MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira...

14
32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925 | 0772 886 189 Email: [email protected] P.O.Box 1 Mityana Computer Laboratory with Internet Connection Fully Stocked Library for Both “O” & “A” Level Vision To be a diligent Church of Uganda founded Centre for Excellency for Secondary Education. Mission To provide an all-round Education that develops skills and individual potential by building a positive attitude and values. Academic Excellence Respect for Staff & others Commitment Integrity Diligence A strong Sense of patriot's Core Values www.mityanass.com Designed & Printed by: Fredekana Enterprises, Tel: +256 (0) 754 441929 Mityana Diocese 1 “Come let us build” NEH. 2:17

Transcript of MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira...

Page 1: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

32

Mity

an

a D

ioc

ese

MITYANA SECONDARY SCHOOL“Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa”

Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925 | 0772 886 189Email: [email protected]

P.O.Box 1 Mityana

Computer Laboratory with Internet Connection

Fully Stocked Library for Both “O” & “A” Level

Vision To be a diligent Church of Uganda founded Centre for Excellency for Secondary Education.

Mission To provide an all-round Education that develops skills and individual potential by building a positive attitude and values.

Academic Excellence Respect for Staff & others Commitment Integrity Diligence A strong Sense of patriot's

Core Values

www.mityanass.com

Designed & Printed by: Fredekana Enterprises, Tel: +256 (0) 754 441929

Mity

an

a D

ioc

ese

1

“Come let us build” NEH. 2:17

Page 2: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

30

Mity

an

a D

ioc

ese

Nga tujjaguza emyaka anaa egy’Obulabirizi bw’eMityana waliwo essuula empya gy-

etwongera okuyigiramu ebintu. Olugoye bwelukaddiwa, ebiseera ebi-singa lusuulibwa. Nazzikuno olugoye bwerayulikanga, lwatungibwanga oba kiyitte okukubwa ebiraka. Omulam-wa gwaffe ogw’Obulabirizi gugamba Mujje Tuzimbe nga tugussimbula mu Nekkemeya 2:17. Nekkemeya yali tat-egeeza kuzimba kipya wabula kwali kuddabiriza nakuddabulula ekikadde. Ekyo tukirabiddeko ddala wano ku-mulembe gunno;- Abaweereza babanguddwa mumaa-somo agenjawulo okusobola okutu-kagana nomulembe gunno, abamu basindikiddwa mu matendekero agen-jawulo nga muno mwemuli Bishop Lutaaya Theological and Training Center, Uganda Martyrs Seminary Namugongo, Uganda Christian Uni-versity wamu nawalala nga mu South Africa, Kenya, n’ America.Okuddabiriza enyumba y’omulabirizi, ennyumba eyasooka yazibwa Bishop Lutaaya nga ayayana okuzza ebintu nga bwebyali birina okubeera era nebeera nga yekkalina eyasooka mu Mityana era yasuulwamu abalabi-rizi bonna ababaddewo era munkola eyokwongera omuttindo enyumba eno yagaziyizibwa omulabirizi Samu-el Steven Kazimba. Enkadde teyame-nyebwa wabula yazibwa buggya.Walaba ku woffi isi y’obulabirizi bw’eMityana? Bw’oyittawo olwa-leero olowooza nti bazimbye empya, wandiba omutuufu naye munange

sibwekiri yaddabirizibwa era negazi-yizibwa, enkadde yasigalawo ebitun-du ebiwerera ddala 70 ku 100 wabula okugiddabiriza kwakyusiza ddala eki-fananyi kyayo ekikadde. Offi isi zay-ongerwako era nga kati bwoyingira munda zitukaganira ddala nomutindo. Oluggya nalwo lweyogerera era nga kakano waliwo n’ebimuli omuteka-tekerwa emikolo egyenjawulo gamba nga embaga era bwotaddawo kunon-

ya wotekatekera omukolo gwo!!Olwaleero tulina Bishop Mukasa Conference Center ng’eno etuula mubizimbe omwatuulanga Action Aid wabula bwojjukira emirem-be egyo n’ekiro kati oyinza okulowooza nti byonna bipya. Omulembe guno

gwakuddabiriza nakuzza buggya so si kumenya, kale byona byayongerwako omutindo. Mubulabirizi bw’eMityana bingi ebikyayongerwako omutindo nga muno mwe muli ne Lutikko egazi-yizibwa. Kale empissa enuungi bw-ogisanga ogikoppa, okuddabiriza kusinga okumenya era bwebatyo n’abaana ba Yisirayiri bwebaddabiri-za bugwe eyali amenyeddwa nga ba-kulemberwamu Nekkemeya.

OKUDDABIRIZA KUSINGA OKUMENYA

Luti iko ya Andreya Omutukuvu egaziyizibwa

Enyumba y’Omurabilizi kakano

Wofi isi z’Obulabirizi

MMMMiittyyy

aaann

aaa DDDDDDD

ioooooccccc

eeeeeessseeee

bbb

30

Mity

an

a D

ioc

ese

Mity

an

a D

ioc

ese

3

AbasumbaPage 7 Page 14 Page 23

Guno muggo gwa busumba. Gulaga nti ekisibo kirina

omuliisa era akirabirira. Kano kabonero akalaga

nti ggwe Musumba Omukulu mu Bulabirizi.

Agukwata abeera n’obuyinza (authority). Omusumba

omukulu abeera omu mu Bulabirizi bwonna era ye nsonga

lwaki omuggo gubeera gumu. Oba oli awo twandiyinzizza

okuwa buli musumba omuggo gwe!

Obulabirizi bubadde n’emiggo egyenjawulo esatu nga

ebifaanyi bino wammanga bwebyoleka;

1. Gwakwatibwa Bishop Yokana Balikuddembe Mukasa.

2. Ogw’okubiri gwakwatibwa abalabirizi bonna okuva

ku Bishop Mukasa okutuukira ddala ku Bishop

Kaziimba. Guno kakano gwaterekebwa oluvannyuma

lw’okukaddiwa.

3. Guno mupya era nga Omulabirizi Stephen Kaziimba

yeyakagukwatako.

Omuggo Gw’Obulabirizi;Omuggo Gw’Obulabirizi;

11 33

33

Ssaabadiikoni;

Cathedral empya ezimbibwa

Ejinja ry’Ekanisa oyokubiri ryasimbibwa

Omulabirizi Festo Lutaaya

Ensisinkano ne Rev. Paul Lukoda

Kisuule.

Rev. Kisuule yebaza Katonda

olwobulamu bwamuwadde

okuba nga akyategeera kuba

yalabiraddala Obulabirizi buno nga

butandika. Ajjukira okuva mu mwaka

gwa 1950 nga akyali mulenzi muto.

Agamba nti ekkanisa emberyeberye

yawulira mbu yasookera mu kisakaate

kya Mukwenda Ssendikwanawa ku Ssaza

era ne Mukwenda mweyasabiranga.

Ayongera n’agamba nti “Olusozi luno

lwatuumibwa Namukozi kubanga

abakozi abakolanga ewa Mukwenda

kwebasulanga era nga bwebakubuuza

nti , ‘Olagawa’ ng’ongamba nti , ‘ndaga

eri abakozi’. Awono akaff o nekatumibwa

Namukozi”.

Agamba nti oluvanyuma enyo abantu

bwe Namirembe.

Rev. Kisuule agamba nti ekkanisa

gy’eyasooka okulabako yali ya kubiri

era nga nayo yali nene. Ebiseera ebyo

nga ezimbisidwa bbulooka zatt aka nga

zirimu ebisubi. Agamba nti ekkanisa

eyo yali ng’esobola okutuuza abantu

abasukka mu lukumi. Munda yali nkube

pulasita nga bagisiize ne langi enjeru.

Agamba nti ekkanisa eyandibadde

ey’okusatu yakoma kumusingi era nga

pulaani yaayo yali yagyibwa bweru

wa Uganda nga bino byona bikolebwa

Omulabirizi Festo Lutaaya eyali owa

West Buganda era nga mukiseera ekyo

Mityana yali etwalibwa Obulabirizi

obwo. Omusingi ogwo gwasimwa

awo awaziikibwa Bishop Yokaana

Mukasa era nga gwaali munene

ddala nga abamagaali babiri basobola

okweyisinganya.

Ekkansa ey’okuna, Can. Ezra Kamya

yeyaleeta pulaani yaayo era nga enkula

yaayo ya nsondasonda (zig-zag) era

Ekkanisa ezibaddewo

okutuuka ku Lutikko

nga gyetukyasabiramu kati era nga eri

mukugaziyizibwa. Ng’ewedde, y’egya

okubeera ekkanisa ey’okutaano. Rev

Kisuule alowooza nti ekkanisa eno

egya kuba eggyirayo ddala ekifaananyi

ky’ekkanisa Bishop Lutaaya gye yali

ayagala. Amaliriza nga yebaza Omulabirizi

Stephen Samuel Kaziimba olwa Katonda

okumulungamya n’amuwa ekirooto

eky’okugaziya Luti kko eno. Omulabiriza

Festo Lutaaya kino naye kye yali ayagala.

Era wano w’agambira nti wama ddala

omulimu gwa Katonda teguff a anti

omulembe gwa Bishop Kaziimba

gusitt udde ekirooto kya Bishop Lutaaya

era kyakutukiriza nga bweyali kyagala.

Ekkanisa eno ey’okutaano, obugazi

bwayo busobodde okutwaliramu

ebitundu byonna awaali amakanisa

amalala kukiff o kino; kale kyewunyisa!

basaba ekkanisa eve mu kisakaate era

Mukwenda nakiriza nabawa ett aka

eriwerera ddala yiika 360. Kuno kwe

kwazimbwa ekkanisa n’amasomero.

Ekkanisa emberyeberye kulusozi luno

olw’eNamukozi yali ewali akagulumu nga

kati we wasimba emmotoka y’Omulabirizi. Ekkanisa eyo yali ya ssubi nga nnene. Ebiseera ebyo nga tuli mu Bulabirizi

Page 8

Page 17

Omukunganya............................................................4

Enyanjula....................................................................5

Obubaka bw’Omuwandiisi w’Obulabirizi.................6

Abaliwo...................................................................7-10

Obubaka bw’Abalabirizi.......................................11-12

Sisinkana Dean wa Lutikko......................................13

Ssaabadinkoni...........................................................14

Obulabirizi mu bifananyi.....................................18-20

Abawule abakyala......................................................22

Abalabirizi abavudde mu Mityana Diocese..............23

Ebitongole.............................................................24-28

MMMMitttyyy

aaannn

aaa DDDD

iiioooocccc

eeeessseeee

Mity

an

a D

ioc

ese

3

MITYANA DIOCESEP.O. Box, Mityana - Uganda.

Tel: 0772 512 175, 0772 651715Website: www.mityanadiocese.org/2017

Page 3: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

4

Mity

an

a D

ioc

ese

Tutunuulira emyaka ana egy’Obulabirizi bwa Mityana nga twebuuza, “Byali bitya era kati biri bitya?” Bingi ebibaddewo mu mirembe egy’enjawulo. Tugezaako okugeraageranya ebiriwo ku

byaliwo. Okugeza; Kkanisa mmeka ezibaddewo tulyoke tutuuke ku eno eriwo kati ? Obadde okimanyi nti Obulabirizi bwa Mityana kyenkana bwe buyimirizzaawo Obulabirizi bwa Buganda bwonna? Ekyo nno kyekifaananyi ekikulu omukungaanya kyalina gye tuli nga tusoma akatabo kano. Naff e twebaza katonda okulaba nga mu myaka Ana egy’Obulabirizi tulina ekitongole ky’eb’yempuliziganya ekijjuvu. Twebaza Katonda olwa Words of HOPE Uganda Radio Ministry, nga bano basinziira Mukono, abawagidde ennyo okubuulira enjiri nga tuyita ku Radio. Baatuzimbira Studio ey’omulembe ekwata amaloboozi era nga muno mwetuteekerateekera pulogulamu zaff e ezigenda ku mpewo. Era batuwa n’ensimbi ezirabirira omulimu guno. Kale jjukira okutega Sun 96.9 FM buli lwa Mukaaga essaawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro ofune ebigambo eby’essuubi.

EMYAKA ANA EGY’OBULABIRIZI BWA MITYANA

Twebaza aba Radio Sun FM wamu ne Mboona FM abawagidde ebigambo by’enjiri mu Bulabirizi. Mukisa munene nnyo okusobozesa abantu bonna, mu Mityana n’ebitundu ebirala, okubuulirwa enjiri. Twebaza ekitongole ky’Ebyenjiri (Mission Department) ekikulirwa Rev Canon John Musaasizi olw’okuteekerateekera Obulabirizi obulungi, enjiri esobole okubuna wonna; anti kwe kuyiti bwa kwaff e. Mukama atubeere okumutegeera era n’okumuweereza mu mazima ennaku zonna zatuwadde mu kuyiti bwa kuno.

Ssali JoshuaTeam LeaderInformati on Offi ce.

Obubaka Bw’Omukungaanya

MITYANA DIOCESAN

MujjeTuzimbe Nek:2:17

1.

Obulabirizi bwa MityanaBwazimbibwa kubitongole

Okwo kwebutambuliraNe bubunya enjiri mu mawangaAbakazi abakadde n’abavubuka

Eb’obulamu n’okuyimbaOkugatta abafumbo

Abaana n’ebyenjigiriza tubikola

Chorus: Mujje tuzimbe Obulabirizi

Tubunye enjiri mu mawanga gonna

Abantu ffena okulokokaTumanye Kristo bwali Mukama

2.

Eb’okukulembera mu MityanaYesu Kristo y’amulungamya

Omulabirizi waffe,Basumba n’Ababulizi kituufu

mukola.Byonna ebikolebwa tukolera

wamuEkkanisa enkulu n’ento zikola

Buli byafaayo tukusabiraKatonda Omulokozi akuwe

omukisa Gwe

Chorus: Mujje tuzimbe Obulabirizi

Tubunye enjiri mu mawanga gonna

Abantu ffena okulokokaTumanye Kristo bwali Mukama

“Come let us build” NEH. 2:17

Mity

an

a D

ioc

ese

29

Day & Boarding, ‘O’ & ‘A’ level Located in Mubende Municipal Council – Mubende town. Centre of academic excellency

KASENYI SECONDARY SCHOOL

CONTACTS: P.O. Box 94, Mubende.

Tel: 0772 494 855 / 0752 941 412, Headteacher.

MITYANA DIOCESAN

P.O. Box, Mityana - Uganda. Tel: 0782 812102 , 0779 279362Email: [email protected]

Come for Christian Books, Stationery & Scholastics Materials

Page 4: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

28

Mity

an

a D

ioc

ese

Thank you Lord God for these 40 years of mission as a Dio-cese and thank you Lord for

allowing some of us to be at the fore-front in the building of your king-dom.

I take this opportunity on behalf of the Board of Health and on my own behalf to thank God for seeing us through the successes, setbacks, chal-lenges and achievements of 40 years since the inception of this Diocese.I am sure both defeats and victories have built on a formidable body of knowledge.

The department has premised on fi ve thematic areas: -Demand creation (advocacy), service delivery and ac-cess, policy and enabling environ-ment, stewardship, management and accountability,Networking and Part-nership.

Since the inception of the Diocese, Health service delivery has been very paramount through the 23 es-tablished health facilities of the Diocese:- MaamaNorah H/C II, Lulagala H/C III, Kitokolo H/C II, Namutamba H/C III, Namutamba Rehabilitation, KigalamaH/C II, St. Luke Kyankowe H/C II, Masodde H/C II, Kyanamugera H/C II, Buk-wiri H/C II, St. James Msiriba H/C III,NabwendoH/C III, Bamusuuta H/C II, Makonzi H/C II, Kasikombe H/C II,Kiwumulo H/C II, Mawujjo H/C II, Kasaana H/C II, Kyato H/C II, mwererwe H/C II, buwaata H/C II, Kosoolo H/C II, Namwasa H/C II.

These facilities are manned by pro-fessional health workers and Health Unit Management Committees whom I all commend for work well donethat has impacted on the growth of the Diocese.We are blessed that among these units, we have Namutamba Re-habilitation Centre which caters for disabledmarginalized group in the society.

We are blessed to work with differ-ent partnerslike:- Ministry of Health, Mubende, Kiboga, Kyankwanzi and Mityana Local Government through District Health Offi cers, Mityana Charity, Church of Uganda, UNICEF, UNFPA, Faith to Action Network, UPMB, IRCU, Mildmay, UHMG, FOWODE , International Aid, Ki-yinda Mityana Roman Catholic Dio-cese, Orthodox Church, SDA Church, Pentecostal Church, UMSC, different individuals like; Maama Sarah Mul-wana who blessed us with St James Masiriba H/C III, JanifferNandya, JMS, NMS, Irish Aid, RHU, GMMT DSW, VHTs, just to mention a few.

As a department, we have all along been rendering curative and preven-tive services using all the Church structures like Mothers Union, Chris-tian Women Fellowships, Fathers Union, Scriptures Union, Boys and Girls Bridgade, Youth, Peer Educa-tors, Sunday School, Schools, Col-leges and using the power of pulpit to sensitize and mobilise communi-ties to promote Maternal Health, pro-mote HIV/STI prevention strategies, respond to unmet needs for family planning, promote Sexual Reproduc-tive Health and fi ght Gender Based Violence (GBV).

The story of the Department is not yet told without the ministry of my pre-decessors who built the foundation. Some of these were Nelson Lutwama (RIP), KazibweIgnetius, Rev Mary Tusuubira, Rev. Samuel Tusuubira, and now Rev. Moses Ssemugooma.

In this regard, we are at a point in time where the Diocese needs to revalidate its goals to support the healing mis-sion of the Church and continuously reset the institution’s direction. A crit-ical strategic issue at this point of our existence remains that of sustainabil-ity of health services. The Diocese has redoubled efforts to direct the Board of Health towards improved self-

sustainability and effi cient resource utilization. It is therefore upon this background to commend all religious leaders and partners to strengthen the health fi nancing mechanisms of our networks through initiatives like Community Health Insurance.

This is critical as the out of pocket costs are not sustainable and are also hindrance to access to health care. Advocacy activities focused on peti-tioning government to consider the plight of professional staff on our health facilities in terms of second-ment is a necessary are of our next year achievement.

Finally, I cannot forget to bold men-tion it to you our readers that Mityana Diocese since its commencement has been blessed with zealous Bishops who have kept their eyes and hands on to promote Christ’s mission of abun-dant health for all God’s children. Bishops: Dr. Yokana.B. Mukasa (RIP), Wilson Mutebi, Dr, Dunstan.K. Bukenya and the incumbent Bishop Dr. Stephen Samuel KaziimbaMugalu. Thank you for serving so faithfully.

REV. MOSES SSEMUGOOMADIOCESAN HEALTH COORDINA-TOR/CHAIRPERSON HOUSE OF CLERGY.

HEALTH DEPARTMENT

Mity

an

a D

ioc

ese

5

Aboluganda, Mukama waffe yeba-zibwe nnyo oyo emikisa gyonna mwe gisibuka. Mbebaza nnyo

buli omu olw’emirimu gy’abakozesezza.Maama Margaret Naggayi Kazi-imba awamu nange twebaza Ka-tonda olw’okututuusa mu myaka 40 egy’obulabirizi bwaffe okuva nga 29 May 1977 okutuuka kati. ‘Figure 40’ erina amakulu amakusike okugeza; ete-geeza okulindirira, okugezesebwa ate n’oluvannyuma okuwangula. Tujjukira abaana ba Israyiri bwe baamala emyaka 40 mu ddungu nga batambula okugenda mu nsi ensubize. Yesu naye yamala en-naku 40 mu ddungu alyoke atandike obu-weerezaabwe obw’okununula omuntu okuva mu bibi.

Mu mwaka 1877, Nnabakyala wa Bunger-eza yaweereza mu Uganda Abaminsani abaasooka okuva mu Church Missionary Society(CMS) e Bungereza. Kuno kwe kwali okusaba kwa Ssekabaka Muteesa I nga asaba Nabakyala aweereze Abam-insani kubanga ye n’abantu be baali mu kizikiza. Ebbaluwa eno yatwalibwa Omu-lambuzi Henry Morton Stanly mu 1875.Mu 1977, lwe gyawera emyaka 100 bukya bukristaayo buleetebwa mu Ugan-da era obulabirizi bw’eMityana bwe bu-labirizi obw’ekijjukizo eky’emyaka 100 egy’enjiri ey’obukristaayo mu Uganda.Twebaza Katonda olw’olugendo lw’atutambuzza okutuuka kati gy’emyaka 40. Mu Magazine eno; onaalaba ebibadde-wo mu kiseera kino era onoosobola okute-geera olugendo lwe tutambudde okuviira ddala nga 29/05/1977 era n’ekiseera eky-addirira. Bino bibaddewo mu buweereza bwa;

The Rt. Rev. Dr. Yokaana ne Maama No-rah Mukasa, Omulabirizi eyasooka.The Rt. Rev. Wilson ne Maama Faith Mutebi, Omulabirizi owokubiriThe Rt. Rev. Dr. Dunstan ne Maama Phoe-be Bukenya, Omulabirizi ow’okusatuNange ne Maama Margaret Kaziimba abaliwo kati.Twebaza Katonda ku lwamwe mwenna olw’okuwagira omulimu gwa Katonda nga muwagira emirimu gy’enjiri bukya bulabirizi butandika ate n’emabega yon-na.

Enjiri:

Ebyafaayo biraga nti Mityana bulabi-rizi obutuma oba okusindika ababuulizi b’enjiri awalala nga Bungereza bwe yas-indika wano abaminsani mu 1877. Appolp Wasswa Kivebulaaya yaviira Busunju n’agenda e Boga Zaire, Bishop Evans Mu-kasa Kisekka ne Maama, Bishop George Ssinnabulya ne Maama, Bishop Samuel ne Maama Kamya, Bishop Eria Paul Luz-inda ne maama, Bishop Eridad Nsubuga ne Maama, Bishop Micheal ne Maama Lubowa bonna baayitibwa okubeera ab-alabirizi abaminsani okuva e Mityana ne bagenda awalala. Tulina n’abaweereza ab-alala bangi abavudde e Mityana okugenda awalala nga kwekuli n’abo abaweerereza emitala w’amayanja.

Enjiri kye kiragiro ekikulu Mukama ky’atuyitira ffe okutegeera Yesu Kristo nti ye Mulokozi waffe ate olwo tumutegeeze awalala ne mu bantu abalala.

Kiki ekiddako?

Oluvannyuma lw’emyaka 40, twetaaga twongere okulowooza ku bino;• Okubuulira enjiri naddala mu baana

n’abavubuka, mu masomero ne mu maka wamu ne mu conferences.

• Okuyimusa obuweereza bw’okusaba• Okusaayo omwoyo ku baana naddala

abalenzi kubanga abasajja bakend-edde nnyo mu Kkanisa ate ne be-yongera nnyo mu makomera.

• Okussaayo omwoyo ku maka kubanga setani alumbye nnyo amaka, obufumbo nga ayita mubutabanguko, mu bisiyaga, omwenge ensimbi oba obwavu n’ebirala.

• Okujjumbiza n’okujjumbira fellow-ships z’abalokose era n’okusomesa Baibuli mu bantu.

• Okusomesa n’okuteekawo okusinza n’okuyimba okuleeta okusumulula ate nga kutuukana bulungi n’enjigiriza yaffe eya Baibuli n’emisingi gyaffe.

• Okukola ennyo ku mbeera z’abaweereza mu bitundu byaffe wamu n’abakristaayo.

• Okwongera okutendeka abaweereza basaanire okusoomoza okupya

• Okussa omwoyo ku ttaka lyaffe ery’ekkanisa.

• Okusimba emiti olw’ebisiikirize

wamu n’ebibala.• Okussa omwoyo ku masomero gaffe

ku mitendera gyonna egy’enjawulo.• Okumaliriza okuyooyota Lutikko

yaffe eggulwewo nga 26/10/2018 lwe tunaaweza emyaka 10 nga omula-birizi ow’okuna. Nsaba muweeyo es-saala, amagezi n’ensimbi ku bikole-bwa byonna.

• Okwongera amaanyi mu bibiina by-affe byonna.

• Okukola ku projects ezireeta ensimbi n’okunyweeza ezo ezitandise.

Okusaba kwaffe:

Buli omu ayimukiremu awatali kwesaasi-ra, awatali kwemulugunya, awatali kwe-salamu tukolere wamu. Muleete amagezi, muleete n’ensimbi n’ebyobugagga Mu-kama bw’abateresezza, mujje tuzimbe Mityana (Nekemiya 2:17)

Tuyitiddwa okubeera ba Missionary mu byonna Mukama by’atuyitidde. Okuso-bola okubunnya enjiri; ssi Mityana wokka naye n’awalala.

Mbaagaliza ekisa kya Katonda mu byonna.

By Bishop Dr Stephen Samuel Kaziimba Mugalu

ENNYANJULAENNYANJULA

Page 5: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

6

Mity

an

a D

ioc

ese

Mukama waffe ye-bazibwe oyo atu-wanirira mu mbeera

yonna era obukumi bwe ob-utatuvaako wansi wa Mu-kono gwe. Twebaza Katonda oyo atuwanirira mu byonna era natuyisa mw’ebyo ebi-somooza obuwereeza bwaffe natufuula abawanguzi mu byonna.Mu myaka 40 Katonda atu-koledde bikulu byereere nga era kya nsonga okwebaza nga tw’ogeera ku bukulu n’ekitiibwa kye. Emyaka ana egiyise Katonda waffe oyo yaliwo, n’olwaleero wali era n’ekya ajja kubeerawo ate nga mulamu. Olw’okubanga Mulamu, naffe tuyinza okuy-imirira n’etwanganga ebyo byonna ebinatusoomoza olu-naku lw’enkya. (Because He lives, I can face tomorrow)Twebaza Katonda oyo eya-kozesa Abalabirizi bonna abatandiikirwako Obu-labirizi buno okuva nga 29/05/1977 lwetwabufuna. Banaffe abo bakola omu-limu munene. Mukama yebale kubakozesa. Gwali

musingi gwabwe omugumu gwe batuuzako Obulabirizi buno ate Bishop Stephen watandikidde nga ayong-eera ettofali ku mulimu gwe-batandika. Twebaza Katon-da eyamutuwa ne Maama Margaret abakoze omulimu omunene mu kugaziya en-salo z’Obulabirizi bwa Mitya-na mu bigambo by’omwoyo, omubiri, ebizimbe (omuli n’amasomero, amalwaliro

OBUBAKA BW’OMUWANDIISI W’OBULABIRIZI The Rev. James Rocky Sendegeya.

era ne nnyumba za bawer-eeza). Enkyukakyuka eno ey’omugundu, etukiddwako lwa kisa kya Katonda nga kikolera ku muddu we Bish-op Stephen.Twebaza Abakristaayo bon-na abakoze ekinene okuyi-mirirawo n’okuwanirira emirimu gyonna egikoleb-wa mu Bulabirizi. Mu ngeri y’emu nebaza ku lwange abakulira ebitongole bonna benkola nabo mu wofi isi y’Omulabirizi abawaniri-ra byonna ebikolebwa mu Bulabirizi. Abawule bonna bayimiriddeewo mu mbeera yonna okutuuka wano awatukiddwa. (Ebenezer)Nsaba bawereeza banange mwena era n’Abakristaayo nti tutandiikire wano wetu-werezza emyaka ana (40) tw’ongere okukola na-maanyi okulaba nga Obula-birizi bwaffe buda ku nttiko.( Greater Heights)Mbagaliza Mirembe n’ekisa ebiva eri Omulangira w’emirembe. Mujje tuzimbe tuleme okud-dayo okufuuka ekivume.

Twebaza Abakristaayo bonna aba-koze ekinene okuyimirirawo n’okuwanirira emirimu gyonna egikolebwa mu Bulabirizi. M

itya

na

Dio

ce

se

27

Awarding Authority: UCU and Namutamba Requirements • For Diploma courses:At least 1 principal pass with 2 subsidiaries• For certifi cate courses:

VISION STATEMENTA Christ – centered community used

by God for character formati on and practi cal learning.

COURSES• Certi fi cate in guidance and counselling• Diploma in guidance and counselling• Diploma in business administrati on• Diploma in Christi an ministries• Diploma in community development• Certi fi cate in theology• Diploma in theology• BED (Primary)• Music classes

MISSION STATEMENT Bishop Lutaaya Theological and Vocati on College is an insti tute of theological, vocati onal, and academic learning, guided by God’s word and the principles of the Christi an faith. In an atmosphere of worship, study, work and mutual support, the College equips teachers and skilled professionals, as well as Church leaders, workers, to build a more virtuous Ugandan society.

At least 6 passes including Mathematics & EnglishPick application forms from;• The College• Mityana Diocesan Bookshop• Archdeaconry Headquarters & Parish PriestsTuition - Affordable

LOCATION: Namukozi immediately aft er St. Andrews Cathedral MityanaADMINISTRATION: Rev. Wilberforce Sseguya Principal, Tel: 0752 528924, 0776 528924

BISHOP LUTAAYA THEOLOGICAL AND VOCATION COLLEGE

SCHOOL MOTTOSCHOOL MOTTO‘’He who calls us is faithful and he will do it’’ (1 Thessalonians 5:24)‘’He who calls us is faithful and he will do it’’ (1 Thessalonians 5:24)SCHOOL MOTTO‘’He who calls us is faithful and he will do it’’ (1 Thessalonians 5:24)

DA NEXT DA NEXT LEVEL EVENTZ LEVEL EVENTZ UGANDAUGANDA

FOR ALL: function in entertainment (comedians), Introduction, graduation, weddingOTHER: Decoration, catering, video coverage, photography, MC’S & Mobile disco.

CONTACTS: Kasule Amos on 0751 504 619, 0784 907 525, 0778 751 276 (Director.)MR. Biti mpa .T. Kiryowa on 0705 300 073, 0772 322 901, Manager. Email: [email protected].

LOCATION: Mityana Diocesan Bookshop

Opposite Thorban Road.

KAMPALA Kafumbe Mukasa Road

Patrix Videos Opposite Gelp Petrol

Station.

Page 6: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

26

Mity

an

a D

ioc

ese

Bya Mw. Lukwago George William;

Ono agamba nti , “Nyimba tt enor mu choir y’Obulabirizi era n’eya Luti kko.”

Nga tugenda okufuna Obulabirirzi, Mu-kadde waff e Canon Ezera Kamya yali musaale nnyo awamu n’abantu enjas-abiggu abaakola omulimu omunene. Nze nno nzijukirako bano; Omugen-zi Besweeri Mulondo, Mw. Bukenya Omusuubuzi, Mw. John Makonzi, Canon Bukenya e Namutamba N’omugenzi Tef-ero Katende Kikooti . Twali wo nga tuyimba; Kezirooni Nsereko eyaabeeranga Mu Misizi ena ye yali aku-lira abayimbi. Yalina pikaapu kabangali gye yavugaanga n’agenda nga asaggula abayimbi omwo mwemwajjira ne Debura Mukasa omuyimbi ennyo ddala. Twayambibwa nyo Canon Ezera Kamya kubanga yayagala nnyo okuyimba era nga yabeerangawo nga tukola okwe-teekateeka eggulo limu. Kale ku nsonga eyo nsaba abaweereza babeerewo era beetabe wamu n’abayimbi nga bateeka-teeka. Twalina omuyimbisa omukulu nga kaa-kano ye Bishop George Ssinnabulya. Yali muyimbisa wamaanyi nnyo era ne kaka-no akyayimba. Haa, twali wo nnyo! Enna-ku zino okuyimba kwongedde okukyuka

Ngawayise ebbanga tt ono, twegatti bwa omwami n’omukyala Stephen ne Victoria Lwanga Lukwago. Bano nno bayongera ett utumu mu kuyimba era n’okwongera okuyigiriza kubanga Mwami Lukwago ye yali muyimbisa. Nga maliriza, kimpadde essanyu lingi nnyo okulaba nga ntuuse ku kkula lino ery’emyaka ana. Wabula mpulira oku-nakuwala olwa bannange bonna bwe twayimbanga naye nga batugendako dda! Era neebaza Katonda olw’abo aba-koze omulimu omunene ennyo okuyi-mirizaawo Obulabirizi mu by’okuyimba. Nkubiriza abayimbi bonna okweyongera okuyimba enyimba zaff e zireme kudiba. Ate nga tuyimba tumanye nti tuli baweer-eza, abaweereza Katonda so ssi bantu era

Abamu ku bayimbi abayimba ng’Obulabirizi buzze bakyaliwo;

nga abayimbi tebakyafaayo nnyo kuby-akuyimba. Baagala byanguwa so ssi ‘so-lofa’. Naye ff e twayimbira ddala era san-dyagadde kudibya nyimba zaff e ez’edda.

Zirimu amakulu mangi nnyo.Lumu twakyaza President Godfrey Lu-kongwa Binayisa (omugenzi kati ), era bwe yanyumirwa okuyimba kwaff e yatuwa enanga ey’omulembe. Kino kyatumbula okuyimba kwaff e. Siyinza kwerabira Mw. Azariah Kabanda Mukasa eyatukubira enanga okumala eb-banga ddene. Omulala yali Mw Mawano eyamuddirira.

tusaanye tweyise bwetutyo. Bano bebabadde mu bukulembeze bw’okuyimba mu Bulabirizi bukya tubu-funa;

1. Maama Deborah Mukasa 2. Mw. Stephen Lwanga Lukwago3. Rev. Asaph Wasswa Senoga 4. Mrs Jane Kato Namiiro5. Mrs Rebecca Bisirikirwa nga

ayambibwako Mw Dawson Maganda

Wano tutuusa okwebaza Omugenzi Mw Moses Kataza eyayiiya oluyimba (An-them) lw’Obulabirizi – ‘Mujje Tuzimbe’.

Choir y’Obulabirizi 1977 Mrs Rebecca Bisirikirwa

Omw. Azariya Kabanda Mukasa Sunday school eyayaniriza Bp Mukasa

Mity

an

a D

ioc

ese

7

Nina essanyu lingi okutuuka ku kujjaguza kwo Bulabirizi okuweza emyaka 40 bukya

buzalibwa okuva nga 29-05-1977. Naliwo, nalaba era nenyigira mu mirimu kubanga nze nali sen-tebe w’olukiiko lwabavubuka ab’Obussaabadikoni bwa Singo ne Bwewukula. Rev. Canon John Musaasizi yali muwanika ate Rev. Canon Charles Mwebe yali muwan-diisi. Rev. Alex Kasirye ne Rev. Prossy Semmanda baali ba member.Twali tulondeddwa Ssaabadikoni Ven. Ezra Kamya eyatulera era nat-wagazisa ekkanisa. Buli omu kuffe yawaayo akamooli akalimu enda-birwamu ka shs 150/=. Mu 1977 twali ffena tukola mu gavumenti. Nze nali mu Mechanization (Tractor unit) Mwebe yali Manager ku D.F.I, Musaasizi yali teacher wamu ne Alex Kasirye. Kyenzijjukira bakadde baffe bawaayo omuwendo munene ogw’ebiseera ne nsimbi okugenda nga okukiika e Masaka era nga ba-vuga bugaali okugenda eKako.Olunaku lwobulabirizi:Twasimba ebitooke nga abavubuka okuva mu Town eBusimbi. Bishop yatuukira Kyankowe ewa Omu-langira Besweri Mulondo (RIP). Twakuba Ddamali kubanga twalina eggoma ennene ennyo eya base nen-dala 3. Olwokuba nze nali nkola mu Tractor, nze kunimiro y’omulabirizi nakulira kusigula nkonge era waa-liwo omukozi akola mu nnimiro ya Bishop.Nzijukira bakadde baffe naddala ababuulirizi: Asafu Kisuule Kikwa-lo, John Walker Munyambonera ne Serugo baakola kinene okutambuza amabaluwa nga bavuga bugaali mu bitundu ebyewala nokumpi. Bishop Mukasa yatwagazisa obu-weereza era mu kubulira kwe yatutegeeza nti aze ku saawa ‘kuu-mi-neemu’, naye yagala abavubuka abayigirize obuweereza bwe kkani-sa. Ekyo kyankwantako nnyo era mu

1979 nagenda mu Bishop Lutaaya okutandika okusoma obusumba.Office yobulabirizi byali bisulo bya basomesa aba senior eNamukozi. Awo Bishop we yaleetera aba-vubuka Stephen Lwanga Lukwago

Bishop Yokaana Mukasa yagamba nti ye azze kussima musingi abalala bonna kwe balizimba. Kati nga ow’ekitongole ky’ettaka n’ebizimbe, nkubiriza Abakristayo okukuuma ettaka ly’ekkanisa eri-sangiddwawo ate n’okwongera oku-gula eddala era n’okulikulakulanya. Mukama atenderezebwe nnyo.

Nze Rev Can Benon Ssemambo. Ow’ettaka N’ebizimbe.

ABAALIWObasomye era bagagawadde wamu nokukulakulana.Mukyala wange ye Mothers Union/ Christian Women Fellowship work-er ate yemwawule omukyala eya-sooka mubulabirizi bwe Mityana, mukuluwange Rev. Paul Kisuule yali Chaplain wa Bishop, muto wange Rev. Moses Semugooma ye Dioc-esan Health Co-ordinator, muta-bani wange Rev. Samuel Sebaale ye Diocesan Youth worker, Mutabani wange Rev. Emmanuel Lukabwe ne Grace bawule eBusimbi, mukoddo-mi wange kati ye Dean eKako (very Rev.Canon Fred Kayondone Sarah), mutabani Keneth ali mu Music School. Okusiima : Nsiima nnyo abalabirizi abazze baddira banabwe mu bigere.

ne Rev. James Semakula ne batandi-ka okugaziya offices. Era nebatandi-ka Action Aid.Bishop Yokaana Mukasa ne Maa-ma Norah baweerereza mukiseera kizibu nnyo kubanga kyali kyantalo naye teyavaako waka oba Mubu-labirizi. Yali muvumu ekyayamba Abakristayo n’abantu okunywera. Okujja kw’Obulabirizi eMityana ku-koze kinene nnyo mubulamu bwa-bantu be Mityana. Abantu bangi

Abamu ku bawuule mu Mityana Diocese

Page 7: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

8

Mity

an

a D

ioc

ese

Guno muggo gwa busumba. Gulaga nti ekisibo kirina omuliisa era akirabirira. Kano kabonero akalaga nti ggwe Musumba Omukulu mu Bulabirizi. Agukwata

abeera n’obuyinza (authority). Omusumba omukulu abeera omu mu Bulabirizi bwonna era ye nsonga lwaki omuggo gubeera gumu. Oba oli awo twandiyinzizza okuwa buli musumba omuggo gwe!Obulabirizi bubadde n’emiggo egyenjawulo esatu nga ebifaanyi bino wammanga bwebyoleka; 1. Gwakwatibwa Bishop Yokana Balikuddembe Mukasa.2. Ogw’okubiri gwakwatibwa abalabirizi bonna okuva

ku Bishop Mukasa okutuukira ddala ku Bishop Kaziimba. Guno kakano gwaterekebwa oluvannyuma lw’okukaddiwa.

3. Guno mupya era nga Omulabirizi Stephen Kaziimba yeyakagukwatako.

Omuggo Gw’Obulabirizi;Omuggo Gw’Obulabirizi;

11 33

33

bbb

8

Mity

an

a D

ioc

ese

Mity

an

a D

ioc

ese

25

Ng’omukulu w’ekitongole ky’abavubuka n’abaana mu Bulabirizi, njagala ok-

webaza Katonda atutusiza wano ngatuweza emyaka amakumi 40 bukya Obulabirizi butandikibwaa-wo. Ebenezeri, n’okutuusa kaka-no Mukama atubedde. Nina okuk-kiriza nti abavubuka n’abaana gwe musingi gw’Obulabirizi. We batali Obulabirizi tebubeerawo. Eno y’ekkanisa ya leero ate era ey’enkya: twetaaga okugifaako enyo.

EKITONGOLE EKITONGOLE KY’ABAVUUBUKA KY’ABAVUUBUKA N’ABAANAN’ABAANA.

n’Obulabirizi, okubuulira enjiri mu masomero ne mu kkanisa. Bakubanga enkugaa-na z’abavubuka ku bitebe by’obussaabadinkoni, okutuuza enkiiko z’abakulembeze, Oku-kuza wiiki y’abavubuka wamu n’okutegeka empaka z’abavubuka ez’enjawulo.

Ku mulembe guno bino bye biso-bodde okukolebwa;• Okubuulira enjiri mu

masomero ne mu kkanisa.

ikoni ne ku Bulabirizi• Okukuza wiiki y’abavubuka• Tusomeseza abasomesa

ba baana netubawa ne by’okukozesa.

• Okulambula Obusumba ob-wenjawulo mu Bulabirizi

• Okugabira abavubuka em-wanyi

Twebaza ebitongole ebyenjawulo ebituyambye okukola obuweer-eza buno.

Wofiisi eno eze eberamu aba-kulembeze abenjwulo;1. Rev. Yonasaani Lubanga2. Rev. Capt. Stanely Kakangula 3. Rev. Can. Jethro Wasswa

Ssebulime4. Rev. Can. Charles Andereya

Mwebe5. Rev. Dan Tusuubira Nyombi 6. Rev. Moses Ssemugooma7. Rev. James Kityo Ssemuyaba8. Rev. Simon Peter Kakeeto9. Rev. Samuel Ssebbaale

Ku ludda lw’abaana tulinayo;1. Rev. Can. Stephen Kaziro2. Rev. George Kizito3. Rev. Samuel Ssebbaale

YOGA YOGA MITYANA DIOCESE

Rev. Samuel SsebbaaleOmukulu w’ekitongole.

Ebyafaayo biraga nti banange aba-sooka mu wofiisi balina omuku-lulo gw’amaanyi gwe baalekawo. Okugeza; eby’emizanyo, emiso-mo gy’abakulembeze ba bavubu-ka n’abaana ku Busabadiikoni

• Enkungaana z’abavubuka n’abaana ku mitendera gyona okuviira ddala ku Bulabirizi ne ku Busabadiinkoni.

• Emisomo gy’abakulembeze babavubuka mu Busabadi-

Page 8: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

24

Mity

an

a D

ioc

ese

Twebaza Katonda olw’okututuusa wano wet-uli nga tukuza emyaka 40

egy’obulabirizi. Ekitongole kyebyen-gigiriza kyekimu kumpagi ezizimbye endowooza zaabantu okuyita mu ku-somesa ekigambo kya Katonda mu matendekero gaffe. Mu kino, naffe tuzimbira ku musingi Mukama waffe Yesu Kristo gweyaleka. (1Abakkolinso 3:10)Mu bumu nekyawandikibwa ekyo, nzikiriziganya Andy Rooney bwagam-ba nti, “…nga wetegekera omwaka omulamba simba mukyeere, emya-ka kumi simba miti, ng’otegekera obulamu bwo mu maaso yigiriza abantu…” Omugaso gw’okusomesa kwekukyuusa ‘endabirwaamu nezi-fuuka amadirisa’.• Okuviira ddala mu mwaka 1977,

embeera y’ebizimbe byaffe mu masomero n’enguudo ezimu bikyuuse nnyo. Tulaba nga wa-baddewo okugenda mumaaso.

• Mu 1977 twalina amasomero ga pulayimale nga ebikumi 221. Amasomero ga siniya go gabadde nga matono. Mugano mwe muli; Mityana S. S, Bukomero S. S, Kasenyi S. S. Amatendekero agawaggulu twalina abiri. Namu-tamba Teacher’s College; eno ya-tendekanga abasomesa ku ddaala ery’okubiri (grade II teachers). Ebiseera ebyo Bishop Lutaaya Theological College yali etend-eka baweereza ba kkanisa nga abasumba. Abamu kwabo mwe mwali Rtd. Archbishop Living-stone Mpalanyi Nkoyoyo, Bishop Dunstan Kopoliano Bukenya, ne Bishop George Kasangaki.

EBIMU KUBITUKIDWWAAKO: • Engiri ebuulidwa mu matende-

kero okuyita mu buwereza bw’obusumba (chaplaincy).

• Obuwereza bwa Scripture Union bubunyisidwa mu masomero aga siniya.

• These schools have nurtured many church ministers today including Canons, Priests, Lay-readers, Political readers and oth-er key various fields.

• Amasomero gano galeze abaweereza bangi ku miten-dera egy’enjawulo. Muno mwe muli abasumba, ababuulizi, ab’ebyobufuzi n’abalala bangi.

• Ekitongole ekimanyiddwa nga ‘Daughters of the King’ / ‘Brotherhood of St. Andrews’ baleze abaana baffe ab’obuwala n’ab’obuleenzi mu mwoyo.

• Abaana basobodde okuzuula ebitone byabwe bwe betabye wamu ne bannabwe mu nkun-gaana ez’enjawulo nga ebivu-lu by’okuyiimba, emizannyo n’ebirala ebitegekebwa ekiton-gole kyeby’okuyimba mu Bulabi-rizi.

Mubyona twebaza Bishop Stephen Samuel Kazimba olw’amaanyi gaat-adde munkungaana z’abavubuka nga aleeta abayigiriza abenjawulo neba-tendeka abavubuka n’abaana okukula mu mwoyo. It’s worthy to conclude that ‘’if un reached are reached then evangelism is given a priority’’. This is a call that needs Re-discovering our potential as the Diocese at large.Kyamuwendo okumaliliza nga ngam-ba nti “Singa ekigambo kya katonda kituuka ku buli muntu olwo enjiri eba eweereddwa ekifo ekisooka.” Bwetwegatta awamu, nga tuyita mu kitongole ky’ebyenjigiriza, tusobola okukulakulana.

VEN. CAN STEPHEN KAZIRODIOCESAN EDUCATION CO-ODINATOR

EKITONGOLE KY’EBYENGIGIRIZA MU BULABIRIZI BW’EMITYANA;

• Today we have 450 Primary Schools, 280 early child devel-opment (ECD), 20 Secondary schools, 03 Tertiary Institutions namely; Namutamba PTC, Bish-op Lutaaya Theological centre, Namutamba Kiboga PTC.

• Kumulembe guno tulina amasomero ga pulayimale 450, ag’abaana agatandikibwaa-mu 280 (ECD), aga siniya 20 n’amatendekero aga waggulu 3 omuli; Namutamba PTC, Bishop Lutaaya Theological College, ne Namutamba-Kiboga PTC.

• Kanokoleyo abamu ku bakoze mukitongole ky’ebyengigiriza mu Bulabirizi; Rev. Can. Ereiza Se-runjogi Salongo, Rev. Can. James Mukiibi, Rev. Can Henry Seggawa, Rev. Cranmer Kigongo, nange ka-kano Ven. Can. Stephen Kaziro.

• Some of the achievements today.

Mity

an

a D

ioc

ese

9

Obulabirizi bwa Mityana bwasalibwa ku Bulabirizi bwa West Buganda mu

mwaka 1977 era Omulabirizi waabwo eyasooka ye Bishop Yokana Balikuddembe Mukasa eyayawulibwa era n’atuzibwa ng’Omulabirizi nga 29.May, 1977.Bishop Yokana Mukasa nga yakalondebwa okuba Omulabirizi wa Mityana yasooka kwebuuza abantu abanaamuyamba okukola Obulabirizi. Bishop nga ava e Namirembe gye yali nga tannalondebwa yasalawo okujja n’omwawule okuva e Namirembe Rev. Canon Andereya Kijjambu era ono ye yali omuwandiisi w’obulabirizi omubereberye. (29 May – December 1977).

Mu kiseera ekyo tewaali nnyumba ya muwandiisi wa Bulabirizi .Rev. Canon. Kijjambu yasuzibwa mu kasenge akamu ku offi ce y’obulabirizi, mwe yasulanga.Tewaali nsimbi yonna ya Bulabirizi era Omulabirizi Yokaana Mukasa yategeeza nga ensimbi ze yatandika nazo Obulabirizi zaali ezo ze yali aweereddwa mukwano gwe nga ekirabo. Era ensimbi ezo ze yagabanyamu ne bazikozesa ne munne Canon Kijjambu.

Omulabirizi yayongera okutegeezanga ensimbi ezaava mu kusinza kw’okumwawula n’okumutuuza nga Omulabirizi nga 29 May, 1977 ze zaasooka okuyingira mu ggwanika ly’obulabirizi. Tewaaliwo Account ya Bulabirizi era Canon Kjjambu yamuwa amagezi aggulewo Account mu mannya ge ng’omulabirizi bakuumireko ensimbi z’obulabirizi okutuusa bwe baatuuza enkiiko ne baggulawo Account y’obulabirizi.Olwensimbi ezaali entono tebaasooka

kuwa bantu mirimu nga tebalina misaala gye banaabawa.Sinodi y’obulabirizi eyasooka yatuula nga 7, July, 1977. Obulabirizi bwasooka kuyitibwa erinnya eppanvu Ssingo Buweekula Diocese oluvannyuma lyakyusibwa okufuuka Mityana Diocese.Bishop Yokana yategeeza abantu nga yaakatuuzibwa ku ntebe y’obulabirizi nga ‘’plan’’ ye yali butaba na ‘plan’ nga kye yali ayagala abantu bekolere plan y’obulabirizi.

Ekigendererwa ky’obulabirizi kwe kutabaganya abantu ne Katonda nga tuyita mu Yesu Kristo Omulokozi Waffe.(2 kol 5:17-18).

Mu ntegeka y’emirimu gy’obulabirizi, Obulabirizi bwalina; Obulabirizi, Amatwale, Obusumba, Emiruka, n’ekkanisa ez’ebyalo.

Oluvannyuma Amatwale gaggyibwawo, era Obulabirizi ne bbusigaza Obussabadikoni bubiri bwokka:• South Ssingo• North Sssingo / Buweekula.

OLUVANNYUMA NE BUFUUKA BUNA:1. Buweekula2. Makonzi3. North Ssingo4. South Ssingo (oluvannyuma buno

bwakyusa erinnya ne buyitibwa Mityana).

ABAWANDIISI BWO’BULABIRIZI.

• Rev. Canon Andereya Kijjambu ye yali omuwandiisi w’oluberyeberye 29th May-December 1977.

• Bishop George Sinnabulya ye yali omuwandiisi wobulabirizi owokubiri okuva mu mwaka 1978

• Owokusatu yali Rev. Canon John Musaasizi 1988 – July 1989

• Owokuna yali Mr. John Bbosa August 1989

• Owokutaano yali Rev. Canon Samwiri Mukasa Mutambuze

• Owomukaaga yali Rev. Ephrance Kakangula

• Owomusanvu yali Rev. Canon Eriezah Kabona Sserunjogi Ssalongo

• Owomunaana yali Rev.Canon Dr. Anatosi Katuvamu

• Owomwenda yali Bishop Kefa Kamya Semakula 1991 – 1995

• Ow’ekkumi yali Rev. Canon Jethro B. Wasswa Ssebulime

• Ow’ekkumi n’omu yali Rev. David Kaleebu Bamulanzeki 2006

• Ow’ekkumi n’ababiri ye Rev. Rocky Ssendegeya nga yaliko kati

Rev. Can. Jethro B. Wasswa Ssebulime.

OBULABIRIZI BWA MITYANA 1977 – 2017

MMMMitttyyy

aaannn

aaa DDDD

iiioooocccc

eeeessseeee

Mity

an

a D

ioc

ese

9

Page 9: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

10

Mity

an

a D

ioc

ese

By Rev. Canon Charles Mwebe.

Ssabadinkoni omu enaku zino kaabula katono atwenyamize bweyanjogerako nti tewali yali

andabawo. Naye mbadde wo nnyo nendaba n’obulabirizi bw’e Mityana nga butandika.

Wawulira ku BISHOP FESTO LUTAAYA (yali mukwano gwa ‘family’ yaffe) omuweereza eyalina okwolesebwa okwamaanyi ku kuleeta obulabirizi bwe’ Mityana. Yayagala okukulakulanya Mityana nga ekifo eky’okubiri eky’Omulabirizi wa West Buganda kubanga Kako yali wala. Yazimba ennyumba y’Omulabirizi eya kalina era n’atandika eKkanisa eyayogerwangako mu myaka gya 1960 nti yeyali egenda okusinga obunene mu maserengeta ge ddungu Sahara. Bino byebimu ku byamuletera akabasa! Mukiseera kitono yasikirwa BISHOP STEPHEN TOMUSANGE era ono ye yanzisako emikono. Bino byonna njogera bya West Buganda anti nga obwaffe tebunajja.

BISHOP SSENYONJO CHRISTOPHER naye namulabako. Ono ye yadda mu bigere bya Bishop Tomusange. Kumulembe gwe Obulabirizi bwa Mityana buzaalibwa era ne busalibwa ku bwa West Buganda. Olwo netutandika ekitundu ekigya – Obulabirizi Bwa Mityana. Olunaku lwa 29/05/1977 lwakya bulungi, era ba Bishop bawera 10. Bishop Ruhindu owa Bunyoro Kitara, ye yabulira ku lwa Pentekote olwo nga Bishop wa Mityana asooka RT. REV DR. YOKANA BALIKUDDEMBE MUKASA atekebwawo (ono nno ye yanjawula n’okungatta). Tekyali kiseera kyangu kubanga twali mu bufuzi bwa Idi Amin era omwo Arch Bishop Janan Luwum mwe yattirwa. Mu mwaka gwe gumu Ekkanisa Ya Uganda mwe yagyaguliza emyaka e kikumi (100). Okulokoka kwali kwamaanyi mu naku ezo.

Archbishop Sylvanus Wani ye yatekako Bishop Mukasa. Ono Yategeeza abantu nti twali tufunye Omulabirizi omukalabakalaba newankubadde yakyogera bulala. Nga omulungi bwatabulako kamogo kwolo engabula yagaana ate n’enkuba netonya. Bangi tebaalya so nga ate emmere n’enyama byalemerawo. Bishop Mukasa abamu tumujjukirako bino; • Yatendeka abawule abamu

abafuuka Abalabirizi mu Bulabirizi obutali bumu mu Buganda okujjako Namirembe.

• Yagamba mu kutandika nti ‘’Pulani ye yali butaba na pulani’’.

• Yagamba nti bwe yajja yasanga abaweereza ‘’Kijega team’’, anti olububi lwa baweereza nga Canon Kewaza babaleka eri mu West Buganda.

• Yaleeta Action Aid eyazimba ennyo amasomero.

• Yali mukugu nnyo mu ndowooza z’abantu.

• Okulondebwa kwa Bishop Mukasa batono mu kitundu kino eky’e Mityana abakumanya ekitaali ku balabirizi abadirira omwali okusika omugwa.Naye Bishop Mukasa yakisinyako olumu nti emu ku nsonga eyamulondesa yali musaale nnyo mubigambo by’e Namirembe nga Archbishop Sabiiti alondebwa. Bishop Mukasa yaja kikereeze ng’era bwe yagamba ng’ebula emyaka etaano awumule naye Sinoodi yakola ekitatera kubeerawo ne mwongera ekisanja.

• Omulabirizi ow’okubiri ye Bishop Emeritus Wilson Mutebi. Ono ye yampa obwa Canon. Mubyanajukirirwa ngako mulimu bino;

• Ye Bishop abulira ekigambo nga musanyufu kumpi ekiseera kyona.

• Yatekawo abakebezi ab’olubeerera.

• Teyalemerangako ku mwawule ayagala okugenda mu Diocese endala.

• Yakkiriza era nasobozesa

abaweereza abagala okweyongera okutendekebwa ne mu bukugu obulala naddala obusomesa nga tebavudde mu Busumba bwabwe.

• Mirundi mingi nga tanakyusa mwawule yamala nga kwogera naye.

• Y’akyasinze okukolera mu kiseera eky’okusomooza, olw’ensimbi entono ng’ogyeko ekiseera kya Bishop Mukasa ekyasembayo anti mu kuteekako Bishop Mutebi project y’enkoko 100 ezaali tezinabiika zaasalibwa.

• Bishop Emeritus Kopoliano Bukenya ye Mulabirizi ow’okusatu. Ono yali musomesa wange mu Bishop Tuker Theological College eMukono. Ebimu kubyanajjukirwangako bye bino;

• Naye okufananako nga Bishop Mukasa yajja kikeerezi.

• Yalina speed yamaanyi mu byakola.

• Yateekawo ‘Mission Parishes’ okusembeza obuweereza mu bantu era nyingi kuzzo zifuuse Obusumba obujjuvu. Kino era kyakola nnyo okwongera ensimbi mu nsawo y’Obulabirizi.

Ku mulembe guno tulina RT. REV. DR. STEPHEN KAZIIMBA nga ye Mulabirizi ow’okuna. Nali wamukisa okubeera ku kakiiko akalonda amanya abiri omulondebwa Omulabirizi. Abamu kuffe twamutegerera nnyo mu kigambo ky’okubuulira enjiri; naye ye muntu akyusa ekintu nekikyuka mungeri gy’otayinza nakuloota! Mu bumpimpi okusinziira ku biriwo ye muntu ateekawo ebintu abalaalaasi kye bandigambye nti okusinzira ku nsawo, embeera, n’ebiseera ‘’tebyetagisa n’okusoboka tebisoboka.” Wabula akyakola…Mukama mwebaza okunsobozesa okulaba bino byonna era nkakasa nti bingi nkyabiraba nga ye mubeezi wange. Amiina.

ABALABIRIZI BE MITYANA, NANGE.

Mity

an

a D

ioc

ese

23

Mityana Diocese ebadde nsaale mukulerera abawereza. Toyinza

kwogera ku Bulabirizi bwa Buganda n’otayogera ku Mityana. Kyenkana Mityana y’ekulembedde mu Busaabalabirizi bwa Uganda bwonna mu kuweereza abalabirizi mu Bulabirizi obw’enjawulo;

Bishop Evans Mukasa Kisekka Omulabirizi eyawumula ow’obulabirizi bwe Luweero azaalibwa wano mubulabirizi bw’eMityana era yali muwereeza mubulabirizi buno. Yaweereza mu Kkanisa y’e Lulagala era yaliko omuwandiisi w’Obulabirizi. Twebaza Katonda olw’obuwereeza bwamukozeseza era tumwenyumirizamu.Nga tukyali e Luweero, eyaliko Vicar mu Luti kko ya Andereya Omutukuvu e Namukozi kakano ye Mulabirizi aliko ow’e Luweero, Bishop Eridad Kiwanuka Nsubuga yeyaddirira Omulabirizi Evans Mukasa Kisekka.

Omulabirizi eyawumula Rt. Rev. Dr. Samuel Semakula Kamya era naye yali wano mubulabirizi bw’eMityana.

Yaliko omuwandiisi w’Obulabirizi bwe Mityana. Ono anajjukirwa nyo kulwa taata we Rev. Canon Ezra Kamya eyali omusaale enyo mukuziimba Luti kko kakaano egaziyizibwa.

Rt. Rev. Dr. George Sinabulya; ono nno ye mulabirizi omuberyeberye owa Central Buganda era nga kakano yawumula nakoomawo Mubulabirizi bw’e Mityana era akyawereza. Yaliko omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Mityana mu mwaka gwa 1978. Era ono amanyiddwa ng’omuyimbi nakinku.

Bishop Eliya Paul Luzinda; ono ye Mulabirizi ow’okusatu eyawumula ow’eMukono wabula yakola obuweereza bwamanyi mu Bulabirizi bw’eMityana. Agamba nti , “Obulabirizi nga bugya nali Post Master nga nkola ku ‘Post Offi ce’ era nalaba byonna ebyaliwo mu kiseera ekyo.” Yaweereza nga Vicar wa Luti kko, Omusumba w’eBusimbi 1985-88, era n’abeerako omuwandiisi w’Obulabirizi mu 1990. Yasomesa ku Bishop Lutaaya Theological College era yaliko Chaplain wa Bishop Mutebi. “Oluvanyuma

nasindikibwa eMukono ku Bishop Tucker Theological College okweyongera okusoma obuweereza nga nsembebwa Obulabirizi.” Nebaza Katonda nti Obulabirizi bubadde busaale mukutendeka n’okubangula abaweereza ku mitendera egy’enjawulo. Mu kino tufunyemu abaweereza ku mitendera egyenjawulo nga Abalabirizi n’abakulembeze abalaba.”Bishop Michael Lubowa Sinnabulya nga kati ye mulabirizi wa Central Buganda Diocese. Eky’Obulabirizi kyamusanga Busimbi nga Ssaabadinkoni era Omusumba wa ‘All Saints Church’ Busimbi. Yaliko Vicar wa Luti kko ya Andereeya Omutukuvu e Namukozi era yakolako mu woffi isi y’obulabirizi nga Steward and Resource Mobilizer.Twebaza Katonda olw’omukululo guno. Tusuubira nti emyaka gino ana egiyisse gituwa ekifananyi ky’Obulabirizi ekitangaala gyetugenda. Twebaza Katonda olw’obuwereeza bw’ Abalabirizi bano era tulowooza nga kya kwenyumirizamu nga ff e ab’Obulabirizi bw’e Mityana.

ABALABIRIZI AB’ENJAWULO ABAVUDDE MU MITYANA DIOCESE.

Okuva ku ddyo: Bp. Mutebi, Bp. Kamya, Bp. Kaziimba, Bp. Sinabulya ne Bp. Bukenya abamu ku abo abogerwako

Page 10: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

22

Mity

an

a D

ioc

ese

Naffe abawule abakyala tuyozayo-zannyo Bishop waffe wamu ne Maama waffe Margaret Kazi-

imba olw’okutuuka ku kujaguza kuno okw’emyaka amakumi ana ag’Obulabirizi bwaffe. Obulabirizibwa Mityana bwatandika okwawula abawule abakyala mu 1980. Omwawule omukyala eyasooka okwawu-libwa ye Rev. Can. Edith Semmambo, era y’enze alunyumya luno. Mu kiseera ekyo Church of Uganda yali tenakkiriza bakyala kutuuka kuddala lya Bukadde bwa Kkanisa (Priest) n’olwekyo nafuuka Omukadde w’ekkanisa mu 1992. Kaaka-no abawule abakyala mu Bulabirizi bwa Mityana bawera;1. Rev. Ephrance Kakangula.2. Rev. Can. Dr. Olivia Nassaka Banja3. Rev. Dorothy Nabukeera4. Rev. Christian NakyeyuneBusuulwa.5. Rev. Mary Kibirige6. Rev. Mary Tusuubira7. Rev. Olive Luvumu8. Rev. Betty Nakaggwa.9. Rev Gahinga (RIP)

BYETUFUNYE;• Naffe tubuulira enjiri kubanga era

bwetusoma Bayibuli abakyala be batume abasooka Yesu yennyini nga atuma Maliamu Mangudaleena nti“…genda obategeeze nti taliwano azuukide nga bweyagamba era tuna-sisikana e Galiraya…”

• Tukuziddwa kumadaala ag’enjawulo mu buweereza. Okugeza Dr. Olivia Nassaka Banja ye Dean, School of Theology mu Uganda Christian Uni-versity.

• Abamu bafunye obwa Canon.• Tuweereza mu busumba nga aba-

sumba abalala.

Twebazaba Bishop baffe bona be tukola nabo olwokutuwagira.Nga mmaliriza nsaba abawala abato bajj-umbire okuyingira obuwereza bwa Katon-da buno n’obumalirivu era n’obuvumu.

ABAWULE ABAKYALAObuweereza bwa Bawule abakyala

Tuweereze Mukama;abalala nga tukad-diwa abalala nga badawo.

Nze Rev. Can. Edith SemmamboChairperson Women ClergyMityana Diocese.

Taata kitaff e Omulabirizi The Rt Rev Dr. Stephen Samuel Kaziimba ne maama Margaret

Kaziimba tubayozayoza okutuuka kukujaguza okwemyaka amakumi ana kasookedde Obulabirizi bwa Mityana buteekebwawo.Ababadewo ne Ekibiina kino ekya Christi an Women Fellowship kirina ebigendererwa ebikulu bisatu;1. Okwegatt a awamu okwabakyala

bonna era nabawala abakristaayo mu Bulabirizi.

2. Okusoma ebyawandikibwa ebitukuvu n’okuyamba mu mulimu gwabasoma ogw’okubati zibwa n’okussibwako emikono era n’okusomesa mu Sunday school; okuyamba abatesobola era n’okubuulira enjiri mu makomera.

3. Okuteeseza awamu kubuvunaanyizibwa bwabwe ng’Abakristaayo eri ekkanisa yaabwe wamu ne Ggwanga lyabwe.

Bano be babadeko ng abakulembeze

(Presidents) b’abakyala Abakristaayo;1. Mrs. Epharance Mukasa

Mutambuuze (RIP)2. Mrs. Mary Nsubunga3. Mrs. Miriam Mukiibi (y’ali kokati )Ebikolebwa byonna byetololera kubigendererwa by’abakyala Abakristaayo;

• Tuyigiriza emisomo gy’obukulembeze eri abawala n’abakyala.

• Abakyala bazannya emizannyo ennyimba era nebitontome.

• Tukugaanira awamu ng’obulabirizi netukuliza wamu olunaku lwomuyima waff e Maliamu Mangudaleena.

EKITONGOLE KYA BAKYALA EKITONGOLE KYA BAKYALA ABAKRISTAAYO CHRISTIAN ABAKRISTAAYO CHRISTIAN WOMEN FELLOWSHIPWOMEN FELLOWSHIP

Mity

an

a D

ioc

ese

11

Bya Mukunganya.

Ono ye Mulabirizi ow’okubiriri mu Bulabi-rizi bwa Mityana erayaw-

ereza okuviira ddala mu mwaka gwa 1989.

Bishop Mutebi ngaayozayoza Obulabirizi okuweza emyaka 40 agamba, “Nebaza Katonda olwa banaffe abayolesebwa okuteeka obulabirizi eMityana. Nebaza abantu ababutandika nga Mw. John Masembe, Prince Besweri Mulondo (RIP), Mw. Beera Sekitooleko, Canon Buke-nya (RIP) Bishop Yokaana Mu-kasa (RIP), nabalala abatekamu amanyi okulaba ngatufuna Obu-labirizi.” Ayongera n’agamba nti, “Bw’ofuna Obulabirizi olwo en-kulakulana eba etuuse mu kitun-du. Anti Omulabirizi avunany-izibwa okutekawo amakanisa, obusumba, obusabaddikoni n’ebirala ekiyamba okugaziya obuwereza.” Agambanti Mitya-na erina ekifo kyawagulu mu-bigambo by’enkulakulana olw’Obulabirizi.

Bishop Mutebi agamba nti, bweyaggya mu Bulabirizi buno, yalaba ng’omutindo gw’abawereza gwaliwansi nnyo. Olw’okuba yaweereza mu kiton-gole eky’ebyenjigiriza okumala ebbanga ku Busaabalabirizi, yagamba nti wakunyikirira nnyo okukola ku by’engigiriza bya-baweereza. Kino yakiteeka ne mu kiwandiiko kye ng’atuuzibwa ng’Omulabirizi.

Kubisoomoza ekkanisa Bish-op Mutebi mwenyamivu ku byenjigiriza naddala eri abaweereza.“Obulabirizi mu myaka ana okutendeka abaw-ereza basobole okuwa engigi-riza ennungi era ematiza abantu; mukkanisa, mu masomero, mu malwaliro n’awalala.” Kino alaba nga kikyetagizisa ddala mu Bula-birizi bwaffe buno.

OBUBAKA bwa Bishop MUTEBI

Obukaka bwa Bishop Mutebi eri abantu ba Katonda obw’emyaka ana

Atukubiriza yonna gyetuli tuki-manye nti omulamwa omukulu ye Yesu Kristo era tutegeere omulamwa guno tulyoke tuso-bole okutunda Yesu mu bantu abalala. Atujjukiza okwongera okufuna engeri emanyisa abantu bonna nti Yesu Kristo yettaala yaffe mu nsi eno.

Ayongerako nti, “Buli muntu yan-ditegedde mangu ekirabo kye era nakikozesa ng’agabana n’abala kubanga buno bwebuvunany-izibwa bwaffe obubereberye mu nsi muno. Nze ndi mubuu-lizi wanjiri era n’ebaza Katonda nti nakitegeera nga bukyali era nkinywereddeko.

“Obulabirizi mu myaka ana okutendeka abawereza basobole okuwa engigiriza ennungi era ematiza abantu; mukkanisa, mu masomero, mu malwaliro n’awalala.”

Page 11: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

12

Mity

an

a D

ioc

ese

Obulabirizi buno bwava ku bula-bilirizi bwa West Buganda nga 29/5/1977. Omulabilirizi omu-

beryeberye ye yali Dean wa lutikko y’e Namirembe; Bishop Yokana Balikudembe Mukasa (RIP). Omuwandiisi omuberye-berye eyava e Namirembe yali Canon Kijjambu eyakola mu offi ce eno okutuusa December 1977. Ate nze nalondebwa nkyali na Mukono mu Bishop Tucker Theological College January 1st 1978.Offi ce y’omuwanika nagisangamu Rev. Canon Daniel Kayondo muto womu-langira Dr. Besweri L. Mulondo eyatu-faako mu bbanga ettono eriyise. Offi ce y’obuwandiisi bw’obulabirizi saasooka kutegererawo mangu kiki kye nali nina okukola kubanga nali sikolangako mu kkanisa butereevu. Emirimu gyange gyali gya mu masomero. Naye omula-bilirizi ono Yokana Mukasa yali muntu eyali amanyi okutendeka obulungi, mu bbanga ttono nali nange ntandise oku-bera omukugu ayinza n’okutendeka ban-nange benali nkulembera mu bitongole bya woffi isi yonna. Yagenda annyoger-ayo mu matendekero amalala nga ery’e Limuru International Conference Center – Kenya aba Christian Research and Ad-visory Trust (CORAT) gye bammangulira mu by’obukulembeze bw’emirimu gy’e kkanisa (Church Administrator Courses) eyo namalayo kumpi emyezi 6.

Woffi isi eno nagimalamu emyezi etaa-no ne bantuma e Buweekula nga Ssaa-badinkoni omuberyeberye. Eno nayo namalayo emyaka etaano, kugyo, esatu nga bwesoma mu Virginia Theological Seminary America. Twebaza Katonda olw’Abalabirizi abazze bakulembera Obulabirizi buno okutuusa kati 2017. Buli omu Katonda amukozesezza ekkat-tala lye era y’ensonga lwaki Omulabirizi waffe ono Rt. Rev. Dr. Samuel Kaziimba Mugalu akoze enteeketeeka ennugi bweti ey’okwebaza Katonda olw’ebyo byonna by’atuyisizzamu ne bye tutuuseeko. Mbu-tuufu tetwandibadde na maanyi kukola mukolo guno singa tewabaddewo kiwee-sa Katona kitiibwa ekirabika. Wano ate we nebaliza Abalabirizi bonna ab’emabega abasima omusingi Kitaffe mu Katonda ono Stephen kw’azimbidde bino byonna ebitadde Obulabirizi buno ku map ey’enkulakulana etagenda kwerabirwa. Siyinza kwerabirwa abakulu b’ebitongole bonna abazze bakolela awamu n’Abalabirizi mu mirimu egy’enjawulo; Mukama abatuweere omukisa ogutaliiko buyinike.Olugendo lukyali luwanvu, twongere okus-abira buli omu n’okusinga Omulabilirizi waffe ono aliko kati ngali kukaweefube w’okugaziya Lutiiko eno eya Andereya Omutukuvu bongere nnyo okwewaayo kunsonga eno ey’okukulakulanya Obula-

EBIMU EBITONOTONO EBIFA KU BULABILIRIZI BWE MITYANA NE RT. REV. DR. George Sinabulya.

birizi buno; nga bakulembeza obwesigwa obulituweesa ffenna engule ey’Obulamu.

Kubikulirwa 2:10

AMIINA

Nze Mrs Kassalina Kibuuka omuwandiisi w’Omulabirizi wa Mityana.

“Ndi mu yaffi isi y’Omulabirizi okuvira ddala mu mwaka 1973 n’okutuusa leero. Naye ssi lwabuyivu wadde okutegeera, wabula olw’okukiriza Yesu Kristo, oyo eyanjagala enyo n’ansanyiza obuweereza buno.”

Omuwandiisi w’Omulabirizi yandibadde afaanana atya? “Nze kubwange, nkizudde nti omuwandiisi w’omulabirizi yandibadde Mulokole ddala, ntegeeza asobola okukuuma ebyaama kubanga buweereza bwa bwesigwa. Ekirala, yandibadde ayagala okusaba, kubanga Omulabirizi yetaaga nyo okusabira wamu n’obuweereza bwonna obw’Obulabirizi.

AWANDIIKIDDE OMULABIRIZI OKUVA MU 1973 OKUTUUSA LEERO!

• Bishop Dr. Dunstan Nsubuga• Bishop Misuseeri Kawuma mu bulabirizi

bwe Namirembe1989 - 2002 • Bishop Mutebi Wilson2003 - 2008 • Bishop Bukenya Dunstan 2009 - To date • Bishop Stephen Samuel Kaziimba

Mugalu.

Emyaka nga mingi; osobodde otya okubeera mu offi ce y’Omulabirizi?“Nyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi. (Abafi ripi 4:13). Siyinza kukugamba nti nnina okwegezaamu kwenkola oba nti nnina wembisoma wabula kisa kya Katonda. Oyo y’ambeera okwetoowaza era n’okuguma mu mbeera y’obutamalibwamu na ssente.”

OKWEBAZANeebaza nnyo Katonda okubeera mu offi ce y’Obulabirizi kubanga nze ndaba ebweru w’ekanisa sirina yo kyennyinza kusobola. Mukama Yebazibwe.Bwenti bwenzize nkola mu offi ce y’Omuwandiisi w’Omulabirizi ow’ekyama okuva mu 1973 okutuusa Kaakano; 1973 - 1988

Mity

an

a D

ioc

ese

21

Bya Sister Margaret Kisuule.

Kino kyekitongole ekifa ku bakadde n’abalwaddwe abali ku ndiri nga kyesigamiziddwa

ku muti ndo gw’ebyobulamu okusin-ziira ku mbeera z’ebitundu byabwe.Ekitongole kino kati kimaze emyaka 10. Kyatandikibwawo Omulabirizi Bishop Dustan Kopoliano Bukenya. Kyasokera mu Busumba bw’e Kiso-jo mu 2006 okugezesebwa nga 14/Feb/2007. Sr. Margaret Kisuule yawe-bwa obuvunaanyizibwa bw’okulira ekitongole kino. Ono mu July wa 2009 yawebwa sikaala (scholarship) okugenda okusoma eby’endabirira

y’abakadde mu bu Girimaani (Ger-man) – Gemiind mu Bulabirizi bwa Aachen. Musawo Mary Jaggwe alonde-bwa okutwala obuweereza buno mu maaso. Ono yebazibwa nnyo olw’obuweereza bwe yakola mu bakadde omwali okutambula engen-do okubanoonya era n’okubajjanjaba. Ssentebe wabakadde eyasooka ye Can. Christi ne Mary Kalanzi 2008 – 2015. Twabaza Katonda ku lulwe kubanga yatukubiriza bulungi era n’okukumakuma abaweereza mu ki-tongole. Maama Joyce Ziribagwa ka-kano ye Ssentebe era akyaweereze. Mu buweereza buno ekigendererwa

EKITONGOLE KYABAKADDE MU BULABIRIZI BWA MITYANA FFE BAANI!

Atenderezebwe Mukama Katonda wa‘Mityana Diocese’ kubanga atuky-

alidde, atununudde era agimu-sizza obulokozi obukulu mu Bu-labirizi bw’omudduwe Rt. Rev. Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu.Omulembe guno ogw’okuna gutuggyeko ekyoyooyo–eki-yoyerezi, ekipali, ekikwa, ekifi ni ekibadde kisitama ne kiremesa emirimu okutambula n’okuggusibwa! Ku mulembe guno OMUZIIMBA, buli mu-limu gutambulidde ddala kin-nawadda mu bugolokofu, era mu bulungamu bwagwo.Ate LUTIKKO eno bweneggwa bweti ejja kubanga ekutulidde ddala enkola ey’okuzimbira, amakanisa, ennyumba za baweer-

OMULEMBE GW’OKUNA; OMULEMBE ‘OMUZIIMBA’.

eza, amasomero ebya Church of Uganda, emyaka n’ebisiibo.Ku mulembe guno ogwokuna mu Bulabirizi buno, emirimu mingi gikoleddwa ne giggwa, EKITIBWA KYA MUKAMA’’.Tunula olabe okuviira ddala awo wooli okutuukira ddala ku Bula-birizi olukalala lwo bwelujjula tokifaako sigala nga weewuunya weebaze bwebaza Mukama.Essaala; Mukama Katonda Nnannyini byonna, tusaba n’obuwombeefu bwonna, na-ddala ffe ABASAJJA, otuwe amaanyi, obuyinza, n’obusobozi okukunoonya n’okukutegeera. Kibeere bwekityo.

Lwanga Lukwago Stephen.Man of Men

Mity

an

a D

ioc

ese

21

kyaff e ekikulu kwe kuziimba obuso-bozi mu bakadde n’abalwadde bbo bennyini, mubenganda zabwe ne mubitundu byabwe okugyamu ebyo ebikosa obulamu bwabwe. Muno mu-limu abakazi n’abasajja abawezezza emyaka 60 no kugenda waggulu era tetusosola mu nzikiriza oba ggwanga. Tuwereza ddala 860 betuweerezamu.

Page 12: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

20

Mity

an

a D

ioc

ese

Aba Mothers’ Union Mityana Diocese tuyozayoza The Rt Rev. Dr. Stephen Samuel ne Maama

Margaret Kaziimba olw’okuutuuka ku kijaguzo kino ng’Obulabirizi bwaffe obwa Mityana buweza emyaka amakumi ana (40) kasookedde butandiika.Ekibiina kino kyatandiikibwa omukyala Mary Sumnar okuva mu Bungereza. Wano eMityana Mothers’ Union yatandiika mu mwaka 1977 nga Bishop waffe omuberyeberye ne maama Norah Mukasa bamaze okujja.

Ekibiina kino kirina ebigendererwa 5 obuweereza kwebwetololera;1. Okutuukiriza okuyingiriza kwa

Mukama waffe Yesu Kristo mu kigambo ky’obufumbo.

2. Okuteekawo enkola ennungamu ereeta essanyu n’obutebenkevu mu maka.

3. Okunoonya oluganda olumu olwabakazi Abakristaayo mu nsi zonna abegattira awamu

MOTHER’S UNION

EKITONGOLE KYA MOTHER’S UNIONmu kusaba mu kusinza ne mukuweereza.

4. Okukubiriza abazadde okukuza abaana baabwe mu kukkiriza.

5. Okuyamba amaka agaba gafunye obuzibu.

Bano be bakulembeze (Presidents) abaweerezza kasookede M.U etandiika eMityana.1. Canon. Christine Mary Kalanzi2. Mrs. Catherine Merabu Bukenya3. Mrs. Margaret Serunjogi (RIP)4. Mrs. Victoria Lwanga Lukwago5. Mrs. Jane Kato, nga oyo yaliko kati.

TUBADDE NE BA C.O.C WORKERS ERA BEBANO;

1. Maama Robina Kamya2. Mrs. Loi Wasswa3. Mrs. Rev. Can. Edith Ssemmambo

era ngayaliiwo kati.

Twebaza Katonda atusobozesezza okuweereza n’okutuusakati.

AKALOWOOZO

Ba maama aba Mothers Union bwetuba tuyigiriza tufeeyo ku baana bombi ow’obulenzi n’owobuwala kubanga bonna bamugaasonnyo eri eggwanga.

Nze: Rev. Can. Edith SsemamboC.O.C Mother’s Union.

Maama Phoebe Bukenya nga akwasa Maama Margaret Kaziimba fayiro

20

Mity

an

a D

ioc

ese

Mity

an

a D

ioc

ese

13

Ebimu kubijjukirwa Canon Mu-tambuze ebyaliwo nga tufuna obulabirizibwa Mityana.Agam-

ba nti obulabirizi nga buteekatekebwa, waliwo akakiiko nga kasaba okuwebwa Obulabirizi era abamu kubaalikakiikoa-kokwekulinabano: Prince Besweri Mu-londo (RIP), Mwami ErasmasSamuel Bukenya, Mwami John Masembe ne MwamiTefeero Katende Kikooti (RIP). Agambanti, enkiiko nyingi zaatuu-langa ab’eMityana baagala okwe-salaku West Buganda. Obulabirirzi bwa West Buganda bwasaba siringi emitwalo abiiri mw’etaano (250,000)balyoke babate okusobola okubawa Obulabirizi obwetongodde. Zaalin-simbimpitirivuennyo mubiseereebyo. Sente zino baziwaayo era nga Canon Mutambuze ye yazikwata kubanga ye yali omuwanika w’obulabirizi bwa West Buganda ebiseeraebyo.Oluvanyu-ma ng’ebisanyizo byonna biweddeyo, akakiiko k’Obulabirizi katuula neka-londa Rev. Can.Yokaana Balikuddembe Mukasa okubeera Omulabirizi omuber-eberye owa South Singo Diocese (anti erinnya‘Mityana’ lyajja luvannyuma) era ono yatuuzibwa Ssabalabirizi Sil-vanus Waninga 29 May, 1977.

Ku mukolo ogw’okutuuza Omulabiriz-iYokaana Balikuddembe Mukasa, Can-on Mutambuuze agamba nti yeyasooma ekiwandiiko (minute) ekyali kiraga okwawulibwa kw’ekitundu kya South Singo, ku Bulabirizi bwaWest Buganda, okufuuka obulabirizi obwetongodde. Mukiseera ekyo ye yali Omuwandiisi W’Obulabirizi bwa West Buganda.

OBUWEEREZA BWA CANON SAMUEL MUKASA MUTAMBUZE.Canon Mutambuze yasindikibwa oku-soma obubuulizi mu mwaka 1962 era nga ebiseera ebyo bayitiibwa ba ‘Pre-Ordinards’. Mu 1964, n’afuuka omubu-lizi omujjuvu era nga bwayambako ku mukulembeze (Principal) wa Bishop Lutaaya Theological College nga ‘As-sistant Principal’. Mu 1966, yasindikibwa mu Buwalasi

Theological College e Mbale. Mu 1967, wano ngali mu mwaka gwe ogw’okubiiri mu College yava e Buwalasinadda e Mukono mu Bishop Turker Theological College. Eno gyeyamalira emisommo gye nafuuka Omudiikoni.

Nga 17 December, 1967, yayawulibwa ng’omuddinkoni eKako mu Bulabirizi bwaWest Buganda. Mu 1969 yafuuka Omukadde w’e Kkanisa mu busabad-dinkoni bwa South Singo (Mityana). Mu 1974, yagenda eKako (West Bu-ganda) ng’omumyuka w’omuwanika. Mu 1977, yatumibwa mu wofi isi ssatu; Omuwandiisi w’obulabirizi bwa West Buganda, Estates Offi cer, ate era Omu-wanika.Mu January 1978, yava mu West Bu-ganda najja mu Mityana nga Principal wa Bishop Lutaaya Theological Col-lege.Mu 1981, yafuuka Ssabaddikoni era ‘Sub-Dean’wa South Ssingo / Bu-wekula. Oluvanyuma nafuuka Dean omujjuvu (Omusumba Omukulu Owa Lutikko) nga bwamuwebwa Bishop Wilson Mutebi ng’ono ye Mulabirizi owokubiiri owa Mityana Diocese.

Kakano Canon Mutambuze yawumula obuweereza obw’enkalakkalira era gy’ali mu makagee Namukozi Mityana. Ono y’omu kubantu abe buuzibwako eby’Obulabirizibwa Mityana.

SISINKANA DEAN(Omusumba Omukulu) WA LUTIKKO.

Obubaka bwa Canon Mutambuze obw’emyaka 40 egy’Obulabirizi eri abantu ba Katonda mwena; 1. Tweyongere okuyiga okusiima Ka-

tonda byatwebulungulizako okuva bwetwatandika okutuusa we tu-tuuse era twongere n’okusabira emyaka emirala mu maaso gibeere gyamirembe. Ate era n’okusiima banaffe abakoze obulungi. “…era sirema kusiima enkola ya Bishop Stephen Samuel Kaziimba kubanga by’akola byeyogerera...”

2. Twongere okuyiga okugabana ebirowoozoebizimba ekkanisa wamu ne banaffe olwo enkulaku-lana eneyongera mu maaso.

3. Tweyongere okusembeza abalala mu buwereeza bwaffe wamu ne mu maka gaffe kubanga baba batuy-amba okukola byetutandisodde kukola ffeka na ffeka.Obuggya n’okweyagaliza (Jealousness and Selfi shness) bireme kutulemesa bu-weereza.

4. Tubeere n’omutima ogw’okwagalizaganya mu buli kintu anti era ekyo Katonda kyat-wagali zaffe abantu.

Canon Mutambuze asaba Mukama afukirire omutima ogw’okwagala, oku-saba n’okusonyiwa bibukale muffe nga bwetweyongera mu maaso emyaka emirala.

Page 13: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

14

Mity

an

a D

ioc

ese

Omukuba Ssaabadiikoni abaatandika Obulabirizi bwa Mityana Katonda akya-

mutukuumidde bulungi; atulaganga bweyaweerezamu nga Ssabadiikoni. Rev. Canon Kefa Kiiza agamba nti, “Nnatumibwanga Ssaabaddikoni wa Mityana nga 1/1/1978 nga nzira mu kifo kya Rev Njogi eyali azzeyo eMa-saka.” Obulabirizi buno bwatandiikan-ga 29/5/1977 nga butandiikibwa Omulabilirizi Rt Rev Yokana Ba-likuddembe Mukasa. Bwatandika n’Obussaabadiikoni bumu mu biseera ebyo obwayitibwanga ‘Ssingo Bu-wekula’. Mwalimu amatwale ataano era bano wammanga be baagakulem-beranga:-1. Etwale lye Bamusuuta – Rev Can Bukenya.2. Etwale lye Bukomero – Rev Bulenga.3. Etwale lye Mityana – Rev Can EzeraKamya.4. Etwale lye Bukuya – Rev YokanaWamala.5. Etwale lye Kikoma – Rev Yoweri Aligaweesa.

Muntandikwa y’obulabirizi Obusum-ba (parishes) tebwali bungi nga bwekiri kati. Amatwale nga gamaze okudibizibwa wassibwawo Obussaa-baddikoni 2; North Ssingo ne South Ssingo.

North Ssingo yalimu Obusumba buno:-1. Baamusuuta.2. Bukomero.3. Kisojjo.4. Kambugu.5. Busunji / Kibubula.

South Ssingo yalimu Obusumba buno:-1. St Andrews Namukozi.2. Bukuya. 3. Kasenyi.4. Kikoma.5. Kikoma. 6. Sekanyonyi.7. Kawungeera.

Obusumba obwo obulagiddwa wag-gulu bwali bunene ekisukkiridde nga omuweereza azibuwalirwa okuma-tiza Abakristayo ab’esudde bwe batyo awagazi. Kino kyaviirako okuzaalib-wa kw’Obusumba bubiri oba busatu:

Ekyokulabirako; Obusumba bwa St Andrews Namukozi mu 1957 Rev Kefa Kiiza (nga tannaba kufuuka can-on) yali Musumba nga gino Miruka:-1. Omuluka gwe Kabule.

SSAABADIIKONI;

2. Omuluka gwe Kawoko. 3. Omuluka gwe Namutamba.4. Omuluka gwe Kalangaalo.Kati wetogerera egyali e Miruka gyakuladda kati bwe Busumba obu-wedde emirimu. Nobusumba obumu ate era musaliddwamu n’obusumba obulala.1. Ssaala Parish yazaalibwa okuva

ku kabule.2. Ttamu Parish yazaalibwa okuva

ku kabule.3. Kiweesa Parish yazaalibwa

okuva ku St Andrews Namukozi.4. Busimbi Parish yazaalibwa

okuva ku St Andrews Namukozi.5. Katakala Parish yazaalibwa

okuva ku St Andrews Namukozi.6. Naama Parish yazaalibwa okuva

ku Katakala Parish.

Buno bwe bwa Ssabadiinkoni Mu Bulabirizibwa Mityana obwassibawo olw’okusobozesa Omulabirizi oku-tuuka mu bantube obulungi.1. Obwa Ssabadiinkoni bwa

Mityana – Ven Can Kefa Kiza.2. Obwa Ssabadiikoni bwa

Buweekula – Ven Can Bakenga.3. Obwa Ssabadiikoni bwa

Baamusuuta – Ven Galiwango.4. Makonzi – Ven Kwebehiba.

OKWEBAZA

Nebaza Katonda olw’okusobozesa Abaweereza bakadde baffe Abala-birizi abatukozemu omulimu emyaka gino 40 beddu. Twebaza Katonda by-atukozesezzamu kuzimba Ennyuba, offi ces, Pension House, Amayumba ga Basumba, Namakanisa. Mukama yebazibwe.

Ven Livingstone Sekamatt e - Bukomero

Ven. Can. Kefa Ddibya Obadiya - Kasenyi

Ven. Can. Stephen Kaziro - Namutamba

Ven. David Kiryankusa- Kasambya

Can. Keefa Kiiza ne Maama Sabadiinkoni eyasooka mu Bulabirizi bw’e Mityana

Ven. Meshach Lubega - Bamusuuta

Rev. Can. Johnson Kulabirawo - Luti kko Denary

Ven. Simon Peter Kakeeto - Kisojjo

Ven. Moses Ssebuti nde - Makonzi

Ven. Christopher Ssensalo - Kawungeera

MMMMiittyyy

aaann

aaa DDDDDDD

ioooooccccc

eeeeeessseeee

14

Mity

an

a D

ioc

ese

Mity

an

a D

ioc

ese

19

Cathedral empya ezimbibwa

Ejinja ry’Ekanisa oyokubiri ryasimbibwa Omulabirizi Festo Lutaaya

Ensisinkano ne Rev. Paul Lukoda Kisuule.

Rev. Kisuule yebaza Katonda olwobulamu bwamuwadde okuba nga akyategeera kuba

yalabiraddala Obulabirizi buno nga butandika. Ajjukira okuva mu mwaka gwa 1950 nga akyali mulenzi muto. Agamba nti ekkanisa emberyeberye yawulira mbu yasookera mu kisakaate kya Mukwenda Ssendikwanawa ku Ssaza era ne Mukwenda mweyasabiranga. Ayongera n’agamba nti “Olusozi luno lwatuumibwa Namukozi kubanga abakozi abakolanga ewa Mukwenda kwebasulanga era nga bwebakubuuza nti , ‘Olagawa’ ng’ongamba nti , ‘ndaga eri abakozi’. Awono akaff o nekatumibwa Namukozi”.Agamba nti oluvanyuma enyo abantu

nga kati we wasimba emmotoka y’Omulabirizi. Ekkanisa eyo yali ya ssubi nga nnene. Ebiseera ebyo nga tuli mu Bulabirizi bwe Namirembe. Rev. Kisuule agamba nti ekkanisa gy’eyasooka okulabako yali ya kubiri era nga nayo yali nene. Ebiseera ebyo nga ezimbisidwa bbulooka zatt aka nga zirimu ebisubi. Agamba nti ekkanisa eyo yali ng’esobola okutuuza abantu abasukka mu lukumi. Munda yali nkube pulasita nga bagisiize ne langi enjeru.Agamba nti ekkanisa eyandibadde ey’okusatu yakoma kumusingi era nga pulaani yaayo yali yagyibwa bweru wa Uganda nga bino byona bikolebwa Omulabirizi Festo Lutaaya eyali owa West Buganda era nga mukiseera ekyo Mityana yali etwalibwa Obulabirizi obwo. Omusingi ogwo gwasimwa awo awaziikibwa Bishop Yokaana Mukasa era nga gwaali munene ddala nga abamagaali babiri basobola okweyisinganya.Ekkansa ey’okuna, Can. Ezra Kamya

Ekkanisa ezibaddewo okutuuka ku Lutikko

yeyaleeta pulaani yaayo era nga enkula yaayo ya nsondasonda (zig-zag) era nga gyetukyasabiramu kati era nga eri mukugaziyizibwa. Ng’ewedde, y’egya okubeera ekkanisa ey’okutaano. Rev Kisuule alowooza nti ekkanisa eno egya kuba eggyirayo ddala ekifaananyi ky’ekkanisa Bishop Lutaaya gye yali ayagala. Amaliriza nga yebaza Omulabirizi Stephen Samuel Kaziimba olwa Katonda okumulungamya n’amuwa ekirooto eky’okugaziya Luti kko eno. Omulabiriza Festo Lutaaya kino naye kye yali ayagala. Era wano w’agambira nti wama ddala omulimu gwa Katonda teguff a anti omulembe gwa Bishop Kaziimba gusitt udde ekirooto kya Bishop Lutaaya era kyakutukiriza nga bweyali kyagala. Ekkanisa eno ey’okutaano, obugazi bwayo busobodde okutwaliramu ebitundu byonna awaali amakanisa amalala kukiff o kino; kale kyewunyisa!

basaba ekkanisa eve mu kisakaate era Mukwenda nakiriza nabawa ett aka eriwerera ddala yiika 360. Kuno kwe kwazimbwa ekkanisa n’amasomero.Ekkanisa emberyeberye kulusozi luno olw’eNamukozi yali ewali akagulumu

MMMMitttyyy

aaannn

aaa DDDD

iiioooocccc

eeeessseeee

Mity

an

a D

ioc

ese

19

Page 14: MITYANA SECONDARY SCHOOL · 32 Mityana Diocese MITYANA SECONDARY SCHOOL “Okutya Nsonyi, Obuzira Kitiibwa” Office: 0464 443 405 , Mob: 0756 999 280 | 0772 983126 | 0772 574 925

16

Mity

an

a D

ioc

ese

Bishop Stephen Kaziimba n’Abalabirizi abalala.

Bishop Stephen Kaziimba n’Abalabirizi abalala.

Abamu ku bakyala ba Mother’s Union

Abamu ku babulizi mu bulabirizi

Ordinati on and Priesti ng

Bp. Kaziimba ne Maama wamu ne Bp. Luzinda ne Maama

Mity

an

a D

ioc

ese

17Abaato

Pension House esangibwa mu Ndejje University

Abamu Ku Babulirizi Mu Mityana Diocese

Abakulembeze ba bakyala mu Mityana Diocese Abamu ku bawuule mu Mityana Diocese