ebibi byonna byateekebwa ku Yesu era yatwala omusango ku lwaffe. Yesu yali alina okuggyawo ebibi byaffe n’okubatiza kwe, alyoke atulokole fenna.

Kale nno, okufa kwa Yesu kumusalaba

kululwo (ne kulwange n’ababi fenna) kwe kufa kwaffe; era n’okuzuukira kwe kwe kuzuukira kwaffe abantu fenna. Ssaddaakka ye Yesu bwe bulokozi bw’abonoonyi ate n’okubatiza kwe bwe bujulizi bw’okusonyiyibwa ebibi by’abantu bonna.

Mu byawandiikibwa tusoma nti, “era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky’amazima, kwe kubatizibwa…” (1 Peetero 3:21). Okubatiza kwa Yesu lye kkubo ery’obutuukirivu ery’okulokola abantu okuyita mu kusonyiyibwa ebibi.

Ekibi Buli ekikontana ne Katonda kibi. Muno mwe

muli ebibi byonna okuviira ddala ku kibi eky’olubereberye (mu lusuku) okutuusa kubibi byetukola bulijjo mu bulamu bwaffe. Ekigambo

Page 284: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

284 Eby’okunyonyola ebirala

kino ‘ekibi’ kiva mu kigambo ky’oluyonaani ‘hamartia’ oba ‘hamartano’ amakulu gakyo ‘okusubwa ebisanyizo’ oba ‘obutasanira.’ Ekimu ku bibi byaffe abantu kwe kukkiriza Yesu mu ngeri enkyamu. Tuba tetuyinza kulokolebwa. Omuntu bwamanya amazima natagakkiriza abeera ajjemye Katonda era ekyo kiba kibi.

Bwe tuba tetwagala kugyemera katonda, tulina okufuna okumanya okutuufu okw’ekigambo kye n’okutegeera amazima nti Yesu afuuse omulokozi waffe. Tulina okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba gwe. Bwe tugaana okukkiriza mu kigambo kya Katonda, tuwaba okuva ku mazima ne tukkiriza mu ndowooza enkyamu.

Baibuli eyogera kukibi ‘eky’okufa’ (1 Yokaana 5:16), kwe kugaana okukkiriza nti Katonda yaggyawo ebibi byonna eby’ensi. Tulina okukkiriza mu kuzaalibwa kwa Yesu, mu kusonyiyibwa ebibi okuyita mu kubatiza kwe, ne

mu kutuwa obulamu n’omusaayi gwe ku musalaba. Omuntu atakkiriza mu byawandiikibwa (ebitugamba nti Yesu yabatizibwa, nafa kumusalaba n’azuukira mu bafu okutulokola), abeera mwonoonyi.

Okwenenya Omuntu awabye okuva ku Katonda bw’amala

n’amanya ekibi kye ne yebaza Yesu okumusonyiwa, nakomawo eri Katonda, ekikolwa kino kyakozze kye tuyita okwenenya.

Fenna abantu tujjudde ekibi. Okwenenya okw’amazima kwe kukkiriza bino wamanga: nti tuli bonoonyi mu maaso ga Katonda, nti tuli bonoonyi abolekedde geyena, nti tulina okukkiriza Yesu ng’omulokozi waffe nti yajja okulokola abonoonyi nga ffe naggyawo ebibi byaffe (okuyita mu kubatiza kwe), nti yafa

Page 285: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

285 Eby’okunyonyola ebirala

n’azuukira alyoke atulokole. Okwenenya okw’amazima kwe kuleka ebirowoozo byaffe n’okukyuka okuda eri katonda (Ebikolwa by’abatume 2:38).

Okwenenya kwe kwatula ebibi n’okudda ku kigambo kya Katonda n’okukkiriza obulokozi obw’amazzi n’omusaayi n’emitima gyaffe gyonna (1 Yokaana 5:6).

Okwenenya okw’amazima kwe kwemanya ffe nti tuli bonoonyi ddala era kitugwanira okukkiriza mu Yesu, omwana wa Katonda era omulokozi waffe eyatulokola okuva mu bibi byaffe. Okugyako nga ffe abantu tulekeddawo okugezaako okwetukuza mu manyi gaffe, netukkiriza nti tuli bonoonyi ddala mu maaso ga Katonda, tetuyinza kusonyiyibwa.

Tulina okukkiriza amazima ag’obilokozi bwe; y’enjiri ey’amazzi n’omwoyo Yesu gye yatuwa n’okubatiza kwe n’omusaayi. Omwonoonyi alina okuva ku ndowooza ze zonna enkyamu, akyuke

adde eri Yesu. Bwe tukkiriza nti okubatiza kwe Yesu kwe kuggyawo ebibi byaffe, tunalokoka. Okubatiza kwe (Yesu) okukomererwa kwe kumusalaba, n’okuzuukira kwe bye bituukiriza obutuukirivu bwa Katonda (bwe bulokozi bw’abonoonyi bonna). Yesu yajja mu mubiri, yabatizibwa n’akomererwa okuggyawo ebibi byaffe byonna. Bwe tumanya netukkiriza nti Yesu yazuukira (okufuuka omulokozi w’abo bonna abamukkiriza) kuno kwe kwenenya era okukkiriza okw’amazima.

Obulokozi Obulokozi, mu ntegeera yaffe okw’ekikristayo,

butegeeza “okununulibwa okuva mu maanyi n’empeera y’ekibi.” Tufuna obulokozi bwe tumanya nti twali abonoonyi abolekedde geyena, naye ate oluvanyuma abakkiriza mu Yesu

Page 286: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

286 Eby’okunyonyola ebirala

ng’omulokozi waffe eyatulokola okuva mubibi byonna okuyita mu kuzalibwa kwe, okubatiza kwe n’okufa kwe kumusalaba. Abo abafuuse abatuukirivu olw’okukkiriza mu bulokozi bwa Yesu, okubatiza n’omusaayi gwe be bayitibwa ‘abalokole’ abazaaliddwa nate era abatuukirivu. Ng’omusajja agenda okubbira mu mazzi bwalokolebwa, so n’omuntu aganda okubbira mu nyanja y’ekibi bwalokolebwa, bw’akkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu; ensibuko y’ebigambo eby’amazima.

Okuzaalibwa nate (Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri; Okulokoka)

Ekigambo kino kitegeeza ‘okuzaalibwa

omulundi ogw’okubiri.’ Omwonoonyi azaalibwa

omulundi ogw’okubiri nafuuka omutuukirivu bw’akkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba gwe. Bwe tukkiriza mukubatiza n’omusaayi gwa Yesu Kristo, tulokoka mu mwoyo. Abalokola bebo abaggudwako ebibi byabwe byonna era abalindirira Kristo okulabika omulundi ogw’okubiri (Abaebbulaniya 9:27b).

Okuggibwako ebibi (okusonyiyibwa ebibi).

Ensonga eno ey’okusonyiyibwa y’amuwendo

nnyo. Ebibi byaffe byonna bisonyiyibwa, bwe tukkiriza enjiri y’amazzi n’omwoyo. Enjiri eno ye y’amazima era y’etulaga enono zino; Obwa’katonda bwa Yesu Kristo, embala ya Kristo (engeri ye nga Katonda gye yafuuka omuntu), okubatiza kwe n’okukomererwa kwe kumusalaba, n’ekyenkomereo okuzuukira kwe

Page 287: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

287 Eby’okunyonyola ebirala

(okuva mu bafu). Obununuzi Yesu bwe yaleeta bwaffe.tulina

kukkiriza bukkiriza mu kubatiza kwe n’omusaayi gwe gwe yayiwa. Nga bwe kyalagulwa mu ndagaano enkadde, Yesu ye yali omulokozi anaalokola abantu be okuva mu kibi. Obununuzi bwe tuyiga mu Kigambo busibuka mu kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe. Buli kibi kyateekebwa ku Yesu. Kale no abakkiriza tebakyalina kibi mu mitima gyabwe. Bwe tumanya nti tusonyiyidwa netwatula ebibi byaffe eri Yesu ne tukkiriza mu kubatiza kwe, tununulibwa era tufuuka abatuukirivu.

Yesu Kristo YESU: ‘omulokozi eyalokola abantu bonna

okuva mu bibi byonna ne yetikka omusango gwabwe.’ Yesu y’omulokozi, eyalokola abantu

bonna okuva mu bibi byabwe. KRISTO: ‘Eyafukibwako amafuta.’ Mu

ndagaano enkadde, tusoma ku bika by’abantu bisatu (3) Katonda be yafukangako amafuta: bakabaka, bannabbi ne bakabona. Yesu yatuukiriza (ye yakiikirira) ebifo bino ebisatu (mu ndagaano empya.

Yesu yakola emirimu gy’abakabaka, bannabbi ne bakabona. Bwe tutyo naffe tulina okumukkiriza, tulyoke tufuneobununuzi n’obulokozi. Eno y’ensonga lwaki yayitibwa ‘Yesu Kristo.’ Ye kabona ow’omuggulu eyatulokola okuva mu kibi ky’ensi okuyita mu kubatiza kwe n’omusaayi gwe.

N’olwekyo, Kristo ye Kabaka w’abo bonna abamukkiriza. Y’atuyamba okumanya ebibi byaffe bwe tujja gyali. Yatusomesa nti okuva mu biseera by’abajjajjafe okutuuka kati tukyali bonoonyi era omusango gwa Katonda gutulindiridde. Kristo yatusomesa nti

Page 288: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

288 Eby’okunyonyola ebirala

tusonyiyiddwa okuyita mu kubatiza kwe n’omusaayi; bino byonna yabikolera ffe abonoonyi.

Lwaki omwana wa Katonda yafuuka omuntu?

Yafuuka omuntu asobole okubeera omulokozi

alokole abonoonyi bonna baleme okutuuka kumusango (geyena).

Yesu y’ani? Nga bwekyawandiikibwa mu lubereberye 1:3

ne mu Yokaana 1:1-3, y’omutonzi, era Katonda ow’amazima; katonda ow’ensi yonna eyalokola abonoonyi bonna ab’ensi (Abafiripi 2:6, eyali

“ …mu kifanaanyi kya Katonda” Yokaana 1:2-3, “oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. Ebintu byonna byakolebwa ku bw’oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.”) Yesu ye Katonda wa buli kitonde ku nsi. Byonna ebintu (byetulaba ne byetutalaba y’abifuga).

Abantu bangi bagaana okukkiriza mu kwagala n’obulokozi Yesu (eyajja ku nsi mu mubiri) bwagaba. Abalala bakkiriza obulokozi bwagaba era ne beetwalira obulamu obutaggwawo oluvanyuma lw’okukkiriza mu Kristo. Bafuuse abatuukirivu.

Amateeka Katonda geyateekawo ge galiwa?

Katonda waffe ye Katonda omuteesiteesi era

Katonda yekka owamazima omusukkulumivu.

Page 289: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

289 Eby’okunyonyola ebirala

Zino wamanga z’ensonga lwaki yateekawo amateeka mu nsi:

Abonoonyi yabawa amateeka asobole okubalokola bavve mu bibi byabwe. “…kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.” (Abaruumi 3:20).

Eteeka ery’okubiri ly’etteeka ery’okukkiriza erilokola abonoonyi. Ly’etteeka “ery’Omwoyo gw’obulamu” (Abaruumi 8:2) erituwa obulokozi okuyita mu kukkiriza Yesu Kristo omulokozi waffe (Abaruumi 5:1-2). Yesu yajja kuno ku nsi okutuukiriza amateeka. Yabatizibwa, n’ayiwa omusaayi gwe naffa n’azuukira. Yesu yeyeteekawo etteeka ly’obulokozi okulokola abonoonyi b’ensi yonna.

Katonda yateekawo etteeka ly’okukkiriza ku lw’abo abakkiriza mu bulokozi obw’amazzi n’omwoyo. Omuntu yenna ayagala okulokoka afuuke omwana wa Katonda alina okukkiriza mu mateeka ag’okukkiriza katonda ge yateekawo. Lino ly’ekkubo lyokka ettuufu ery’obulokozi.

N’olwekyo Yesu yaggulawo omulyango gw’eggulu. Abo bonna abakkiriza obulokozi buno obw’omwoyo balokoka. Gano ge mazima agasibuka mu tteeka lino.

Etteeka lya Katonda: Amateeka ekkumi.

Mu ndagaano enkadde mulimu ennono

z’amateeka 613 ezikwata ku bulamu obwa bulijjo. Okuggyako ennono zino, waliyo amatteeka amalala kumi; mu gano essira mwe liteekebwa era ge mateeka agali galina okukuumibwa mu maaso ga Katonda. Amatteeka gano gatandika n’ebiragiro ebifaanako nga bino; “Tokola kino”, “kola kiri.” Kale amateeka gatuweebwa tusobole okumanya ekibi ekiri mu ffe. Mu matteeka gano, tumanya nti twonoonye mu maaso ga Katonda (Abaruumi 3: 19-20).

Page 290: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

290 Eby’okunyonyola ebirala

Katonda yatuwa amateeka tusobole okumanya ekibi ekiri muffe. Ffe ng’abantu tetuyinza kukuuma mateeka gonna, n’olwekyo tulina okugonda tukkirize nti tuli bonoonyi.(nga tetunaba kudda eri Yesu) Fenna tuli bonoonyi era Katonda akimanyi nti tetuyinza kukuuma mateeka wadde n’okugatambulira mu. Eno y’ensonga lwaki Katonda yakka ku nsi nabatizibwa natwala omusango gwaffe kumusalaba. Bwe tugezaako mu manyi gaffe okukuuma amateeka, twonoona era tubeera bamalala. Ekibi ekyo tusanye tukyewale. Amateeka gatulaga obutukuvu n’obutuukirivu bwa Katonda ate n’egatulaga obunafu bwaffe abantu. Kale obutukuvu n’obutuukirivu bwa Katonda bubikkuliddwa mu kigambo kya Katonda.

Tulina okukkiriza mu Yesu? Yee, tulina okukkiriza mu Yesu, kubanga ye

mukama waffe omutuukirivu era kwe kwagala kwe fee tumukkirize. “So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola” (Ebikolwa by’abatume 4:12). Tewaliyo mulokozi mulala yenna. Yesu y’omulokozi waffe; bwe tumukkiriza naffe tununulibwa netuzaalibwa nate (omulundi ogw’okubiri). Bwe tumukkiriza tufuna obuyinza obutuyingiza mu ggulu okubeera naye emirembe gyonna.

Ffe abakristayo tukyali bonoonyi?

Nedda. Omutume Paulo yagamba mu 1 Timosewo 1:15 nti yali “…omubi

Page 291: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

291 Eby’okunyonyola ebirala

ow’olubereberye.” Kino yakyogera bweyajjukira obulamu bwe nga tanaba kusisinkana Yesu. Mu nkuŋŋaana z’abakristayo ennaku zino, mulimu bangi abakkiriza nti bakyali bonoonyi, newankubadde bakkiriza mu Yesu Kristo. Naye kino si kituufu.

Fenna twali bonoonyi bwe twali tetunaba kukkiriza mu Yesu. Bwe twamala okukkiriza mu Yesu, okusinziira ku bye yawandiika mu kigambo, tufuukirawo abatuukirivu. Omutume Paulo yajjukira obulamu bwe nga tanaba kumanya Yesu no kumwatula nga tanaba kumwatula, nagamba nti yali ow’olubereberye mu babi.

Paulo, bwe yali akyayitibwa saulo, yasisinkana Yesu Kristo ku kkubo lye ddamasiko, nazuula nti Yesu ye mulokozi we era okuva kw’olwo yamukkiriza n’amwebaza. Paulo yasalawo okuwereza Katonda n’okujjulira obutuukirivu bwe n’okubatiza kwe okwaggyawo ebibi by’ensi

yonna. Paulo yajjulira n’okufa kwa Yesu kumusalaba.

Paulo yafuuka omuwereeza wa Katonda eyabuulira enjiri y’amazzi n’omwoyo. Abakristayo abasinga balowooza nti Paulo yali akyali mwonoonyi ne bwe yamala okusisinkana Yesu. Ebyawandiikibwa tebabitegeera bulungi. Amazima ge gano; Paulo bwe yamala okusisinkana Yesu yafuuka mutuukirivu, yali takyali mwonoonyi nate. Yeewayo okubuulira enjiri y’obulokozi, n’obununuzi obw’okubatiza n’omusaayi gwa Yesu. Bwe yamala okufa. Ebbaluwa ze yaleka ng’awandiise mu Baibuli zikyajjulira nti enjiri y’amazzi n’omwoyo ye yali enjiri y’ekkanisa eyasooka. N’olwekyo Paulo bwe yayogera ebigambo ebyo mu 1 Timosewo 1:15, yajjukira ennaku z’edda ne yebaza Katonda olw’obulokozi.

Paulo yali mwonoonyi bwe yamala okukkiriza mu Yesu Kristo? Nedda. Yali mwonoonyi nga

Page 292: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

292 Eby’okunyonyola ebirala

tanaba kulokoka. Bwe yakkiriza Yesu ng’omulokozi we, yamanya nti ebibi bye n’eby’ensi byateekebwa ku Yesu okuyita mu kubatiza kwe. Bwe yakkiriza mu musaayi ogwayiika kumusalaba, yafuuka omutuukirivu.

Paulo yeyita omubi ow’olubereberye, kubanga yajjukira ebiseera mwe yabonyabonyezanga ekkanisa ya Kristo n’abagoberezi be; neyebaza Katonda olwokumulokola, omubi eyali takyalina suubi.

Ani agamba nti Paulo yali mwonoonyi? Ani asobola okugamba nti omuntu mwonoonyi, newankubadde omuntu oyo akkiriza mukubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe? Abo bokka abatamanyi mazima agali mu bulokozi bwa Yesu bebalowooza batyo.

Omutume Paulo yafuuka omutuukirivu bwe yakkiriza mu bulokozi bwa Yesu. Okuva kw’olwo, Paulo omuweereza wa Katonda omuwombeefu, yabuulira abantu bonna enjiri

y’obutuukirivu okuyita mu Yesu Kristo, omwana wa Katonda era omulokozi. Okuva kw’olwo omutume Paulo yali mutuukirivu mu maaso ga Katonda, omuweereza ow’amazima eyabuulira enjiri eri abonoonyi bonna ab’ensi.

Omwonoonyi asobola okubuulira abonoonyi enjiri? Tekisooka kukola. Omuntu asobola atya okubuulira ekyo kyatalina! Omuntu atanaba kulokoka asobola atya okulokola abalala! Kandeete eky’okulabirako kino; omusajja bwa ba anatera okubbira mu mazzi omusajja bwatyo ayinza okuyamba muliranwa we agenda naye okubbira? Tekisoboka, kubanga bonna bajja kubbira. Omwonoonyi asobola atya okulokola omwonoonyi munne? Omuntu bwatyo ajja kuba abatwala mugeyena, kubanga naye gyayolekedde. Omutu omulwadde asobola atya okujjanjjaba mulwadde munne? Omuntu alimbiddwa Setaani asobola atya okulokola munne?

Omutuma Paulo yali mwonoonyi, naye

Page 293: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

293 Eby’okunyonyola ebirala

yafuuka omutuukirivu bwe yakkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu era nalokolebwa okuva mu kibi. N’olwekyo yafuuka omuwereza wa Katonda n’abuulira enjiri eri abonoonyi b’ensi. Yabuulira abantu bangi era nebalokoka nebatwala obutuukirivu bwa Katonda. Paulo naye yali takyali mwonoonyi nate.

Paulo bwe yalokoka, teyatambuliranga mu butuukirivu bw’amatteeka naye yatambuliranga mu butuukirivu bwa Katonda, era Katonda n’amukozesa okulyowa emyoyo mingi mu bwakabaka. Paulo teyabuulira butuukirivu bwe oba buvvumu bwe, naye yabuulira obutuukirivu bwa Katonda.

Paulo yali mwonoonyi okutuuka kunkomerero? Nedda. Yali mutuukirivu. Ng’omusajja omutuukirivu yafuuka omutume w’amazima ga Katonda. Omuntu bwamuyita omwonoonyi abeera anyoma Katonda era aba tamanyi mazima. Paulo yali mutuukirivu. Bwe

tugamba nti yali mwonoonyi bwe yamala okusisinkana Yesu, Yesu tuba tumufudde mulimba. Yesu ye yafuula Paulo omutuukirivu era Yesu ye yamufuula omuwereeza ow’obutuukirivu bwe.

Essaala z’okwenenya ziggyawo ebibi byaffe?

Essaala z’okwenenya tezisobola kuggyawo

bibi byaffe, kubanga obununuzi (obulokozi) tetusobola kubufuna mu kufuba kwaffe n’ebikolwa byaffe. Tulina okukkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu olwo tunaasonyiyibwa ddala era n’ebibi byaffe binaaggibwawo. Obulokozi obw’amazima bwaweebwa abo abakkiriza nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe bwe yabatizibwa n’ayiwa omusaayi gwe alyoke atuwe obulamu obugya.

Page 294: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

294 Eby’okunyonyola ebirala

Tusobola okuggyawo ebibi byaffe (ebya bulijjo) bwe twenenya? Nedda. Ebibi byetukola byaggibwawo emyaka 2000 emabega ku lunaku Yesu lwe yabatizibwa. Twanaazibwa netuggibwako ebii byaffe omulundi gumu (Yesu bwe yabatizibwa n’affa kumusalaba). Yesu yafuuka omwana gw’endiga kulwaffe abakkiriza.

N’ebibi byetukola nga tumazze okukkiriza mu Yesu byonna byasonyiyibwa (okuyita mu kukkiriza mu bulokozi obuva mukubatiza). Yesu yafuuka omulokozi waffe era yaggyawo ebibi byaffe byonna (okutuusa lwe tuliffa) Yesu yaatizibwa natuukiriza obutuukirivu bwonna (Matayo 3:15) bwe yaggyawo ebibi byaffe.

Makulu ki agali mukubatiza kwa Yesu? “kunaazibwa.” Ebibi byaffe byonna byateekebwa ku Yesu bwe yabatizibwa, n’olwekyo twanaazibwa era ne tuggibwako ebibi byaffe era olw’okubatiza kwa Yesu, ffe twasonyiyibwa ebibi byaffe.

Amakulu amalala agali mu kigambo kino (eky’okubatiza kwa Yesu) ge gano: “okunyikirwa”, “okuziikibwa” Yesu yatufirira ffe,kubanga yettikka ebibi byaffe abonoonyi. Abo abakkiriza nti ebibi byabwe byateekebwa ku Yesu okuyita mu kubatiza kwe tebalina kibi kyonna. Okukkiriza okw’amazima, kwe kumanya mu mitima gyaffe nti ebibi byaffe byonna byateekebwa ku Yesu bwe yatufirira ffe abonoonyi, kati emyaka 2000 emabega (bwe yabatizibwa natuukiriza obutuukirivu bwonna obwa Katonda).

Ffe abantu tetwandiggiddwako bibi, singa Yesu teyatusonyiwa ng’ayita mu kubatiza kwe. Jjukira nti Yesu ebibi byaffe byonna yabiggyawo emyaka 2000 emabega. Okukkiriza okwamazima n’obulokozi obw’omwoyo kwe kuliwa? Kwe kuleeta ebibi byaffe n’okukakasa nti biggidwawo. Oluvanyuma kitugwanira okwebaza Katonda olwokutusonyiwa n’okumukkiriza. Eno

Page 295: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

295 Eby’okunyonyola ebirala

y’ensonga lwaki yajja kunsi, n’abatizibwa, n’affa ku musalaba n’azuukira mu baffu alyoke atulokole.

Baweereddwa omukisa abo abasonyiyiddwa ebibi byabwe oluvanyuma lw’okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu. Gano ge mazima; okukkiriza okutuufu kwe kukkiriza mu Yesu, eyaggyawo ebibi by’ensi yonna okuyita mukubatiza kwe.

Abaruumi 8:30; “era be yayawula edda, abo era

yabayita:era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa era ekitiibwa.” Tolwo olunyiriri luno luwagira ensomesa y’okwawulibwa? Nedda. Olunyiriri luno terlusomesa ku

kwawulibwa. Bannaddiini bangi n’ababuulizi b’enjiri abakyamu basomesa nti, “Abo abakkiriza mu Yesu bakyusibwa mu mitendera era eky’enkomerero ne baawulibwa ddala mu mubiri ne mu mwoyo.” Bangi kino bakikkiriza. Kale nno abakristaayo abatanaba kuzaalibwa mulundi gwakubiri (Kulokoka) kyebava babeera abakakanyavu mu mitima gyabwe. Beeyongera okwonoona mu mitima gyabwe. Okwawulibwa kwaffe abakkiriza tekupimibwa na saawa (nti tujja kubbeera batuukirivu okuva ku saawa eno okutuusa ku saawa endala) endowooza eno si nnungi mu maaso ga Katonda.

Tufuuka abatuukirivu bwe tumanya nti ffe tetuyinza kwenunula (okwelokola). Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna n’okubatiza kwe ne yeewayo okuba empeera y’ebibi byaffe. Obutuukirivu bwaffe buva mu Yesu; era tufuuka abatuukirivu okuyita mu kukkiriza nti Yesu ye yetikka ebibi byaffe.

Page 296: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

296 Eby’okunyonyola ebirala

Ekigambo ‘okwawulibwa’ kitegeeza ‘okufuuka omutukuvu.’ Omuntu agezaako okweyawula mu maanyi ge ye aba takkiriza mu mazima, era aba aluubirira kwagala kwa mubiri gwe okunafu. Ffe abakkiriza mu Kristo tetussa muwendo (makulu) ku kigambo kino ‘okwawulibwa’ wabula ku Kristo, kubanga ye yatwawula. Bwe tukkiriza Katonda mumitendera (nga abantu abamu bwe babuulira), tetusobola kwawulibwa. Tufuuka abatuukirivu nga tukkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu (okukomolebwa okw’omwoyo). Abatuukirivu mu mazima be bo abakkiriza mu kubatiza ne mu musaayi gwa Yesu.

Ebibi byaffe bwe tubyatula bivaawo? Nedda. Ebibi byaffe bwe tubyatula tebivaawo,

okuggyako nga tukkiriza mu njiri y’amazzi

n’omwoyo. Bwe tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu Kristo n’omusaayi gwe, ebibi byaffe biggibwawo bwe tubyatula. Eno y’onjiri y’obulokozi eya Yesu Kristo, omulokozi eyatujjako buli kibi bwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani. Okwatula ebibi ky’ekikolwa ekikakasa nti omuntu amanyi amateeka ga Katonda. Wabula, obununuzi butuweebwa bwe tukkiriza mu kubatiza n’omusalaba gwa Yesu.

Amazzi g’okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe ge mazima ag’omuggulu agalokola abantu bonna okuva mu bibi byabwe. Obulokozi bwaffe tebusiinziira (tebwesigamye) ku kwatula bibi byaffe, wabula mu kukkiriza nti Yesu yaggyawo ebibi by’abantu bonna n’okubatiza kwe. Okukomererwa kwa Yesu kye kyali ekibonerezo ky’ebibi byonna bye yajja kubonoonyi.

N’olw’ekyo, obulokozi bwaffe buli mu kubatiza kwa Yesu mu Yoludaani, n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba. Ffe abakkiriza

Page 297: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

297 Eby’okunyonyola ebirala

twasonyiyibwa ebibi byaffe byonna, kubanga tukkiriza mu Yesu eyaggyawo ebibi byaffe byonna. Abo ababuulira nti twatula bwatuzi bibi byaffe netununulibwa, banyooma obulokozi bwa Katonda obw’amazima.

Tulina okukkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu, obulokozi bwa Katonda. Okwatula obwatuzi ebibi byaffe tekitegeeza nti bisonyiyidwa. Tulina okumanya nti ebibi byaffe bye bijja okutwala mu geyena; naye bwe tukkiriza mu Yesu, okubatiza kwe, n’omusaayi gwe (ogutununula negutufuula abatuukirivu mu maaso ge), ebibi byaffe bisonyiyibwa. Eno y’engeri yokka gye tuyinza okulokolebwa. Kituggwanira fenna okumanya nti tusonyiyidwa ebibi byaffe byonna; era tusanye tukkiriza ebigambo eby’amazima eby’amazzi n’omusaayi gwa Yesu mu (1 Yokaana 5:4-8).

Ebibi byaffe tebiggibwawo buli lwe tubyatula. Omuntu bweyenyumiriza mu kwatula ebibi bye

kyokka, naye nga takkiriza, ayolekedde geyena. Tusanye tukkirize enjiri ey’amazima, naffe tunaasonyiyibwa era n’ekibi mu mitima gyaffe kinaggibwamu. Owoluganda kkiriza mu mutima gwo; tokkiriza na mutwe gwokka, onoonunulibwa.

Enjiri ey’amazima y’eriwa? Enjiri eyamazima y’eyo etununulira ddala

okuva mu bibi byaffe bwe tujikkiriza. Enjiri ya Katonda erimu amaanyi agatagambika.Enjiri yakatonda erimu amazima gano; Yesu yasasula empeera ya buli mwonoonyi. Abonoonyi baali tebasobola kweyamba. Ffe twali tulina kuffa era nga twolekedde geyena. Naye omwana wa katonda Yesu Kristo yajja nafuuka omutango ku lwaffe naggyawo ebibi byaffe byonna.

Yesu yajja mu nsi muno ne yettikka ebibi

Page 298: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

298 Eby’okunyonyola ebirala

by’ensi yonna okuyita mu kubatiza kwe mu mugga Yoludaani nanaaza ebibi byaffe omulundi gumu. Yasasula empeera y’ekibi kyaffe n’okubatiza kwe mu Yoludaani n’okuffa kwe kumusalaba eno y’enjiri y’amazima.

Enjiri y’amazima y’eno: Yesu Kristo yajja mu nsi era bwe yabatizibwa nayiwa omusaayi gwe kumusalaba, yalokola abo bonna abamukkiriza. Kyawandiikibwa mu 1 Yokaana 5:6, “oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n’amazzi gali n’omusaayi guli. Era Omwoyo y’ategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima.”

Lwaki Yesu yeewayo nga Ssaddaakka ku musalaba?

Yesu yafuuka ssaddaaka y’ebibi byaffe bye

yali aggyewo okuyita mu kubatiza kwe. Yawayo

omubiri gwe okusasula empeera y’ekibi kyaffe ffe abonoonyi tusobole okununulibwa tuve mu musango gw’ebibi byaffe.

Tulina okumanya nti Yesu yabatizibwa mu mugga Yoludaani aggyewo ebibi byaffe byonna. Tulina okukkiriza nti Yesu yaffa kumusalaba kulw’ensonga eno. Singa Yesu teyabatizibwa nga tanaba kukomererwa, ebibi byaffe byonna tebyandijjidwawo. N’olw’ekyo, tulina okukkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu. Yesu ddala mwana wa Katonda eyafuuka omutango ku lwaffe abonoonyi, tulyoke tusonyiyibwe.

Fenna tulina okukkiriza nti Yesu mwana wa Katonda, yabatizibwa naggyawo ebibi by’ensi yonna, nakomererwa kumusalaba okuggyawo ebibi byaffe; naffe twasumululwa era tetukyalina musango.

Page 299: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

299 Eby’okunyonyola ebirala

Yokaana omubatiza eyabatiza Yesu y’ani?

Mu ndagaano enkadde, Katonda yawa Musa

amateeka, n’endagiriro ez’okuwangayo ssaddaakka. Bino yabiwa abaana ba Isiraeri basobole okutangirira ebibi byabwe. Alooni, mukulu wa Musa, yayawulibwa nafuuka Kabona omukulu era yawangayo ssaddaaka y’okutangirira ku buli lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu. Luno lwe lwali olunaku lw’okutangirira ebibi bya Isiraeri eby’omwaka (eby’abaleevi 6).

Katonda yalagira nti ssaddaakka y’olunaku lw’omutango (lw’okutangirira) yali erina kuweebwa Alooni kabona omukulu. Katonda ku lunaku olwo yakkiriza abaana ba Isiraeri okutangirira ebibi byabwe. Alooni yateekanga emikono gye ku mutango (embuzi etaaliko bulema). Lino etteeka ly’omutango Katonda ye

yaliteekawo ku lw’abantu be. Mu ngeri y’emu, mu ndagaano empya,

katonda yatuma Yokaana omubatiza (eyavva mu lulyo lwa Alooni 1 Eby’omumirembe 24:10, Lukka 1:5) alooni yali Kabona omukulu mu ndagaano enkadde (Matayo 11:11-13). Yokaana omubatiza yali nnabbi attumiddwa Katonda. Yali Kabona omukulu akiikirira ffe abantu. Yabatiza Yesu asobole okumuteekako ebibi by’abantu bonna. Yesu omwana wa katonda yajja okulokola abonoonyi.

Abantu bonna abateeka ebibi byabwe ku Yesu Kristo (nga bakkiriza mu kubatiza kwe) baweeredwa omukisa. Yokaana omubatiza yakiikirira abantu bonna. Ye yali kabona omukulu era omuweereza wa katonda eyateeka ebibi byaffe ku Yesu.

Yokaana omubatiza era omuweereza wa Yesu, yazaalibwa emyeezi mukaaga nga Yesu tanaba kuzaalibwa. Yesu ye ye yali omwana gw’endiga

Page 300: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

300 Eby’okunyonyola ebirala

owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. Yokaana omubatiza ye, yali kabona omukulu asembayo era eyateeka ebibi by’abantu fenna ku Yesu lwe yali amubatiza. Yokaana yali muweereza wa Katonda.

Omugga Yoludaani, Yesu mwe yabatizibwa.

Amazzi agava mu mugga Yoludaani

gakulukuta negasibira mu nyanja ‘enfu’ gyetuyita ‘dead sea.’ Obuziba bw’enyanja eno bwa mita 400. Amazi agava mu nyanja eno tegayinza kukulukuta mu kifo kyonna; gasibibbwa mu nynja ‘enfu.’ Obukaawu bw’amazzi agava mu nyanja eno busiinga obukaawu bw’enynja endala emirundi kkumi; eno y’ensonga lwaki enyanja eno yayitibwa enyanja enfu. Temuli kintu kiramu kyonna. Yesu yabatizibwa Yokaana omubatiza

mu mugga ogw’okufa (omugga Yoludaani). Kino kitulaga nti abantu fenna (okuggyako abo abatalina kibi mu mitima) balina okubonerezebwa.

Omugga Yoludaani gwe mugga oguggyawo ebibi, era gwe mugga abonoonyi bonna mwe baffiira. Gwe mugga ogw’obununuzi abonoonyi mwe banaazibwa ne baggibwako ebibi byabwe okuyita mu kubatiza kwa Yesu.

Ssaddaakka y’omutango gw’ebibi ebya bulijo mu ndagaano enkadde y’eriwa?

Mu ndagaano enkadde, waliyo ssaddaaka

y’omutango ogw’ebibi by’olunaku. Omuntu yali alina okuleeta omwana gw’endiga, endiga, ente ennume oba ejjiba mu yeekalu nga ssaddaaka

Page 301: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

301 Eby’okunyonyola ebirala

asobole okutangirira ebibi by’olunaku. Yateekanga emikono gye ku kiweebwayo (ssaddaakka) na yatulirako ebibi bye. Eno ye yali ssaddaakka ey’okutangirira ebibi by’omuntu eby’olunaku Katonda gye yawa mu mateeka ge (Eby’abaleevi 3:1-11).

Ssaddaaka y’omutango gw’ebibi by’omwaka mu ndagaano enkadde y’eriwa?

Mu ndagaano enkadde, ssaddaakka eno

ey’okutangirira ebibi by’abaana ba Isiraeri eby’omwaka yabeerangawo mulundi gumu. Kabona omukulu yateekanga emikono gye kumutwe gw’embuzi na yatulirako ebibi by’omwaka eby’abaana ba Isiraeri omulundi gumu. (Eby’abaleevi 16:1-34). Yesu Kristo, mu

ndagaano empya yatuukiriza ssaddaakka zonna (ez’olunaku n’ez’omwaka, bwe yafuuka omwana gw’endiga naggyawo ebibi (ne yetikka ekibi) okuyita mu kubatiza kwe.

Ssaddaakka y’okutangirira okw’oluberere y’eriwa?

Ssaddaakka eno ye yali ey’okutangirira ebibi

by’ensi yonna, okuyita mukukkiriza Yesu Kristo. Yesu Kristo y’omwana wa katonda omulamu emirembe gyonna. Asobola okuggyawo ebibi by’ensi yonna. Yesu ebibi byaffe yabiggyawo atya? Yabiggyawo;

bwe yazaalibwa nafuuka omuntu mu mubiri. bwe yabatizibwa Yokaana omubatiza mu

mugga Yoludaani bwe yakomererwa kumusalaba n’atwala

omusango ku lwaffe.

Page 302: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

302 Eby’okunyonyola ebirala

Omwana wa Katonda yajja mu nsi muno mu mubiri gw’omuntu, n’abatizibwa (Yokaana omubatiza) okuggyawo ebibi by’ensi yonna, n’ayiwa omusaayi gwe okulokola abantu bonna okuva mu bibi byabwe (eby’abaleevi 16:6-22, Matayo 3:13-17, Yokaana 1:29, Abaebulaniya 9:12, 10:1-18).

Katonda bwa tusonyiwa atusonyiwa mulundi gumu, oba atusonyiyira mu mitendera?

Okusonyiyibwa ebibi kwatuweebwa omulundi

gumu, kubanga Yesu yaggyawo ebibi byaffe omulundi gumu (bwe yabatizibwa n’eyettikka omusango gwaffe fenna omulundi gumu) Yagamba nti “Kkiriza kaakano, kubanga kitugwanira fenna okutuukiriza obutuukirivu

bwona.” Matayo 3:15. Mu Yokaana 1:29, Yokaana omubatiza

yagamba nti, “Laba omwana gw’endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi!” era ne mu Yokaana 19:30, Yesu yagamba, “kiwedde.”

Kyawandiikibwa mu Abaebbulaniya 10:9-18, “n’alyoka ayogera nti laba, nzize okukola by’oyagala. Aggyawo eky’olubereberye, alyoke anyweze eky’okubiri. Mw’ebyo by’ayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu. Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza ng’awaayo emirundi emingi ssaddaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyako bibi emirembe gyonna: naye oyo bwe yamal okuwaayo ssaddaaka emu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; ng’alindirira oluvannyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye. Kubanga olw’okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza

Page 303: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

303 Eby’okunyonyola ebirala

okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa. Era n’Omwoyo omutukuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bwamala okwogera nti, ‘eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo oluvannyuma lw’ennaku ziri, bw’ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika;’ n’alyoka ayogera nti, ‘n’ebibi byabwe n’obujeemu bwabwe siribijjukira nate.’ Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw’ekibi.”

Okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe byaggyawo ebibi by’ensi omulundi gumu.

Empeera y’ekibi kye ki?

Empeera y’ekibi kufa. Buli kibi (ekinene n’ekitono) kirina okulamulibwa, era n’empeera ya buli kibi kufa. Abantu ba Isiraeri bali balina

okuwaayo endiga enongoofu (etaliiko bulema) basobole okutangirira ebibi byabwe. Naye ssaddaaka ez’ensolo bwezityo tezasobolaanga kutangirira bibi by’abaana ba Isiraeri omulundi gumu, “Kubanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi.” (Abaebbulaniya 10:4). Mu ndagaano enkadde, katonda yateekateekanga endiga okubeera ssaddaaka y’ebibi by’abaana ba Isiraeri; bayatulirangako ebibi byabwe era ssaddaaka yafanga mu kifo kyabwe.

N’olwekyo, Katonda kye yava ateekateeka (mu ndagaano empya) omwana gw’endiga Yesu Kristo anunule abantu fenna okuva mu bibi byabwe. Yabatizibwa mu mugga Yoludaani nagyawo ebibi byaffe. “empeera y’ekibi kufa, naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutagwaawo mu Yesu Kristo mukama waffe.” (Abaruumi 6:23).

Empeera y’ekibi kufa, naye Yesu yatulaga fe

Page 304: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

304 Eby’okunyonyola ebirala

okwagala kwe okungi bwe yafa ku lwaffe natuwa ekirabo ky’obulamu obutaggwawo.

Lwaki Yesu yali alina okufa ku musalaba?

Yesu yaffa kumusalaba asobole okusasulira

ebibi byaffe. Ebibi bino byali biggidwawo ku lunaku lulu lwe yabatizibwa. Abantu twali twolekedde geyena nga tujjudde ekibi naye kubanga yesu yatwagala, yakkiriza okubatizibwa n’eyettikka ebibi byaffe n’affa kumusalaba n’atulokola.

Yeewayo natulokola okuva mu kibi n’okuva mu kikolimo ky’egeyena. Yesu bwe yafa kumusalaba yasasulira ebibi byaffe fenna. Bwe yabatizibwa, Yesu yasobola okuggyawo ebibi by’ensi yonna, ne yettikka omusango kumusalaba asobole okutulokola fenna okuva mu kibi, okufa,

omusango n’okubonabona. Yesu bwe yafa, yafirira ebibi by’abantu bonna

mu nsi (ebibi bino yabyettikka bwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani). Yatwala omusango gw’ebibi byaffe. Yafa kumusalaba n’azuukira, ffe tusobole okubeera abatuukirivu nate.

Kiki kyetuganyulwamu bwe tukkiriza mu Yesu?

Tusonyiyibwa ebibi byaffe byonna ne

tufuuka abatuukirivu (Abaruumi 8:1-2). tufuna omwoyo omutukuvu n’obulamu

obutaggwawo (Ebikolwa by’abatume 2:38, 1 Yokaana 5:11-12).

Tufuna obuyinza obutufuula abaana ba Katonda (Yokaana 1:12).

Tufuna omukisa gw’okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda (obwakabaka

Page 305: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

305 Eby’okunyonyola ebirala

obw’omuggulu (okubikkulirwa 21-22). Tufuna emikisa gya Katonda gyonna

gyatutegekedde (Abaefesso 1:3-23).

Lwaki tulina okukkiriza mu Yesu? Tulina okukkiriza mu Yesu tusobole:

okutuukiriza okwagala kwa Katonda okulokolebwa okuva mu bibi byaffe okuyingira mu bwakabaka bw’omuggulu

tulyoke tubeere ne Katonda emirembe egitaggwawo.

Ffe abantu fenna twandisanyeewo mu geyena singa tetwakkiriza mu Yesu Kristo, omulokozi waffe. Tulina okukkiriza mu Yesu, kubanga ye mulokozi waffe yekka owamazima. Fumiitiriza ku bibuuzo bino;

Enkomerero y’abo abanunule (abalokole) eri wa (mu kifo ki? —Mu ggulu.—

Enkomerero y’abo ata abatakkiriza mu Yesu era abatananunulibwa (abatanalokolebwa) eri wa? —Mu geyena, kubanga omuli okubonabona n’okulumwa obugigi (okubikulirwa 21:8).—

Endiga za katonda ze ziruwa? —be bakkiriza mu kusonyiyibwa ebibi nga bakkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu.—

Ate Yesu alina “…n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino:” (Yokaana 10:16). Abo aboogerwako be bakkiriza obukkiriza mu kyebategeera n’ebirowoozo byabwe, kubanga bakyali bonoonyi. Abo abakkiriza mu kubatiza n’omusaayi gwa Yesu z’endiga ez’omukisibo kya Katonda ezanunulibwa.

Page 306: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

306 Eby’okunyonyola ebirala

Ekkanisa ya katonda eyamazima y’eriwa?

Ekkanisa ya Katonda kye kifo abatuukirivu,

abanunule era abawule mu Kristo (olw’okukkiriza mu kubatiza n’omusayi gwe) mwe basisinkanira okusiinza Katonda. (1 Abakkolinso 1:2). Ekkanisa ya Katonda eyamazima eyogerwako mu Abaefeso 4:5, kye kifo abantu mwe bakkiriza mu “mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu, Katonda omu, Kitaawe wa bonna.”

Omuntu akyamya (omukyamu) mu Baibuli y’ani?

Omuntu omukyamu y’oyoalina ekibi mu

mutima ate ng’akyakkiriza mu Yesu. (omuntu

atakkiriza nti Yesu yaggyawo ebibi bye). Mu Tito 3:11 kyawandiikibwa nti omuntu “…ng’oyo akyamizibwa era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango.” Omuntu oyo takkiriza nti Yesu yaggwawo ebibi bye (Yesu bwe yabatizibwa). Ekirabo kya Katonda eky’ekisa kye takikkiriza naye yeesalira omusango ng’omwonoonyi era akyawa obulokozi.

Baibuli bweti bweyogera ku bakyamya; be bantu abakkiriza mu Yesu naye ate nebeesalira omusango ng’abonoonyi (Tito 3:11). Bw’oba okkiriza mu Yesu Kristo naye ng’okyeyita mwonoonyi tomanyi mazima agali mu njiri y’amazzi n’omwoyo. Bw’oba okkiriza mu Yesu Kristo naye ng’okyeyita omwonoonyi oli omu kw’abo abakyamya. Kino kitegeeza nti olowooza enjiri eno ey’amazzi n’omwoyo tesobola kuggyawo bibi byo nekutukuza n’ekufuula omwana wa katonda. Bw’oba oli omu kwabo abayatula ebibi byabwa bulijo mu maaso ga

Page 307: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

307 Eby’okunyonyola ebirala

katonda era akkiriza nti oli mwonoonyi, kikugwanira okukyusa.

Omuntu asobola atya okusigala nga mwonoonyi oluvanyuma lw’okusonyiyibwa ebibi bye byonna? Lwaki ogezaako okwesasulira empeera y’ebibi byo ng’ate yasasulibwa dda Yesu Kristo? Bw’oba oyagala okwesasulira empeera yo, oli mukyamu, kubanga okukkiriza kwolina kwanjawulo n’okwo Katonda kwtuwa. Omukristaayo yenna akkiriza mu Yesu naye nga tazaalibwanga nate, mukyamu. Olina okumanya amazima. Katonda yaggyawo ebibi by’ensi yonna era gano amazima bwe tuganyooma tubeera bakamu.

Omukamu y’oyo eyeyita omwonoonyi neyeesalira omusango. Olowooza Katonda omutukuvu asobola okukkiriza omwonoonyi okubeera omwana we? Oba weeyita omwonoonyi ata ng’okkiriza mu Katonda omutukuvu oli mukyamu. Olina okukkiriza mu

kubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe yayiwa ku musalaba nga amazima.

Osobola okulokoka bw’okkiriza mu bino byombi: Okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe.

Page 308: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

EBY’ENKOMERERO 3

Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Page 309: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

309 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Ebibuuzo n’Ebyokuddamu Ekibuuzo ekisooka: Mbadde nsoma

bye’wampeereza ebyogera ku kubatiza kwa Yesu Kristo era njize mu bingi nnyo. Ekibuuzo kyange kyekino. Nandyagadde okumanya ku by’osomesa ku kubatiza kwaffe abakkiriza n’okubatiza kwa Yesu awamu n’okufa kwe n’okuzuukira kwe era byonna bikwatagana bitya (oba birina nkolaganaki)?

Ekyokudamu: okusookera ddala, tulina

okussa essira ku “kuyigirizaokw’okubatiza” nga bwekuwandiikiddwa mu Abebbulaniya 6:2. Mu byawandiikibwa, mulimu ebikka byokubatiza bisatu, okubatiza kwa Yokaana omubatiza okw’okwenenya, okubatiza Yesu kwe yafunna okuva eri Yokaana omubatiza, n’okubatiza kwaffe abakkiriza.

Okubatiza ffe kwetufuna kunywezza okukkiriza kwaffe nga twatudde obulokozi, nga tukkiriza Yesu okutulokola. Kale, bwe tubatizibwa,ekikolwa kino tukikola tusobole okwatula (okwasanguza) okukkiriza kwaffe mu Yesu. Twatula nti tukkiriza nti Yesu yabatizibwa okugyawo ebibi byaffe era yaffa kumusalaba asobole okutangirira ebibi byaffe. Ndowooza kati otegeera ebiwandiikidwa mu Matayo 3:15 nti, “kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Yesu yetikka ebibi by’ensi yonna, bwe yabatizibwa omubaka oba omukiise w’abantu (Yokaana omubatiza).

Yali Nteekateeka ya’katonda ennungi okutulokola okuva mu mutego gw’ekibi.Mukama Katonda “atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna” (Isaaya 53:6) era atuwadde ffe obutuukirivu bwe. “Obutuukirivu” kigambo ekirina ensibuko yakyo mu luyonani kitegeeza

Page 310: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

310 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

“dikaiosune”. (Mubigambo ebirala; obwenkanya). Kale tuyiga nti Katonda yeetikka ebibi byaffe bonna n’obwenkanya.

Ffe abakkiriza tununulidwa kubanga tukiriza mu kubatiza kwa Yesu, okuffa kwe kumusalaba awamu n,okuzuukira kwe. Amanyi agali mukukomolebwa okw’omutima (okw’omwoyo mu Abaruumi 2:29) ge gava mukubatiza kwa Yesu; amanyi ago ge gagyawo ekibi mu mitima gyaffe. N’olwekyo omutume Petero kyeyava agamba abantu nit, “Mwenenye,mubatizibwe buli muntu mmwe okuyingiramu linnya lya Yesu Kristookuggibwako ebibi byammw, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.” (Ebikolwa by’abatume 2:38) Bino byaliwo ku lunaku lwa Pentekote.

Abakkiriza fenna tulina okufuna ekisonyiwo tumanye nti mu kukkiriza Yesu, tufuna ekisonyiwo. Erinnya “Yesu” litegeeza ki? “Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma

erinnya YESU; kubanga ye y’alirokola abantu be mu bibi byabwe” (Matayo 1:21). Erinnya Yesu litegeeza ‘Omulokozi’. Yo’oyo alokola abantu okuva mu bibi byabwe. Yatulokola atya okuva mu bibi byaffe? Yesu atulokodde fenna okuva mubibi byaffe okkuyita mukubatiza kwe n’okuffa kwe kumusalaba.

Abatume ba’Yesu Kristo bwe baali babuulira enjiri, ba fubba okulaba nti abantu bategeera okubatiza kwa’Yesu, n’omusalaba; kale basomesanga enjiri eya’mazima, era babatizaanga abo abakkirizaanga mu njiri. ensonga lwaki tubatizibwa y’eno: tubatizibwa tusobole okwatula ebibi byaffe eri Katonda era tukkiriza mu kubatiza n’okuffa kwa Yesu mu mitima gyabwe. Bwe tubatizibwa, twatula nti, “Weebale nnyo, Mukama. Weetikka ebibi byange byonna okuyita mukubatiza kwo wanfirira kumusalaba era n’ozuukira okundokola nze era nzikiriza mu njiri yo.” Abaweereza

Page 311: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

311 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

bamukama (abasumba) batubatiza mu mazzi ako kabeera kabonero kakukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’okuffa kwe kumusalaba (ne Yesu yabatizibwa). Kale nno, okubatiza kw’abakkiriza abaali mu kanisa eyasooka kwakakasa okukkiriza kwabwe mu yesu, era bwe bayatula ebibi byabwe nebakkiriza enjiri ey’obununuzi, baasonyiyibwa.

Ensoonga y’okubatiza si yatteeka. Tetweetaaga kubatiza kwokka okusobla okufuna obulokozi. Okubatiza kwa’mazzi kwokka tekulina nkwatatagana n’obulokozi.Bwetukkiriza munjiri y’amazzi n’omusaayi, tulokolebwa. Bayibuli etugamba nti twabatizibwa mu Yesu Kristo (Abaruumi 6:3, Abagalatiya 3:27).

Kale, tuyinza tutya okubeera nga “twabatizibwa mu ye”? Kino kisoboka ffe abakkiriza bwe’tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu. Omubiri gwaffe guba mu bumu (guba gukiriziganya) no’gwa Yesu eyabatizibwa era eyakomererwa kumusalaba. Okuffa kwe

kumusalaba gwe gwali omusango ogw’ebibi byaffe. N’olwekyo, naffe twakomererwa kumusalaba naye. Omubiri gwaffe gwaffa eri ekibi era naffe tulokoleddwa okuva mu bibi nga tuyita mu kubatiza kwe.

Abo abali mubumu ne Yesu Kristo, okuyia mu kubatiza kwe n’okuffa kwe, basobolera ddala okuzuukira wamu naye (mumuntu waabwe ow’omunda atalina kibi). Okuzzukira kwe kutusobozesa okulokoka n’okwawulibwa ne tukkirizibwa mu maaso ge.

Singa tetwakkiriza Yesu kutwala bibi byaffe ng’ayita mu kubatiza kwe, okuffa kwe n’okuzuukira kwe tekwandibadde na mulamwa gyetuli ffe n’obulokozi bwaffe; kubanga tetumukkiriza. Naye abo abatadde ebibi byabwe ku Yesu n’okukkiriza bali bumu n’okuffa kwa Yesu kumusalaba era batuukirivu. Wabula, abo abatatadde bibi byabwe ku Yesu (nebagaana okumukkiriza n’okubatiza kwe) tebalina

Page 312: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

312 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

nkolagana wadde n’enkwatagana yonna n’okuffa n’okuzuukira kwa Yesu.

Okubatiza kwabakkiriza kwamazima ddala. Fenna tumanyi nti omwami n’omukyalawe basooka kumanyibwa ng’omwami n’omukyala nga Embagga ewedde. Okubatiza kw’abakkiriza kabonero ka wabweru akalangirira okukkiriza kwaffe okwomunda mu mutima. Bwe tulangirira okukkiriza kwaffe (mu njiri eyo’kubatiza kwe n’omusalaba) mu maaso ga’katonda, abakkiriza, n’ensi olwo okukkiriza kwaffe kwamazima era tekulimu bukuusa.

Abasinga tetutegedde kubatiza kwa Yesu. N’olwekyo tetulina kumala gakkiriza nti tunaalokolebwa newankubadde tetutegedde muwendo ogw’okubatiza kuno. Endowooza eyo bulimba bwa mulabe setaani. Fe tusonyiyibwa ebibi era ne twanirizibwa muggulu bwe tuba nga tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu mu mitima gyaffe (ki mu kubatiza kwaffe)

Ekibuuzo eky’okubiri: Nsobola ntya okugamba nti, “ndi mutuukirivu” naye nga nyonoona bulijo?

Eky’okuddamu: Ffe abantu twonoona bulijo.

Okuva kulunaku lwetwazaalibwa tuli bonoonyi era twonoona okutuusa lwetuffa. Era Bayibuli egamba nti, “Tewalimutuukirivu n’omu” (Abaruumi 3:10). Eno yensonga lwaki omutume Paulo yayatula mu maaso ga’Katonda nti, “Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w’oluberebeye;” (1 Timoseewo 1:15).

“Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa katonda, obutegeezebwa amateeka ne’bannabbi, bulabisibwa; bwe butuukirivu bwa Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo; kubanga tewali njawulo;kubanga bonna bayonoona, ne

Page 313: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

313 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw’okununulibwa okuli mu Kristo Yesu:” (Abaruumi 3:21-24).

Yesu yabatizibwa asobole okutuukiriza obutuukirivu bwonna. Yesu yagamba Yokaana omubatiza nti, “…Kkiriza kaakano kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna” (Matayo 3:15). Yesu yeetikka ebibi by’ensi mu’ngeri (oba enkola) ey’obwenkanya kulunaku luli Yokaana omubatiza lwe yali amubatiza mu mugga Yoludaani. N’olwekyo, ne Yokaana omubatiza, oluvanyuma lw’okubatiza Yesu, yakabiranga wagulu ng’agamba nti, “laba! Omwana gw’endiga owa’Katonda ajjyawo ebibi by’ensi” (Yokaana 1:29).

Kale Yokaana yali ategeeza ki bwe yagamba nti, “Omwana gw’endiga agyawo ebibi by’ensi”. Iyali ategeeza ebibi byaffe abantu fenna okuva ku Adamu ne kaawa okutuusa ku muntu alisembayo

okuzaalibwa kuno kunsi. Ababtu aba’beerangawo edda, abaleero, era naabo abageenda okubeerawo mu maaso, fenna tuli ba’munsi.Yesu Kristo (era amanyiddwa ng’olubereberye n’enkomerero) yeewayo ye nga sadaaka ey’olubeerera neyeetikka ebibi by’abantu bonna. Kino yasobola okukikola okuyita mukubatiza mu mugga Yoludani ne mukuffa kwe kumusalaba.Kale kulw’ensonga eyo naffe abakkiriza twayawulibwa (twatukuzibwa).

Kyawandiikibwa nti, “Mw’ebyo byayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu” (Abaebbulaniyas 10:10). Twatukuzibwa eri tetulina kibi. Okuva ku kiseera ekyo lwe twakkiriza Yesu, okutuusa kakati nemumaaso, amazima gano galuberera.Katonda wamaanyi era buli kimu akimanyi okuva ku ntandikwa okutuusa kunkomerero y’ensi. Newankubadde Yesu

Page 314: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

314 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

yabatizibwa emyaka nkumi biri emabega, yagyawo ebibi by’abantu abaliwo kulubereberye. Lwe yali kumusalaba nga tanaffa yagamba nti,“kiwedde!” (Yokaana 19:30) yagyawo ebibi byensi emyaka nkumi bbiri egiyise naffa kumusalaba asobole okubigyawo.

Newankubadde twalokoka, twonoona kubanga omubiri munafu. Wabula, Yesu bwe yabatizibwa era natwala omusango kumusalaba kweyakomererwa, yatununula netuva natugyako ebyonoono ebyedda, ebyaleero n’ebyomumaaso. Buno bwe bulokozi obutuukiridde.

Singa Yesu teyagyawo byonoono byaffe eby’omumaaso, tewali n’omu mu fee eyandinunuliddwa okuva mubibi ebyabulijo, kubanga “empeera y’ekibi kuffa” (Abaruumi 6:23). Yakobo ne Esau bwe baali bakyali mulubuto lwa’nyaabwe, Katonda yabaawula mu ne bafuuka amawanga abbiri(2). Nga tebanaba na ku kola kiriungi oba kibi tusoma nti,“N’omukulu

anaaweerezanga omuto” (Olubereberye 25:23). Mulunyiriri luno tuyiga nti Obulokozi bwa Katonda tebukwatagana naakamu n’ebikolwa byetukola, naye buweebwa abo abakkiriza mu bulokozi obutuukirida obuli mu kubatiza n’okukomererwa kwe kumusalaba.

Ffe abantu twali twoolekedde geyeena, kubanga twali tujjudde ekibi, naye Yesu yagyawo ebibi byaffe lwe twalokoka era kino yakikola mulundi gumu lwe yabatizibwa n’akomererwa kumusalaba. Bino byonna yabikola kubanga atwagala. Tuweereddwa omukisa okubeera abalamu mu kiseera nga kino. Nnabbi Isaaya yagamba nti, “Mwogere eby’okusanyusa Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng’obutali butuukirivu bwe tusonyiyiddwa; ng’aweereddwa mu mukono gwa mukama emirundi ebiri olw’ebiri olw’ebibi bye byonna” (Isaaya 40:2). Ffe abantu tetukyasibiddwa mu kibi. Obusibe bwaffe

Page 315: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

315 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

bukomye, kubanga tununuliddwa okuyita mu njiri ya Yesu ey’okubatiza n’omusalaba, n’olwekyo buli akkiriza mu njiri asobola okununulibwa. “‘Eno y’endagaano gye ndiragaana nabo oluvannyuma lw’ennaku ziri, bwayogera Mukama; nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n’alyoka ayogera nti N’ebibi byabwe n’obujeemu bwabwe siribijjukira nate. Naye awali okkggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw’ekibi” (Abaebbulaniya 10:16-18).

Katonda yateeka omusango gw’ebibi byaffe ku Yesu Kristo, era takyatusalira musango bwe twonoona bulijjo. Omusango gwasalirwa dda nnyo (emaka nkumi biri) Yesu lwe’yeetikka ebibi byaffe. N’olw ‘ensonga eno, tulindirira okujja kwa Mukama era tusuubira okugoberera ekigambo kye ng’abatuukirivu abatalina Kibi, newankubadde oluusi twonoona.

Ekibuuzo eky’okusatu: Okubatiza kwa Yokaana okw’okwenenya kye ki?

Eky’okuddamu: Yokaana omubatiza yali

muweereza wa’Katonda. Yazalibwa nga wabulayo emyeezi mukaaga Yesu Kristo azalibwe nga Malaki bwe yalagula. Ye yali nnabi asembayo mu ndagaano enkadde.

“Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Iseraeri yenna, ebiragiro n’emisango Laba, ndibatumira Eriya nnabi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n’omutima gw’abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.” (Malaki 4:4-6).

Yesu bweyazaalibwa, abantu baagana okukkiriza mu ndagaano ya katonda nebassinza ba’katonda abalala. Bawangay ssaaddaka n’ebiweebbwayo ebitali bilongoofu era ne

Page 316: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

316 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Yeekaalu y’a’Mukama neb a jifuula ekifo ek’yokusuubulira mu. Amateeka galeeta okumanya eri Abantu negabategeeza nga bwe bali abonoonyi. Galeeta okumanyisa ekibi eri abantu. (Abaruumi 3:20). Omuntu nebwyajeemanga okussa eteeka erimu munkola ekyo kyali Kibi.

Mu ndagaano enkadde, omwonoonyi yenna ataagonderanga nnonno z’amateeka ya’leetanga ekiweebwayo mu maaso ga’yeekalu. Omwonoonyi awo nakiteekako emikono nga bwa’kyatulirako ebibi bye. Bwe yamala ekiweebwayo kino nakitta asobolye okusonyiyibwa era affune obumu bwe yalina ne Katonda. Kabona yatwalanga omusaayi nagumansira ku mayeembe ga alutaali awali ekiweebwayo ekyokyebwa. Omusaayi ogwasigalangawo Kabona yaguyiwaanga ku ntobo ya alutaali.

Newankubadde abaana ba Isiraeri bawaangayo

ebiweebwayo ebya buli kika, baali tebasobola kununulibwa okuva mu kibi. Nolwekyo Katonda yabateerawo olunaku olutakyusibwa (olunaku olw’okutangirira). Ku lunaku luno (olunaku luno, olunaku olw’ekkumi mu mweezi ogw’omusanvu, Katonda yasonyiwanga ebyonoono byabantu bonna eby’omwaka. Alooni, kabona omukulu, yatwaalanga embuzzi bbiri, emu nga ya’kuwaayo eri Katonda n’endala ye yali ey’okutangirirako. Olwo Alooni yateekanga emikono gyw ku mutwe gw’ekiweebwaayo kyakatonda ng’akyatulirako ebyoonoono byonna eby’abantu ba Iserairi eby’omwaka. Bwe yamala natta ekiweebwayo naddira omusaayi gwa’kyo nagumansira emirundi musanvu munda ne mu maasao g’essanduuko ey’kisa.

Alooni bwe yamalaanga okutangiria ekifo ekitukuvu, olwo nawaayo ssaaddaaka ey’okubiri. Neera yagiteekangako emikono gye na’yatulirako ebibi bya Isiraeri byonna. Mu kikolwa kino

Page 317: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

317 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

eky’okwatula, ebibi byabaana ba Isirayiri bya teekebwanga ku ssaaddaaka eno, era eyo ssaaddaaka yateebwaanga nessindikibwa mu ddungu (omuntu eyali omulongoofu ye yali alina okugisindiikiriza mu ddungu) bwe’batyo abantu ba’ Isiraeri bwe’banunulibwanga okuva mu bibi byabwe.

Wabula ssaddaakka ezaweebwangayo mwaka ku mwaka okusinziira ku Mateeka ag’endagaano enkadde tegasobolanga kutuukiriza baana ba’Isiraeri. Ekikolwa kino (eky’ebiweebwaayo) kyali kisiikirizze eky’ebintu ebirungi (eby’ebikolwa bya Kristo) (Abaebbulaniya 10:1). Abantu ba Isiraeri tebalindirira Yesu, wabula baasiinzanga ba katonda abalala, nebagaana okukkiriza ebigambo bya bannabbi ab’omundagaano enkadde.

Katonda kye yava asuubiza nti alituma Yokaana omubatiza asobole okuzza obugya emitima gya’abaana ba Isiraeri, bakyuuke

bateketeeke emitima gyabwe nga balindirira okujja kwa’yesu.

Bwe yali nga tanaba kubatiza Yesu, Yokaana omubatiza yakuutiranga abantu bonna bafunne okubatiza okw’okwenenya bagibweeko ebibi byabwe.

Ensonga lwaki Yokaana yabatizaanga yali eno: Yali ateekateekera abayisiraeri okujja kwa Yesu bamweyune era bamukkirize.

Yokaana yasomesa nit yesu alijja najjawo ebibi byabwe byonna era ajjewo ssaadaaka ez’edda (ezo’mundagaano enkadde) ye abeere ssadaakka ennamu eyolubeerera gyetuli fenna.

Abaana ba’isiraeri banji bayatula ebibi byabwe, ne beenenya era nebabatizibwa. Okwenenya kye ki? Kwe kukyussa endowooza yo n’ogizzayo eri Katonda. Abantu bajjanga eri Yokaana okufuna okubatizibwa okw’okwenenya. Kano kaali kabonero akalaga nti baali bakyusizza endowooza zaabwe nga bazizizza ku Katonda era

Page 318: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

318 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

nga batuula eby’onoono byabwe eri Yokaana. Abantu bano baamanya nti tekisoboka kuyingira mu bwa’kabaka bwa Katonda nga beesiga ebikolwa ebirungi bye baali bakoze. Bali balina kukyussa ndowooza yabwe bagisse ku Yesu, kubaanga ye yali asobola okubasonyiwa era nabanazaako ebibi byabwe babeere nga basaanidde okuyingira mu Ggulu.N’olwekyo, okubatiza kwa Yokaana kwatuukiriza ebintu bino: Ekyolubereberye, kwaleetawo okwenenya ekibi no’kutunuulira Yesu Nga eyajja okutuwa fenna obulokozi.

Yokaana yagamba nti, “Nze mbabatiza na amazzi olw’okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n’Omwoyo Omutukuvu n’omuliro” (Matayo 3:11).

Yokaana omubatiza yakuutira abantu beneenye bade eri Yesu n’okujulira n’ajulira gyebali abantu nga Yesu bwe yali agenda

okubagyako ebibi byabwe n’ebyensi yonna (Yokaana 1:29). Ne Yesu naye yajja kuno ku’nsi okujilira ku Yokaana nti yajja okutulaga ekkubo er’obutuukirivu (Matayo 21:32).

Ekibuuzo ekyo’kunna: Olowooza

okutegeera kwe’njigiriza eno ey’okubatiza kwa Yesu (nga Eteeka ery’okufuna obulokozi) tesaanyeewo okuffa kwe (Yesu) kumusalaba? (Olowooza enjigiriza y’okubatiza teesukulume oba olyawo n’okusanyaawo n’essanyaawo enjigiriza y’okuffa kwa Yesu kumusalaba?

Eky’okuddamu: Okubatiza kwa Yesu

n’okuffa kwe kumusalaba nsonga za muwendo munji nnyo eri obulokozi bwaffe Tetuyinza kugamba nti ekimu kisiinga kukinaakyo Wabula, ekizibu abakkiriza abasinga kyebalina kye kino: Bakkiriza mu musaayi ne mu kuffa kwa Yesu ku

Page 319: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

319 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

musalaba kwokka. Naye ebibi byaffe tebyatugibwaako okuyita mu musalaba gwokka. Yesu yeetikka ebibi byaffe ku lunaku luli lwe yabatizibwa. Okkuffa kwe kumusala gwe gwali omusango gweyatwala kulwaffe n’ebibi byaffe.

Okukkiriza mu musalaba gwokka, awatali kukkiriza mu kkubatiza kwa Yesu tekwayawukana nnyo n’okuwaayo ssaddaakka nga teteekeddwaako mikono. Abo abawangayo ssaddaakka ez’ekikka ekyo tebaanunulibwaanga. Ssaddaakka ey’ekikka ekyo yali tesanyusa Katonda. Mukama Katonda yayita Musa nayogera naye ebigambo bino, “Oba ng’awaayo ekiweebwayo ekyokkebwa ku nte, anaawaangayo nnume eteriko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama. Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkirizibwanga okumutangirira.”

(Eby’abaleevi 1:3-4). Katonda wamazima era wa’bwenkaanya.

Ataddewo enkola ey’okutangirira ebibi eyamazima. Edda Katonda bwe bamuwa ssaddaakka ezitaali nongoofu, abantu tebakkirizibwa mu maaso ge ye. Naye ssaddaakka eya’weebwangayo ng’ekwatagana n’amateeka yali ekkirizibwa mu maaso ga’Katonda era nga n’ebibi byaffe bitangirirwa. Mungeri y’emu, naffe bwe’twawula okubatiza kwa Yesu okukujja kukukkiriza kwaffe mu ye, tetuyinza kugibwako bibi.

Ekimu ku bintu ebiwabya abakristayo bye’bakkirizaamu kwe kugamba nti basobola okulokoka bwe’batula Yesu ng’omulokozi. Weewaawo kyawandiikibwa nti, “buli akowoola erinnya lya mukama alilokoka.” (Ebikolwabya’abatuma 2:21, Abaruumi 10:13), naye era kyawandiikibwa nti, “Buli muntu aŋŋambanti Mukama wange, Mukama wange, si

Page 320: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

320 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

y’aliyingira mu’bwakabaka obw’omuggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala” (Matayo 7:21).

Tulina okusooka okumanya eteeka ery’obulokozi Katonda lye’yassawo. Olwo tunaasobola okumanya omugaso oguli mu kwatula Yesu ng’omulokozi waffe. Singa obulokozi bwaffe bwali busibukka mu kukkiriza linnya lya Yesu lyokka, tetwandibadde na’kyawandiikibwa ng’ekiri mu Matayo 7:21 ekogera ku bakozi b’obutali butuukirivu.

Wabula, enkola ya’katonda eyewunyissa era etuukiridde eyogerwaako mu byawandiikibwa. Tusoma mu byabaleevi essula satu ne nnya nti omwonoonyi yali alina okuteeka emikono gye ku mutwe gwa ssaddaakka. Kali kabonero ak’okugisaako ebibi. Ssaddaaka bwe yattibwa omusaayi ne gumanulibwa. Ekikolwa kino eky’okumansira kyassibwa munkola ng’omuntu awaayo ebiweebwayo olw’bibi. Omuntu bwe

yawangayo ekiweebwayo ekitali kirongoofu, oba ekiwebwaayo ekitateekedwaako mikono, ebibi bye tebyatangirirwa.

Ebyawandiikibwa mu ndagaano enkadde bikwatagana nebyo ebyawandiikibwa mu ndagaano empya (Isaaya 34:16). Okubatiza kwa Yesu mu mugga Yoludaani nakw kukwatagana n’ekikolwa ekyakolwa mu ndagaano enkadde eky’okuteeka emikono ku ssaddaaka mu ndagaano enkadde. Yesu bwe yali ng’abatizibwa Yokaana omubatiza mumugga Yoludaani Yesu yamugamba nti, “Kkiriza kakano, kubanga kitugwanira okutuukiriza obutuukirivu bwonna” (Matayo 3:15).

Ekigambo “obutuukirivivu bwonna” kitegeeza “obwenkanya.” Kitegeeza nti kimugwanira okufuuka ekiweebwaayo olw’ebibi by’abantu bonna. Era yesu kyali kimugwanira okubatizibwa Yokaana omubatiza nga ateekebwako emikono ebibi by’ensi yonna bilyoke biteekebwe ku ye mu

Page 321: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

321 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

nkola eyo’bwenkanya. Enkola eno efananiramu ddala enkola eyasooka eyaliwo mu biseera by’endagaano enkadde.

Bwe tukkiriza mu kuffa kwa Yesu kwokka tuba ng’abagamba nti okuffa kwa Yesu tekwalina mugaso gye tuli. Lwaki? Kubanga ebibi byaffe fenna mu’nsi tebyanditeekedwa ku Yesu singa teyabatizibwa. Olwo n'musaayi gwe tegwandibadde mulongoofu era tegwandisanidde kujjawo byonoono byaffe. (Abaebulaniya 10:29).

N’olwekyo, omusaayi gwa Yesu gwandibadde gutukuliza ddala emitima gy’abakkiriza singa bakkiriza nti ebibi byabwe byonna byateekebwa ku Yesu bwe yali abatizibwa Yokaana omubatiza (Yokaana na muteekao emikono gye). Eno yensonga omutume Yokaana gyeyasinziirako ng’ajulira nti Yesu ye mwana wa Katonda eyajja kubw’amazzi n’omusaayi era eyawangula ensi. Yesu yajja kubw’amazzi n’omusaayi (1 Yokaana 5:4-6).

Yesu yenyini yanyonyola abayigirizwa be

kubimukwatako mu byawandiikibwa byonna. Yatandikane Musa ne bannabbi bonna nabalaga (mu ndagaano enkadde) nga ye bwe yali ekiwebwaayo ku olw’ebibi byaffe. Mu Zabuli, Daudi bwati bwatugamba, “Ne ndyoka njogera nti Laba, nzize; Mu muzingo ogw’ekitabo ekyampandiikwako:” (Zabbuli 40:7, Abaebulaniya 10:7).

Eky’enkomerero kyekino:Okubatiza kwa Yesu tekusanyaawo musalaba. Nedda, Okubatiza kwa Yesu kitundu kyamuwendo nnyo ekituukiriza enjiri ya Kristo. Okubatiza kuno kwe kuyunga amakulu agali mu musalaba naffe netutegeera enjiri mu bujjuvu bwayo. Tuyiga nti tetuyinza kununulibwa awatali kubatiza n’omusaayi ogw’omuwendo omungi ogwa Yesu. Omuntu asanidde okugibwako ebibi bye nga ayita mukukkiriza okubatiza kwa Yesu n’omusaayi gwe yayiwa kumusalaba. Asanidde okufujjuzibwa n’omwoyo omutukuvu. (1

Page 322: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

322 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Yokaana 5:8, Ebikolwa by’abatume 2:38) Obw bwe’bulokozi obwa nnama ddala.

Ekibuuzo eky’okutaano: Osobola

oku’nyonyola enjiri y’amazzi n’Omwoyo? Eky’okuddamu: Singa nali mbuzziza empiso

wabweru w’enju yange nandibadde nfuba okulaba nti nginoonya ne’ngiraba. Singa empiso ebulidde ebweru ntandika okuginoonyereza munda munyumba ekyo tekyandibadde kyamugaso gyendi. Abakkiriza tufananako ng’abo abafuba okunoonya ebintu mu kifo kyebitalimu. Tutera okuwakana ku’nsonga eziwerako ku baibuli naye ate tetweebuzza kibuuzo kino, “ Lwaki Yesu Kristo yabatizibwa Yokaana omubatiza?” Okuwakana kuno kwe’kuleseewo okwawukana mu ffe abakristayo ba leero.

Abakkiriza tulina okukkiriza nti bye’tunoonya tubinoonyeza mu kifo kikyamu. Awo tujja kuba tusobola okwewala enjawukana naddala ez’enjigiriza. Bwe tuba twagalira ddala okumanya amazima tulina okw’ewalira ddala obunanfuusi. Olowooza lwaki abayigirizwa bassa nnyo essira ku kubatiza kwa Yesu Kristo? Amazima genyini ku njiri ya’mazzi n’Omwoyo gaabulirwa mu’nsi yonna.

Yesu yagamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw’atazaalibwa mazzi na mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:5). Bayibuli etugamba nti Yesu yajja kubw’amazzi n’omusaayi asobole okutulokola okuva mu bibi byaffe. (1 Yokaana 5:6). Amakulu emabaga w’omusaayi kwe’kuffa kwe kumusalaba. Olwo amakulu g’amazzi ge galiwa? Lwaki Yokaana omubatiza yabatiza Yesu? Lwaki yayasanguza nti, “kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu

Page 323: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

323 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

bwonna” (Matayo 3:15). Lwaki ebigambo ebyo Yesu yabyogera nga tanaba kubatizibwa?

Owololuganda, kansubire nti otegeera era okkiriza mu njiri eno ey’ammazzi n’omwoyo, naddala ey’okubatiza kwa Yesu. Yesu bwati bwe yanyonyola abayigirizwa be kunsonga eno ey’enjiri y’amazzi n’omwoyo; nabo abatume bassa essira ku kubatiza kwa Yesu bwe baali babuulira enjiri. Omutume Paulo yagamba nti, “Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw’ebibi byaffe ng’ebyawandiikibwa bwe byogera; era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw’okusatu ng’ebyawandiikibwa bwe byogera;” (1 Abakkolinso 15:3-4).

“Kristo yafa olw’ebibi byaffe ng’byawandiikibwa bwe byogera” Ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Kitegeeza nti okufa kwa Yesu kwatangirira ebibi byaffe fenna. Okufa kwe kwali kufananako ng’enkola

eyo’mundagano enkadde ey’okuwaayo ssaddaakka. Abaebbulaniya 10:1 tusoma nti, “kubanga amateeka bwe galena ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’bigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, tebayinza enaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera.”

Ekiweebwayo ekya nnama ddala kirina kubeera kitya? Mu kitabo ky’abaleevi (Eby’abaleevi 1:3-5) tuyiga ebisanyizo bisatu ebyaali birina okutuukirizibwa omwonoonyi. Olwo ebibi bye biryoke bitangirirwe.

1) Yaleetnaga ekiweebwayo ekitaliiko bulema. (Eby’abaleevi 1:3).

2) Yali alina okuteeka emikono gye kumutwe gwe’kiweebwayo. (Eby’abaleevi 1:4). Tulina okumanya nti ekikolwa eky’okussako emikono kali kabonero ka ku teekako byonoono ku kiweebwayo (ssaddaakka).

Page 324: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

324 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

3) Yali alina okutta alyoke asobole okutangirira ebibi bye (Eby’abaleevi 1:5).

Kulunaku olw’okutangirira, Alooni, Kabona omukulu yateekanga emikono gye ku mbuzzi enamu etaliiko bulema bwonna nagyatulako ebibi bya Isiraeri byonna nabissa ku mbuzzi (Ebyabaleevi 16:21). Mu kiseera ekyo Alooni ye yali Akikiridde Isiraeri yonna. Ye yekka ye yateeka emikono gye ku mutwe gw’embuzzi; naye ebyonoono by’abaana ba’isiraeri byonna (abantu nga obukadde bubiri oba busatu) bwateekebwanga ku mbuzzi eno. Ssaddaaka z’omundagaano enkadde kisikirizze ky’ebyo ebirungi ebigenda okujja. Yesu yewaayo yekka kulw’okwagala kwa’katonda natwawula okusinziira ku kwagala kwa’Katonda mu byawandiikibwa.

Yesu yajja mu kifananyi ky’omuntu, nabeera omwana gw’endiga ataliiko bulema. Yesu y’omwana wa Katonda yekka era ye “…bwali

okumasamasa kw’ekitiibwa kye n’ekifaananyi kye ddala bwali…” (Abaebbulaniya 1:3). Kulw’ensonga eno Yesu ye yali asanidde okubeera ekiweebwayo kulwaffe abonoonyi fenna.

Yokaana omubatiza yabatiza Yesu mu mugga Yoludaani. Mu kiseera ekyo Yokaana omubatiza, era assibuka mu lulyo lwa Alooni, ye yali akikiridde abantu bonna. Nemukubatiza kwe Yokaana naye emikono gye yagissa ku Yesu. Yokaana bwe’yateeka emikono gye ku Yesu Kristo, ebibi by’ensi yonna byamuteekebwako era eteeka lyamukama nerituukirizibwa.. Yesu yagamba Yokaana nti, “Kkiriza kaakano kubanga kitugwanira okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Yokaana nalyoka amubatiza. Ebibi byaffe ebiteekebwa ku ye. Enkeera nga Yesu amaze okubatizibwa, Yokaana yalaba Yesu n’akabira wagulu nti, “Laba omwana gw’endiga owakatonda ajjawo ebibi by’ensi.” (Yokaana 1:29).

Page 325: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

325 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Yesu yafa kumusalaba ffe fenna tusobole okugibwako ebibi byaffe. Yagamba nti “Kiwedde” (Yokaana 19:30). Yazuukira natte okuva mubafu natufuula abatuukirivu mu maaso ga Katonda. Jjukira nti ekiweebwayo olw’ekibi kya’weebwayo olw’kusonyiyibwa ebibi byaffe. Omwonoonyi (mu ndagaano enkadde) yali alina okuteeka emikono gye ku kiweebwayo nga tanaba kukitta. Singa kino yakyerabira (ekikolwa ek’okuteeka emikono gye ku ssaddaakka), teyandinunuliddwa kubanga tagondedde mateeka. Omukkiriza bwaba tamanyi makulu agali mu kubatiza kwa Yesu, omuntu oyo ayonoona mu mutima gwe era obununuzi bwe tebuyinza kuva mu kukkiriza kwe ye kwaffuba okufuna mu maanyi ge.

Abakkiriza abasinga tumanyiko kituundu kubikolwa bya katonda eby’obutuukirivu. Omutume Yokaana atunyonyola mu bbaluwaye esooka nti, “oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi,

Yesu Kristo; sin a mazzi gali gokka, naye n’amazzi gali n’omusaayi guli” (1 Yokaana 5:6). Mu byawandiikibwa mulimu enyiriri nyinji eziraga omuwendo oguli mu kubatiza kwa Yesu. Okubatiza kwe kye kimu ku bikolwa ebituukiriza obulokozi bwaffe abakkiriza. Abalokole fenna tusaanye tudeyo tunywegere enjiri y’amazzi n’omwoyo.

Ekibuuzo Eky’Omukaaga: Bukakafu ki

mubyawandiikibwa obulaga nti “abatume bassa essira ku kubatiza kwa Yesu?”

Eky’okuddamu: Okusokera ddala, tulina

okumanya enjawulo wakati w’okubatiza kwaffe n’okubatiza kwa Yesu. Okubatizibwa amazzi gokka tekitegeeza nti tulokose. Bwe tukkiriza mu Yesu Kristo, olwo tulokoka. Enono endala zetukola ng’okubatizibwa, okukomolebwa si

Page 326: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

326 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

zamuwendo nyo okusinga okwatula Kristo nga mukama waffe. Eby’awandiikibwa tebyogera ku kubatiza kwaffe abantu ng’eteeka, wabula essira liteekedwa ku kubatiza kwa Yesu Kristo; okubatiza kwe yafuna okuva eri Yokaana omubatiza.

Mu’byawandiikibwa mulimu enyiriri nyinji ezogera ku kubatiza kwa Yesu, n’omugaso okubatiza okwo gwe kulina eri obulokozi bwaffe. Eky’okulabirako kye kino: mu bitabo by’enjiri ebina okubatiza kwa Yesu kwogerwaako mu suula ezokumwanjo. Mu njiri eyawandiikibwa Makko, okubatiza kwa Yesu kwe kuli mu nyanjula. Yokaana ye ateekako ne’nnaku (Yokaana 1:29) ng’ava kulunakku Yesu lwe’yabatizibwa.

Yokaana omubatiza (mu njiri ya Yokaana 1:29) yalaangirira okujja kwa Yesu oluvanyuma lw’okubatizibwa kwe nga agamba nti, “Laba omwana gw’endiga owa’katonda ajjawo ebibi

byensi.” Olunyiriri luno lutegeeza nti ebibi by’ensi yonna byateekebwa ku Yesu Kristo Yokaana bwe yali amaze okumubatiza. Yesu yamala nafa kumusalaba abeere omutango olw’ebibi byaffe mu Yokaana 19:30 yalangirira nti “Kiwedde” era kulunaku olw’okusatu n’azzuukira mu baffu.

Omutume Paulo yagamba nti, “Kristo yafa olw’ebibi byaffe ng’ebwyawandiikibwa bwe byogera;” (1 abakkolinso 15:3). Wano ebyawandiikibwa byogera ku kiseera ekyaliwo mu’ndagaano enkadde. Omwonoonyi, eyali omulamu mubiseera bye’ndagaano enkadde, yali ayinza okusonyiyibwa? Kino kyali kisoboka kitya? Yli alina okuteeka emikono gye kukiweebwayo nga tanaba kukitta. Singa emikono tegyateekebwangakko ku ssaddaakka, omwononyi oyo teyandisonyiyidwa kubanga ssaddaakka ye teyakkirizibwanga mu maaso ga katonda.

Page 327: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

327 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Omutume Paulo yagamba, “Oba temumanyinga ffe fenna fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?” (Abaruumi 6:3) tusobola tutya okubatizibwa mu Yesu? Okubatizibwa mu Yesu kwe kukkiriza mu kbatizibwa kwe mu mugga Yoludaani; si okubatiza okwafe kuno kwetumanyi. Bwe tukkiriza mu mazima agawandiikibwa nti Yokaana omubatiza yassa ebibi by’ensi yonna ku Yesu bwe yateeka emikono gye kumutwe gwe (ogwa Yesu), Tubatizibw mu linnya lya Yesu.

“Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira Kristo, mwayambala Kristo” (Abagalatiya 3:27). Abo abateeka ebibi byabwe ku Yesu, okuyita mu Yokaana omubatiza bafuuse abaana ba’Katonda abatuukirivu olw’okukkiriza.

“Era mwakomolerwa mw’oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw’ennyama, mu kukomolebwa kwa

Kristo” (Abakolosaayi 2:11). Enkola ey’omwoyo eyokukomolebwa kwe

kweyambulako ekibi nabuli kikolwa ekigenderako (okwo kwekukomolebwa okw’omwoyo) Mu kitabo ky’abaruumi 2:29 tuyiga nti “…n’okukomolebwa kwe kw’omutima…” Okukomolebwa okwo kwe kukkiriza mu kubatiza kwa Yesu, okusalako buli nkwaso y’ekibi mu mitima gyaffe.

“Era kaakano gegaabalokola mmwe mu kifaananyi ekyamazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw’womwoyo omulungi eri Katonda, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo” (1 Peetero 3:21). Okubatiza kwa Yesu kabonero (kyakulabirako, kifaananyi) akatulokola. Munnaku za Nuuwa abantu basaanawo kubanga tebakkiriza mu mazzi. Kino kituufu ne mu nnakku zzaffe; tukyalinamu abantu abajeemu. Newankubadde bakkiriza mu Yesu Kristo,

Page 328: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

328 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

Tebakkiriza mu kubatiza kwe okw’amazzi. Omutume Yokaana yawandiika okubikulirwa

kwe yafuna mu baluwa ye, “Oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi, Yesu Kristo; sin a mazzi gali gokka, naye n’amazzi gali n’omusaayi guli.” (1 Yokaana 5:6). Yesu yajja gyetuli kulw’okubatiza kwe n’e kumusalaba alyoke atununula okuva mu buli kibi. Yokaana era yagamba nti, “Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n’amazzi n’omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.” (1 Yokaana 5:8). Kino kitulaga nti okubatiza kwa Yesu, okufa kwe kumusalaba, n’omwoyo omutukuvu byonna awamu bye bituukiriza obulokozi (obulokozi bwaffe).

Yesu yagamba Nikoodemo nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw’atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabak bwa Katonda” (Yokaana 3:5). Ffe abakkiriza tuzaalibwa amazzi n’Omwoyo.Owoluganda weetaga okukkiriza mu kubatiza kw’amazzi n’omusalaba. Olwao ojja kulokoka ofune omwoyo

omutukvu ng’ekirabo okuva eri Katonda. Omutume Petero kyeyava ayogera nti,

“Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mumwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo ky’omwoyo omutukuvu” (Ebikolwa by’abatume 2:38).

Owo’luganda olina okubeera no’kukkiriza okuggumidde mu kubatiza kwa Yesu Kristo. Okukkiriza kuno kulina okubeera nga kunywedde mumutima gwo. Olwo onoosonyiyibwa era onoofuna ekirabo ky’omwoyo omutukuvu. Togaana mazima gano getuva okuyiga, owoluganda. Abakkiriza fenna tusanye tudeyo kunjiri eno ey’amazzi n’omwoyo.

“Kale tuleke okw’ogera kubigambo eby’olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n’kukkiriza eri Katonda, okuyigiriza

Page 329: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

329 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

okw’okubatiza, n’okuteekako emikono, n’okuzuukira kw’abafu, n’omusango ogutaggwawo” (Abaebulaniya 6:1-2). Mukanisa ey’olubereberye basomesaanga ku kubatiza kw’okuteekako emikono, okuzuukira kwabafu, n’omusango ogwoluberera eri abantu. Fenna tusaanye tumanye munda muffe nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe byonna okuyita mukubatiza kwe, nafa kumusalaba; neyetikka omusango gwaffe fenna.

Ekibuuzo eky’omusanvu: Njawulo ki ddala

eriwo munjiri eno ey’amazzi n’omwoyo? Enjiri eno erina enjawulo gyeleetawo muktegeera kwange okwa’Katonda?

’okuddamu: “Obulokozi” (okulokoka) kitegeeza okusonyiyibwa ebibi. Omwonoonyi bwafuuka omutuukirivu ng’akkirizza enjiri y’obulamu aba “alokose. Obulokozi buno buva

mu kukkiriza enjiri y’amazzi n’omwoyo okuyita mu Yesu Kristo.” Omwoyo omutukuvu akka kw’abo abanunulidwa awamu n’abo abalokose era ajulira nti abamukkiriza bo baana ba’Katonda. Kale no ebikolwa bino byonna bikwatagana; Okusonyiyibwa, okufuna omwoyo omutukuvu, okununulibwa, okulokoka, okufuuka omwana wa Katonda, no’kufuuka omuntu omutukirivu.

Yesu yagamba nti, “Nze kkubo n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze” (Yokaana 14:6). Obwakabaka obw’omuggulu tubuyingiramu nga tuyita mu Yesu Kristo yekka. Tulina okumanya nti Yesu Kristo yajjyawo ebibi byaffe era natubala nga abantu be abasaanidde okuyingira mu bwakabaka bwe.

Abakkiriza abasinga balowooza nti bwebakowoola obukowoozi erinnya lya Yesu banaabalokola. Newankubadde bakkiriza mu Yesu, tebasoma byawandiikibwa, era n’okumanya tebamanyi Yesu kyakoze

Page 330: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

330 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

okubalokola okuva mu bibi byabwe byonna. Katonda ye mwoyo era ye Mutukuvu;takyukka ate walubeerera. Naye ffe abantu, obulamu bwaffe bujudde ekibi. Okuyingira mu bwakabaka obwa Katonda kisoboka? Kisobokera ddala mu Yesu Kristo; ffe tukkiriza mu “tteeka ery’Omwoyo gw’obulamu mu Kristo Yesu” (Abaruumi 8:1-2).

Abantu banggi tebamanyi Yesu kye’yakola okubalokola; Bakkiriza bukkiriza naye by’ebakkiriza tebabimanyi. Abalala bagamba nti bwebakowoola mukama mu mbeera enzibu banaanunulibwa. Balowooza bakyali balokole naye bakyalina ekibi mu mitima gyabwe. Bwoba okyalina ekibi, newankubadde nga okyakkiriza mu Yesu olwo, walokoka kuva mu ki? Omuntu bwakubuuza nti, “Yesu yakunaazaako atya ebibi byo? Abasinga baddamu nti, “ndowooza yabinazaako ku lunaku lwe yaffa kumusalaba.” Singa bababuuza nti, “Olina ekibi mu mutima

gwo?” Baddamu nti, “Yee. Ani muffe ayinza okwewala ekibi kuno ku’nsi? Makulu ki agali mu linnya lya Yesu. Erinnya eryo litegeeza “Omulokozi alokola abantu okuva mububi byaabwe” (Matayo 1:21). Tukkirizza mu Yesu olwo netufunna obulokozi okuva mu bibi byaffe.

Ffe abakkiriza bwe tuba n’ekibi mumitima gyaffe (newankubadde nga twakkiriza mu Yesu Kristo ng’omulokozi waffe, tubeera tukyassibidwa mu kibi so n’amazima nga tegali muffe era omusango guba ku mitwe gyaffe. Omutume Paulo yagamba nti, “Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu” (Abaruumi 8:1).

Kikakasiddwa mu byawandiikibwa nti omuntu akyali n’ekibi mu mutima gwe tali mu bumu ne Yesu Kristo. Lwaki asigala asigala nga’mwonoonyi atanaba kununulibwa era eyawaba okuva ku’bulokozi, newanubadda akyayatula Yesu ng’o mulokozi we? Kubanga

Page 331: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

331 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

omuntu bwatyo akkiriza mu musaayi gw’omusalaba gwokka. Takkiriza mu kubatiza kwa Yesu okw’kuteekabwako emikono. N’olwekyo,abantu bwe’batyo bakyalwana n’ekibi mu mitima gyabwe, nga tebamanyi nti Yesu yabijjawo dda.

Waliwo enjawulo yamanyi nnyo wakati wa’bakristaayo abakkiriza mukubatiza kwa Yesu n’abo abatakukkirizamu. Abamu banunulibwa bwe bamanya amazima nebakkiriza mukubatiza kwa Yesu ate abalala basigala nga tebamanyi so nga tebakkiriza. Omwoyo omutukuvu takka kumwonoonyi. Akka kw’abo bokka abatuukirivu abalokose ate abakkiriza mu mazzi n’omwoyo.

Omutuma Paulo yagamba nti, “Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?” (Abaruumi 6:3) Abantu bangi bakkiriza nti Yesu yajjawo ebib byabwe ku musalaba. Naye era ffe abakkiriza tetuyinza

kwatula nti tulina emitima emirongoofu egitalina kibi kyonna, okujjako nga tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu.

Bwe tuba teteunaba kuteeka byonoono byaffe ku Yesu (okuyita mu kukkiriza mu kubatiza kwe), Tubeera tukyalina ekibi munda muffe. Abo abatakkiriza munjiri ey’okubatiza kwa Yesu n’omusalaba, babeera balina obusobozi okukola ebikolwa ebyeddini ebitasanyusa Katonda era n’obusobozi obufuuka abonoonyi baba babulina. Wadde bakeera kunkya nebasaba munsozzi, wadde basaba ekisonyiwo buli jjo, baba bakyalina ekibi mu mitima gyabwe.

Yesu yagamba nti, “buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange Mukama wange, si y’aliyingira mu bwakabaka obw’omuggulu wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. Bangi baliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo,

Page 332: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

332 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

tetwakolanga bya magero mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu!” (Matayo 7:21-23).

Bani abo abakola eby’obujeemu bayogerako Yesu? Bebo abatanaba kufuna bununuzzi obutuukiridde mu mitima gyabwe; abakkiriza mu musalaba gwokka. Okwo okukkiriza kukolerere era tukuva eri Katonda. Ffe abakkiriza tubeera bajeemu bwe tuba tetukkiriza mu mazima nti Yesu yatulokola okuyita mu kubatiza kwe kumusalaba. Okujako nga tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba, tetuyinza kugamba nti tulina okukiriza okutuufu.

Yesu yagamba nti omuntu bwaba ayagala okulokoka, obulokozi busoboka ng’omuntu akkiriza mu mazzi n’omwoyo. Ngera bwe kyali mubiseera bya Nuuwa. Abantu mu kiseera eko bali alina kukkiriza mububaka obw’okwenenya Nuuwa bwe yali abaleededde. Olwo

bandisonyiyiddwa ebibi byabwe nebawona amataba. Awatali kukkiriza njiri y’amazzi n’okubatiza kwa Yesu, tewali kusonyiyibwa bibi so tetuyinza kufuuka bana bakatonda.

Ekibuuzo Eky’omunaana: Nali nkakasiza

ddala nti bwe’nzikiriza mu Yesu mbera ndokose. Nali nina emirembe mumutima gwange. Naye kakati obubakabwo buno bumbuzaabuza. Nina kukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba gwe olw ndokoke? Kino kyogamba kituufu?

Eky’okuddamu: Amazima owoluganda ge

gano; Bwoba nga tokkirizza mu kubatiza kwa Yesu olina ekibi mu mutima gwo. Omutume Yokaana yagamba nti, “Bwe twogera nti tetulina kibi, twekyamya fekka so namazima tegali muffe” (1 Yokaana 1:8). Bwogamba nti tolina kibi naye

Page 333: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

333 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

nga ddala okirina kiba kikolwa kyakwelimba; ebyawandiikibwa bigamba nti amazima tegakuliimu. Okulumiriza kw’ekibi kugya mu mitima gyaffe nga tumaze okujjibwako ebibi byaffe, nga tukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba gwe. Bino byonna bisoboka ku bw’omwoyo Katonda gwe yatuwa ng’ekirabo.

Omutume Paulo yagamba, “…si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusa ddala enjiri ya Kristo…” (Abagalatiya 1:7). Abatume tebafuna njiri ndala yonna okuva eri Kristo okujjako enjiri y’amazzi n’mwoyo. Bwe tugaana okukkiriza mu njiri ey’amazi n’omwoyo abatume gybaabulira, ddala tukyalina ekibi muffe.

Tuyinza tutya okutambula obulungi mu bulokozi naye nga tukyalina ekibi muffe? Abakristayo abatanaba kulokoka beyisa bulungi mu maaso ga Katonda bakakasa nti obulokozi bwabwe si bukyamu, wabula okulumiriza

kw’ekibi bakyakulina kubanga ekibi kibamenya. Obulokozi bwebalina si bwa mazima era tebuva eri Katonda wabula mu ndowooza ne mu bwebawulira bo ng’abantu. Abantu bwebatyo basaba esaala ez’okwenenya bulijjo. Abo abakkiriza mubulokozi buno obukyamu balowooza nti luli ba lumu balilokokera ddala nga tebalina kibi kyonna mu bo. Babera bamaliridde okukuuma obulamu bwabwe nga butukuvu era nga bakuuma amateeka bulijjo; naye basigala nga bakyali bonoonyi singa tebatudde (tebatadde) bibi byabwe ku Yesu okuyita mu kukkiriza mu kubatiza kwe. Obulokozi Katonda bwatutegekedde bwe bulokozi obutuukiridde. Obulokozi obwo bulimu obubaka buno; Yesu yajjawo ebibi by’ensi yonna okuyita mukubatiza kwe, (okaana lwe yamubatiza mu mugga Yoludaani) natufirira kumusalaba.

OmutumeYokaana kyava agamba nti, “Bwe

Page 334: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

334 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

twatula ebibi byaffe, ye wamazimaera omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n’okutunaazaako byonna ebitali byabutuukirivu” (1 Yokaana 1:9). Singa ebibi byaffe tebyasonyiyibwa okuyita mu njiri y’amazzi n’omwoyo, wandibadde tulina okwatula mu maaso ga katonda nti tuli bonoonyi newankubadde tumukkiriza mu era nti tumanyi nti twolekedde geyena kubanga ekibi kijudde mu ffe.

Awatali njiri y’amazzi n’omwoyo, ekibi tekiyinza kujibwawo newnkubadde nga kyekisingayo obutono. Naye bwetwatula ebibi byaffe eri Katonda (nga tuyita mukubatiza ya Yesu nokukkiriza mu mwoyo we), tusonyiyibwa era tufuuka abatuukirivu.

Leero lwelunaku olulondedwa ku lulwo owoluganda (2 Abakoksaayi). Buli awulira n’akkiriza mu njiri ya Yesu, okubatiza kwe kumusalaba, n’omusalaba; alokoka nafuuka omutuukirivu era alina okukkiriza nti mwetegefu

okuyingira mu bwakabaka bwa katonda obw’omuggulu (Yesu nebwalabika ku dakiika eno). Okukkiriza mu ndowooza endala ez’eddiini n’obufilosoofu obutaliimu obukoontana n’enjiri, tebusobola kutulokola okuva mubibi byaffe. Obwo bubera bukodyo omulabe setaani bwagezaako okuteeka mu ndowooza zaffe abakristayo. Tulina okukyuka tudeyo kunjiri ey’amazzi n’omwoyo tufunire ddala obulokozi obw’amazima mu mitima gyaffe. Tuve mukibi tumwagale ye n’omulimu gwe.

Ekibuuzo eky’omwenda: Ssebo singa

okusomesakwo (n’entegeera yo) ku’nsonga eno “ey’amazzi n’owoyo” yali ntuufu, olwo obulokozi bw’omubbi eyaffa kumusalaba tebwandisobose. Okusinziira ku ky’osomesa, omubbi teyayatula byonoono bye; kale kirabika nti Katonda yamenya eteeka lye yali

Page 335: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

335 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

atadewo okuyingira mu bwakabaka bwe. Osobola okunyonyola engeri omubbi eyafa kumusalaba gyeyalokoka mu?

Eky’okuddamu: Mukiseera ekyo Yesu lwe

yafa, babayudaaya bali balindirira Massiya eyalangirirwa. Kale abantu bali bamanyi enono z’amateeka n’okuwaayo ebiweebwayo ne ssaddaakka Katonda ze yali awadde Musa. Abayudaya bakkiriza nti Massiya yali wakujja okusinzira ku teeka lya Katonda ery’okutangirira; bali bamusuubirira mu mateeka. Naye tebakkiriza nti okubatiza kwa Yesu kwe kwali lulina okutangirira ebibi byensi yonna (Makko 11:27-33), naye Yesu bamulaba ng’omu kw’abo abawabya abantu; eno y’emu kunsonga lwaki yakomererwa kumusalaba.

Okusinziira ku mateeka g’abaruumi, Abaruumi tebakkirizibwanga kukomererwa (Ebikolwa by’abatume 22:25-29, 23:27) era

tuyiga nti, ababbi ababiri abali bakomeredwa tebali b’aruumi wabula bayudaaya. Tuyiga n’era nti omubbi eyali kumusalaba yali atya Katonda yagamba nti, “Yesu onjijukiranga mu bwakabaka bwo” (Lukka 23:42). Omubbi ono eyali omuyudaaya yali amanyi amateeka agali gafuga ebiweebwayo (enono z’amateeka mu ndagaano enkadde) Katonda ge yali awadde Musa. Kale no yali akkiriza nti Massiya alijja kuno ku’nsi okussinzira ku teeka lya Mukama ery’okutangirira.

Abo abajja eri Katonda balina okwatula nti bonoonyi er bolekedde geyena. Omubbi yayatula ebibi bye bwe yagamba nti, “era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo ekitasaana” (Lukka 23:41). Tuyiga nti omubbi yali attya naye ng’era akyasuubira okuyingira eggulu. Jjukira yagamba nti, “Yesu onjijukiranga mu bwakabaka bwo” (Lukka 23:42). n’era

Page 336: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

336 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

yagamba nti, ”nayeono takolanga kigambo ekitasaana” (Lukka 23:41). Omubbi ono yamanya atya Yesu byeyakola? Yakkiriza nti Yesu yazaalibwa kubw’omwoyo omutukuvu, yazalibwa omuwala atamanyi musajja Maliyamu, yabatizibwa Yokaana omubatiza (eyakikirira abantu fenna), yajjawo ebibi by’ensi era yakomererwa kumusalaba. Yali muyudaaya ey’akkiriza mu bikolwa Yesu byeyamukolera ye n’abantu abalala (newankubadde ye yakomererwa nafa ng’omubbi)

Abo abayatulaanga ebibi byabwe bwe bali babatizibwa Yokaana bakkiriza obutuukirivu bwa Katonda bwe bayiga nti ebibi byabwe biriteekebwa ku Yesu Kristo (okuyita mu kubatiza kwe). Abó ate, abatakkiriza mu kubatiza kw’okwenenya bajeemera okwagala kwa’Katonda kubanga tebakkiriza mu kubatiza kwa Yesu nakwo (Lukka 7:28-30).

Ye omubbi yayatula nti buli kikowa Yesu

kyeyakola kyabutuukirivu era kituufu, naye abayudaaya abalala tebakkiriza n’okwatula tebayatulanga. Osanga omubbi ono yali omu kw’abo eyawulira kubigenda okutuukirizibwa (Lukka 1:1). Ekituufu kye yakola kwekukkiriza nti Yesu yali mutuukirivu era ye yali nnabbi eyalagulibwako, kubanga eunkomerero yakkiriza (bwe yali kumusalaba) nti Yesu yajjawo ebibi bye, okutiya mukubatiza kwe (okwa Yesu). Kale yakkiriza mu njiri ey’amazzi n’omwoyo. Katonda wabwenkanya; kale no atuukiriza abo bokka abakkiriza mukubatiza kwa Yesu n’omusalaba okusinziira kuteeka lye ery’omwoyo ow’obulamu.

Ekibuuzo eky’kumi: Katonda tatubala ng’abatuukirivu, newankubadde tulina ekibi munda mumitima gyaffe? Tetulina kukkiriza bukkiriza nti Katonda atwagala (kubanga Katonda wa kisa)

Eky’okuddamu: Kituufu Katonda kwagala

Page 337: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

337 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

era Katonda wabwenkanya; kale no bwatulamula atulamula n’obwenkanya. “Empeera y’ekibi kufa” (Abaruumi 6:23) kino kitegeeza nti omwonoonyi ayolekedde geyena bwamal okusalirwa omusango negumusinga. Kino kye kyawula omutuukirivu ku mwonoonyi; ng’era bwe yayawula ekitangaala ku kizikiza (kulubereberye). Abo abatuukirivu mu maaso ga Katonda bebo abatalina kibi, abakkiriza nti Yesu yabanunula okuyita mu kubatiza kwe n’okukomererwa kwe kumusalaba.

Wabula, abo abatakkiriza mu kubatiza kwa Yesu bakyali bonoonyi mu maaso ga Katonda. Be bo abatakkiriza mu kubatiza kw’amazzi; ng’era aba abaali mu kiseera kya Nuuwa bwe baali.

Katonda yagamba nti “…sirifuula omubi okubeera omutuukirivu” (Okuva 23:7). Ababi be’bo abakkiriza era ab’esigama ku nono n’endowooza z’abantu, nga banyooma enjiri

y’amazzi n’omwoyo katonda gyakozeseza okutununula ffe okuva mu bibi byaffe mu ngeri ey’amazima n’obwenkanya. Yesu yagamba nti, “olw’ekibi kubanga tebanzikkiriza nze” (Yokaana 16:9).

Kati ekibi ekisigaddewo kuno ku’nsi kyeky’obutakkiriza mu mazima nti Yesu yajjawo ebibi byaffe byonna okuyita mu Kubatiza kwe n’omusalaba gwe nafuuka omulokozi waffe. (ekibi kino ky’ekibi eky’okuvvoola omwoyo omutukuvu ekitayinza kusonyiyibwa). Tewali wo kkubo ddala lyonna ery’obutuukirivu eri abo abavvoola omwoyo omutukuvu, kubanga ababtu abo tebakkiriza nti Yesu yabanazaako ebibi byabwe byonna.

OMutuma Paul Yagamba nti, “buli muntu yenna akola ekibi, akola n’obujeemu; era ekibi bwe bujeemu. Era amanyi ng’oyo yalabisibwa era aggyewo ebibi; ne mu ye temuli kibi. Buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so

Page 338: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

338 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

tamutegeera” (1 Yokaana 3:4-6). Obutakkiriza mu mazima nti Yesu yaggyawo ebibi byaffe okuyita mu kubatiza kwe n’omusalaba buba bujeemu. Katonda akyawa abajeemu.

Abo ababeera mu ye tebalina kibi era bali mu bumu ne Yesu Kristo, olwo’kukkiriza mu kubatiza kwe. Ate n’abo abatadde ebibi byabwe byonna ku Yesu (okuyita mu kukkiriza mukubatiza kwe) tebalina kibi. (weewaawo newankubadde bakyayonoona kuno ku’nsi olw’obunafu bw’mibiri gyabwe).

Abantu Katonda bayita abatuukirivu bebo abatadde ebibi byabwe ku Yesu era nebawulibwa omwoyo w’obulamu. Abawadde omwoyo omutukuvu ng’ekirabo. Omwoyo taliweebwa muntu alina ekibi mu mutima gwe. Daudi yagamba mu zabbuli nti, “Kubanga toil Katonda asanyusibwa obubi: ebitasaana tebiituulenga gyoli” (zabbuli 5:4).

Omwoyo omutukuvu tatuula mu mitima

gyaabo abalina ekibi mu bo. Omwonoonyi atalina mwoyo mutukuvu ayinza okugamba nti yalokoka okuva mu kibi (nga assinzziira ku ndowooza ye yenyini zalina mu ye) naye era amazima gasigala nti omuntu bwatoy abeera mwonoonyi. Tulina okukkiriza mu njiri ey’amazzi n’omwoyo tulyoke tulokolebwe.

Ekibuuzo eky’ekumi nemu: Bw’ogamba nti

Yesu yaggyawo ebibi byaffe eby’edda, ebyaleero n’ebyomumaaso, (okusinzzira ku ngeri gyoze onyonynola) olwo obulamu bwo’oyo amanyi amazima naye neyeyongera okwonoona buba butya? (omuntu bwatyo aba alowooza nti ebibi bye byonna byasonyiyibwa kubanga akkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’omusalaba. n’olwekyo, yebuuza nti, lwaki teyeyongerayo mu kibi? Omuntu ono nebwanatta munne, ajja kumanya nti ebibi bye byatangirirwa Yesu. Kale ajja

Page 339: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

339 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

kugenda mumaasa n’ebyonoono kubanga byonna Yesu yabijjawo). Ssebo nkusaba onyonyole ensonga eno.

Eky’okuddamu: Okusookera ddala mbebazza

nnyo kubanga mubuuziza ebibuuzo ebikwata ku njiri eno eyo’kubatiza kw’amazzi n’omwoyo. Ebibuuzo ebyo bifananako ng’ebyo ebibuuzibwa abantu abatanalokoka. Manyi nti musuubira nti abalokole bajjakugenda mumaaso b’onoone nga basuubira enjiri eno etuukiridde enebayambako. Naye njagala okubakakasa nti abantu abakkiriza munjiri ey’okubatiza n’omwoyo tebebeera na’ndowoozeyo ey’okweyongera mu kibi nga balokose. Babeera bayayaanira obulamu obutuukirivu. Omwoyo omutukuvu abeera mu bo. Omwoyo omutukuvu bwabeera mu bo, awo ebibala byababala bibeera byabutuukirivu; kubanga Katonda mwene yaba atuukiriza omulimu gwe mumitima gyabwe.

Omwoyo omutukuvu bwa tatuula mug we, tojja kubala bibala mug we, nebwonoofuba enyo. Omuntu asobola atya okubala ebibala eby’omwoyo nga talina mwoyo mu ye? Kino tekisoboka. Mukama waffe Yesu yagamba nti omuti omubi tegusobola kubala bibala birungi (Matayo 7:17-18).

Owoluganda nange kankubuuze ekibuuzo kino: okkiriza mu Yesu, naye obulamu buli butya? Obulamu bwo bujjudde ekibi? Otambula otya mu nsi muno? Okyawangula ensi ekibi ne setaani? Okyaweereza Katonda n’obutuukirivu, ng’obuulira enjiri ey’amazzi n’omwoyo? Ddala ddala olina obutuukirivu bwa Katonda? Okusobola okuddamu ebibuuzo bino olina okuba ng’okkiriza mu njiri ey’amazzi n’omwoyo Katonda gy’ajjulira mu ndagaano empya n’enkadde.

Ffe abakkiriza oluusi twonoona, Wabula Mukama waffe Yesu yabatizibwa era

Page 340: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

340 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

nakomererwa ku musalaba asobole okutununla okuva mu bibi byonna eby’ensi. Kale Katonda atukoledde ekikolwa eky’obutuukirivu. Ffe tulokoledwa okuva mubibi byaffe okuyita mukukkiriza mukikolwa ekyo eky’obutuukirivu Katonda kyatukoledde. (netufuna obutuukirivu bwe).

Njagala okukubuuza ekibuuzo ekirala owoluganda. Onunulidwa okuva mu bibi byo byolina mumutima? Bwe wali nga wakakkiriza mu Yesu tewali mwonoonyi munda mumutima? Bwoba ogamba nti Yee, kino kyabaawo kubanga wali tonaba kumanya njiri y’amazzi n’omusaayi. N’olwekyo ogudde mubuzibu n’emitego emirala egya’setaani negy’omubiri, kubanga tolina mwoyo mu mutima gwo. Owoluganda nebwonobera n’obwesigwa obunji, njagala okukutegeeza nti okujjako ng’okyusizza endowoozayo n’okkiriza enjiri ey’amazzi n’omwoyo, tojja kusobola kusanyaawo

birowoozo bibi ebirimu mutima gwo. Olina okuleeka ebirowoozo ebibi oksome era wekkeneenye ekigambo kya’Katonda; ojja kufuna okutegeera kwe weetaaga ku njiri eno ey’amazzi n’omwoyo, kubanga ge mazima.

Abantu banji mu’nsi leero bakyusa amateeka ag’obulokozi Katonda geyateekawo edda. Bw’obeera omu ku bano abantu, Katonda tajjakukukkiriza kulunaku luli. (olunaku olw’enkomerero) Nsaba kino kireme kubaawo ku muntu yenna. Owo’luganda nkusabira osobole okukkiriza nti Omusaayi Yesu gwe yayiwa kumusalaba gwe guyinza okukulokola; era kansuubire nti ebibuuzo bino bibuuzibwa n’ekigendererwa eky’okufuna obulamu obutakwatagana na kibi.

Tulina okumanya era nti endowooza zaffe zamubiri “Kubanga okulowoza kw’omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw’omwoyo bwe bilamu n’emirembe” (Abaruumi 8:7). Paulo ayongera

Page 341: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

341 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

okutugamba nti, “n’abo abali mu mubiri tebeyinza kusanyusa Katonda” (Abaruumi 8:8). Bwe tuba twagala okumanya nti tulina okukkiriza okusanyusa Katonda, tulina okukkiriza mu bikolwa Katonda bye yakola bwe yajja ku nsi Kuno ng’ayita mu muwala atamanyi musajja Maliyamu, najjawo ebibi by’abantu fenna, okuyita mu kubatiza kwe mu mugga Yoludaani (Yokaana omubatiza ye yamubatiza). Kw’olwo obutuukirivu bwa’katonda bwonna bwali butuukirizibwa.

Olowooza ani asobola okwetwalira (oba okumanya) omulimw gwa Katonda ogw’obutuukirivu, omuntu omutuukirivu oba omwonoonyi? Omwonoonyi aba akyali mu kibi kubanga aba tanasonyiyibwa mu maaso ga’katonda. N’olwekyo omuntu bwatyo aba alindiridde musaango (gwabibi bye) gwokka. Katonda tasobola kukkiriza bonoonyi kuyingira bwakabaka bwabwe kubanga, si katonda

“asanyusibwa obubi:” (Zabbuli 5:4). Katonda yagamba nti omwonoonyi singa yajja gyali namusaba ekintu, katonda teyandimuwuliriza kubanga obutali butuukirivu bwe bumwawudde ku Katonda (Isaaya 59:1-2). Enkomerero y’omwonoonyi, geyena, kubanga empeera y’ekibi kufa.

Abatuukirivu bokka, abatukuvu era abatalina kibi mu mitima gyabwe, bebayinza okukola ebikolwa byakatonda eby’obutuukirivu. Omwoyo omutukuvu atuula munda mumitima gyabwe (kasita baba nga bakkiriza mu yesu Kristo, okubatiza kwe n’okufa kwe kumusalaba) Omutume Paulo yagamba (kulunaku lwa Pentekote) nti, “Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo eky’omwoyo” (Ebikolwa by’abatume 2:38).

Olunyiriri lunoo lutunyonyola nti, bwoba

Page 342: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

342 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

oyagala okufuna okukkiriza okwa’nnama ddala, olina okukkiriza mu kubatiza kwa Yesu n’okufa kwe kumusalaba. Olina “Okubatizibwa mu linnya lya Yesu” olyoke ogibweko ebibi okuyita mukukkiriza mu bikolwa bya Katonda eby’obutuukirivu.

Abayaigirizwa nabo babatizanga abantu abakkirizaanga Mu Yesu, okubatiza kwe, n’okufa kwe kumusalaba. Yesu yalagira abayigirizwa be okubatiza buli omu mu linnya lya kitaffe, n’omwana, n’omwoyo omutukuvu (Matayo 28:19).

Omutume Paulo yagamba nti, “naye mwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng’omwoyo wa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw’ataba na mwoyo wa Kristo, oyo si wuwe” (Abaruumi 8:9). Katonda awa abana be (abatuukirivu) ekirabo ky’omwoyo omutukuvu, asobole okubalaamba. Omwoyo omutukuvu tayinza kubeera (kukka) kubonoonyi, kubanga balina ekibi mum u mitima gyaabwe. Omwoyo

omutukuvu tayagala kibi, wabula butukuvu. Era omwoyo omutukuvu atuluŋŋamya fe abatuukirivu mu kkubo ery’obutuukirivu natuwaliriza okugoberera okwagala kwa kitaffe. Okwagala kwa kitaffe kwe kuliwa? Kwe kubunya enjiri ey’amazzi n’omwoyo eri amawanga gonna n’okubatiza abantu binna okusiinziira kuteeka lya Katonda mu Matayo 28.

Emibiri gyabatuukirivu n’abonoonyi gyonna gyonoona okutuusa okufa. Wabula, katonda atukoledde fenna ekikolwa kino eky’obutuulirivu eky’okujjawo ekibi mu mitima gy’abantu bonna ng’ayita mu kubatiza kwe n’omusaayi. Buno bwe butuukirivu bwa katonda, Yesu bwatuukiriza. Era kyawandiikibwa mu Bayibuli nti, “kubanga mu yo (mu njiri) obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza: nga bwe kyawandiikibwa ‘nti naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza’” (Abaruumi 1:17). Omuntu afunye

Page 343: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

343 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

okusonyiyibwa ebyonoono, ng’ayita mu kukkiriza mu butuukirivu bwa Katonda, ajja kuwangula “etteeka ly’ekibi n’okufa” agoberere obutuukirivu. Kino kisobokera ddala nga tuyita mu mwoyo omutukuvu atuula mw’abo abakkiriza mu’njiri ey’amazzi n’omwoyo.

Ebyonoono by’abatuukirivu eby’edda, eybya’leero n’ebyo mu maaso byonna bya teekebwa ku Yesu kulunaku luli Yokaana omubatiza lwe yamubatiza. Omubiri gwabatuukirivu nagwo gufiridde wamu ne Yesu. Omuntu bwakkiriza mu mazima gano abeera mu bumu ne Yesu (mu kufa kwe), so n’okufa kwe Yesu kwe kufuuka omusango olw’ebebi byoyo akkiriza (Abaruumi 6).

N’olwekyo, newankubadde omubiri gw’omuntu omutuukirivu gwonoona buli kiseera, omwoyo omutukuvu atuula mu mutima gwe abeera amuluŋŋamya asobole okugoberera okwagala kwe. Omuntu omutuukirivu agoberera

omwoyo omutukuvu era akola ebyo byayagala, kubanga omwoyo atuula munda mumutima gwe.

Mu biseera by’abatume abantu bangi nnyo bali banenya abakkiriza. Bali babanenya, kubanga omwoyo omutukuvu ye yali aluŋŋamya obulamu bwabwe. Abantu abaali babanenya tebategeera so n’okumanya tebamanya njiri y’amazzi neyo’omwoyo abatume gyebabuulira. Endowooza z’abantu abali banenya zali z’amubiri. N’olwekyo omutume Paulo kyava ayogera nti, “Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mukyo nate?” (Abaruumi 6:1-2). Era ayogera nti, “Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiriwa tteeka lya kibi” (Abaruumi 7:25).

Eky’enkomerero, tulina okumanya nti omubiri

Page 344: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

344 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

gw’abo abatuukirivu gwonoona newankubadde babulira enjiri mu’nsi yonna. Abatuukirivu batambulira mu mwoyo kubanga mu mitima gyabwe bali mu kisa. “kale tukole tutya? Tukolenga ekibi, kubanga amateeka si gegatufuga wabula ekisa? Kitalo. Tememanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b’okuwulira, muli baddu b’oyo gwe muwulira, oba ab’ekibi okuleeta okufa, oba ab’okuwulira okuleeta obutuukirivu?” (Abaruumi 6:15-16)

Ng’ebimuli ebya ddala ebiva mu lusuku bwe byawukana ne’bimuli ebikole mu makolero (aga pulastika), so naffe abatuukirivu bwetusobola okubawula ku bonoonyi. Atuula mu mutima gw’omutuukirivu y’omwoyo omutukuvu. Omuntu amulina asobola okutambulira mu mwoyo n’agoberera amazima ag’obutuukirivu mubulamu bwe; era kino kisanyusa Katonda. Naye omwonoonyi aba ajjudde ekibi muye; aba agondera ekibi ekiri mu ye, so tayinza kubeera

nabulamu butukuvu, kubanga talina mwoyo mutukuvu; olw’ebibi ebinji mumutima gwe.

Endowooza (abantu abamu gyebalina) egamba nti abakkiriza mu njiri y’ammazzi n’omwoyo tebasobola kubeera batukuvu nkyamu. Katonda abalabula ng’agamba nti, “Naye abobye batamanya byonna babivuma: bye bamanya mu buzaaliranwa ng’ensolo ezitalina magezi mw’ebyo bazikirira.” (Yuda 1:10). Abantu bangi enaku zino, newankubadde tebakkiriza njiri y’amazzi n’omusaayi (tebanaba kugitegerera ddala), bagamba nti tebatutegeera ffe abatuukirivu. Era ddala tebatutegeera, kubanga enjiri eno ennungi tebanaba kujikkiriza mu mitima gyabwe.

Olowooza ki kubikolwa eby’obutuukirivu eby’abalokole? Bawaddeyo ebyabwe byonna, n’bulamu bwabwe bwonna nga ssaddaakka okubunya enjiri mu’nsi zonna. Okusinziira ku’ndowoozayo, olowooza abo abakkiriza

Page 345: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ Ebirimu ►

345 Ebibuuzo n’Ebyokuddamu

mu’njiri ey’amazzi n’omwoyo basobola okweyongeranga okwonoona? (mu linnya ly’enjiri gye babuulira ate?) Nedda kino tekisoboka. Abatuukirivu bakola ebikolwa ebirungi lwa kukkiriza; era emisinji gy’okukkiriza kuno giri mumazima ababikulibwa obutuukirivu bwa Katonda. Abantu abazaalibwa Katonda bebo abatambulira mu butuukirivu bwa Katonda. Nsaba era nsuubira nti buli mwonoonyi anakyukka akomewo akkirize enjiri ya Yesu ey’ammazzi (okubatiza kwe n’omusayi). Weewaawo, kuno kwe kusaba kwange nti fenna tugibwaako ebibi kulw’okukkiriza mu njiri ey’amazzi n’omwoyo mu mitima gyaffe nga bwetulindiirira olunaku lw’okujja kwa mukama waffe buli kibi lwekirigibwawo.

Page 346: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

e-Bookse-Books

?

USER GUIDE

How to Read

Easier Way to Read

Cover Page

TheNewLifeMission

Page 347: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ User Guide ►

347 User Guide

HOW TO READ

PAGING THROUGH THE BOOK

Page by Page

Skiping to a Page

Page 348: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ User Guide ►

348 User Guide

PAGE BY PAGE

• KeyBoard

1) Page Up / Page Down Key Page Up = Previous Page, Page Down = Next Page

2) Arrow Key

← or ↑ = Previous Page, → or ↓ = Next Page

• Acrobat Reader Menu Button

◄ = Previous Page, ► = Next Page • Link

◄ = Previous Page, ► = Next Page Ebirimu = Go to Table of Contents

Page 349: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ User Guide ►

349 User Guide

SKIPING TO A PAGE

1) Key Board

Ctrl + N Key : The number of page you want to go to.

2) Acrobat Reader Scroll Bar

Click and drag in the scroll bar until the page number in the number field matches the page you want to go to.

Page 350: OZAALIDDWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI MU MAZZI N'OMWOYO?

◄ User Guide ►

350 User Guide

EASIER WAY TO READ

Using BookMakkos

You can move easily where you want by using bookMakkos

- Show bookMakkos : Press F5 Key on your keyboard.

- Hide bookMakkos : Press F5 Key again